Jeremiah 16 (BOLCB)
1 Ekigambo kya MUKAMA ne kinzijira nga kigamba nti, 2 “Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino. 3 Kubanga kino MUKAMA ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe. 4 Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.” 5 Kubanga bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera MUKAMA. 6 Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe. 7 Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza. 8 Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu n’otuula okulya n’okunywa. 9 Kubanga kino MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino. 10 “Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki MUKAMA atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri MUKAMA Katonda waffe?’ 11 Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera MUKAMA, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 12 Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera. 13 Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’ 14 “Naye ennaku zijja,” bw’ayogera MUKAMA. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15 naye baligamba nti, ‘Ddala nga MUKAMA bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe. 16 “Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera MUKAMA, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17 Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18 Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.” 19 Ayi MUKAMA, amaanyi gange era ekigo kyange,ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,bannaggwanga balijja gy’oli,okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba. 20 Abantu beekolera bakatonda baabwe?Ye, naye si Katonda! 21 “Noolwekyo ndibayigiriza,ku mulundi guno;ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.Olwo balyoke bamanye ntierinnya lyange nze MUKAMA.”
In Other Versions
Jeremiah 16 in the ANGEFD
Jeremiah 16 in the ANTPNG2D
Jeremiah 16 in the AS21
Jeremiah 16 in the BAGH
Jeremiah 16 in the BBPNG
Jeremiah 16 in the BBT1E
Jeremiah 16 in the BDS
Jeremiah 16 in the BEV
Jeremiah 16 in the BHAD
Jeremiah 16 in the BIB
Jeremiah 16 in the BLPT
Jeremiah 16 in the BNT
Jeremiah 16 in the BNTABOOT
Jeremiah 16 in the BNTLV
Jeremiah 16 in the BOATCB
Jeremiah 16 in the BOATCB2
Jeremiah 16 in the BOBCV
Jeremiah 16 in the BOCNT
Jeremiah 16 in the BOECS
Jeremiah 16 in the BOGWICC
Jeremiah 16 in the BOHCB
Jeremiah 16 in the BOHCV
Jeremiah 16 in the BOHLNT
Jeremiah 16 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 16 in the BOICB
Jeremiah 16 in the BOILNTAP
Jeremiah 16 in the BOITCV
Jeremiah 16 in the BOKCV
Jeremiah 16 in the BOKCV2
Jeremiah 16 in the BOKHWOG
Jeremiah 16 in the BOKSSV
Jeremiah 16 in the BOLCB2
Jeremiah 16 in the BOMCV
Jeremiah 16 in the BONAV
Jeremiah 16 in the BONCB
Jeremiah 16 in the BONLT
Jeremiah 16 in the BONUT2
Jeremiah 16 in the BOPLNT
Jeremiah 16 in the BOSCB
Jeremiah 16 in the BOSNC
Jeremiah 16 in the BOTLNT
Jeremiah 16 in the BOVCB
