Genesis 17 (BOLCB)

1 Ibulaamu bwe yaweza emyaka kyenda mu mwenda, MUKAMA n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna, tambulira mu maaso gange obe nga toliiko kya kunenyezebwa. 2 Ndikola endagaano yange naawe era ndikwaliza ddala nnyo.” 3 Awo Ibulaamu n’avuunama; Katonda n’amugamba nti, 4 “Laba, ndikola naawe endagaano, era onoobeeranga kitaawe w’amawanga mangi. 5 Erinnya lyo tokyayitibwa Ibulaamu, wabula onooyitibwanga Ibulayimu, kubanga nkufudde kitaawe w’amawanga mangi. 6 Ndikwaza nnyo nnyini; era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe. 7 Era ndituukiriza endagaano yange naawe, n’ezzadde lyo mbeere Katonda wo era Katonda w’ezzadde lyo eririddawo. Endagaano eno teriggwaawo emirembe n’emirembe. 8 Era ndikuwa ggwe n’ezzadde lyo eririddawo ensi mw’obadde omusenze, ensi yonna eya Kanani, okuba eyiyo emirembe gyonna; era ndiba Katonda waabwe.” 9 Awo Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Ggwe ky’olina okukola kwe kukwata endagaano yange, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo emirembe gyabwe gyonna. 10 Eno y’endagaano yange naawe n’ezzadde lyo eririddawo, gy’onookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga. 11 Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe. 12 Buli mwana owoobulenzi anaawezanga ennaku omunaana ez’obukulu mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna anaakomolebwanga, 13 oyo azaaliddwa mu nnyumba yo oba gw’oguze n’ensimbi zo okuva ku munnaggwanga anaakomolebwanga. Endagaano yange eteriggwaawo eneebanga mu mubiri gwo. 14 Omwana owoobulenzi yenna atali mukomole, atakomolebbwa kikuta kya mubiri gwe, taabalibwenga mu bantu be, aba amenye endagaano yange.” 15 Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Era Salaayi mukazi wo, tokyamuyita Salaayi, erinnya lye linaabanga Saala. 16 Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja w’amawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye.” 17 Awo Ibulayimu n’avuunama n’aseka, n’agamba munda ye nti, “Omwana alizaalirwa oyo eyaakamala emyaka ekikumi? Saala ow’emyaka ekyenda alizaala omwana?” 18 Ibulayimu n’agamba Katonda nti, “Isimayiri abeerenga mulamu mu maaso go!” 19 Katonda n’amugamba nti, “Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana owoobulenzi, olimutuuma erinnya Isaaka. Ndinyweza endagaano yange naye okuba endagaano etaliggwaawo ku zadde lye eririddawo. 20 Ku Isimayiri nkuwulidde: Laba, ndimuwa omukisa, alyeyongera, ndimwaliza ddala nnyo, aliba jjajja w’abalangira kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga ery’amaanyi. 21 Kyokka ndinyweza endagaano yange ne Isaaka, Saala gw’alikuzaalira mu kiseera nga kino omwaka ogujja.” 22 Katonda bwe yamala okwogera naye, Ibulayimu n’ava we yali. 23 Awo Ibulayimu n’atwala Isimayiri mutabani we n’abaddu bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze, buli musajja yenna mu nnyumba ya Ibulayimu n’akomolwa buli omu ekikuta ky’omubiri gwe ku lunaku olwo lwennyini, nga Katonda bwe yamugamba. 24 Ibulayimu yali aweza emyaka kyenda mu mwenda bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. 25 Ne Isimayiri mutabani we yali wa myaka kkumi n’esatu bwe yakomolebwa ekikuta ky’omubiri gwe. 26 Ku lunaku olwo lwennyini Ibulayimu ne mutabani we Isimayiri lwe baakomolebwa. 27 N’abasajja bonna mu nnyumba y’abo abazaalirwamu n’abo abaagulibwa n’ensimbi ze okuva eri munnaggwanga, baakomolebwa wamu naye.

