Isaiah 36 (BOLCB)
1 Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba. 2 Awo kabaka w’e Bwasuli n’asindika Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko okuva e Lakisi n’eggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono n’asimba amakanda ku mabbali g’omukutu gw’amazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro y’Omwozi w’Engoye. 3 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana. 4 Labusake n’abagamba nti,“Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki ddala kye weesiga? 5 Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n’amagezi okuwangula olutalo. Ani gwe weesiga olyoke onjemere? 6 Laba weesiga Misiri, ogwo omuggo obuggo, olumuli olubetente, oluyinza okufumita engalo z’omuntu ng’alwesigamyeko: bw’atyo Falaawo, ye kabaka w’e Misiri bw’ayisa bonna abamwesiga.’ 7 Naye bw’onoŋŋamba nti, ‘Twesiga MUKAMA Katonda waffe,’ si ye yali nannyini byoto n’ebifo ebigulumivu Keezeekiya bye yaggyawo n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mu maaso g’ekyoto kino we munaasinzizanga’? 8 “ ‘Kale nno MUKAMA wange Kabaka w’e Bwasuli agamba nti, Ajja kukuwa embalaasi enkumi bbiri bw’obanga ddala olina abanaazeebagala. 9 Mu mbeera eyo gy’olimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali n’embalaasi za Misiri? 10 Ate ekirala olowooza nzize okulumba ensi eno n’okugizikiriza nga MUKAMA si y’andagidde? MUKAMA yaŋŋamba nnumbe ensi eno ngizikirize.’ ” 11 Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.” 12 Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo MUKAMA wange yantumye kubyogera eri mukama wo n’eri ggwe mwekka, so si n’eri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n’okunywa omusulo gwabwe?” 13 Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli. 14 Kabaka agambye bw’ati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya. 15 Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘MUKAMA ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’ 16 “Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye, 17 okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano ne wayini, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu.’ 18 “Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘MUKAMA alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 19 Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange? 20 Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale MUKAMA asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?” 21 Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.” 22 Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.
In Other Versions
Isaiah 36 in the ANGEFD
Isaiah 36 in the ANTPNG2D
Isaiah 36 in the AS21
Isaiah 36 in the BAGH
Isaiah 36 in the BBPNG
Isaiah 36 in the BBT1E
Isaiah 36 in the BDS
Isaiah 36 in the BEV
Isaiah 36 in the BHAD
Isaiah 36 in the BIB
Isaiah 36 in the BLPT
Isaiah 36 in the BNT
Isaiah 36 in the BNTABOOT
Isaiah 36 in the BNTLV
Isaiah 36 in the BOATCB
Isaiah 36 in the BOATCB2
Isaiah 36 in the BOBCV
Isaiah 36 in the BOCNT
Isaiah 36 in the BOECS
Isaiah 36 in the BOGWICC
Isaiah 36 in the BOHCB
Isaiah 36 in the BOHCV
Isaiah 36 in the BOHLNT
