Jeremiah 39 (BOLCB)
1 Mu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza. 2 Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa. 3 Awo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu abalala bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi. 4 Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati w’ebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba. 5 Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango. 6 Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna. 7 Nebukadduneeza n’aggyamu Zeddekiya amaaso, n’amusiba mu masamba n’amutwala e Babulooni. 8 Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba z’abantu, ne bamenya n’ebisenge bya Yerusaalemi. 9 Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye n’atwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n’abo abaali bamwegasseeko, n’abo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni. 10 Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu. 11 Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yali awadde Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni, ebiragiro bino ebikwata ku Yeremiya ng’amugamba nti, 12 “Mmutwale omulabirire: tomubonyaabonya wabula mukolere byonna by’ayagala.” 13 Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, ne Nebusazibaani omukungu ow’oku ntikko ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni, 14 ne batumya ne baggya Yeremiya mu luggya lw’abaserikale. Ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, amuzzeeyo ewaabwe. Olwo n’asigala n’abantu be. 15 Yeremiya bwe yali asibiddwa mu luggya lw’abaserikale abakuumi, ekigambo kya MUKAMA ne kimujjira nga kigamba nti, 16 “Genda ogambe Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okutuukiriza ebigambo byange eri ekibuga kino nga nkozesa ebibonoobono, si kukulaakulana. Mu biseera ebyo birituukirizibwa nga mulaba n’amaaso gammwe. 17 Naye ndikuwonya ku lunaku olwo,’ bw’ayogera MUKAMA; ‘toliweebwayo eri abo b’otya. 18 Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ng’oli mulamu, kubanga onneesiga, bw’ayogera MUKAMA.’ ”
In Other Versions
Jeremiah 39 in the ANGEFD
Jeremiah 39 in the ANTPNG2D
Jeremiah 39 in the AS21
Jeremiah 39 in the BAGH
Jeremiah 39 in the BBPNG
Jeremiah 39 in the BBT1E
Jeremiah 39 in the BDS
Jeremiah 39 in the BEV
Jeremiah 39 in the BHAD
Jeremiah 39 in the BIB
Jeremiah 39 in the BLPT
Jeremiah 39 in the BNT
Jeremiah 39 in the BNTABOOT
Jeremiah 39 in the BNTLV
Jeremiah 39 in the BOATCB
Jeremiah 39 in the BOATCB2
Jeremiah 39 in the BOBCV
Jeremiah 39 in the BOCNT
Jeremiah 39 in the BOECS
Jeremiah 39 in the BOGWICC
Jeremiah 39 in the BOHCB
Jeremiah 39 in the BOHCV
Jeremiah 39 in the BOHLNT
Jeremiah 39 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 39 in the BOICB
Jeremiah 39 in the BOILNTAP
Jeremiah 39 in the BOITCV
Jeremiah 39 in the BOKCV
Jeremiah 39 in the BOKCV2
Jeremiah 39 in the BOKHWOG
Jeremiah 39 in the BOKSSV
Jeremiah 39 in the BOLCB2
Jeremiah 39 in the BOMCV
Jeremiah 39 in the BONAV
Jeremiah 39 in the BONCB
Jeremiah 39 in the BONLT
Jeremiah 39 in the BONUT2
