Ezra 3 (BOLCB)
1 Omwezi ogw’omusanvu bwe gwatuuka, Abayisirayiri ne bava mu bibuga gye baali, ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi nga bali bumu. 2 Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n’ab’ennyumba ye ne batandika okuzimba ekyoto kya Katonda wa Isirayiri, okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa nga bwe kyawandiikibwa, mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda. 3 Newaakubadde nga baalina entiisa ey’abamawanga agaali gabeetoolodde, basooka okuzimba ekyoto ku musingi gwakyo ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA, nga bawaayo eby’enkya n’eby’akawungeezi. 4 Era ng’etteeka bwe liri, ne bakwata embaga ey’ensiisira ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng’omuwendo ogwetaagibwa buli lunaku bwe gwali. 5 N’oluvannyuma baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli kiseera, omwezi nga gwa kaboneka ne ku buli mbaga zonna ezaatukuzibwa eza MUKAMA ezaalagirwa, ate n’ekiweebwayo ekya buli muntu eyawaayo eri MUKAMA ekiweebwayo awatali kuwalirizibwa. 6 Okuva ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu ne batandika okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA, newaakubadde ng’omusingi gwa yeekaalu ya MUKAMA gwali tegunnazimbibwa. 7 Ne bawa abazimbi n’ababazzi ensimbi, ne bawa n’ab’e Sidoni n’ab’e Tuulo ebyokulya n’ebyokunywa n’amafuta, okuleeta emivule okuva mu Lebanooni okugituusa ku nnyanja e Yopa, ng’ekiragiro kya Kuulo kabaka w’e Buperusi bwe kyali. 8 Awo mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokubiri nga batuuse awali yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe bakabona n’Abaleevi ne bonna abajja e Yerusaalemi okuva mu buwaŋŋanguse ne batandika omulimu ogw’okuzimba, era ne beerondamu abaali ab’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okusingawo, okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza yeekaalu ya MUKAMA. 9 Awo Yesuwa ne batabani be ne baganda be, ne Kadumyeri ne batabani be, ne bazzukulu ba Yuda, nga bayambibwako ne batabani ba Kenedadi n’Abaleevi bonna ne bavunaanyizibwa okulabirira omulimu ogw’okuddaabiriza ennyumba ya MUKAMA. 10 Awo abazimbi bwe baamala okuzimba omusingi gwa yeekaalu ya MUKAMA, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe ne bavaayo nga bakutte amakondeere, n’abaleevi, bazzukulu ba Asafu, nga bakutte ebitaasa, ne bayimirira mu bifo byabwe okutendereza MUKAMA, nga Dawudi kabaka wa Isirayiri bwe yateekateeka. 11 Ne bayimba ennyimba ez’okwebaza n’okutendereza MUKAMA nga boogera nti,“Mulungi,n’okwagala kwe eri Isirayiri kubeerera emirembe gyonna.”Abantu bonna ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga batendereza MUKAMA, kubanga omusingi gw’ennyumba ya MUKAMA gwali guzimbiddwa. 12 Naye bangi ku bakabona n’Abaleevi abakadde, n’Abakulu b’ebika, abaalaba yeekaalu eyasooka, ne bakaaba nnyo ng’amaloboozi gaabwe gawulikika bwe baalaba ng’omusingi gwa yeekaalu empya guzimbiddwa, newaakubadde ng’abalala bangi baasanyuka nnyo nga bwe baleekaana; 13 nga si kyangu okwawula amaloboozi g’abo abaali bakaaba n’abaali basanyuka, kubanga abantu bonna baawowogana mu ddoboozi ery’omwanguka, era n’amaloboozi gaabwe ne gawulirwa wala.
