Jeremiah 40 (BOLCB)
1 Ekigambo kya MUKAMA ne kijjira Yeremiya, nga Nebuzaladaani omuduumizi w’abambowa amusumuludde e Laama, bwe yamusanga ng’asibiddwa mu masamba n’abasibe abalala bonna ab’e Yerusaalemi ne Yuda abaali batwalibwa e Babulooni mu busibe. 2 Omuduumizi w’abaserikale yatwala Yeremiya n’amugamba nti, “MUKAMA Katonda wo, ye yaleeta ekivume kino ku kifo kino. 3 Kaakano MUKAMA akireese era akikoze nga bwe yasuubiza. Bino byonna byabaawo kubanga abantu bo baasobya eri MUKAMA ne batamugondera. 4 Naye leero nkusumulula okuva mu njegere ez’oku mikono gyo. Jjangu tugende ffembi e Babulooni obanga oyagala, nnaakulabirira; naye bw’oba nga toyagala, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go, genda yonna gy’oyagala.” 5 Wabula Yeremiya nga tannaba kukyuka kugenda, Nebuzaladaani n’ayongerako nti, “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w’e Babulooni gw’afudde Gavana w’ebibuga bya Yuda, obeere naye mu bantu, oba genda yonna gy’osiima okubeera.” Awo omuduumizi w’abambowa n’amuwa ebyokulya n’ekirabo n’amuleka. 6 Awo Yeremiya n’agenda ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa n’abeera naye n’abantu abaaliyo abaali balekeddwa mu nsi eyo. 7 Awo abakulu b’eggye lya Yuda bonna n’abasajja baabwe abaali bakyali mu byalo ne bawulira nti, Kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya omwana wa Akikamu okuba Gavana w’ensi era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa bw’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana, n’abaali basembayo obwavu mu nsi abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. 8 Awo Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani ne Yonasaani batabani ba Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi, ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w’omu Maakasi, ne bagenda n’abasajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa. 9 Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’abalayirira bo n’abasajja baabwe ng’ayogera nti, “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mubeere mu nsi, muweereze kabaka w’e Babulooni munaaba bulungi. 10 Nze kennyini nzija kusigala e Mizupa okubakiikirira eri Abakaludaaya abajja gye tuli, naye mmwe mukungule emizabbibu, n’ebibala eby’omu kyeya, mukuŋŋaanye n’omuzigo mubiteeke mu materekero gammwe, mubeere mu bibuga bye mufuga.” 11 Awo Abayudaaya bonna mu Mowaabu, ne Amoni, ne Edomu n’ensi endala zonna bwe baawulira nti, Kabaka w’e Babulooni yali aleseeyo abantu mu Yuda era nga ataddewo Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani okuba Gavana waabwe, 12 bonna ne bakomawo mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bava mu nsi zonna gye baali basaasaanidde. Ne bakungula ebirime mu bungi, emizabbibu n’ebibala eby’omu kyeya. 13 Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abakulu bonna ab’ebibinja bya magye abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa. 14 Ne bamugamba nti, “Tomanyi nga Baalisi kabaka w’abaana ba Amoni atumye Isimayiri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakikkiriza. 15 Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng’agamba nti, “Ka ŋŋende nkwegayiridde nzite Isimayiri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya. Lwaki akutta, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanidde gy’oli basaasaane, ekitundu kya Yuda ekifisseewo nakyo kizikirire?” 16 Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n’agamba Yokanaani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kintu bwe kityo! Ky’oyogera ku Isimayiri si kituufu.”
In Other Versions
Jeremiah 40 in the ANGEFD
Jeremiah 40 in the ANTPNG2D
Jeremiah 40 in the AS21
Jeremiah 40 in the BAGH
Jeremiah 40 in the BBPNG
Jeremiah 40 in the BBT1E
Jeremiah 40 in the BDS
Jeremiah 40 in the BEV
Jeremiah 40 in the BHAD
