Isaiah 37 (BOLCB)

1 Awo kabaka Keezeekiya bwe yabiwulira n’ayuza engoye ze n’ayambala ebibukutu n’ayingira mu nnyumba ya MUKAMA. 2 N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi. 3 Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala. 4 Oboolyawo MUKAMA Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, MUKAMA Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.” 5 Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya, 6 Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. 7 Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’ ” 8 Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi. 9 Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti, 10 “Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona? 12 Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu n’abantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba? 13 Ali ludda wa kabaka w’e Kamasi ne kabaka w’e Alupadi ne kabaka w’ekibuga Sefarayimu oba ow’e Keena, oba ow’e Yiva?” 14 Keezeekiya n’aggya ebbaluwa mu mukono gw’ababaka n’agisoma: Keezeekiya n’ayambuka mu nnyumba ya MUKAMA n’agyanjuluza mu maaso ga MUKAMA. 15 N’asaba ne yeegayirira MUKAMA nga agamba nti, 16 “Ayi MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi. 17 Otege okutu kwo Ayi MUKAMA owulire, ozibule amaaso go, Ayi MUKAMA, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu. 18 “Mazima ddala MUKAMA, bakabaka b’e Bwasuli baazisa amawanga gonna n’ensi zaago, 19 ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo z’abantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza. 20 Kale nno, ayi MUKAMA Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe MUKAMA.” 21 Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli, 22 kino kye kigambo kye mmwogeddeko:“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeereraakunyooma era akusekerera.Omuwala wa Yerusaalemiakunyeenyeza omutwe gwe nga bw’odduka. 23 Ani gw’ovumyegw’ovodde?Era ani gw’oyimuyisirizzaako eddoboozi lyo n’okanulira n’amaaso?Omutukuvu wa Isirayiri! 24 Okozesezza abaddu bookuvuma Mukama n’oyogera nti,Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi,ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni;era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu,n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi,era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo,ekibira kyayo ekisinga obunene. 25 Waduula nti wasima enziziera n’onywa n’amazzi mu mawangaera nti ebigere by’abajaasi bobyakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’ 26 “Tewawulira nga nakisalawo dda?Nakiteekateeka dda.Mu biro eby’edda nakiteekateeka;era kaakano nkituukirizza,olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugweokuba ng’entuumo y’amayinja. 27 Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi,ne baterebukane bakeŋŋentererwane baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto,ng’omuddo ogumera ku nnyumbaogwokebwa ne gufa nga tegunnakula. 28 “Naye mmanyi obutuuliro bwoera mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwon’obuswandi bw’ondaga. 29 Kubanga oneereegeddeko,okwepanka kw’okoze nkutuuseeko.Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo,n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo,nkuzzeeyong’opaala mu kkubo lye wajjiramu.” 30 Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti,“Kano ke kabonero akanaakuweebwa:Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka.Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri.Mu mwaka ogwokusatumulirya ku birime byammwe bye musizeera ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu. 31 Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbeemirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala. 32 Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawone ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona,kubanga MUKAMA Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe,yeewaddeyo okukikola. 33 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA ku bikwata ku Kabaka w’e Bwasuli nti,“Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kinowadde okulasayo akasaale.Talikisemberera n’engabonewaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza. 34 Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo.Tajja kuyingira mu kibuga kino,”bw’ayogera MUKAMA. 35 “Ndirwanirira ekibuga kinonkirokole.” 36 Awo malayika wa MUKAMA n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo. 37 Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve. 38 Lumu bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we n’amusikira.

