Jeremiah 5 (BOLCB)

1 “Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi,tunulatunula olabe,noonya wonna we bakuŋŋaanira,bw’onoosanga omuntu omu bw’atiomwesimbu ow’amazima,nnaasonyiwa ekibuga kino. 2 Ne bwe boogera nti, ‘Nga MUKAMA bwali omulamu;’baba balayirira bwereere.” 3 Ayi MUKAMA Katonda, amaaso go teganoonya mazima?Wabakuba naye ne batawulira bulumi wababetenta,naye ne bagaana okukangavvulwa.Beeyongedde kukakanyala, bagubye obwenyi okusinga n’amayinja;era bagaanyi okwenenya. 4 Ne njogera nti,“Bano baavu abasirusiru.Kubanga tebamanyi kkubo lya MUKAMA,amateeka ga Katonda waabwe. 5 Kale ndigenda eri abakulembezenjogere nabo;Kubanga bamanyi ekkubo lya MUKAMA,amateeka ga Katonda waabwe.”Naye nabo bwe batyo baali baamenya dda ekikoligonga baakutula ebisiba. 6 Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya,n’omusege ogw’omu ddungu gulibasaanyaawo.Engo erikuumira okumpi n’ebibuga byabwe,buli muntu abifuluma ayuzibweyuzibwe;Kubanga ebibi byabwe bingi,okudda ennyuma kunene. 7 “Mbasonyiwe ntya?Abaana bammwe banvuddeko,ne balayiririra bakatonda abatali bakatonda.Bwe nabaliisa ne bakkuta, badda mu kwenda,ne beekuŋŋaanya ku nnyumba z’abenzi. 8 Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye,buli muntu ng’akaayanira muka munne. 9 Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?bw’ayogera MUKAMA,Lwaki siwoolera ggwanga ku nsiefaanana bw’etyo?” 10 “Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone,naye togimalirawo ddala.Giggyeeko amatabi gaagyo,kubanga si bantu ba MUKAMA. 11 Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yudazifuukidde ddala njeemu gye ndi,”bw’ayogera MUKAMA. 12 Boogedde eby’obulimba ku MUKAMA ne bagamba nti,“Talina kyajja kukola,tewali kabi kanaatugwako,era tetujja kulaba wadde kitala oba kyeya. 13 Bannabbi mpewo buwewoera ekigambo tekibaliimu;noolwekyo leka kye boogera kikolebwe ku bo.” 14 Noolwekyo bw’ati bw’ayogera MUKAMA, Katonda ow’Eggye nti,“Kubanga abantu boogedde ebigambo bino,ndifuula ekigambo kyange mu kamwa kammwe okuba ng’omuliro,n’abantu bano okuba enku era omuliro gubookye. 15 Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala,ggwe ennyumba ya Isirayiri,” bw’ayogera MUKAMA.Ensi eyaguma ey’edda,abantu ab’olulimi lwe mutamanyiaboogera bye mutategeera 16 omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde,bonna balwanyi nnamige. 17 Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe;balirya batabani bammwe era ne bawala bammwe;balye emizabbibu n’emitiini gyammwe,ebibuga byammwe ebiriko bbugwe bye mwesiga birizikirizibwa n’ebitala. 18 Bw’ati bw’ayogera MUKAMA nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo. 19 Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’ 20 “Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo,kirangirire mu Yuda. 21 Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera,abalina amaaso naye nga tebalaba,abalina amatu naye nga tebawulira. 22 Temuntya?” bw’ayogera MUKAMA;“temunkankanira?Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka;wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza,gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako. 23 Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu.Bajeemye banvuddeko. 24 Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye MUKAMA Katonda waffe agaba enkuba,eya ddumbi n’eya ttoggo,mu ntuuko zaayo;atugerekera ssabbiiti ez’okukunguliramu.’ ” 25 Obutali butuukirivu bwammwe bubibakweseebibi byammwe bibaggyeeko ebirungi. 26 “Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange;abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi.Batega abantu omutego. 27 Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi,enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe.Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga,ne bagejja era ne banyirira. 28 Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya,abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango,era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba. 29 Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?”bw’ayogera MUKAMA.“Nneme okwesasuza ku ggwangaeriri nga eryo? 30 “Ekigambo eky’ekitaloera eky’ekivve kigudde mu nsi: 31 Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba,bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala.Naye ku nkomereromunaakola mutya?”