Jeremiah 40 in the BIB
Jeremiah 40 in the BLPT
Jeremiah 40 in the BNT
Jeremiah 40 in the BNTABOOT
Jeremiah 40 in the BNTLV
Jeremiah 40 in the BOATCB
Jeremiah 40 in the BOATCB2
Jeremiah 40 in the BOBCV
Jeremiah 40 in the BOCNT
Jeremiah 40 in the BOECS
Jeremiah 40 in the BOGWICC
Jeremiah 40 in the BOHCB
Jeremiah 40 in the BOHCV
Jeremiah 40 in the BOHLNT
Jeremiah 40 in the BOHNTLTAL
Jeremiah 40 in the BOICB
Jeremiah 40 in the BOILNTAP
Jeremiah 40 in the BOITCV
Jeremiah 40 in the BOKCV
Jeremiah 40 in the BOKCV2
Jeremiah 40 in the BOKHWOG
Jeremiah 40 in the BOKSSV
Jeremiah 40 in the BOLCB2
Jeremiah 40 in the BOMCV
Jeremiah 40 in the BONAV
Jeremiah 40 in the BONCB
Jeremiah 40 in the BONLT
Jeremiah 40 in the BONUT2
Jeremiah 40 in the BOPLNT
Jeremiah 40 in the BOSCB
Jeremiah 40 in the BOSNC
Jeremiah 40 in the BOTLNT
Jeremiah 40 in the BOVCB
Jeremiah 40 in the BOYCB
Jeremiah 40 in the BPBB
Jeremiah 40 in the BPH
Jeremiah 40 in the BSB
Jeremiah 40 in the CCB
Jeremiah 40 in the CUV
Jeremiah 40 in the CUVS
Jeremiah 40 in the DBT
Jeremiah 40 in the DGDNT
Jeremiah 40 in the DHNT
Jeremiah 40 in the DNT
Jeremiah 40 in the ELBE
Jeremiah 40 in the EMTV
Jeremiah 40 in the ESV
Jeremiah 40 in the FBV
Jeremiah 40 in the FEB
Jeremiah 40 in the GGMNT
Jeremiah 40 in the GNT
Jeremiah 40 in the HARY
Jeremiah 40 in the HNT
Jeremiah 40 in the IRVA
Jeremiah 40 in the IRVB
Jeremiah 40 in the IRVG
Jeremiah 40 in the IRVH
Jeremiah 40 in the IRVK
Jeremiah 40 in the IRVM
Jeremiah 40 in the IRVM2
Jeremiah 40 in the IRVO
Jeremiah 40 in the IRVP
Jeremiah 40 in the IRVT
Jeremiah 40 in the IRVT2
Jeremiah 40 in the IRVU
Jeremiah 40 in the ISVN
Jeremiah 40 in the JSNT
Jeremiah 40 in the KAPI
Jeremiah 40 in the KBT1ETNIK
Jeremiah 40 in the KBV
Jeremiah 40 in the KJV
Jeremiah 40 in the KNFD
Jeremiah 40 in the LBA
Jeremiah 40 in the LBLA
Jeremiah 40 in the LNT
Jeremiah 40 in the LSV
Jeremiah 40 in the MAAL
Jeremiah 40 in the MBV
Jeremiah 40 in the MBV2
Jeremiah 40 in the MHNT
Jeremiah 40 in the MKNFD
Jeremiah 40 in the MNG
Jeremiah 40 in the MNT
Jeremiah 40 in the MNT2
Jeremiah 40 in the MRS1T
Jeremiah 40 in the NAA
Jeremiah 40 in the NASB
Jeremiah 40 in the NBLA
Jeremiah 40 in the NBS
Jeremiah 40 in the NBVTP
Jeremiah 40 in the NET2
Jeremiah 40 in the NIV11
Jeremiah 40 in the NNT
Jeremiah 40 in the NNT2
Jeremiah 40 in the NNT3
Jeremiah 40 in the PDDPT
Jeremiah 40 in the PFNT
Jeremiah 40 in the RMNT
Jeremiah 40 in the SBIAS
Jeremiah 40 in the SBIBS
Jeremiah 40 in the SBIBS2
Jeremiah 40 in the SBICS
Jeremiah 40 in the SBIDS
Jeremiah 40 in the SBIGS
Jeremiah 40 in the SBIHS
Jeremiah 40 in the SBIIS
Jeremiah 40 in the SBIIS2
Jeremiah 40 in the SBIIS3
Jeremiah 40 in the SBIKS
Jeremiah 40 in the SBIKS2
Jeremiah 40 in the SBIMS
Jeremiah 40 in the SBIOS
Jeremiah 40 in the SBIPS
Jeremiah 40 in the SBISS
Jeremiah 40 in the SBITS
Jeremiah 40 in the SBITS2
Jeremiah 40 in the SBITS3
Jeremiah 40 in the SBITS4
Jeremiah 40 in the SBIUS
Jeremiah 40 in the SBIVS
Jeremiah 40 in the SBT
Jeremiah 40 in the SBT1E
Jeremiah 40 in the SCHL
Jeremiah 40 in the SNT
Jeremiah 40 in the SUSU
Jeremiah 40 in the SUSU2
Jeremiah 40 in the SYNO
Jeremiah 40 in the TBIAOTANT
Jeremiah 40 in the TBT1E
Jeremiah 40 in the TBT1E2
Jeremiah 40 in the TFTIP
Jeremiah 40 in the TFTU
Jeremiah 40 in the TGNTATF3T
Jeremiah 40 in the THAI
Jeremiah 40 in the TNFD
Jeremiah 40 in the TNT
Jeremiah 40 in the TNTIK
Jeremiah 40 in the TNTIL
Jeremiah 40 in the TNTIN
Jeremiah 40 in the TNTIP
Jeremiah 40 in the TNTIZ
Jeremiah 40 in the TOMA
Jeremiah 40 in the TTENT
Jeremiah 40 in the UBG
Jeremiah 40 in the UGV
Jeremiah 40 in the UGV2
Jeremiah 40 in the UGV3
Jeremiah 40 in the VBL
Jeremiah 40 in the VDCC
Jeremiah 40 in the YALU
Jeremiah 40 in the YAPE
Jeremiah 40 in the YBVTP
Jeremiah 40 in the ZBP