Exodus 22 (BOLCB)

1 “Omuntu bw’anabbanga ente ya munne, oba endiga, n’agitta oba n’agitunda; anazzangawo ente ttaano olw’emu gy’abbye, n’endiga nnya olw’endiga emu. 2 “Omubbi bw’anaakwatibwanga ng’amenya ennyumba, n’akubibwa emiggo n’afa; amukubye taabengako musango olw’okuyiwa omusaayi gw’omubbi oyo; 3 naye singa ebyo bigwawo ng’enjuba emaze okuvaayo, anaabangako omusango olw’okuyiwa omusaayi ogwo. Omubbi anaateekwanga okuliwa; naye bw’abanga talina kantu, anaatundibwanga alyoke asasulire bye yabba. 4 “Omubbi singa akwatibwa lubona nga n’ensolo gy’abbye agirina nnamu, oba nte, oba ndogoyi oba ndiga, anazzangawo bbiri bbiri. 5 “Omuntu bw’anaabanga alunda ebisolo bye mu ddundiro lye oba mu nnimiro ye ey’emizabbibu, ensolo ze n’azireka ne zigenda ziriira mu nnimiro y’omuntu omulala; anaasasulanga ku bibala ebisinga obulungi n’ezabbibu ebiva omumwe. 6 “Omuliro bwe gunaalandanga ne guyita mu bisaka ne gukwata ennimiro y’omuntu, ne gwokya ebinywa by’eŋŋaano, oba eŋŋaano ekyakula, oba ne guzikiriza ennimiro ye yonna; eyakumye omuliro ogwo anaasasuliranga byonna ebyonoonese. 7 “Omuntu bw’anaateresanga munne ensimbi oba ebintu bye ebirala, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw’anaakwatibwanga anaaliwanga emirundi ebiri. 8 Naye omubbi bw’ataakwatibwenga, nannyini nnyumba ateekwa agende eri abalamuzi, basalewo obanga ebintu bya munne ye yabitutte. 9 Mu buli misango gyonna egy’okubeera n’ebintu mu ngeri emenya amateeka, ng’okubeera n’ente, oba endogoyi, oba endiga, oba ekyambalo, oba ekintu ekirala kyonna ekinaabanga kibuze, omuntu n’amala akyogerako nti, ‘Kino kyange,’ omuntu akirina n’oyo akiyita ekikye banaatwalanga ensonga zaabwe eri abalamuzi. Oyo abalamuzi gwe banaasaliranga nti gumusinze, anaddizangawo munne emirundi ebiri. 10 “Omuntu bw’anaateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala yonna; n’emala efa, oba n’erumizibwa, oba n’etwalibwa nga tekitegeerekese agitutte, 11 ensonga zaabwe zinaagonjoolwanga nga eyatereka alayidde mu maaso ga MUKAMA nti ensolo eyo si ye yagibba. Nannyini nsolo ateekwanga okukkiriza ekirayiro ekyo, era taasasulwenga kintu kyonna. 