Ezra 10 (BOLCB)

1 Awo Ezera bwe yali ng’asaba, ng’ayatula ebibi mu lwatu, ng’akaaba, era ng’avunnamye mu maaso g’ennyumba ya Katonda, ekibiina ekinene eky’Abayisirayiri, abasajja, n’abakyala, n’abaana ne bakuŋŋaana gy’ali, nabo nga bakaaba nnyo nnyini. 2 Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri, omu ku bazzukulu ba Eramu n’agamba Ezera nti, “Tetubadde beesigwa eri Katonda waffe, kubanga twawasa abakazi bannaggwanga ab’oku mawanga agatwetoolodde. Naye newaakubadde nga twakola bwe tutyo, wakyaliwo essuubi eri Isirayiri. 3 Noolwekyo tukole endagaano ne Katonda waffe tuve ku bakazi abo bonna n’abaana be twabazaalamu, ng’okuteesa kwa mukama wange n’abo abatya ebiragiro bya Katonda waffe bwe kuli, era kikolebwe ng’etteeka bwe litulagira. 4 Golokoka kubanga obuvunaanyizibwa obwo buli mu mukono gwo era tuli beeteefuteefu okukuwagira, noolwekyo guma omwoyo okikole.” 5 Awo Ezera n’agolokoka n’alayiza bakabona abakulu n’Abaleevi ne Isirayiri yenna okukola nga bwe kyateesebwa. Ne balayira. 6 Ezera n’agolokoka n’ava mu maaso g’ennyumba ya Katonda n’agenda mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, naye n’atalya mmere newaakubadde okunywa amazzi ng’akyanakuwalidde obutali bwesigwa bw’abaawaŋŋangusibwa. 7 Awo ekirango ne kiyisibwa mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi nti abawaŋŋangusibwa abaakomawo bakuŋŋaanire mu Yerusaalemi. 8 Era ne kigambibwa nti omuntu yenna aliba tazze mu nnaku ssatu, alifiirwa ebintu bye byonna, ate n’agobebwa ne mu kuŋŋaaniro lya baawaŋŋangusibwa. 9 Mu nnaku ssatu, abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi. Awo ku lunaku olw’amakumi abiri olw’omwezi ogw’omwenda abantu bonna ne batuula mu luggya olugazi mu maaso g’ennyumba ya Katonda nga banakuwavu olw’ensonga eyo ate era n’olw’enkuba eyatonnya. 10 Awo Ezera kabona n’ayimirira n’abagamba nti, “Mwayonoona bwe mwawasa abakazi bannamawanga ne mwongera ku musango gwa Isirayiri. 11 Kaakano mwatule ebibi byammwe eri MUKAMA Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo by’asiima. Mweyawule ku mawanga agabeetoolodde era muleke n’abakazi bannamawanga.” 12 Awo ekibiina kyonna ne kiddamu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Oli mutuufu, tuteekwa okukola nga bw’ogambye. 13 Naye abantu bangi, era n’ekiseera kya nkuba, tetuyinza kuyimirira bweru. N’ensonga eyookubiri, omulimu guno teguyinza kukolebwa mu lunaku lumu oba mu nnaku bbiri, kubanga twonoonye nnyo nnyini mu kigambo ekyo. 14 Abakulu baffe beeyimirire olukuŋŋaana lwonna, na buli muntu awamu n’abakadde n’abalamuzi aba buli kibuga mu bibuga byaffe eyawasa omukazi omunnaggwanga, ajje mu kiseera ekiragaane alongoose ensonga eyo, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe lwe bulituvaako olw’ekigambo ekyo.” 15 Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yozeya mutabani wa Tikuva, nga bawagirwa Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi be bokka abawakanya ekiteeso ekyo. 16 Awo abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola ng’ekiteeso bwe kyali. Ezera kabona n’abaalondebwa ku bakulu b’ennyumba, omu mu buli nnyumba ne baawulibwa mu mannya gaabwe. Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’ekkumi ne batuula okunoonyereza ku bigambo ebyo; 17 ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza ensonga eyo ey’abasajja bonna abaali bawasizza abakazi abannamawanga. 18 Mu lulyo olwa bakabona, abaali bawasizza abakazi bannamawanga baali:Maaseya, ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya bazzukulu ba Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda be. 19 Ne bamalirira okulekayo bakazi baabwe abo, n’omutango gwe baawaayo olw’omusango gwali ndiga nnume. 20 Ku bazzukulu ba Immeri:Kanani ne Zebadiya. 21 Ku bazzukulu ba Kalimu:Maaseya, ne Eriya, ne Semaaya, ne Yekyeri ne Uzziya. 22 Ku bazzukulu ba Pasukuli:Eriwenayi, ne Maaseya, ne Isimayiri, ne Nesaneri, ne Yozabadi ne Erasa. 23 Ku Baleevi:Yozabadi, ne Simeeyi, ne Keraya (era ye Kerita), ne Pesakiya, ne Yuda ne Eryeza. 24 Ku bayimbi:Eriyasibu,ne ku baakuumanga wankaaki:Sallumu, ne Teremu ne Uli. 25 Mu Bayisirayiri abalala:Ku bazzukulu ba Palosi:Lamiya, ne Izziya, ne Malukiya, ne Miyamini, ne Eriyazaali, ne Malukiya ne Benaya. 26 Ku bazzukulu ba Eramu:Mattaniya, ne Zekkaliya, ne Yekyeri, ne Abudi, ne Yeremoosi ne Eriya. 27 Ku bazzukulu ba Zattu:Eriwenayi, ne Eriyasibu, ne Mattaniya, ne Yeremoosi, ne Zabadi, ne Aziza. 28 Ku bazzukulu ba Bebayi:Yekokanani, ne Kananiya, ne Zabbayi ne Asulaayi. 29 Ku bazzukulu ba Bani:Mesullamu, ne Malluki, ne Adaya, ne Yasubu, ne Seyaali ne Yeremoosi. 30 Ku bazzukulu ba Pakasumowaabu:Aduna, ne Kerali, ne Benaya, ne Maaseya, ne Mattaniya, ne Bezaleeri, ne Binnuyi ne Manase. 31 Ku bazzukulu ba Kalimu: Eryeza, ne Isusiya, ne Malukiya,ne Semaaya, ne Simyoni, 32 ne Benyamini, ne Malluki, ne Semaliya. 33 Ku bazzukulu ba Kasumu:Mattenayi, ne Mattata, ne Zabadi, ne Erifereti, ne Yeremayi, ne Manase, ne Simeeyi. 34 Ku bazzukulu ba Baani:Maadayi, ne Amulaamu, ne Uweri, 35 ne Benaya, ne Bedeya, ne Keruki, 36 ne Vaniya, ne Meremoosi, ne Eriyasibu, 37 ne Mattaniya, ne Mattenayi, ne Yaasu, 38 ne Bani, ne Binnuyi,ne Simeeyi, 39 ne Seremiya, ne Nasani, ne Adaya, 40 ne Makunadebayi, ne Sasayi, ne Salaayi, 41 ne Azaleri, ne Seremiya, ne Semaliya, 42 ne Sallumu, ne Amaliya ne Yusufu. 43 Ku bazzukulu ba Nebo:Yeyeri, ne Mattisiya, ne Zabadi, ne Zebina, ne Iddo, ne Yoweeri ne Benaya. 44 Abo bonna baali bawasizza abakazi bannamawanga, n’abamu ku bo nga babazaddemu abaana.

