Judges 2 (BOLCB)

1 Awo Malayika wa MUKAMA n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna; 2 nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe.’ Naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo? 3 Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’ ” 4 Malayika wa MUKAMA bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga. 5 Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri MUKAMA. 6 Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo n’agenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa. 7 Abayisirayiri ne baweerezanga MUKAMA mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa eby’amaanyi MUKAMA bye yakolera Abayisirayiri. 8 Awo omuweereza wa MUKAMA Yoswa mutabani wa Nuuni n’afa. We yafiira ng’aweza emyaka kikumi mu kkumi. 9 Ne bamuziika e Timunasukeresi mu kitundu kye yagabana mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi mu bukiika obwa kkono obw’olusozi Gaasi. 10 Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya MUKAMA yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri. 11 Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga MUKAMA era ne basinza Babayaali. 12 Ne banyiiza MUKAMA kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira MUKAMA Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri. 13 Ne bava ku MUKAMA ne basinza ba Baali ne Asutoleesi. 14 MUKAMA n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga MUKAMA yali amaze okubawaayo. 15 Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga MUKAMA yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo. 16 MUKAMA n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi. 17 Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya MUKAMA. 18 Buli MUKAMA lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, MUKAMA kyeyava abakwatirwa ekisa. 19 Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe. 20 MUKAMA n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange, 21 siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde. 22 Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya MUKAMA nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.” 23 Bw’atyo MUKAMA n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.

In Other Versions

Judges 2 in the ANGEFD

Judges 2 in the ANTPNG2D

Judges 2 in the AS21

Judges 2 in the BAGH

Judges 2 in the BBPNG

Judges 2 in the BBT1E

Judges 2 in the BDS

Judges 2 in the BEV

Judges 2 in the BHAD

Judges 2 in the BIB

Judges 2 in the BLPT

Judges 2 in the BNT

Judges 2 in the BNTABOOT

Judges 2 in the BNTLV

Judges 2 in the BOATCB

Judges 2 in the BOATCB2

Judges 2 in the BOBCV

Judges 2 in the BOCNT

Judges 2 in the BOECS

Judges 2 in the BOGWICC

Judges 2 in the BOHCB

Judges 2 in the BOHCV

Judges 2 in the BOHLNT

Judges 2 in the BOHNTLTAL

Judges 2 in the BOICB

Judges 2 in the BOILNTAP

Judges 2 in the BOITCV

Judges 2 in the BOKCV

Judges 2 in the BOKCV2

Judges 2 in the BOKHWOG

Judges 2 in the BOKSSV

Judges 2 in the BOLCB2

Judges 2 in the BOMCV

Judges 2 in the BONAV

Judges 2 in the BONCB

Judges 2 in the BONLT

Judges 2 in the BONUT2

Judges 2 in the BOPLNT

Judges 2 in the BOSCB

Judges 2 in the BOSNC

Judges 2 in the BOTLNT

Judges 2 in the BOVCB

Judges 2 in the BOYCB

Judges 2 in the BPBB

Judges 2 in the BPH

Judges 2 in the BSB

Judges 2 in the CCB

Judges 2 in the CUV

Judges 2 in the CUVS

Judges 2 in the DBT

Judges 2 in the DGDNT

Judges 2 in the DHNT

Judges 2 in the DNT

Judges 2 in the ELBE

Judges 2 in the EMTV

Judges 2 in the ESV

Judges 2 in the FBV

Judges 2 in the FEB

Judges 2 in the GGMNT

Judges 2 in the GNT

Judges 2 in the HARY

Judges 2 in the HNT

Judges 2 in the IRVA

Judges 2 in the IRVB

Judges 2 in the IRVG

Judges 2 in the IRVH

Judges 2 in the IRVK

Judges 2 in the IRVM

Judges 2 in the IRVM2

Judges 2 in the IRVO

Judges 2 in the IRVP

Judges 2 in the IRVT

Judges 2 in the IRVT2

Judges 2 in the IRVU

Judges 2 in the ISVN

Judges 2 in the JSNT

Judges 2 in the KAPI

Judges 2 in the KBT1ETNIK

Judges 2 in the KBV

Judges 2 in the KJV

Judges 2 in the KNFD

Judges 2 in the LBA

Judges 2 in the LBLA

Judges 2 in the LNT

Judges 2 in the LSV

Judges 2 in the MAAL

Judges 2 in the MBV

Judges 2 in the MBV2

Judges 2 in the MHNT

Judges 2 in the MKNFD

Judges 2 in the MNG

Judges 2 in the MNT

Judges 2 in the MNT2

Judges 2 in the MRS1T

Judges 2 in the NAA

Judges 2 in the NASB

Judges 2 in the NBLA

Judges 2 in the NBS

Judges 2 in the NBVTP

Judges 2 in the NET2

Judges 2 in the NIV11

Judges 2 in the NNT

Judges 2 in the NNT2

Judges 2 in the NNT3

Judges 2 in the PDDPT

Judges 2 in the PFNT

Judges 2 in the RMNT

Judges 2 in the SBIAS

Judges 2 in the SBIBS

Judges 2 in the SBIBS2

Judges 2 in the SBICS

Judges 2 in the SBIDS

Judges 2 in the SBIGS

Judges 2 in the SBIHS

Judges 2 in the SBIIS

Judges 2 in the SBIIS2

Judges 2 in the SBIIS3

Judges 2 in the SBIKS

Judges 2 in the SBIKS2

Judges 2 in the SBIMS

Judges 2 in the SBIOS

Judges 2 in the SBIPS

Judges 2 in the SBISS

Judges 2 in the SBITS

Judges 2 in the SBITS2

Judges 2 in the SBITS3

Judges 2 in the SBITS4

Judges 2 in the SBIUS

Judges 2 in the SBIVS

Judges 2 in the SBT

Judges 2 in the SBT1E

Judges 2 in the SCHL

Judges 2 in the SNT

Judges 2 in the SUSU

Judges 2 in the SUSU2

Judges 2 in the SYNO

Judges 2 in the TBIAOTANT

Judges 2 in the TBT1E

Judges 2 in the TBT1E2

Judges 2 in the TFTIP

Judges 2 in the TFTU

Judges 2 in the TGNTATF3T

Judges 2 in the THAI

Judges 2 in the TNFD

Judges 2 in the TNT

Judges 2 in the TNTIK

Judges 2 in the TNTIL

Judges 2 in the TNTIN

Judges 2 in the TNTIP

Judges 2 in the TNTIZ

Judges 2 in the TOMA

Judges 2 in the TTENT

Judges 2 in the UBG

Judges 2 in the UGV

Judges 2 in the UGV2

Judges 2 in the UGV3

Judges 2 in the VBL

Judges 2 in the VDCC

Judges 2 in the YALU

Judges 2 in the YAPE

Judges 2 in the YBVTP

Judges 2 in the ZBP