Genesis 25 (BOLCB)
1 Ibulayimu n’awasa omukazi omulala erinnya lye Ketula. 2 Yamuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki ne Suwa. 3 Yokusaani n’azaala Seeba ne Dedani. Dedani n’azaala Asulimu, ne Letusimu ne Leumimu. 4 Batabani ba Midiyaani baali Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida ne Eruda. Abo bonna be baana n’abazzukulu ba Ketula. 5 Ibulayimu yawa Isaaka byonna bye yalina. 6 Naye bo abaana b’abaweereza be n’abawa birabo, n’abasiibula bwe yali ng’akyali mulamu bagende ebuvanjuba mu nsi ey’ebuvanjuba; baviire mutabani we Isaaka. 7 Ibulayimu yawangaala emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano. 8 Ibulayimu yafa ng’akaddiyidde ddala, nga musajja awangaalidde ddala obulungi. 9 Batabani be Isaaka ne Isimayiri ne bamuziika mu mpuku ey’e Makupeera, mu nnimiro ya Efulooni, mutabani wa Zokali Omukiiti, ebuvanjuba bwa Mamule; 10 ennimiro Ibulayimu gye yagula ku Bakiiti. Omwo Ibulayimu mwe yaziikibwa awali Saala mukazi we. 11 Ibulayimu bwe yafa, Katonda n’awa mutabani we Isaaka omukisa, Isaaka n’abeera e Beerirakayiroyi. 12 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isimayiri mutabani wa Ibulayimu eyazaalibwa Agali Omumisiri, omuweereza wa Saala omuwala. 13 Gano ge mannya gaabwe nga bwe baddiŋŋanwako: Nebayoosi, omubereberye wa Isimayiri, ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 14 ne Misuma, ne Duma, ne Massa, 15 ne Kadadi, ne Teema, ne Yetuli, ne Nafisi ne Kedema. 16 Abo be batabani ba Isimayiri, era ago ge mannya gaabwe, mu byalo ne mu bibuga byabwe mwe baabeeranga, abafuzi kkumi na babiri buli omu n’eggwanga lye. 17 Isimayiri yafa ng’awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu n’atwalibwa mu babe. 18 Abantu be baatuula okuviira ddala mu Kavira ne batuuka ku Ssuuli okuliraana Misiri ku luuyi olwa Bwasuli. Ennaku zaabwe zonna baawalananga baganda baabwe. 19 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Isaaka, mutabani wa Ibulayimu. Ibulayimu yazaala Isaaka. 20 Isaaka yalina emyaka amakumi ana, we yawasiza muwala wa Besweri Omusuuli ow’e Padanalaamu, eyayitibwanga Lebbeeka mwannyina wa Labbaani. 21 Isaaka n’asaba MUKAMA ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, MUKAMA n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto. 22 Abaana bombi ne bagulumbira mu lubuto lwe, Lebbeeka n’agamba nti, “Obanga kiri bwe kityo, lwaki mba omulamu?” Awo n’agenda ne yeebuuza ku MUKAMA. 23 MUKAMA n’amuddamu nti,“Mu lubuto lwo mulimu amawanga abiri,abantu ababiri b’olizaala balibeera ba njawulo,omu alibeera w’amaanyi okusinga munne,era omukulu yaaliweereza omuto.” 24 Ennaku ez’okuzaala bwe zaatuuka, laba, n’azaala abalongo nga babulenzi. 25 Eyasooka bwe yavaayo nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ng’ekyambalo eky’ebyoya. Kyebaava bamutuuma Esawu. 26 Oluvannyuma ne muganda we n’azaalibwa, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; kyebaava bamuyita Yakobo. Isaaka yalina emyaka nkaaga Lebbeeka we yazaalira abaana abo. 27 Abalenzi ne bakula, Esawu n’aba muyizzi lukulwe, omuntu ow’oku ttale. Naye ye Yakobo yali musajja musirise ng’asigala waka. 28 Isaaka n’ayagala Esawu kubanga yalyanga ku muyiggo gwe, naye Lebbeeka ye n’ayagala Yakobo. 29 Lumu Yakobo yali afumba enva, Esawu n’ajja ng’ava ku ttale; enjala ng’emuluma nnyo. 30 Esawu n’agamba Yakobo nti, “Mpa mpute ku nva ezo, kubanga enjala ejula kunzita.” Kyeyava ayitibwa Edomu. 31 Yakobo n’amuddamu nti, “Sooka onguze obukulu bwo.” 32 Esawu n’agamba nti, “Laba Ndikumpi n’okufa, obukulu bungasa ki?” 33 Yakobo n’addamu nti, “Sooka ondayirire.” Awo Esawu n’amulayirira, olwo n’aguza Yakobo obukulu bwe. 34 Yakobo n’alyoka awa Esawu emmere n’enva, n’alya n’anywa, n’agolokoka n’agenda.Bw’atyo Esawu n’anyooma obukulu bwe.