In Other Versions

Ezra 10 in the ANGEFD

Ezra 10 in the ANTPNG2D

Ezra 10 in the AS21

Ezra 10 in the BAGH

Ezra 10 in the BBPNG

Ezra 10 in the BBT1E

Ezra 10 in the BDS

Ezra 10 in the BEV

Ezra 10 in the BHAD

Ezra 10 in the BIB

Ezra 10 in the BLPT

Ezra 10 in the BNT

Ezra 10 in the BNTABOOT

Ezra 10 in the BNTLV

Ezra 10 in the BOATCB

Ezra 10 in the BOATCB2

Ezra 10 in the BOBCV

Ezra 10 in the BOCNT

Ezra 10 in the BOECS

Ezra 10 in the BOGWICC

Ezra 10 in the BOHCB

Ezra 10 in the BOHCV

Ezra 10 in the BOHLNT

Ezra 10 in the BOHNTLTAL

Ezra 10 in the BOICB

Ezra 10 in the BOILNTAP

Ezra 10 in the BOITCV

Ezra 10 in the BOKCV

Ezra 10 in the BOKCV2

Ezra 10 in the BOKHWOG

Ezra 10 in the BOKSSV

Ezra 10 in the BOLCB2

Ezra 10 in the BOMCV

Ezra 10 in the BONAV

Ezra 10 in the BONCB

Ezra 10 in the BONLT

Ezra 10 in the BONUT2

Ezra 10 in the BOPLNT

Ezra 10 in the BOSCB

Ezra 10 in the BOSNC

Ezra 10 in the BOTLNT

Ezra 10 in the BOVCB

Ezra 10 in the BOYCB

Ezra 10 in the BPBB

Ezra 10 in the BPH

Ezra 10 in the BSB

Ezra 10 in the CCB

Ezra 10 in the CUV

Ezra 10 in the CUVS

Ezra 10 in the DBT

Ezra 10 in the DGDNT

Ezra 10 in the DHNT

Ezra 10 in the DNT

Ezra 10 in the ELBE

Ezra 10 in the EMTV

Ezra 10 in the ESV

Ezra 10 in the FBV

Ezra 10 in the FEB

Ezra 10 in the GGMNT

Ezra 10 in the GNT

Ezra 10 in the HARY

Ezra 10 in the HNT

Ezra 10 in the IRVA

Ezra 10 in the IRVB

Ezra 10 in the IRVG

Ezra 10 in the IRVH

Ezra 10 in the IRVK

Ezra 10 in the IRVM

Ezra 10 in the IRVM2

Ezra 10 in the IRVO

Ezra 10 in the IRVP

Ezra 10 in the IRVT

Ezra 10 in the IRVT2

Ezra 10 in the IRVU

Ezra 10 in the ISVN

Ezra 10 in the JSNT

Ezra 10 in the KAPI

Ezra 10 in the KBT1ETNIK

Ezra 10 in the KBV

Ezra 10 in the KJV

Ezra 10 in the KNFD

Ezra 10 in the LBA

Ezra 10 in the LBLA

Ezra 10 in the LNT

Ezra 10 in the LSV

Ezra 10 in the MAAL

Ezra 10 in the MBV

Ezra 10 in the MBV2

Ezra 10 in the MHNT

Ezra 10 in the MKNFD

Ezra 10 in the MNG

Ezra 10 in the MNT

Ezra 10 in the MNT2

Ezra 10 in the MRS1T

Ezra 10 in the NAA

Ezra 10 in the NASB

Ezra 10 in the NBLA

Ezra 10 in the NBS

Ezra 10 in the NBVTP

Ezra 10 in the NET2

Ezra 10 in the NIV11

Ezra 10 in the NNT

Ezra 10 in the NNT2

Ezra 10 in the NNT3

Ezra 10 in the PDDPT

Ezra 10 in the PFNT

Ezra 10 in the RMNT

Ezra 10 in the SBIAS

Ezra 10 in the SBIBS

Ezra 10 in the SBIBS2

Ezra 10 in the SBICS

Ezra 10 in the SBIDS

Ezra 10 in the SBIGS

Ezra 10 in the SBIHS

Ezra 10 in the SBIIS

Ezra 10 in the SBIIS2

Ezra 10 in the SBIIS3

Ezra 10 in the SBIKS

Ezra 10 in the SBIKS2

Ezra 10 in the SBIMS

Ezra 10 in the SBIOS

Ezra 10 in the SBIPS

Ezra 10 in the SBISS

Ezra 10 in the SBITS

Ezra 10 in the SBITS2

Ezra 10 in the SBITS3

Ezra 10 in the SBITS4

Ezra 10 in the SBIUS

Ezra 10 in the SBIVS

Ezra 10 in the SBT

Ezra 10 in the SBT1E

Ezra 10 in the SCHL

Ezra 10 in the SNT

Ezra 10 in the SUSU

Ezra 10 in the SUSU2

Ezra 10 in the SYNO

Ezra 10 in the TBIAOTANT

Ezra 10 in the TBT1E

Ezra 10 in the TBT1E2

Ezra 10 in the TFTIP

Ezra 10 in the TFTU

Ezra 10 in the TGNTATF3T

Ezra 10 in the THAI

Ezra 10 in the TNFD

Ezra 10 in the TNT

Ezra 10 in the TNTIK

Ezra 10 in the TNTIL

Ezra 10 in the TNTIN

Ezra 10 in the TNTIP

Ezra 10 in the TNTIZ

Ezra 10 in the TOMA

Ezra 10 in the TTENT

Ezra 10 in the UBG

Ezra 10 in the UGV

Ezra 10 in the UGV2

Ezra 10 in the UGV3

Ezra 10 in the VBL

Ezra 10 in the VDCC

Ezra 10 in the YALU

Ezra 10 in the YAPE

Ezra 10 in the YBVTP

Ezra 10 in the ZBP