Jeremiah 16 in the BOYCB
Jeremiah 16 in the BPBB
Jeremiah 16 in the BPH
Jeremiah 16 in the BSB
Jeremiah 16 in the CCB
Jeremiah 16 in the CUV
Jeremiah 16 in the CUVS
Jeremiah 16 in the DBT
Jeremiah 16 in the DGDNT
Jeremiah 16 in the DHNT
Jeremiah 16 in the DNT
Jeremiah 16 in the ELBE
Jeremiah 16 in the EMTV
Jeremiah 16 in the ESV
Jeremiah 16 in the FBV
Jeremiah 16 in the FEB
Jeremiah 16 in the GGMNT
Jeremiah 16 in the GNT
Jeremiah 16 in the HARY
Jeremiah 16 in the HNT
Jeremiah 16 in the IRVA
Jeremiah 16 in the IRVB
Jeremiah 16 in the IRVG
Jeremiah 16 in the IRVH
Jeremiah 16 in the IRVK
Jeremiah 16 in the IRVM
Jeremiah 16 in the IRVM2
Jeremiah 16 in the IRVO
Jeremiah 16 in the IRVP
Jeremiah 16 in the IRVT
Jeremiah 16 in the IRVT2
Jeremiah 16 in the IRVU
Jeremiah 16 in the ISVN
Jeremiah 16 in the JSNT
Jeremiah 16 in the KAPI
Jeremiah 16 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 16 in the KBV
Jeremiah 16 in the KJV
Jeremiah 16 in the KNFD
Jeremiah 16 in the LBA
Jeremiah 16 in the LBLA
Jeremiah 16 in the LNT
Jeremiah 16 in the LSV
Jeremiah 16 in the MAAL
Jeremiah 16 in the MBV
Jeremiah 16 in the MBV2
Jeremiah 16 in the MHNT
Jeremiah 16 in the MKNFD
Jeremiah 16 in the MNG
Jeremiah 16 in the MNT
Jeremiah 16 in the MNT2
Jeremiah 16 in the MRS1T
Jeremiah 16 in the NAA
Jeremiah 16 in the NASB
Jeremiah 16 in the NBLA
Jeremiah 16 in the NBS
Jeremiah 16 in the NBVTP
Jeremiah 16 in the NET2
Jeremiah 16 in the NIV11
Jeremiah 16 in the NNT
Jeremiah 16 in the NNT2
Jeremiah 16 in the NNT3
Jeremiah 16 in the PDDPT
Jeremiah 16 in the PFNT
Jeremiah 16 in the RMNT
Jeremiah 16 in the SBIAS
Jeremiah 16 in the SBIBS
Jeremiah 16 in the SBIBS2
Jeremiah 16 in the SBICS
Jeremiah 16 in the SBIDS
Jeremiah 16 in the SBIGS
Jeremiah 16 in the SBIHS
Jeremiah 16 in the SBIIS
Jeremiah 16 in the SBIIS2
Jeremiah 16 in the SBIIS3
Jeremiah 16 in the SBIKS
Jeremiah 16 in the SBIKS2
Jeremiah 16 in the SBIMS
Jeremiah 16 in the SBIOS
Jeremiah 16 in the SBIPS
Jeremiah 16 in the SBISS
Jeremiah 16 in the SBITS
Jeremiah 16 in the SBITS2
Jeremiah 16 in the SBITS3
Jeremiah 16 in the SBITS4
Jeremiah 16 in the SBIUS
Jeremiah 16 in the SBIVS
Jeremiah 16 in the SBT
Jeremiah 16 in the SBT1E
Jeremiah 16 in the SCHL
Jeremiah 16 in the SNT
Jeremiah 16 in the SUSU
Jeremiah 16 in the SUSU2
Jeremiah 16 in the SYNO
Jeremiah 16 in the TBIAOTANT
Jeremiah 16 in the TBT1E
Jeremiah 16 in the TBT1E2
Jeremiah 16 in the TFTIP
Jeremiah 16 in the TFTU
Jeremiah 16 in the TGNTATF3T
Jeremiah 16 in the THAI
Jeremiah 16 in the TNFD
Jeremiah 16 in the TNT
Jeremiah 16 in the TNTIK
Jeremiah 16 in the TNTIL
Jeremiah 16 in the TNTIN
Jeremiah 16 in the TNTIP
Jeremiah 16 in the TNTIZ
Jeremiah 16 in the TOMA
Jeremiah 16 in the TTENT
Jeremiah 16 in the UBG
Jeremiah 16 in the UGV
Jeremiah 16 in the UGV2
Jeremiah 16 in the UGV3
Jeremiah 16 in the VBL
Jeremiah 16 in the VDCC
Jeremiah 16 in the YALU
Jeremiah 16 in the YAPE
Jeremiah 16 in the YBVTP
Jeremiah 16 in the ZBP