Genesis 4 (BOLCB)
1 Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “MUKAMA annyambye nzadde omuntu.” 2 Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi.Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi. 3 Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri MUKAMA. 4 Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. MUKAMA n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. 5 Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa. 6 MUKAMA n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa? 7 Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.” 8 Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta. 9 Awo MUKAMA n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?”N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?” 10 MUKAMA n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira. 11 Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse. 12 Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.” 13 Kayini n’agamba MUKAMA nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola. 14 Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.” 15 Awo MUKAMA n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” Awo MUKAMA n’ateeka akabonero ku Kayini, buli amulaba aleme okumutta. 16 Kayini n’alyoka ava mu maaso ga MUKAMA, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni. 17 Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka. 18 Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka. 19 Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira. 20 Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda. 21 Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere. 22 Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama. 23 Lameka n’agamba bakazi be nti,“Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange;mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba;nzise omusajja olw’okunfumita,nga muvubuka, olw’okunkuba. 24 Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu,mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.” 25 Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.” 26 Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi.Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya MUKAMA.
In Other Versions
Genesis 4 in the ANGEFD
Genesis 4 in the ANTPNG2D
Genesis 4 in the AS21
Genesis 4 in the BAGH
Genesis 4 in the BBPNG
Genesis 4 in the BBT1E
Genesis 4 in the BDS
Genesis 4 in the BEV
Genesis 4 in the BHAD
Genesis 4 in the BIB
Genesis 4 in the BLPT
Genesis 4 in the BNT
Genesis 4 in the BNTABOOT
Genesis 4 in the BNTLV
Genesis 4 in the BOATCB
Genesis 4 in the BOATCB2
Genesis 4 in the BOBCV
Genesis 4 in the BOCNT
Genesis 4 in the BOECS
Genesis 4 in the BOGWICC
Genesis 4 in the BOHCB
Genesis 4 in the BOHCV
Genesis 4 in the BOHLNT
Genesis 4 in the BOHNTLTAL
Genesis 4 in the BOICB
Genesis 4 in the BOILNTAP
Genesis 4 in the BOITCV
Genesis 4 in the BOKCV
Genesis 4 in the BOKCV2
Genesis 4 in the BOKHWOG
Genesis 4 in the BOKSSV
Genesis 4 in the BOLCB2
Genesis 4 in the BOMCV
Genesis 4 in the BONAV
Genesis 4 in the BONCB
Genesis 4 in the BONLT
Genesis 4 in the BONUT2
Genesis 4 in the BOPLNT
Genesis 4 in the BOSCB
Genesis 4 in the BOSNC
Genesis 4 in the BOTLNT
Genesis 4 in the BOVCB
Genesis 4 in the BOYCB
Genesis 4 in the BPBB
Genesis 4 in the BPH
Genesis 4 in the BSB
Genesis 4 in the CCB
Genesis 4 in the CUV
Genesis 4 in the CUVS
Genesis 4 in the DBT
Genesis 4 in the DGDNT
Genesis 4 in the DHNT
Genesis 4 in the DNT
Genesis 4 in the ELBE
Genesis 4 in the EMTV
Genesis 4 in the ESV
Genesis 4 in the FBV
Genesis 4 in the FEB
Genesis 4 in the GGMNT
Genesis 4 in the GNT
Genesis 4 in the HARY
Genesis 4 in the HNT
Genesis 4 in the IRVA
Genesis 4 in the IRVB
Genesis 4 in the IRVG
Genesis 4 in the IRVH
Genesis 4 in the IRVK
Genesis 4 in the IRVM
Genesis 4 in the IRVM2
Genesis 4 in the IRVO
Genesis 4 in the IRVP
Genesis 4 in the IRVT
Genesis 4 in the IRVT2
Genesis 4 in the IRVU
Genesis 4 in the ISVN
Genesis 4 in the JSNT
Genesis 4 in the KAPI
Genesis 4 in the KBT1ETNIK
Genesis 4 in the KBV
Genesis 4 in the KJV
Genesis 4 in the KNFD
Genesis 4 in the LBA
Genesis 4 in the LBLA
Genesis 4 in the LNT
Genesis 4 in the LSV
Genesis 4 in the MAAL
Genesis 4 in the MBV
Genesis 4 in the MBV2
Genesis 4 in the MHNT
Genesis 4 in the MKNFD
Genesis 4 in the MNG
Genesis 4 in the MNT
Genesis 4 in the MNT2
Genesis 4 in the MRS1T
Genesis 4 in the NAA
Genesis 4 in the NASB
Genesis 4 in the NBLA
Genesis 4 in the NBS
Genesis 4 in the NBVTP
Genesis 4 in the NET2
Genesis 4 in the NIV11
Genesis 4 in the NNT
Genesis 4 in the NNT2
Genesis 4 in the NNT3
Genesis 4 in the PDDPT
Genesis 4 in the PFNT
Genesis 4 in the RMNT
Genesis 4 in the SBIAS
Genesis 4 in the SBIBS
Genesis 4 in the SBIBS2
Genesis 4 in the SBICS
Genesis 4 in the SBIDS
Genesis 4 in the SBIGS
Genesis 4 in the SBIHS
Genesis 4 in the SBIIS
Genesis 4 in the SBIIS2
Genesis 4 in the SBIIS3
Genesis 4 in the SBIKS
Genesis 4 in the SBIKS2
Genesis 4 in the SBIMS
Genesis 4 in the SBIOS
Genesis 4 in the SBIPS
Genesis 4 in the SBISS
Genesis 4 in the SBITS
Genesis 4 in the SBITS2
Genesis 4 in the SBITS3
Genesis 4 in the SBITS4
Genesis 4 in the SBIUS
Genesis 4 in the SBIVS
Genesis 4 in the SBT
Genesis 4 in the SBT1E
Genesis 4 in the SCHL
Genesis 4 in the SNT
Genesis 4 in the SUSU
Genesis 4 in the SUSU2
Genesis 4 in the SYNO
Genesis 4 in the TBIAOTANT
Genesis 4 in the TBT1E
Genesis 4 in the TBT1E2
Genesis 4 in the TFTIP
Genesis 4 in the TFTU
Genesis 4 in the TGNTATF3T
Genesis 4 in the THAI
Genesis 4 in the TNFD
Genesis 4 in the TNT
Genesis 4 in the TNTIK
Genesis 4 in the TNTIL
Genesis 4 in the TNTIN
Genesis 4 in the TNTIP
Genesis 4 in the TNTIZ
Genesis 4 in the TOMA
Genesis 4 in the TTENT
Genesis 4 in the UBG
Genesis 4 in the UGV
Genesis 4 in the UGV2
Genesis 4 in the UGV3
Genesis 4 in the VBL
Genesis 4 in the VDCC
Genesis 4 in the YALU
Genesis 4 in the YAPE
Genesis 4 in the YBVTP
Genesis 4 in the ZBP