Ezekiel 42 (BOLCB)
1 Awo omusajja n’ankulemberamu n’antwala mu luggya ebweru ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’antwala mu bisenge eby’ekizimbe ekyayolekera oluggya lwa yeekaalu era ekyayolekera bbugwe ku luuyi olw’Obukiikakkono. 2 Ekizimbe ekyo ekyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikakkono, kyali mita amakumi ataano obuwanvu, n’obugazi mita amakumi abiri mu ttaano. 3 Ekizimbe ekyo kyalina ennyumba bbiri. Ennyumba emu yali eyolekera oluggya olw’omunda oluli mita kkumi obugazi. Ennyumba endala n’eyolekera oluggya olw’ebweru. Ennyumba zombi zazimbibwa nga za kalina ssatu, nga zoolekaganye. 4 Wakati w’ennyumba ezo ebbiri, waaliwo olukuubo mita ttaano obugazi, n’obuwanvu mita amakumi ataano. Enzigi ez’ennyumba eyolekera oluggya olw’omunda zaayolekera Obukiikakkono. 5 Ebisenge ebya waggulu byali bifunda okusinga ebibiri wansi, kubanga olubalaza olwa waggulu lwatwala ekifo kinene okusinga ku myaliiro egya wansi n’egya wakati mu kizimbe. 6 Oluggya lwalina empagi naye ebisenge ebyali ku mwaliiro ogwokusatu tebyalimu mpagi, noolwekyo byali bitono okusinga ebyali ku mwaliiro ogwa wansi ne ku mwaliiro ogwa wakati. 7 Waaliwo ekisenge eky’ebweru ekyali kigatta ennyumba zombi ez’ekizimbe, obuwanvu mita amakumi abiri mu ttaano. 8 Olubu lw’ebisenge olw’ennyumba eri ku luuyi oluliraanye oluggya olw’ebweru obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, ate n’olubu lw’ebisenge olw’ennyumba ku luuyi olusinga okuliraana yeekaalu obuwanvu bwali mita amakumi ataano. 9 Ebisenge ebya wansi byaliko omulyango ku luuyi olw’ebuvanjuba ogufuluma mu luggya olw’ebweru. 10 Ku luuyi olw’Obukiikaddyo obwa yeekaalu, waliwo ekizimbe ekyalina ennyumba bbiri ezaali wakati w’oluggya olwa yeekaalu, ne bbugwe. 11 Waaliwo olukuubo wakati w’ennyumba zombi. Zaafaanana ng’ennyumba ez’oku luuyi olw’Obukiikakkono, ng’obuwanvu n’obugazi bwazo, n’emiryango nga bya bipimo ebyenkanankana n’eby’Obukiikakkono. 12 Emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikaddyo gyali gifaanana n’emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikakkono. Ekizimbe kyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikaddyo, nga bw’oguyingiriramu oyolekera emiryango gy’ennyumba ennene ey’ekizimbe. Waaliwo omulyango omulala ku luuyi olw’ebuvanjuba olukuubo lw’ekizimbe eky’ennyumba zombi we lukoma. 13 Awo n’aŋŋamba nti, “Ebisenge eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikakkono n’eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikaddyo, by’ebisenge bya bakabona. Bakabona abaweereza mu maaso ga MUKAMA gye banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo; era eyo gye banaatekanga ebiweebwayo ebitukuvu ennyo, n’ekiweebwayo eky’obutta n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga ekifo kitukuvu. 14 Bakabona bwe bayingirangamu, tebaafulumenga kulaga mu luggya olw’ebweru, okuggyako nga baggyemu ebyambalo eby’obuweereza bwabwe, kubanga byambalo bitukuvu. Banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ebifo awali abantu.” 15 Bwe yamala okupima munda wa yeekaalu, n’ankulembera n’ampisa mu mulyango ogw’Ebuvanjuba, n’apima ekitundu ekyetoolodde wonna. 16 N’apima oluuyi olw’ebuvanjuba n’oluti olugera, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. 17 N’apima oluuyi olw’Obukiikakkono nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. 18 N’oluvannyuma n’apima oluuyi olw’Obukiikaddyo nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. 19 N’oluvannyuma n’akyuka n’apima oluuyi olw’ebugwanjuba, nga luli mita ebikumi bibiri mu ataano. 20 N’apima enjuuyi ennya zonna. Yeekaalu yalina bbugwe okugyebungulula, mita ebikumi bibiri mu ataano obuwanvu, n’obugazi mita ebikumi bibiri mu ataano, nga kye kyawula awatukuvu n’awabulijjo.