In Other Versions
Ezra 3 in the ANGEFD
Ezra 3 in the ANTPNG2D
Ezra 3 in the AS21
Ezra 3 in the BAGH
Ezra 3 in the BBPNG
Ezra 3 in the BBT1E
Ezra 3 in the BDS
Ezra 3 in the BEV
Ezra 3 in the BHAD
Ezra 3 in the BIB
Ezra 3 in the BLPT
Ezra 3 in the BNT
Ezra 3 in the BNTABOOT
Ezra 3 in the BNTLV
Ezra 3 in the BOATCB
Ezra 3 in the BOATCB2
Ezra 3 in the BOBCV
Ezra 3 in the BOCNT
Ezra 3 in the BOECS
Ezra 3 in the BOGWICC
Ezra 3 in the BOHCB
Ezra 3 in the BOHCV
Ezra 3 in the BOHLNT
Ezra 3 in the BOHNTLTAL
Ezra 3 in the BOICB
Ezra 3 in the BOILNTAP
Ezra 3 in the BOITCV
Ezra 3 in the BOKCV
Ezra 3 in the BOKCV2
Ezra 3 in the BOKHWOG
Ezra 3 in the BOKSSV
Ezra 3 in the BOLCB2
Ezra 3 in the BOMCV
Ezra 3 in the BONAV
Ezra 3 in the BONCB
Ezra 3 in the BONLT
Ezra 3 in the BONUT2
Ezra 3 in the BOPLNT
Ezra 3 in the BOSCB
Ezra 3 in the BOSNC
Ezra 3 in the BOTLNT
Ezra 3 in the BOVCB
Ezra 3 in the BOYCB
Ezra 3 in the BPBB
Ezra 3 in the BPH
Ezra 3 in the BSB
Ezra 3 in the CCB
Ezra 3 in the CUV
Ezra 3 in the CUVS
Ezra 3 in the DBT
Ezra 3 in the DGDNT
Ezra 3 in the DHNT
Ezra 3 in the DNT
Ezra 3 in the ELBE
Ezra 3 in the EMTV
Ezra 3 in the ESV
Ezra 3 in the FBV
Ezra 3 in the FEB
Ezra 3 in the GGMNT
Ezra 3 in the GNT
Ezra 3 in the HARY
Ezra 3 in the HNT
Ezra 3 in the IRVA
Ezra 3 in the IRVB
Ezra 3 in the IRVG
Ezra 3 in the IRVH
Ezra 3 in the IRVK
Ezra 3 in the IRVM
Ezra 3 in the IRVM2
Ezra 3 in the IRVO
Ezra 3 in the IRVP
Ezra 3 in the IRVT
Ezra 3 in the IRVT2
Ezra 3 in the IRVU
Ezra 3 in the ISVN
Ezra 3 in the JSNT
Ezra 3 in the KAPI
Ezra 3 in the KBT1ETNIK
Ezra 3 in the KBV
Ezra 3 in the KJV
Ezra 3 in the KNFD
Ezra 3 in the LBA
Ezra 3 in the LBLA
Ezra 3 in the LNT
Ezra 3 in the LSV
Ezra 3 in the MAAL
Ezra 3 in the MBV
Ezra 3 in the MBV2
Ezra 3 in the MHNT
Ezra 3 in the MKNFD
Ezra 3 in the MNG
Ezra 3 in the MNT
Ezra 3 in the MNT2
Ezra 3 in the MRS1T
Ezra 3 in the NAA
Ezra 3 in the NASB
Ezra 3 in the NBLA
Ezra 3 in the NBS
Ezra 3 in the NBVTP
Ezra 3 in the NET2
Ezra 3 in the NIV11
Ezra 3 in the NNT
Ezra 3 in the NNT2
Ezra 3 in the NNT3
Ezra 3 in the PDDPT
Ezra 3 in the PFNT
Ezra 3 in the RMNT
Ezra 3 in the SBIAS
Ezra 3 in the SBIBS
Ezra 3 in the SBIBS2
Ezra 3 in the SBICS
Ezra 3 in the SBIDS
Ezra 3 in the SBIGS
Ezra 3 in the SBIHS
Ezra 3 in the SBIIS
Ezra 3 in the SBIIS2
Ezra 3 in the SBIIS3
Ezra 3 in the SBIKS
Ezra 3 in the SBIKS2
Ezra 3 in the SBIMS
Ezra 3 in the SBIOS
Ezra 3 in the SBIPS
Ezra 3 in the SBISS
Ezra 3 in the SBITS
Ezra 3 in the SBITS2
Ezra 3 in the SBITS3
Ezra 3 in the SBITS4
Ezra 3 in the SBIUS
Ezra 3 in the SBIVS
Ezra 3 in the SBT
Ezra 3 in the SBT1E
Ezra 3 in the SCHL
Ezra 3 in the SNT
Ezra 3 in the SUSU
Ezra 3 in the SUSU2
Ezra 3 in the SYNO
Ezra 3 in the TBIAOTANT
Ezra 3 in the TBT1E
Ezra 3 in the TBT1E2
Ezra 3 in the TFTIP
Ezra 3 in the TFTU
Ezra 3 in the TGNTATF3T
Ezra 3 in the THAI
Ezra 3 in the TNFD
Ezra 3 in the TNT
Ezra 3 in the TNTIK
Ezra 3 in the TNTIL
Ezra 3 in the TNTIN
Ezra 3 in the TNTIP
Ezra 3 in the TNTIZ
Ezra 3 in the TOMA
Ezra 3 in the TTENT
Ezra 3 in the UBG
Ezra 3 in the UGV
Ezra 3 in the UGV2
Ezra 3 in the UGV3
Ezra 3 in the VBL
Ezra 3 in the VDCC
Ezra 3 in the YALU
Ezra 3 in the YAPE
Ezra 3 in the YBVTP
Ezra 3 in the ZBP