Genesis 3 (BOLCB)

1 Kale nno omusota gwali mukalabakalaba okukira ensolo zonna ez’omu nsiko, MUKAMA Katonda ze yatonda. Ne gugamba omukazi nti, “Kazzi Katonda yagamba nti, ‘Temulyanga ku muti gwonna ogw’omu nnimiro!’ ” 2 Omukazi n’addamu omusota nti, “Tulya ku buli muti ogw’omu nnimiro, 3 kyokka Katonda yatulagira nti, ‘Temulyanga ku kibala ky’omuti oguli wakati mu nnimiro, wadde okugukwatako, muleme okufa.’ ” 4 Naye omusota ne gugamba omukazi nti, “Temugenda kufa. 5 Kubanga Katonda amanyi nga lwe muligulyako amaaso gammwe lwe galizibuka, era mulifaanana nga ye, okumanyanga ekirungi n’ekibi.” 6 Awo omukazi bwe yalaba ng’omuti mulungi nga gusanyusa okutunulako era gwegombebwa okuleeta amagezi, n’anoga ekibala kyagwo n’alya; n’awaako ne bba naye n’alya. 7 Awo amaaso gaabwe bombi ne gazibuka, ne bategeera nga baali bwereere; ne baluka amalagala g’emiti ne beekolera ebyokwambala. 8 Awo ne bawulira eddoboozi lya MUKAMA Katonda ng’atambula mu nnimiro, mu budde obuweeweevu. Omusajja n’omukazi ne beekweka mu miti MUKAMA Katonda aleme okubalaba. 9 Naye MUKAMA Katonda n’ayita omusajja nti, “Oli ludda wa?” 10 N’addamu nti, “Mpulidde eddoboozi lyo mu nnimiro, ne ntya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.” 11 N’amubuuza nti, “Ani akubuulidde nti oli bwereere? Olidde ku muti gwe nakulagira obutagulyangako?” 12 Omusajja n’addamu nti, “Omukazi gwe wampa okubeeranga nange y’ampadde ekibala ne ndya.” 13 MUKAMA Katonda kwe kubuuza omukazi nti, “Kiki kino ky’okoze?”Omukazi n’addamu nti, “Omusota gwe gunsenzesenze ne ndya.” 14 MUKAMA Katonda n’agamba omusota nti, Kubanga okoze kinookolimiddwa okukira ensolo zonna ez’awakan’ez’omu nsiko,oneekululiranga ku lubuto lwoera onoolyanga nfuufuennaku zonna ez’obulamu bwo. 15 Nteeka obulabewakati wo n’omukazi,ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi;ezzadde lye linaakubetentanga omutwe,naawe onoolibojjanga ekisinziiro. 16 N’agamba omukazi nti,“Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto,onoozaaliranga mu bulumi;musajja wo anaakukoleranga bye weetaagakyokka anaakufuganga.” 17 N’agamba Adamu nti, “Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n’olya ku muti gwe nakulagira obutagulyangako,“ensi ekolimiddwa ku lulwo;mu ntuuyo zo mw’onoofuniranga ekyokulyaennaku zonna ez’obulamu bwo. 18 Ensi eneekumerezanga amaggwa n’amatovu,onoolyanga ebibala eby’omu nnimiro. 19 Mu ntuuyo zomw’onoggyanga ekyokulya,okutuusa lw’olidda mu ttaka mwe wava,kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw’olidda.” 20 Omusajja n’atuuma omukazi erinnya Kaawa, oyo ye nnyina w’abalamu bonna. 21 MUKAMA Katonda n’akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo eby’amaliba n’abambaza. 22 Awo MUKAMA Katonda n’agamba nti, “Laba omuntu afuuse ng’omu ku ffe okumanyanga ekirungi n’ekibi; kale kaakano talwa kugolola mukono gwe n’anoga ku muti ogw’obulamu n’alya, n’awangaala emirembe gyonna.” 23 Bw’atyo MUKAMA Katonda n’agoba omuntu mu nnimiro Adeni agende alimenga ettaka mwe yaggyibwa. 24 Bwe yamala okugobamu omuntu, n’ateekamu Bakerubi n’ekitala ekimyansa eky’obwogi ku buli ludda okukuuma ekkubo erigenda ku muti ogw’obulamu.