In Other Versions

Isaiah 37 in the ANGEFD

Isaiah 37 in the ANTPNG2D

Isaiah 37 in the AS21

Isaiah 37 in the BAGH

Isaiah 37 in the BBPNG

Isaiah 37 in the BBT1E

Isaiah 37 in the BDS

Isaiah 37 in the BEV

Isaiah 37 in the BHAD

Isaiah 37 in the BIB

Isaiah 37 in the BLPT

Isaiah 37 in the BNT

Isaiah 37 in the BNTABOOT

Isaiah 37 in the BNTLV

Isaiah 37 in the BOATCB

Isaiah 37 in the BOATCB2

Isaiah 37 in the BOBCV

Isaiah 37 in the BOCNT

Isaiah 37 in the BOECS

Isaiah 37 in the BOGWICC

Isaiah 37 in the BOHCB

Isaiah 37 in the BOHCV

Isaiah 37 in the BOHLNT

Isaiah 37 in the BOHNTLTAL

Isaiah 37 in the BOICB

Isaiah 37 in the BOILNTAP

Isaiah 37 in the BOITCV

Isaiah 37 in the BOKCV

Isaiah 37 in the BOKCV2

Isaiah 37 in the BOKHWOG

Isaiah 37 in the BOKSSV

Isaiah 37 in the BOLCB2

Isaiah 37 in the BOMCV

Isaiah 37 in the BONAV

Isaiah 37 in the BONCB

Isaiah 37 in the BONLT

Isaiah 37 in the BONUT2

Isaiah 37 in the BOPLNT

Isaiah 37 in the BOSCB

Isaiah 37 in the BOSNC

Isaiah 37 in the BOTLNT

Isaiah 37 in the BOVCB

Isaiah 37 in the BOYCB

Isaiah 37 in the BPBB

Isaiah 37 in the BPH

Isaiah 37 in the BSB

Isaiah 37 in the CCB

Isaiah 37 in the CUV

Isaiah 37 in the CUVS

Isaiah 37 in the DBT

Isaiah 37 in the DGDNT

Isaiah 37 in the DHNT

Isaiah 37 in the DNT

Isaiah 37 in the ELBE

Isaiah 37 in the EMTV

Isaiah 37 in the ESV

Isaiah 37 in the FBV

Isaiah 37 in the FEB

Isaiah 37 in the GGMNT

Isaiah 37 in the GNT

Isaiah 37 in the HARY

Isaiah 37 in the HNT

Isaiah 37 in the IRVA

Isaiah 37 in the IRVB

Isaiah 37 in the IRVG

Isaiah 37 in the IRVH

Isaiah 37 in the IRVK

Isaiah 37 in the IRVM

Isaiah 37 in the IRVM2

Isaiah 37 in the IRVO

Isaiah 37 in the IRVP

Isaiah 37 in the IRVT

Isaiah 37 in the IRVT2

Isaiah 37 in the IRVU

Isaiah 37 in the ISVN

Isaiah 37 in the JSNT

Isaiah 37 in the KAPI

Isaiah 37 in the KBT1ETNIK

Isaiah 37 in the KBV

Isaiah 37 in the KJV

Isaiah 37 in the KNFD

Isaiah 37 in the LBA

Isaiah 37 in the LBLA

Isaiah 37 in the LNT

Isaiah 37 in the LSV

Isaiah 37 in the MAAL

Isaiah 37 in the MBV

Isaiah 37 in the MBV2

Isaiah 37 in the MHNT

Isaiah 37 in the MKNFD

Isaiah 37 in the MNG

Isaiah 37 in the MNT

Isaiah 37 in the MNT2

Isaiah 37 in the MRS1T

Isaiah 37 in the NAA

Isaiah 37 in the NASB

Isaiah 37 in the NBLA

Isaiah 37 in the NBS

Isaiah 37 in the NBVTP

Isaiah 37 in the NET2

Isaiah 37 in the NIV11

Isaiah 37 in the NNT

Isaiah 37 in the NNT2

Isaiah 37 in the NNT3

Isaiah 37 in the PDDPT

Isaiah 37 in the PFNT

Isaiah 37 in the RMNT

Isaiah 37 in the SBIAS

Isaiah 37 in the SBIBS

Isaiah 37 in the SBIBS2

Isaiah 37 in the SBICS

Isaiah 37 in the SBIDS

Isaiah 37 in the SBIGS

Isaiah 37 in the SBIHS

Isaiah 37 in the SBIIS

Isaiah 37 in the SBIIS2

Isaiah 37 in the SBIIS3

Isaiah 37 in the SBIKS

Isaiah 37 in the SBIKS2

Isaiah 37 in the SBIMS

Isaiah 37 in the SBIOS

Isaiah 37 in the SBIPS

Isaiah 37 in the SBISS

Isaiah 37 in the SBITS

Isaiah 37 in the SBITS2

Isaiah 37 in the SBITS3

Isaiah 37 in the SBITS4

Isaiah 37 in the SBIUS

Isaiah 37 in the SBIVS

Isaiah 37 in the SBT

Isaiah 37 in the SBT1E

Isaiah 37 in the SCHL

Isaiah 37 in the SNT

Isaiah 37 in the SUSU

Isaiah 37 in the SUSU2

Isaiah 37 in the SYNO

Isaiah 37 in the TBIAOTANT

Isaiah 37 in the TBT1E

Isaiah 37 in the TBT1E2

Isaiah 37 in the TFTIP

Isaiah 37 in the TFTU

Isaiah 37 in the TGNTATF3T

Isaiah 37 in the THAI

Isaiah 37 in the TNFD

Isaiah 37 in the TNT

Isaiah 37 in the TNTIK

Isaiah 37 in the TNTIL

Isaiah 37 in the TNTIN

Isaiah 37 in the TNTIP

Isaiah 37 in the TNTIZ

Isaiah 37 in the TOMA

Isaiah 37 in the TTENT

Isaiah 37 in the UBG

Isaiah 37 in the UGV

Isaiah 37 in the UGV2

Isaiah 37 in the UGV3

Isaiah 37 in the VBL

Isaiah 37 in the VDCC

Isaiah 37 in the YALU

Isaiah 37 in the YAPE

Isaiah 37 in the YBVTP

Isaiah 37 in the ZBP