Jeremiah 35 (BOLCB)
1 Kino kye kigambo kya MUKAMA ekyajjira Yeremiya mu bufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mutabani wa Yosiya nga kigamba nti, 2 “Genda eri ekika eky’Abalekabu obayite bajje mu kimu ku bisenge mu nnyumba ya MUKAMA obawe envinnyo banywe.” 3 Awo ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya, mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna, ekika kyonna eky’Abalekabu. 4 Ne mbayingiza mu nnyumba ya MUKAMA, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda. Kyali kiriraanye ekisenge kya bakungu, ekyali waggulu w’ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omukuumi w’oluggi. 5 Ne nteeka ebibya ebijjudde envinnyo n’ebikopo ebimu mu maaso g’abasajja ab’ennyumba y’Abalekabu ne mbagamba nti, “Munywe ku nvinnyo.” 6 Naye ne baddamu nti, “Tetujja kunywa nvinnyo kubanga jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu yatulagira nti, ‘Tewabanga n’omu ku mmwe wadde abaana bammwe anywanga envinnyo. 7 Era temuzimbanga ennyumba, wadde okusiganga ensigo wadde okusimba emizabbibu; temubanga na bintu bino byonna, naye mubeeranga mu weema zokka. Olwo munaawangaliranga mu nsi gye munaaberangamu.’ 8 Twagondera ekiragiro kya jjajjaffe Yonadabu mutabani wa Lekabu kye yatulagira. Ffe wadde bakazi baffe wadde batabani baffe wadde bawala baffe tetunywangako ku nvinnyo, 9 oba okuzimba ennyumba okusulamu oba okuba n’ennimiro ez’emizabbibu, oba ebibanja oba ebirime. 10 Tusula mu weema era tugondedde bulambalamba byonna jjajjaffe Yonadabu bye yatulagira. 11 Naye Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni bwe yazinda ensi eno ne tugamba nti, ‘Tugende e Yerusaalemi tuwone eggye ery’Abakaludaaya n’ery’Abasuuli,’ kyetuvudde tubeera mu Yerusaalemi.” 12 Awo ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Yeremiya nti, 13 “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Genda ogambe abantu ba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi nti, ‘Temuyinza kubaako kye muyiga, ne mugondera ebigambo byange? 14 Yonadabu mutabani wa Lekabu yalagira batabani be obutanywa nvinnyo n’ekiragiro kino kyakumibwa. Okutuusa ne leero tebanywa nvinnyo, kubanga baagondera etteeka lya jjajjaabwe. Naye njogedde nammwe emirundi mingi, naye temuŋŋondedde. 15 Emirundi mingi, natuma abaddu bange bonna bannabbi gye muli. Babagamba nti, “Buli omu ku mmwe ateekwa okuva mu makubo ge amabi akyuse ebikolwa bye, muleme kugoberera bakatonda balala okubaweereza, mulyoke mubeere mu nsi gye nabawa ne bajjajjammwe.” Naye temwanfaako wadde okumpuliriza. 16 Ab’enda ya Yonadabu mutabani wa Lekabu baakuuma ekiragiro jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebaŋŋondedde.’ 17 “Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera MUKAMA Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Muwulirize, ŋŋenda kuleeta ku Yuda ne ku buli muntu yenna atuula mu Yerusaalemi buli kibonoobono kye naboogerako. Nayogera nabo, naye tebampuliriza; nabayita, naye tebanziramu.’ ” 18 Awo Yeremiya n’agamba ennyumba y’Abalekabu nti, “Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mugondedde ekiragiro kya jjajjaammwe Yonadabu ne mukwata byonna bye yabalagira ne mutuukiriza byonna bye yabagamba.’ 19 Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Yonadabu mutabani wa Lekabu talirema kuba na mwana we alimpeereza.’ ”
In Other Versions
Jeremiah 35 in the ANGEFD
Jeremiah 35 in the ANTPNG2D
Jeremiah 35 in the AS21
Jeremiah 35 in the BAGH
Jeremiah 35 in the BBPNG
Jeremiah 35 in the BBT1E
Jeremiah 35 in the BDS
Jeremiah 35 in the BEV
Jeremiah 35 in the BHAD
Jeremiah 35 in the BIB
Jeremiah 35 in the BLPT
Jeremiah 35 in the BNT
Jeremiah 35 in the BNTABOOT
Jeremiah 35 in the BNTLV
Jeremiah 35 in the BOATCB