12 Naye bw’eneemubbibwangako, anaagiriwanga. 13 Bw’eneebanga erumbiddwa ensolo enkambwe n’etaagulwataagulwa, anaaleetanga ebitundutundu byayo ebisigaddewo ng’obujulizi; taaliwenga nsolo etaaguddwataaguddwa. 14 “Omuntu bw’aneeyazikanga ensolo ku muliraanwa we, n’erumizibwa, oba n’emufaako nga nnyini yo taliiwo, anaateekwanga okugisasulira. 15 Naye nannyini yo bw’anaabangawo, taaliyirwenga. Ensolo ng’ebadde epangisibbwa bupangisibwa, omuwendo ogugipangisizza gunaamalanga mu kugisasulira. 16 “Omusajja bw’anaasendasendanga omuwala omuto akyali embeerera, ne yeebaka naye, atwalengayo ebintu ebyobuko, amuwase. 17 Naye singa kitaawe w’omuwala agaanira ddala okumumuwa, era asasulangayo omuwendo gw’ensimbi ogwenkanankana n’eby’obuko ebiweebwayo ku mbeerera. 18 “Omukazi omulogo omuttanga bussi. 19 “Omuntu akola eby’ensonyi n’ensolo ateekwanga kuttibwa. 20 “Omuntu atwalanga ssaddaaka eri katonda omulala, atali nze MUKAMA, azikirizibwenga. 21 “Bannamawanga temubayisanga bubi, so temubanyigirizanga, kubanga nammwe mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri. 22 “Nnamwandu ne mulekwa temubajooganga. 23 Bwe munaabajooganga ne bankaabira, nnaabawulirizanga. 24 Obusungu bwange ne bubuubuuka, mmwe ne mbatta n’ekitala. Bakyala bammwe ne bafuuka bannamwandu n’abaana bammwe bamulekwa. 25 “Bw’owolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ng’ali mu kwetaaga, teweeyisanga ng’abawozi b’ensimbi abalala; tomusasuzanga magoba. 26 Bw’otwalanga ekyambalo ky’omuntu ng’akakalu, kimuddize ng’enjuba egenda okugwa; 27 kubanga ekyambalo kye ekyo kye ky’okwebikka kye kyokka ky’alina. Kale bw’otokimuddiza olwo asule mu ki? Bw’anankaabiriranga nzijanga kumuwuliriza, kubanga ndi wa kisa. 28 “Tovumanga Katonda, wadde okwogera obubi ku bafuzi bammwe. 29 “Tolwangawo kuwaayo ku bibala ebibereberye nga byengedde.“Mutabani wo omubereberye onoomumpanga. 30 Ente zo n’endiga zo nazo onookolanga bw’otyo. Onoozirekeranga bannyina baazo okumala ennaku musanvu; onoozimpanga ku lunaku olw’omunaana. 31 “Mujjanga kuba bantu bange batukuvu. Noolwekyo temuulyenga nnyama ya nsolo etaaguddwataaguddwa ebisolo eby’omu nsiko. Munaagirekeranga mbwa.

