Ezekiel 5 (BOLCB)
1 “Kaakano, omwana w’omuntu, ddira ekitala ekyogi, okikozese nga weembe ya kinyoozi okwemwa omutwe n’ekirevu. N’oluvannyuma oteeke enviiri ku minzaani ozipime era ozigabanyeemu. 2 Ennaku ez’obusibe bwo bwe ziriggwaako, oyokere kimu kya kusatu ku nviiri ezo mu kibuga. Ekimu kya kusatu ekirala okisaasaanye mu mpewo. Ndibagobesa ekitala. 3 Naye ddira ku miguwa mitono, egy’enviiri ogifundikire mu kyambalo kyo. 4 Ate era ddira mitono ku egyo, ogisuule mu muliro, ogyokye. Omuliro gulibuna ennyumba ya Isirayiri yonna okuva okwo. 5 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Eno ye Yerusaalemi gye nateeka wakati mu mawanga, ng’ensi zonna zigyetoolodde. 6 Naye, boonoonye okusinga amawanga n’ensi abemwetoolodde bwe boonoonye ne bajeemera amateeka n’ebiragiro byange. Ajeemedde amateeka gange, n’atagoberera biragiro byange. 7 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Mubadde bajeemu nnyo n’okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mukoze ebibi okusinga amawanga agabeetoolodde ne mutagoberera biragiro byange wadde okukuuma amateeka gange. Mwonoonye okukira amawanga agabeetoolodde bwe gakola. 8 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda nti, Nze kennyini ndi mulabe wo, Yerusaalemi, era ndikubonerereza mu maaso g’amawanga. 9 Olwa bakatonda bo abalala bonna ab’emizizo, ndikukola ekyo kye sikolanga, era kye siriddayo kukola. 10 Bakitaabwe baliriira abaana baabwe mu maaso gammwe, ate n’abaana balirya bakitaabwe, era ndikubonereza ne nsasaanya abalisigalawo eri empewo. 11 Noolwekyo nga bwe ndi omulamu, olw’okuyonoonesa awatukuvu wange ne bakatonda abalala ab’ekivve, n’ebikolwa byammwe eby’ekivve, nze kennyini kyendiva nnema okukulaga ekisa, era sirikulaga kisa wadde okukusaasira, bw’ayogera MUKAMA Katonda. 12 Kimu kya kusatu ku bantu bo balifa kawumpuli oba bazikirire olw’ekyeya nga bali mu ggwe. Kimu kya kusatu ekirala kirittibwa ekitala ebweru wa bbugwe, ne kimu kya kusatu ekirala ndikisaasaanya eri empewo ne mbagoba n’ekitala ekisowole. 13 “Olwo nno obusungu bwange n’ekiruyi kyange birikkakkana, era ndiba nesasuzza. Era bwe ndibasunguwalira balimanya nga nze MUKAMA nkyogeredde mu buggya. 14 “Ndikufuula ekyazikirira era ekivume mu mawanga agakwetoolodde, mu maaso g’abo bonna abayitawo. 15 Bwe ndikubonerereza mu busungu bwange, ne mu kiruyi kyange nga nnyiize, oliba kivume, oyogerebweko oyeeyerezebwe. Oliba kyakulabula era ekintu ekitiisa eri amawanga agakwetoolodde. Nze MUKAMA nkyogedde. 16 Bwe ndirasa obusaale obutta era obuzikiriza obw’ekyeya ndirasa okubazikiriza. Ndyongera okuleeta ekyeya, ne nsalako n’emmere ebaweebwa. 17 Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala. Nze MUKAMA nkyogedde.”
In Other Versions
Ezekiel 5 in the ANGEFD
Ezekiel 5 in the ANTPNG2D
Ezekiel 5 in the AS21
Ezekiel 5 in the BAGH
Ezekiel 5 in the BBPNG
Ezekiel 5 in the BBT1E
Ezekiel 5 in the BDS
Ezekiel 5 in the BEV
Ezekiel 5 in the BHAD
Ezekiel 5 in the BIB
Ezekiel 5 in the BLPT
Ezekiel 5 in the BNT
Ezekiel 5 in the BNTABOOT
Ezekiel 5 in the BNTLV
Ezekiel 5 in the BOATCB
Ezekiel 5 in the BOATCB2
Ezekiel 5 in the BOBCV
Ezekiel 5 in the BOCNT
Ezekiel 5 in the BOECS
Ezekiel 5 in the BOGWICC
