Ezra 5 (BOLCB)
1 Awo bannabbi Kaggayi ne Zekkaliya muzzukulu wa Iddo ne bategeeza Abayudaaya abaabeeranga mu Yuda ne Yerusaalemi obubaka obuva eri Katonda wa Isirayiri, Katonda waabwe. 2 Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bagolokoka ne bagenda mu maaso n’omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era ne bannabbi ba Katonda nga babayambako. 3 Mu kiseera kyekimu Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bagenda gye bali ne bababuuza nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo n’okuzaawo bbugwe oyo?” 4 Ate era ne bababuuza n’amannya g’abasajja abaakolanga ku kizimbe ekyo. 5 Naye Katonda waabwe n’abeeranga wamu n’abakulu b’Abayudaaya, ne bataziyizibwa kugenda mu maaso n’omulimu okutuusa ekigambo nga kivudde eri Daliyo, n’okuddamu kwe nga kuli mu buwandiike. 6 Kopi ey’ebbaluwa Tattenayi ow’essaza ly’emitala w’omugga Fulaati, ne Sesalubozenayi ne bannaabwe abakungu ab’emitala w’omugga Fulaati gye baaweereza Kabaka Daliyo, 7 yalimu ebigambo bino wansi.Eri Kabaka Daliyo,Mirembe myereere. 8 Kitugwanidde okumanyisa kabaka nga bwe twagenze mu ssaza lya Yuda ku yeekaalu ya Katonda omukulu. Abantu bagizimba n’amayinja amanene era bateeka n’embaawo mu bbugwe, era n’omulimu gukolebwa n’obunyiikivu n’okugenda gugenda mu maaso olw’okufuba kwabwe. 9 Twabuuza abakulu nti, “Ani eyabawa obuyinza okuddaabiriza yeekaalu eyo n’okuzzaawo bbugwe oyo?” 10 Era twababuuza n’amannya gaabwe, tusobole okukuweereza amannya g’abakulembeze baabwe. 11 Baatuddamu nti: “Tuli baddu ba Katonda w’eggulu n’ensi, era tuddaabiriza yeekaalu eyazimbibwa emyaka egy’edda omu ku bakabaka abakulu aba Isirayiri, n’agimala. 12 Naye olw’okuba nga bajjajjaffe baasunguwaza Katonda w’eggulu, yabawaayo mu mukono gwa Nebukadduneeza Omukaludaaya, kabaka w’e Babulooni, eyazikiriza yeekaalu eno n’atwala abantu e Babulooni. 13 “Naye mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Babulooni, kabaka Kuulo oyo n’awa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda eno. 14 Ebintu ebya zaabu n’ebya ffeeza eby’omu nnyumba ya Katonda, Nebukadduneeza bye yanyaga mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n’abitwala mu ssabo ly’e Babulooni, Kabaka Kuulo n’abiggyayo. Kabaka Kuulo n’abikwasa omusajja erinnya lye Sesubazaali, gwe yalonda okuba owessaza, 15 era n’amugamba nti, ‘Twala ebintu ebyo, ogende obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, era olabe ng’ennyumba ya Katonda edda mu kifo kyayo.’ 16 “Sesubazaali oyo n’ajja n’azimba omusingi gw’ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi, era okuva mu kiseera ekyo n’okutuusa kaakano omulimu gukyagenda mu maaso, tegunnagwa.” 17 Noolwekyo kabaka bw’aba ng’asiimye, wabeewo okunoonyereza mu bitabo mu ggwanika lya kabaka eyo e Babulooni obanga ddala Kabaka Kuulo yawa ekiragiro okuddaabiriza ennyumba ya Katonda mu Yerusaalemi. N’oluvannyuma kabaka atutumire okututegeeza ky’asazeewo ku nsonga eyo.