Jeremiah 39 in the BOPLNT
Jeremiah 39 in the BOSCB
Jeremiah 39 in the BOSNC
Jeremiah 39 in the BOTLNT
Jeremiah 39 in the BOVCB
Jeremiah 39 in the BOYCB
Jeremiah 39 in the BPBB
Jeremiah 39 in the BPH
Jeremiah 39 in the BSB
Jeremiah 39 in the CCB
Jeremiah 39 in the CUV
Jeremiah 39 in the CUVS
Jeremiah 39 in the DBT
Jeremiah 39 in the DGDNT
Jeremiah 39 in the DHNT
Jeremiah 39 in the DNT
Jeremiah 39 in the ELBE
Jeremiah 39 in the EMTV
Jeremiah 39 in the ESV
Jeremiah 39 in the FBV
Jeremiah 39 in the FEB
Jeremiah 39 in the GGMNT
Jeremiah 39 in the GNT
Jeremiah 39 in the HARY
Jeremiah 39 in the HNT
Jeremiah 39 in the IRVA
Jeremiah 39 in the IRVB
Jeremiah 39 in the IRVG
Jeremiah 39 in the IRVH
Jeremiah 39 in the IRVK
Jeremiah 39 in the IRVM
Jeremiah 39 in the IRVM2
Jeremiah 39 in the IRVO
Jeremiah 39 in the IRVP
Jeremiah 39 in the IRVT
Jeremiah 39 in the IRVT2
Jeremiah 39 in the IRVU
Jeremiah 39 in the ISVN
Jeremiah 39 in the JSNT
Jeremiah 39 in the KAPI
Jeremiah 39 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 39 in the KBV
Jeremiah 39 in the KJV
Jeremiah 39 in the KNFD
Jeremiah 39 in the LBA
Jeremiah 39 in the LBLA
Jeremiah 39 in the LNT
Jeremiah 39 in the LSV
Jeremiah 39 in the MAAL
Jeremiah 39 in the MBV
Jeremiah 39 in the MBV2
Jeremiah 39 in the MHNT
Jeremiah 39 in the MKNFD
Jeremiah 39 in the MNG
Jeremiah 39 in the MNT
Jeremiah 39 in the MNT2
Jeremiah 39 in the MRS1T
Jeremiah 39 in the NAA
Jeremiah 39 in the NASB
Jeremiah 39 in the NBLA
Jeremiah 39 in the NBS
Jeremiah 39 in the NBVTP
Jeremiah 39 in the NET2
Jeremiah 39 in the NIV11
Jeremiah 39 in the NNT
Jeremiah 39 in the NNT2
Jeremiah 39 in the NNT3
Jeremiah 39 in the PDDPT
Jeremiah 39 in the PFNT
Jeremiah 39 in the RMNT
Jeremiah 39 in the SBIAS
Jeremiah 39 in the SBIBS
Jeremiah 39 in the SBIBS2
Jeremiah 39 in the SBICS
Jeremiah 39 in the SBIDS
Jeremiah 39 in the SBIGS
Jeremiah 39 in the SBIHS
Jeremiah 39 in the SBIIS
Jeremiah 39 in the SBIIS2
Jeremiah 39 in the SBIIS3
Jeremiah 39 in the SBIKS
Jeremiah 39 in the SBIKS2
Jeremiah 39 in the SBIMS
Jeremiah 39 in the SBIOS
Jeremiah 39 in the SBIPS
Jeremiah 39 in the SBISS
Jeremiah 39 in the SBITS
Jeremiah 39 in the SBITS2
Jeremiah 39 in the SBITS3
Jeremiah 39 in the SBITS4
Jeremiah 39 in the SBIUS
Jeremiah 39 in the SBIVS
Jeremiah 39 in the SBT
Jeremiah 39 in the SBT1E
Jeremiah 39 in the SCHL
Jeremiah 39 in the SNT
Jeremiah 39 in the SUSU
Jeremiah 39 in the SUSU2
Jeremiah 39 in the SYNO
Jeremiah 39 in the TBIAOTANT
Jeremiah 39 in the TBT1E
Jeremiah 39 in the TBT1E2
Jeremiah 39 in the TFTIP
Jeremiah 39 in the TFTU
Jeremiah 39 in the TGNTATF3T
Jeremiah 39 in the THAI
Jeremiah 39 in the TNFD
Jeremiah 39 in the TNT
Jeremiah 39 in the TNTIK
Jeremiah 39 in the TNTIL
Jeremiah 39 in the TNTIN
Jeremiah 39 in the TNTIP
Jeremiah 39 in the TNTIZ
Jeremiah 39 in the TOMA
Jeremiah 39 in the TTENT
Jeremiah 39 in the UBG
Jeremiah 39 in the UGV
Jeremiah 39 in the UGV2
Jeremiah 39 in the UGV3
Jeremiah 39 in the VBL
Jeremiah 39 in the VDCC
Jeremiah 39 in the YALU
Jeremiah 39 in the YAPE
Jeremiah 39 in the YBVTP
Jeremiah 39 in the ZBP