In Other Versions
Genesis 25 in the ANGEFD
Genesis 25 in the ANTPNG2D
Genesis 25 in the AS21
Genesis 25 in the BAGH
Genesis 25 in the BBPNG
Genesis 25 in the BBT1E
Genesis 25 in the BDS
Genesis 25 in the BEV
Genesis 25 in the BHAD
Genesis 25 in the BIB
Genesis 25 in the BLPT
Genesis 25 in the BNT
Genesis 25 in the BNTABOOT
Genesis 25 in the BNTLV
Genesis 25 in the BOATCB
Genesis 25 in the BOATCB2
Genesis 25 in the BOBCV
Genesis 25 in the BOCNT
Genesis 25 in the BOECS
Genesis 25 in the BOGWICC
Genesis 25 in the BOHCB
Genesis 25 in the BOHCV
Genesis 25 in the BOHLNT
Genesis 25 in the BOHNTLTAL
Genesis 25 in the BOICB
Genesis 25 in the BOILNTAP
Genesis 25 in the BOITCV
Genesis 25 in the BOKCV
Genesis 25 in the BOKCV2
Genesis 25 in the BOKHWOG
Genesis 25 in the BOKSSV
Genesis 25 in the BOLCB2
Genesis 25 in the BOMCV
Genesis 25 in the BONAV
Genesis 25 in the BONCB
Genesis 25 in the BONLT
Genesis 25 in the BONUT2
Genesis 25 in the BOPLNT
Genesis 25 in the BOSCB
Genesis 25 in the BOSNC
Genesis 25 in the BOTLNT
Genesis 25 in the BOVCB
Genesis 25 in the BOYCB
Genesis 25 in the BPBB
Genesis 25 in the BPH
Genesis 25 in the BSB
Genesis 25 in the CCB
Genesis 25 in the CUV
Genesis 25 in the CUVS
Genesis 25 in the DBT
Genesis 25 in the DGDNT
Genesis 25 in the DHNT
Genesis 25 in the DNT
Genesis 25 in the ELBE
Genesis 25 in the EMTV
Genesis 25 in the ESV
Genesis 25 in the FBV
Genesis 25 in the FEB
Genesis 25 in the GGMNT
Genesis 25 in the GNT
Genesis 25 in the HARY
Genesis 25 in the HNT
Genesis 25 in the IRVA
Genesis 25 in the IRVB
Genesis 25 in the IRVG
Genesis 25 in the IRVH
Genesis 25 in the IRVK
Genesis 25 in the IRVM
Genesis 25 in the IRVM2
Genesis 25 in the IRVO
Genesis 25 in the IRVP
Genesis 25 in the IRVT
Genesis 25 in the IRVT2
Genesis 25 in the IRVU
Genesis 25 in the ISVN
Genesis 25 in the JSNT
Genesis 25 in the KAPI
Genesis 25 in the KBT1ETNIK
Genesis 25 in the KBV
Genesis 25 in the KJV
Genesis 25 in the KNFD
Genesis 25 in the LBA
Genesis 25 in the LBLA
Genesis 25 in the LNT
Genesis 25 in the LSV
Genesis 25 in the MAAL
Genesis 25 in the MBV
Genesis 25 in the MBV2
Genesis 25 in the MHNT
Genesis 25 in the MKNFD
Genesis 25 in the MNG
Genesis 25 in the MNT
Genesis 25 in the MNT2
Genesis 25 in the MRS1T
Genesis 25 in the NAA
Genesis 25 in the NASB
Genesis 25 in the NBLA
Genesis 25 in the NBS
Genesis 25 in the NBVTP
Genesis 25 in the NET2
Genesis 25 in the NIV11
Genesis 25 in the NNT
Genesis 25 in the NNT2
Genesis 25 in the NNT3
Genesis 25 in the PDDPT
Genesis 25 in the PFNT
Genesis 25 in the RMNT
Genesis 25 in the SBIAS
Genesis 25 in the SBIBS
Genesis 25 in the SBIBS2
Genesis 25 in the SBICS
Genesis 25 in the SBIDS
Genesis 25 in the SBIGS
Genesis 25 in the SBIHS
Genesis 25 in the SBIIS
Genesis 25 in the SBIIS2
Genesis 25 in the SBIIS3
Genesis 25 in the SBIKS
Genesis 25 in the SBIKS2
Genesis 25 in the SBIMS
Genesis 25 in the SBIOS
Genesis 25 in the SBIPS
Genesis 25 in the SBISS
Genesis 25 in the SBITS
Genesis 25 in the SBITS2
Genesis 25 in the SBITS3
Genesis 25 in the SBITS4
Genesis 25 in the SBIUS
Genesis 25 in the SBIVS
Genesis 25 in the SBT
Genesis 25 in the SBT1E
Genesis 25 in the SCHL
Genesis 25 in the SNT
Genesis 25 in the SUSU
Genesis 25 in the SUSU2
Genesis 25 in the SYNO
Genesis 25 in the TBIAOTANT
Genesis 25 in the TBT1E
Genesis 25 in the TBT1E2
Genesis 25 in the TFTIP
Genesis 25 in the TFTU
Genesis 25 in the TGNTATF3T
Genesis 25 in the THAI
Genesis 25 in the TNFD
Genesis 25 in the TNT
Genesis 25 in the TNTIK
Genesis 25 in the TNTIL
Genesis 25 in the TNTIN
Genesis 25 in the TNTIP
Genesis 25 in the TNTIZ
Genesis 25 in the TOMA
Genesis 25 in the TTENT
Genesis 25 in the UBG
Genesis 25 in the UGV
Genesis 25 in the UGV2
Genesis 25 in the UGV3
Genesis 25 in the VBL
Genesis 25 in the VDCC
Genesis 25 in the YALU
Genesis 25 in the YAPE
Genesis 25 in the YBVTP
Genesis 25 in the ZBP