Jeremiah 35 in the BOATCB2
Jeremiah 35 in the BOBCV
Jeremiah 35 in the BOCNT
Jeremiah 35 in the BOECS
Jeremiah 35 in the BOGWICC
Jeremiah 35 in the BOHCB
Jeremiah 35 in the BOHCV
Jeremiah 35 in the BOHLNT
Jeremiah 35 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 35 in the BOICB
Jeremiah 35 in the BOILNTAP
Jeremiah 35 in the BOITCV
Jeremiah 35 in the BOKCV
Jeremiah 35 in the BOKCV2
Jeremiah 35 in the BOKHWOG
Jeremiah 35 in the BOKSSV
Jeremiah 35 in the BOLCB2
Jeremiah 35 in the BOMCV
Jeremiah 35 in the BONAV
Jeremiah 35 in the BONCB
Jeremiah 35 in the BONLT
Jeremiah 35 in the BONUT2
Jeremiah 35 in the BOPLNT
Jeremiah 35 in the BOSCB
Jeremiah 35 in the BOSNC
Jeremiah 35 in the BOTLNT
Jeremiah 35 in the BOVCB
Jeremiah 35 in the BOYCB
Jeremiah 35 in the BPBB
Jeremiah 35 in the BPH
Jeremiah 35 in the BSB
Jeremiah 35 in the CCB
Jeremiah 35 in the CUV
Jeremiah 35 in the CUVS
Jeremiah 35 in the DBT
Jeremiah 35 in the DGDNT
Jeremiah 35 in the DHNT
Jeremiah 35 in the DNT
Jeremiah 35 in the ELBE
Jeremiah 35 in the EMTV
Jeremiah 35 in the ESV
Jeremiah 35 in the FBV
Jeremiah 35 in the FEB
Jeremiah 35 in the GGMNT
Jeremiah 35 in the GNT
Jeremiah 35 in the HARY
Jeremiah 35 in the HNT
Jeremiah 35 in the IRVA
Jeremiah 35 in the IRVB
Jeremiah 35 in the IRVG
Jeremiah 35 in the IRVH
Jeremiah 35 in the IRVK
Jeremiah 35 in the IRVM
Jeremiah 35 in the IRVM2
Jeremiah 35 in the IRVO
Jeremiah 35 in the IRVP
Jeremiah 35 in the IRVT
Jeremiah 35 in the IRVT2
Jeremiah 35 in the IRVU
Jeremiah 35 in the ISVN
Jeremiah 35 in the JSNT
Jeremiah 35 in the KAPI
Jeremiah 35 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 35 in the KBV
Jeremiah 35 in the KJV
Jeremiah 35 in the KNFD
Jeremiah 35 in the LBA
Jeremiah 35 in the LBLA
Jeremiah 35 in the LNT
Jeremiah 35 in the LSV
Jeremiah 35 in the MAAL
Jeremiah 35 in the MBV
Jeremiah 35 in the MBV2
Jeremiah 35 in the MHNT
Jeremiah 35 in the MKNFD
Jeremiah 35 in the MNG
Jeremiah 35 in the MNT
Jeremiah 35 in the MNT2
Jeremiah 35 in the MRS1T
Jeremiah 35 in the NAA
Jeremiah 35 in the NASB
Jeremiah 35 in the NBLA
Jeremiah 35 in the NBS
Jeremiah 35 in the NBVTP
Jeremiah 35 in the NET2
Jeremiah 35 in the NIV11
Jeremiah 35 in the NNT
Jeremiah 35 in the NNT2
Jeremiah 35 in the NNT3
Jeremiah 35 in the PDDPT
Jeremiah 35 in the PFNT
Jeremiah 35 in the RMNT
Jeremiah 35 in the SBIAS
Jeremiah 35 in the SBIBS
Jeremiah 35 in the SBIBS2
Jeremiah 35 in the SBICS
Jeremiah 35 in the SBIDS
Jeremiah 35 in the SBIGS
Jeremiah 35 in the SBIHS
Jeremiah 35 in the SBIIS
Jeremiah 35 in the SBIIS2
Jeremiah 35 in the SBIIS3
Jeremiah 35 in the SBIKS
Jeremiah 35 in the SBIKS2
Jeremiah 35 in the SBIMS
Jeremiah 35 in the SBIOS
Jeremiah 35 in the SBIPS
Jeremiah 35 in the SBISS
Jeremiah 35 in the SBITS
Jeremiah 35 in the SBITS2
Jeremiah 35 in the SBITS3
Jeremiah 35 in the SBITS4
Jeremiah 35 in the SBIUS
Jeremiah 35 in the SBIVS
Jeremiah 35 in the SBT
Jeremiah 35 in the SBT1E
Jeremiah 35 in the SCHL
Jeremiah 35 in the SNT
Jeremiah 35 in the SUSU
Jeremiah 35 in the SUSU2
Jeremiah 35 in the SYNO
Jeremiah 35 in the TBIAOTANT
Jeremiah 35 in the TBT1E
Jeremiah 35 in the TBT1E2
Jeremiah 35 in the TFTIP
Jeremiah 35 in the TFTU
Jeremiah 35 in the TGNTATF3T
Jeremiah 35 in the THAI
Jeremiah 35 in the TNFD
Jeremiah 35 in the TNT
Jeremiah 35 in the TNTIK
Jeremiah 35 in the TNTIL
Jeremiah 35 in the TNTIN
Jeremiah 35 in the TNTIP
Jeremiah 35 in the TNTIZ
Jeremiah 35 in the TOMA
Jeremiah 35 in the TTENT
Jeremiah 35 in the UBG
Jeremiah 35 in the UGV
Jeremiah 35 in the UGV2
Jeremiah 35 in the UGV3
Jeremiah 35 in the VBL
Jeremiah 35 in the VDCC
Jeremiah 35 in the YALU
Jeremiah 35 in the YAPE
Jeremiah 35 in the YBVTP
Jeremiah 35 in the ZBP