In Other Versions

Genesis 3 in the ANGEFD

Genesis 3 in the ANTPNG2D

Genesis 3 in the AS21

Genesis 3 in the BAGH

Genesis 3 in the BBPNG

Genesis 3 in the BBT1E

Genesis 3 in the BDS

Genesis 3 in the BEV

Genesis 3 in the BHAD

Genesis 3 in the BIB

Genesis 3 in the BLPT

Genesis 3 in the BNT

Genesis 3 in the BNTABOOT

Genesis 3 in the BNTLV

Genesis 3 in the BOATCB

Genesis 3 in the BOATCB2

Genesis 3 in the BOBCV

Genesis 3 in the BOCNT

Genesis 3 in the BOECS

Genesis 3 in the BOGWICC

Genesis 3 in the BOHCB

Genesis 3 in the BOHCV

Genesis 3 in the BOHLNT

Genesis 3 in the BOHNTLTAL

Genesis 3 in the BOICB

Genesis 3 in the BOILNTAP

Genesis 3 in the BOITCV

Genesis 3 in the BOKCV

Genesis 3 in the BOKCV2

Genesis 3 in the BOKHWOG

Genesis 3 in the BOKSSV

Genesis 3 in the BOLCB2

Genesis 3 in the BOMCV

Genesis 3 in the BONAV

Genesis 3 in the BONCB

Genesis 3 in the BONLT

Genesis 3 in the BONUT2

Genesis 3 in the BOPLNT

Genesis 3 in the BOSCB

Genesis 3 in the BOSNC

Genesis 3 in the BOTLNT

Genesis 3 in the BOVCB

Genesis 3 in the BOYCB

Genesis 3 in the BPBB

Genesis 3 in the BPH

Genesis 3 in the BSB

Genesis 3 in the CCB

Genesis 3 in the CUV

Genesis 3 in the CUVS

Genesis 3 in the DBT

Genesis 3 in the DGDNT

Genesis 3 in the DHNT

Genesis 3 in the DNT

Genesis 3 in the ELBE

Genesis 3 in the EMTV

Genesis 3 in the ESV

Genesis 3 in the FBV

Genesis 3 in the FEB

Genesis 3 in the GGMNT

Genesis 3 in the GNT

Genesis 3 in the HARY

Genesis 3 in the HNT

Genesis 3 in the IRVA

Genesis 3 in the IRVB

Genesis 3 in the IRVG

Genesis 3 in the IRVH

Genesis 3 in the IRVK

Genesis 3 in the IRVM

Genesis 3 in the IRVM2

Genesis 3 in the IRVO

Genesis 3 in the IRVP

Genesis 3 in the IRVT

Genesis 3 in the IRVT2

Genesis 3 in the IRVU

Genesis 3 in the ISVN

Genesis 3 in the JSNT

Genesis 3 in the KAPI

Genesis 3 in the KBT1ETNIK

Genesis 3 in the KBV

Genesis 3 in the KJV

Genesis 3 in the KNFD

Genesis 3 in the LBA

Genesis 3 in the LBLA

Genesis 3 in the LNT

Genesis 3 in the LSV

Genesis 3 in the MAAL

Genesis 3 in the MBV

Genesis 3 in the MBV2

Genesis 3 in the MHNT

Genesis 3 in the MKNFD

Genesis 3 in the MNG

Genesis 3 in the MNT

Genesis 3 in the MNT2

Genesis 3 in the MRS1T

Genesis 3 in the NAA

Genesis 3 in the NASB

Genesis 3 in the NBLA

Genesis 3 in the NBS

Genesis 3 in the NBVTP

Genesis 3 in the NET2

Genesis 3 in the NIV11

Genesis 3 in the NNT

Genesis 3 in the NNT2

Genesis 3 in the NNT3

Genesis 3 in the PDDPT

Genesis 3 in the PFNT

Genesis 3 in the RMNT

Genesis 3 in the SBIAS

Genesis 3 in the SBIBS

Genesis 3 in the SBIBS2

Genesis 3 in the SBICS

Genesis 3 in the SBIDS

Genesis 3 in the SBIGS

Genesis 3 in the SBIHS

Genesis 3 in the SBIIS

Genesis 3 in the SBIIS2

Genesis 3 in the SBIIS3

Genesis 3 in the SBIKS

Genesis 3 in the SBIKS2

Genesis 3 in the SBIMS

Genesis 3 in the SBIOS

Genesis 3 in the SBIPS

Genesis 3 in the SBISS

Genesis 3 in the SBITS

Genesis 3 in the SBITS2

Genesis 3 in the SBITS3

Genesis 3 in the SBITS4

Genesis 3 in the SBIUS

Genesis 3 in the SBIVS

Genesis 3 in the SBT

Genesis 3 in the SBT1E

Genesis 3 in the SCHL

Genesis 3 in the SNT

Genesis 3 in the SUSU

Genesis 3 in the SUSU2

Genesis 3 in the SYNO

Genesis 3 in the TBIAOTANT

Genesis 3 in the TBT1E

Genesis 3 in the TBT1E2

Genesis 3 in the TFTIP

Genesis 3 in the TFTU

Genesis 3 in the TGNTATF3T

Genesis 3 in the THAI

Genesis 3 in the TNFD

Genesis 3 in the TNT

Genesis 3 in the TNTIK

Genesis 3 in the TNTIL

Genesis 3 in the TNTIN

Genesis 3 in the TNTIP

Genesis 3 in the TNTIZ

Genesis 3 in the TOMA

Genesis 3 in the TTENT

Genesis 3 in the UBG

Genesis 3 in the UGV

Genesis 3 in the UGV2

Genesis 3 in the UGV3

Genesis 3 in the VBL

Genesis 3 in the VDCC

Genesis 3 in the YALU

Genesis 3 in the YAPE

Genesis 3 in the YBVTP

Genesis 3 in the ZBP