Ezekiel 5 in the BOHCB
Ezekiel 5 in the BOHCV
Ezekiel 5 in the BOHLNT
Ezekiel 5 in the BOHNTLTAL
Ezekiel 5 in the BOICB
Ezekiel 5 in the BOILNTAP
Ezekiel 5 in the BOITCV
Ezekiel 5 in the BOKCV
Ezekiel 5 in the BOKCV2
Ezekiel 5 in the BOKHWOG
Ezekiel 5 in the BOKSSV
Ezekiel 5 in the BOLCB2
Ezekiel 5 in the BOMCV
Ezekiel 5 in the BONAV
Ezekiel 5 in the BONCB
Ezekiel 5 in the BONLT
Ezekiel 5 in the BONUT2
Ezekiel 5 in the BOPLNT
Ezekiel 5 in the BOSCB
Ezekiel 5 in the BOSNC
Ezekiel 5 in the BOTLNT
Ezekiel 5 in the BOVCB
Ezekiel 5 in the BOYCB
Ezekiel 5 in the BPBB
Ezekiel 5 in the BPH
Ezekiel 5 in the BSB
Ezekiel 5 in the CCB
Ezekiel 5 in the CUV
Ezekiel 5 in the CUVS
Ezekiel 5 in the DBT
Ezekiel 5 in the DGDNT
Ezekiel 5 in the DHNT
Ezekiel 5 in the DNT
Ezekiel 5 in the ELBE
Ezekiel 5 in the EMTV
Ezekiel 5 in the ESV
Ezekiel 5 in the FBV
Ezekiel 5 in the FEB
Ezekiel 5 in the GGMNT
Ezekiel 5 in the GNT
Ezekiel 5 in the HARY
Ezekiel 5 in the HNT
Ezekiel 5 in the IRVA
Ezekiel 5 in the IRVB
Ezekiel 5 in the IRVG
Ezekiel 5 in the IRVH
Ezekiel 5 in the IRVK
Ezekiel 5 in the IRVM
Ezekiel 5 in the IRVM2
Ezekiel 5 in the IRVO
Ezekiel 5 in the IRVP
Ezekiel 5 in the IRVT
Ezekiel 5 in the IRVT2
Ezekiel 5 in the IRVU
Ezekiel 5 in the ISVN
Ezekiel 5 in the JSNT
Ezekiel 5 in the KAPI
Ezekiel 5 in the KBT1ETNIK
Ezekiel 5 in the KBV
Ezekiel 5 in the KJV
Ezekiel 5 in the KNFD
Ezekiel 5 in the LBA
Ezekiel 5 in the LBLA
Ezekiel 5 in the LNT
Ezekiel 5 in the LSV
Ezekiel 5 in the MAAL
Ezekiel 5 in the MBV
Ezekiel 5 in the MBV2
Ezekiel 5 in the MHNT
Ezekiel 5 in the MKNFD
Ezekiel 5 in the MNG
Ezekiel 5 in the MNT
Ezekiel 5 in the MNT2
Ezekiel 5 in the MRS1T
Ezekiel 5 in the NAA
Ezekiel 5 in the NASB
Ezekiel 5 in the NBLA
Ezekiel 5 in the NBS
Ezekiel 5 in the NBVTP
Ezekiel 5 in the NET2
Ezekiel 5 in the NIV11
Ezekiel 5 in the NNT
Ezekiel 5 in the NNT2
Ezekiel 5 in the NNT3
Ezekiel 5 in the PDDPT
Ezekiel 5 in the PFNT
Ezekiel 5 in the RMNT
Ezekiel 5 in the SBIAS
Ezekiel 5 in the SBIBS
Ezekiel 5 in the SBIBS2
Ezekiel 5 in the SBICS
Ezekiel 5 in the SBIDS
Ezekiel 5 in the SBIGS
Ezekiel 5 in the SBIHS
Ezekiel 5 in the SBIIS
Ezekiel 5 in the SBIIS2
Ezekiel 5 in the SBIIS3
Ezekiel 5 in the SBIKS
Ezekiel 5 in the SBIKS2
Ezekiel 5 in the SBIMS
Ezekiel 5 in the SBIOS
Ezekiel 5 in the SBIPS
Ezekiel 5 in the SBISS
Ezekiel 5 in the SBITS
Ezekiel 5 in the SBITS2
Ezekiel 5 in the SBITS3
Ezekiel 5 in the SBITS4
Ezekiel 5 in the SBIUS
Ezekiel 5 in the SBIVS
Ezekiel 5 in the SBT
Ezekiel 5 in the SBT1E
Ezekiel 5 in the SCHL
Ezekiel 5 in the SNT
Ezekiel 5 in the SUSU
Ezekiel 5 in the SUSU2
Ezekiel 5 in the SYNO
Ezekiel 5 in the TBIAOTANT
Ezekiel 5 in the TBT1E
Ezekiel 5 in the TBT1E2
Ezekiel 5 in the TFTIP
Ezekiel 5 in the TFTU
Ezekiel 5 in the TGNTATF3T
Ezekiel 5 in the THAI
Ezekiel 5 in the TNFD
Ezekiel 5 in the TNT
Ezekiel 5 in the TNTIK
Ezekiel 5 in the TNTIL
Ezekiel 5 in the TNTIN
Ezekiel 5 in the TNTIP
Ezekiel 5 in the TNTIZ
Ezekiel 5 in the TOMA
Ezekiel 5 in the TTENT
Ezekiel 5 in the UBG
Ezekiel 5 in the UGV
Ezekiel 5 in the UGV2
Ezekiel 5 in the UGV3
Ezekiel 5 in the VBL
Ezekiel 5 in the VDCC
Ezekiel 5 in the YALU
Ezekiel 5 in the YAPE
Ezekiel 5 in the YBVTP
Ezekiel 5 in the ZBP