In Other Versions
Ezra 5 in the ANGEFD
Ezra 5 in the ANTPNG2D
Ezra 5 in the AS21
Ezra 5 in the BAGH
Ezra 5 in the BBPNG
Ezra 5 in the BBT1E
Ezra 5 in the BDS
Ezra 5 in the BEV
Ezra 5 in the BHAD
Ezra 5 in the BIB
Ezra 5 in the BLPT
Ezra 5 in the BNT
Ezra 5 in the BNTABOOT
Ezra 5 in the BNTLV
Ezra 5 in the BOATCB
Ezra 5 in the BOATCB2
Ezra 5 in the BOBCV
Ezra 5 in the BOCNT
Ezra 5 in the BOECS
Ezra 5 in the BOGWICC
Ezra 5 in the BOHCB
Ezra 5 in the BOHCV
Ezra 5 in the BOHLNT
Ezra 5 in the BOHNTLTAL
Ezra 5 in the BOICB
Ezra 5 in the BOILNTAP
Ezra 5 in the BOITCV
Ezra 5 in the BOKCV
Ezra 5 in the BOKCV2
Ezra 5 in the BOKHWOG
Ezra 5 in the BOKSSV
Ezra 5 in the BOLCB2
Ezra 5 in the BOMCV
Ezra 5 in the BONAV
Ezra 5 in the BONCB
Ezra 5 in the BONLT
Ezra 5 in the BONUT2
Ezra 5 in the BOPLNT
Ezra 5 in the BOSCB
Ezra 5 in the BOSNC
Ezra 5 in the BOTLNT
Ezra 5 in the BOVCB
Ezra 5 in the BOYCB
Ezra 5 in the BPBB
Ezra 5 in the BPH
Ezra 5 in the BSB
Ezra 5 in the CCB
Ezra 5 in the CUV
Ezra 5 in the CUVS
Ezra 5 in the DBT
Ezra 5 in the DGDNT
Ezra 5 in the DHNT
Ezra 5 in the DNT
Ezra 5 in the ELBE
Ezra 5 in the EMTV
Ezra 5 in the ESV
Ezra 5 in the FBV
Ezra 5 in the FEB
Ezra 5 in the GGMNT
Ezra 5 in the GNT
Ezra 5 in the HARY
Ezra 5 in the HNT
Ezra 5 in the IRVA
Ezra 5 in the IRVB
Ezra 5 in the IRVG
Ezra 5 in the IRVH
Ezra 5 in the IRVK
Ezra 5 in the IRVM
Ezra 5 in the IRVM2
Ezra 5 in the IRVO
Ezra 5 in the IRVP
Ezra 5 in the IRVT
Ezra 5 in the IRVT2
Ezra 5 in the IRVU
Ezra 5 in the ISVN
Ezra 5 in the JSNT
Ezra 5 in the KAPI
Ezra 5 in the KBT1ETNIK
Ezra 5 in the KBV
Ezra 5 in the KJV
Ezra 5 in the KNFD
Ezra 5 in the LBA
Ezra 5 in the LBLA
Ezra 5 in the LNT
Ezra 5 in the LSV
Ezra 5 in the MAAL
Ezra 5 in the MBV
Ezra 5 in the MBV2
Ezra 5 in the MHNT
Ezra 5 in the MKNFD
Ezra 5 in the MNG
Ezra 5 in the MNT
Ezra 5 in the MNT2
Ezra 5 in the MRS1T
Ezra 5 in the NAA
Ezra 5 in the NASB
Ezra 5 in the NBLA
Ezra 5 in the NBS
Ezra 5 in the NBVTP
Ezra 5 in the NET2
Ezra 5 in the NIV11
Ezra 5 in the NNT
Ezra 5 in the NNT2
Ezra 5 in the NNT3
Ezra 5 in the PDDPT
Ezra 5 in the PFNT
Ezra 5 in the RMNT
Ezra 5 in the SBIAS
Ezra 5 in the SBIBS
Ezra 5 in the SBIBS2
Ezra 5 in the SBICS
Ezra 5 in the SBIDS
Ezra 5 in the SBIGS
Ezra 5 in the SBIHS
Ezra 5 in the SBIIS
Ezra 5 in the SBIIS2
Ezra 5 in the SBIIS3
Ezra 5 in the SBIKS
Ezra 5 in the SBIKS2
Ezra 5 in the SBIMS
Ezra 5 in the SBIOS
Ezra 5 in the SBIPS
Ezra 5 in the SBISS
Ezra 5 in the SBITS
Ezra 5 in the SBITS2
Ezra 5 in the SBITS3
Ezra 5 in the SBITS4
Ezra 5 in the SBIUS
Ezra 5 in the SBIVS
Ezra 5 in the SBT
Ezra 5 in the SBT1E
Ezra 5 in the SCHL
Ezra 5 in the SNT
Ezra 5 in the SUSU
Ezra 5 in the SUSU2
Ezra 5 in the SYNO
Ezra 5 in the TBIAOTANT
Ezra 5 in the TBT1E
Ezra 5 in the TBT1E2
Ezra 5 in the TFTIP
Ezra 5 in the TFTU
Ezra 5 in the TGNTATF3T
Ezra 5 in the THAI
Ezra 5 in the TNFD
Ezra 5 in the TNT
Ezra 5 in the TNTIK
Ezra 5 in the TNTIL
Ezra 5 in the TNTIN
Ezra 5 in the TNTIP
Ezra 5 in the TNTIZ
Ezra 5 in the TOMA
Ezra 5 in the TTENT
Ezra 5 in the UBG
Ezra 5 in the UGV
Ezra 5 in the UGV2
Ezra 5 in the UGV3
Ezra 5 in the VBL
Ezra 5 in the VDCC
Ezra 5 in the YALU
Ezra 5 in the YAPE
Ezra 5 in the YBVTP
Ezra 5 in the ZBP