In Other Versions
Ezekiel 42 in the ANGEFD
Ezekiel 42 in the ANTPNG2D
Ezekiel 42 in the AS21
Ezekiel 42 in the BAGH
Ezekiel 42 in the BBPNG
Ezekiel 42 in the BBT1E
Ezekiel 42 in the BDS
Ezekiel 42 in the BEV
Ezekiel 42 in the BHAD
Ezekiel 42 in the BIB
Ezekiel 42 in the BLPT
Ezekiel 42 in the BNT
Ezekiel 42 in the BNTABOOT
Ezekiel 42 in the BNTLV
Ezekiel 42 in the BOATCB
Ezekiel 42 in the BOATCB2
Ezekiel 42 in the BOBCV
Ezekiel 42 in the BOCNT
Ezekiel 42 in the BOECS
Ezekiel 42 in the BOGWICC
Ezekiel 42 in the BOHCB
Ezekiel 42 in the BOHCV
Ezekiel 42 in the BOHLNT
Ezekiel 42 in the BOHNTLTAL
Ezekiel 42 in the BOICB
Ezekiel 42 in the BOILNTAP
Ezekiel 42 in the BOITCV
Ezekiel 42 in the BOKCV
Ezekiel 42 in the BOKCV2
Ezekiel 42 in the BOKHWOG
Ezekiel 42 in the BOKSSV
Ezekiel 42 in the BOLCB2
Ezekiel 42 in the BOMCV
Ezekiel 42 in the BONAV
Ezekiel 42 in the BONCB
Ezekiel 42 in the BONLT
Ezekiel 42 in the BONUT2
Ezekiel 42 in the BOPLNT
Ezekiel 42 in the BOSCB
Ezekiel 42 in the BOSNC
Ezekiel 42 in the BOTLNT
Ezekiel 42 in the BOVCB
Ezekiel 42 in the BOYCB
Ezekiel 42 in the BPBB
Ezekiel 42 in the BPH
Ezekiel 42 in the BSB
Ezekiel 42 in the CCB
Ezekiel 42 in the CUV
Ezekiel 42 in the CUVS
Ezekiel 42 in the DBT
Ezekiel 42 in the DGDNT
Ezekiel 42 in the DHNT
Ezekiel 42 in the DNT
Ezekiel 42 in the ELBE
Ezekiel 42 in the EMTV
Ezekiel 42 in the ESV
Ezekiel 42 in the FBV
Ezekiel 42 in the FEB
Ezekiel 42 in the GGMNT
Ezekiel 42 in the GNT
Ezekiel 42 in the HARY
Ezekiel 42 in the HNT
Ezekiel 42 in the IRVA
Ezekiel 42 in the IRVB
Ezekiel 42 in the IRVG
Ezekiel 42 in the IRVH
Ezekiel 42 in the IRVK
Ezekiel 42 in the IRVM
Ezekiel 42 in the IRVM2
Ezekiel 42 in the IRVO
Ezekiel 42 in the IRVP
Ezekiel 42 in the IRVT
Ezekiel 42 in the IRVT2
Ezekiel 42 in the IRVU
Ezekiel 42 in the ISVN
Ezekiel 42 in the JSNT
Ezekiel 42 in the KAPI
Ezekiel 42 in the KBT1ETNIK
Ezekiel 42 in the KBV
Ezekiel 42 in the KJV
Ezekiel 42 in the KNFD
Ezekiel 42 in the LBA
Ezekiel 42 in the LBLA
Ezekiel 42 in the LNT
Ezekiel 42 in the LSV
Ezekiel 42 in the MAAL
Ezekiel 42 in the MBV
Ezekiel 42 in the MBV2
Ezekiel 42 in the MHNT
Ezekiel 42 in the MKNFD
Ezekiel 42 in the MNG
Ezekiel 42 in the MNT
Ezekiel 42 in the MNT2
Ezekiel 42 in the MRS1T
Ezekiel 42 in the NAA
Ezekiel 42 in the NASB
Ezekiel 42 in the NBLA
Ezekiel 42 in the NBS
Ezekiel 42 in the NBVTP
Ezekiel 42 in the NET2
Ezekiel 42 in the NIV11
Ezekiel 42 in the NNT
Ezekiel 42 in the NNT2
Ezekiel 42 in the NNT3
Ezekiel 42 in the PDDPT
Ezekiel 42 in the PFNT
Ezekiel 42 in the RMNT
Ezekiel 42 in the SBIAS
Ezekiel 42 in the SBIBS
Ezekiel 42 in the SBIBS2
Ezekiel 42 in the SBICS
Ezekiel 42 in the SBIDS
Ezekiel 42 in the SBIGS
Ezekiel 42 in the SBIHS
Ezekiel 42 in the SBIIS
Ezekiel 42 in the SBIIS2
Ezekiel 42 in the SBIIS3
Ezekiel 42 in the SBIKS
Ezekiel 42 in the SBIKS2
Ezekiel 42 in the SBIMS
Ezekiel 42 in the SBIOS
Ezekiel 42 in the SBIPS
Ezekiel 42 in the SBISS
Ezekiel 42 in the SBITS
Ezekiel 42 in the SBITS2
Ezekiel 42 in the SBITS3
Ezekiel 42 in the SBITS4
Ezekiel 42 in the SBIUS
Ezekiel 42 in the SBIVS
Ezekiel 42 in the SBT
Ezekiel 42 in the SBT1E
Ezekiel 42 in the SCHL
Ezekiel 42 in the SNT
Ezekiel 42 in the SUSU
Ezekiel 42 in the SUSU2
Ezekiel 42 in the SYNO
Ezekiel 42 in the TBIAOTANT
Ezekiel 42 in the TBT1E
Ezekiel 42 in the TBT1E2
Ezekiel 42 in the TFTIP
Ezekiel 42 in the TFTU
Ezekiel 42 in the TGNTATF3T
Ezekiel 42 in the THAI
Ezekiel 42 in the TNFD
Ezekiel 42 in the TNT
Ezekiel 42 in the TNTIK
Ezekiel 42 in the TNTIL
Ezekiel 42 in the TNTIN
Ezekiel 42 in the TNTIP
Ezekiel 42 in the TNTIZ
Ezekiel 42 in the TOMA
Ezekiel 42 in the TTENT
Ezekiel 42 in the UBG
Ezekiel 42 in the UGV
Ezekiel 42 in the UGV2
Ezekiel 42 in the UGV3
Ezekiel 42 in the VBL
Ezekiel 42 in the VDCC
Ezekiel 42 in the YALU
Ezekiel 42 in the YAPE
Ezekiel 42 in the YBVTP
Ezekiel 42 in the ZBP