Isaiah 36 in the BOHNTLTAL
Isaiah 36 in the BOICB
Isaiah 36 in the BOILNTAP
Isaiah 36 in the BOITCV
Isaiah 36 in the BOKCV
Isaiah 36 in the BOKCV2
Isaiah 36 in the BOKHWOG
Isaiah 36 in the BOKSSV
Isaiah 36 in the BOLCB2
Isaiah 36 in the BOMCV
Isaiah 36 in the BONAV
Isaiah 36 in the BONCB
Isaiah 36 in the BONLT
Isaiah 36 in the BONUT2
Isaiah 36 in the BOPLNT
Isaiah 36 in the BOSCB
Isaiah 36 in the BOSNC
Isaiah 36 in the BOTLNT
Isaiah 36 in the BOVCB
Isaiah 36 in the BOYCB
Isaiah 36 in the BPBB
Isaiah 36 in the BPH
Isaiah 36 in the BSB
Isaiah 36 in the CCB
Isaiah 36 in the CUV
Isaiah 36 in the CUVS
Isaiah 36 in the DBT
Isaiah 36 in the DGDNT
Isaiah 36 in the DHNT
Isaiah 36 in the DNT
Isaiah 36 in the ELBE
Isaiah 36 in the EMTV
Isaiah 36 in the ESV
Isaiah 36 in the FBV
Isaiah 36 in the FEB
Isaiah 36 in the GGMNT
Isaiah 36 in the GNT
Isaiah 36 in the HARY
Isaiah 36 in the HNT
Isaiah 36 in the IRVA
Isaiah 36 in the IRVB
Isaiah 36 in the IRVG
Isaiah 36 in the IRVH
Isaiah 36 in the IRVK
Isaiah 36 in the IRVM
Isaiah 36 in the IRVM2
Isaiah 36 in the IRVO
Isaiah 36 in the IRVP
Isaiah 36 in the IRVT
Isaiah 36 in the IRVT2
Isaiah 36 in the IRVU
Isaiah 36 in the ISVN
Isaiah 36 in the JSNT
Isaiah 36 in the KAPI
Isaiah 36 in the KBT1ETNIK
Isaiah 36 in the KBV
Isaiah 36 in the KJV
Isaiah 36 in the KNFD
Isaiah 36 in the LBA
Isaiah 36 in the LBLA
Isaiah 36 in the LNT
Isaiah 36 in the LSV
Isaiah 36 in the MAAL
Isaiah 36 in the MBV
Isaiah 36 in the MBV2
Isaiah 36 in the MHNT
Isaiah 36 in the MKNFD
Isaiah 36 in the MNG
Isaiah 36 in the MNT
Isaiah 36 in the MNT2
Isaiah 36 in the MRS1T
Isaiah 36 in the NAA
Isaiah 36 in the NASB
Isaiah 36 in the NBLA
Isaiah 36 in the NBS
Isaiah 36 in the NBVTP
Isaiah 36 in the NET2
Isaiah 36 in the NIV11
Isaiah 36 in the NNT
Isaiah 36 in the NNT2
Isaiah 36 in the NNT3
Isaiah 36 in the PDDPT
Isaiah 36 in the PFNT
Isaiah 36 in the RMNT
Isaiah 36 in the SBIAS
Isaiah 36 in the SBIBS
Isaiah 36 in the SBIBS2
Isaiah 36 in the SBICS
Isaiah 36 in the SBIDS
Isaiah 36 in the SBIGS
Isaiah 36 in the SBIHS
Isaiah 36 in the SBIIS
Isaiah 36 in the SBIIS2
Isaiah 36 in the SBIIS3
Isaiah 36 in the SBIKS
Isaiah 36 in the SBIKS2
Isaiah 36 in the SBIMS
Isaiah 36 in the SBIOS
Isaiah 36 in the SBIPS
Isaiah 36 in the SBISS
Isaiah 36 in the SBITS
Isaiah 36 in the SBITS2
Isaiah 36 in the SBITS3
Isaiah 36 in the SBITS4
Isaiah 36 in the SBIUS
Isaiah 36 in the SBIVS
Isaiah 36 in the SBT
Isaiah 36 in the SBT1E
Isaiah 36 in the SCHL
Isaiah 36 in the SNT
Isaiah 36 in the SUSU
Isaiah 36 in the SUSU2
Isaiah 36 in the SYNO
Isaiah 36 in the TBIAOTANT
Isaiah 36 in the TBT1E
Isaiah 36 in the TBT1E2
Isaiah 36 in the TFTIP
Isaiah 36 in the TFTU
Isaiah 36 in the TGNTATF3T
Isaiah 36 in the THAI
Isaiah 36 in the TNFD
Isaiah 36 in the TNT
Isaiah 36 in the TNTIK
Isaiah 36 in the TNTIL
Isaiah 36 in the TNTIN
Isaiah 36 in the TNTIP
Isaiah 36 in the TNTIZ
Isaiah 36 in the TOMA
Isaiah 36 in the TTENT
Isaiah 36 in the UBG
Isaiah 36 in the UGV
Isaiah 36 in the UGV2
Isaiah 36 in the UGV3
Isaiah 36 in the VBL
Isaiah 36 in the VDCC
Isaiah 36 in the YALU
Isaiah 36 in the YAPE
Isaiah 36 in the YBVTP
Isaiah 36 in the ZBP