In Other Versions

Exodus 22 in the ANGEFD

Exodus 22 in the ANTPNG2D

Exodus 22 in the AS21

Exodus 22 in the BAGH

Exodus 22 in the BBPNG

Exodus 22 in the BBT1E

Exodus 22 in the BDS

Exodus 22 in the BEV

Exodus 22 in the BHAD

Exodus 22 in the BIB

Exodus 22 in the BLPT

Exodus 22 in the BNT

Exodus 22 in the BNTABOOT

Exodus 22 in the BNTLV

Exodus 22 in the BOATCB

Exodus 22 in the BOATCB2

Exodus 22 in the BOBCV

Exodus 22 in the BOCNT

Exodus 22 in the BOECS

Exodus 22 in the BOGWICC

Exodus 22 in the BOHCB

Exodus 22 in the BOHCV

Exodus 22 in the BOHLNT

Exodus 22 in the BOHNTLTAL

Exodus 22 in the BOICB

Exodus 22 in the BOILNTAP

Exodus 22 in the BOITCV

Exodus 22 in the BOKCV

Exodus 22 in the BOKCV2

Exodus 22 in the BOKHWOG

Exodus 22 in the BOKSSV

Exodus 22 in the BOLCB2

Exodus 22 in the BOMCV

Exodus 22 in the BONAV

Exodus 22 in the BONCB

Exodus 22 in the BONLT

Exodus 22 in the BONUT2

Exodus 22 in the BOPLNT

Exodus 22 in the BOSCB

Exodus 22 in the BOSNC

Exodus 22 in the BOTLNT

Exodus 22 in the BOVCB

Exodus 22 in the BOYCB

Exodus 22 in the BPBB

Exodus 22 in the BPH

Exodus 22 in the BSB

Exodus 22 in the CCB

Exodus 22 in the CUV

Exodus 22 in the CUVS

Exodus 22 in the DBT

Exodus 22 in the DGDNT

Exodus 22 in the DHNT

Exodus 22 in the DNT

Exodus 22 in the ELBE

Exodus 22 in the EMTV

Exodus 22 in the ESV

Exodus 22 in the FBV

Exodus 22 in the FEB

Exodus 22 in the GGMNT

Exodus 22 in the GNT

Exodus 22 in the HARY

Exodus 22 in the HNT

Exodus 22 in the IRVA

Exodus 22 in the IRVB

Exodus 22 in the IRVG

Exodus 22 in the IRVH

Exodus 22 in the IRVK

Exodus 22 in the IRVM

Exodus 22 in the IRVM2

Exodus 22 in the IRVO

Exodus 22 in the IRVP

Exodus 22 in the IRVT

Exodus 22 in the IRVT2

Exodus 22 in the IRVU

Exodus 22 in the ISVN

Exodus 22 in the JSNT

Exodus 22 in the KAPI

Exodus 22 in the KBT1ETNIK

Exodus 22 in the KBV

Exodus 22 in the KJV

Exodus 22 in the KNFD

Exodus 22 in the LBA

Exodus 22 in the LBLA

Exodus 22 in the LNT

Exodus 22 in the LSV

Exodus 22 in the MAAL

Exodus 22 in the MBV

Exodus 22 in the MBV2

Exodus 22 in the MHNT

Exodus 22 in the MKNFD

Exodus 22 in the MNG

Exodus 22 in the MNT

Exodus 22 in the MNT2

Exodus 22 in the MRS1T

Exodus 22 in the NAA

Exodus 22 in the NASB

Exodus 22 in the NBLA

Exodus 22 in the NBS

Exodus 22 in the NBVTP

Exodus 22 in the NET2

Exodus 22 in the NIV11

Exodus 22 in the NNT

Exodus 22 in the NNT2

Exodus 22 in the NNT3

Exodus 22 in the PDDPT

Exodus 22 in the PFNT

Exodus 22 in the RMNT

Exodus 22 in the SBIAS

Exodus 22 in the SBIBS

Exodus 22 in the SBIBS2

Exodus 22 in the SBICS

Exodus 22 in the SBIDS

Exodus 22 in the SBIGS

Exodus 22 in the SBIHS

Exodus 22 in the SBIIS

Exodus 22 in the SBIIS2

Exodus 22 in the SBIIS3

Exodus 22 in the SBIKS

Exodus 22 in the SBIKS2

Exodus 22 in the SBIMS

Exodus 22 in the SBIOS

Exodus 22 in the SBIPS

Exodus 22 in the SBISS

Exodus 22 in the SBITS

Exodus 22 in the SBITS2

Exodus 22 in the SBITS3

Exodus 22 in the SBITS4

Exodus 22 in the SBIUS

Exodus 22 in the SBIVS

Exodus 22 in the SBT

Exodus 22 in the SBT1E

Exodus 22 in the SCHL

Exodus 22 in the SNT

Exodus 22 in the SUSU

Exodus 22 in the SUSU2

Exodus 22 in the SYNO

Exodus 22 in the TBIAOTANT

Exodus 22 in the TBT1E

Exodus 22 in the TBT1E2

Exodus 22 in the TFTIP

Exodus 22 in the TFTU

Exodus 22 in the TGNTATF3T

Exodus 22 in the THAI

Exodus 22 in the TNFD

Exodus 22 in the TNT

Exodus 22 in the TNTIK

Exodus 22 in the TNTIL

Exodus 22 in the TNTIN

Exodus 22 in the TNTIP

Exodus 22 in the TNTIZ

Exodus 22 in the TOMA

Exodus 22 in the TTENT

Exodus 22 in the UBG

Exodus 22 in the UGV

Exodus 22 in the UGV2

Exodus 22 in the UGV3

Exodus 22 in the VBL

Exodus 22 in the VDCC

Exodus 22 in the YALU

Exodus 22 in the YAPE

Exodus 22 in the YBVTP

Exodus 22 in the ZBP