In Other Versions

Genesis 17 in the ANGEFD

Genesis 17 in the ANTPNG2D

Genesis 17 in the AS21

Genesis 17 in the BAGH

Genesis 17 in the BBPNG

Genesis 17 in the BBT1E

Genesis 17 in the BDS

Genesis 17 in the BEV

Genesis 17 in the BHAD

Genesis 17 in the BIB

Genesis 17 in the BLPT

Genesis 17 in the BNT

Genesis 17 in the BNTABOOT

Genesis 17 in the BNTLV

Genesis 17 in the BOATCB

Genesis 17 in the BOATCB2

Genesis 17 in the BOBCV

Genesis 17 in the BOCNT

Genesis 17 in the BOECS

Genesis 17 in the BOGWICC

Genesis 17 in the BOHCB

Genesis 17 in the BOHCV

Genesis 17 in the BOHLNT

Genesis 17 in the BOHNTLTAL

Genesis 17 in the BOICB

Genesis 17 in the BOILNTAP

Genesis 17 in the BOITCV

Genesis 17 in the BOKCV

Genesis 17 in the BOKCV2

Genesis 17 in the BOKHWOG

Genesis 17 in the BOKSSV

Genesis 17 in the BOLCB2

Genesis 17 in the BOMCV

Genesis 17 in the BONAV

Genesis 17 in the BONCB

Genesis 17 in the BONLT

Genesis 17 in the BONUT2

Genesis 17 in the BOPLNT

Genesis 17 in the BOSCB

Genesis 17 in the BOSNC

Genesis 17 in the BOTLNT

Genesis 17 in the BOVCB

Genesis 17 in the BOYCB

Genesis 17 in the BPBB

Genesis 17 in the BPH

Genesis 17 in the BSB

Genesis 17 in the CCB

Genesis 17 in the CUV

Genesis 17 in the CUVS

Genesis 17 in the DBT

Genesis 17 in the DGDNT

Genesis 17 in the DHNT

Genesis 17 in the DNT

Genesis 17 in the ELBE

Genesis 17 in the EMTV

Genesis 17 in the ESV

Genesis 17 in the FBV

Genesis 17 in the FEB

Genesis 17 in the GGMNT

Genesis 17 in the GNT

Genesis 17 in the HARY

Genesis 17 in the HNT

Genesis 17 in the IRVA

Genesis 17 in the IRVB

Genesis 17 in the IRVG

Genesis 17 in the IRVH

Genesis 17 in the IRVK

Genesis 17 in the IRVM

Genesis 17 in the IRVM2

Genesis 17 in the IRVO

Genesis 17 in the IRVP

Genesis 17 in the IRVT

Genesis 17 in the IRVT2

Genesis 17 in the IRVU

Genesis 17 in the ISVN

Genesis 17 in the JSNT

Genesis 17 in the KAPI

Genesis 17 in the KBT1ETNIK

Genesis 17 in the KBV

Genesis 17 in the KJV

Genesis 17 in the KNFD

Genesis 17 in the LBA

Genesis 17 in the LBLA

Genesis 17 in the LNT

Genesis 17 in the LSV

Genesis 17 in the MAAL

Genesis 17 in the MBV

Genesis 17 in the MBV2

Genesis 17 in the MHNT

Genesis 17 in the MKNFD

Genesis 17 in the MNG

Genesis 17 in the MNT

Genesis 17 in the MNT2

Genesis 17 in the MRS1T

Genesis 17 in the NAA

Genesis 17 in the NASB

Genesis 17 in the NBLA

Genesis 17 in the NBS

Genesis 17 in the NBVTP

Genesis 17 in the NET2

Genesis 17 in the NIV11

Genesis 17 in the NNT

Genesis 17 in the NNT2

Genesis 17 in the NNT3

Genesis 17 in the PDDPT

Genesis 17 in the PFNT

Genesis 17 in the RMNT

Genesis 17 in the SBIAS

Genesis 17 in the SBIBS

Genesis 17 in the SBIBS2

Genesis 17 in the SBICS

Genesis 17 in the SBIDS

Genesis 17 in the SBIGS

Genesis 17 in the SBIHS

Genesis 17 in the SBIIS

Genesis 17 in the SBIIS2

Genesis 17 in the SBIIS3

Genesis 17 in the SBIKS

Genesis 17 in the SBIKS2

Genesis 17 in the SBIMS

Genesis 17 in the SBIOS

Genesis 17 in the SBIPS

Genesis 17 in the SBISS

Genesis 17 in the SBITS

Genesis 17 in the SBITS2

Genesis 17 in the SBITS3

Genesis 17 in the SBITS4

Genesis 17 in the SBIUS

Genesis 17 in the SBIVS

Genesis 17 in the SBT

Genesis 17 in the SBT1E

Genesis 17 in the SCHL

Genesis 17 in the SNT

Genesis 17 in the SUSU

Genesis 17 in the SUSU2

Genesis 17 in the SYNO

Genesis 17 in the TBIAOTANT

Genesis 17 in the TBT1E

Genesis 17 in the TBT1E2

Genesis 17 in the TFTIP

Genesis 17 in the TFTU

Genesis 17 in the TGNTATF3T

Genesis 17 in the THAI

Genesis 17 in the TNFD

Genesis 17 in the TNT

Genesis 17 in the TNTIK

Genesis 17 in the TNTIL

Genesis 17 in the TNTIN

Genesis 17 in the TNTIP

Genesis 17 in the TNTIZ

Genesis 17 in the TOMA

Genesis 17 in the TTENT

Genesis 17 in the UBG

Genesis 17 in the UGV

Genesis 17 in the UGV2

Genesis 17 in the UGV3

Genesis 17 in the VBL

Genesis 17 in the VDCC

Genesis 17 in the YALU

Genesis 17 in the YAPE

Genesis 17 in the YBVTP

Genesis 17 in the ZBP