In Other Versions

Jeremiah 5 in the ANGEFD

Jeremiah 5 in the ANTPNG2D

Jeremiah 5 in the AS21

Jeremiah 5 in the BAGH

Jeremiah 5 in the BBPNG

Jeremiah 5 in the BBT1E

Jeremiah 5 in the BDS

Jeremiah 5 in the BEV

Jeremiah 5 in the BHAD

Jeremiah 5 in the BIB

Jeremiah 5 in the BLPT

Jeremiah 5 in the BNT

Jeremiah 5 in the BNTABOOT

Jeremiah 5 in the BNTLV

Jeremiah 5 in the BOATCB

Jeremiah 5 in the BOATCB2

Jeremiah 5 in the BOBCV

Jeremiah 5 in the BOCNT

Jeremiah 5 in the BOECS

Jeremiah 5 in the BOGWICC

Jeremiah 5 in the BOHCB

Jeremiah 5 in the BOHCV

Jeremiah 5 in the BOHLNT

Jeremiah 5 in the BOHNTLTAL

Jeremiah 5 in the BOICB

Jeremiah 5 in the BOILNTAP

Jeremiah 5 in the BOITCV

Jeremiah 5 in the BOKCV

Jeremiah 5 in the BOKCV2

Jeremiah 5 in the BOKHWOG

Jeremiah 5 in the BOKSSV

Jeremiah 5 in the BOLCB2

Jeremiah 5 in the BOMCV

Jeremiah 5 in the BONAV

Jeremiah 5 in the BONCB

Jeremiah 5 in the BONLT

Jeremiah 5 in the BONUT2

Jeremiah 5 in the BOPLNT

Jeremiah 5 in the BOSCB

Jeremiah 5 in the BOSNC

Jeremiah 5 in the BOTLNT

Jeremiah 5 in the BOVCB

Jeremiah 5 in the BOYCB

Jeremiah 5 in the BPBB

Jeremiah 5 in the BPH

Jeremiah 5 in the BSB

Jeremiah 5 in the CCB

Jeremiah 5 in the CUV

Jeremiah 5 in the CUVS

Jeremiah 5 in the DBT

Jeremiah 5 in the DGDNT

Jeremiah 5 in the DHNT

Jeremiah 5 in the DNT

Jeremiah 5 in the ELBE

Jeremiah 5 in the EMTV

Jeremiah 5 in the ESV

Jeremiah 5 in the FBV

Jeremiah 5 in the FEB

Jeremiah 5 in the GGMNT

Jeremiah 5 in the GNT

Jeremiah 5 in the HARY

Jeremiah 5 in the HNT

Jeremiah 5 in the IRVA

Jeremiah 5 in the IRVB

Jeremiah 5 in the IRVG

Jeremiah 5 in the IRVH

Jeremiah 5 in the IRVK

Jeremiah 5 in the IRVM

Jeremiah 5 in the IRVM2

Jeremiah 5 in the IRVO

Jeremiah 5 in the IRVP

Jeremiah 5 in the IRVT

Jeremiah 5 in the IRVT2

Jeremiah 5 in the IRVU

Jeremiah 5 in the ISVN

Jeremiah 5 in the JSNT

Jeremiah 5 in the KAPI

Jeremiah 5 in the KBT1ETNIK

Jeremiah 5 in the KBV

Jeremiah 5 in the KJV

Jeremiah 5 in the KNFD

Jeremiah 5 in the LBA

Jeremiah 5 in the LBLA

Jeremiah 5 in the LNT

Jeremiah 5 in the LSV

Jeremiah 5 in the MAAL

Jeremiah 5 in the MBV

Jeremiah 5 in the MBV2

Jeremiah 5 in the MHNT

Jeremiah 5 in the MKNFD

Jeremiah 5 in the MNG

Jeremiah 5 in the MNT

Jeremiah 5 in the MNT2

Jeremiah 5 in the MRS1T

Jeremiah 5 in the NAA

Jeremiah 5 in the NASB

Jeremiah 5 in the NBLA

Jeremiah 5 in the NBS

Jeremiah 5 in the NBVTP

Jeremiah 5 in the NET2

Jeremiah 5 in the NIV11

Jeremiah 5 in the NNT

Jeremiah 5 in the NNT2

Jeremiah 5 in the NNT3

Jeremiah 5 in the PDDPT

Jeremiah 5 in the PFNT

Jeremiah 5 in the RMNT

Jeremiah 5 in the SBIAS

Jeremiah 5 in the SBIBS

Jeremiah 5 in the SBIBS2

Jeremiah 5 in the SBICS

Jeremiah 5 in the SBIDS

Jeremiah 5 in the SBIGS

Jeremiah 5 in the SBIHS

Jeremiah 5 in the SBIIS

Jeremiah 5 in the SBIIS2

Jeremiah 5 in the SBIIS3

Jeremiah 5 in the SBIKS

Jeremiah 5 in the SBIKS2

Jeremiah 5 in the SBIMS

Jeremiah 5 in the SBIOS

Jeremiah 5 in the SBIPS

Jeremiah 5 in the SBISS

Jeremiah 5 in the SBITS

Jeremiah 5 in the SBITS2

Jeremiah 5 in the SBITS3

Jeremiah 5 in the SBITS4

Jeremiah 5 in the SBIUS

Jeremiah 5 in the SBIVS

Jeremiah 5 in the SBT

Jeremiah 5 in the SBT1E

Jeremiah 5 in the SCHL

Jeremiah 5 in the SNT

Jeremiah 5 in the SUSU

Jeremiah 5 in the SUSU2

Jeremiah 5 in the SYNO

Jeremiah 5 in the TBIAOTANT

Jeremiah 5 in the TBT1E

Jeremiah 5 in the TBT1E2

Jeremiah 5 in the TFTIP

Jeremiah 5 in the TFTU

Jeremiah 5 in the TGNTATF3T

Jeremiah 5 in the THAI

Jeremiah 5 in the TNFD

Jeremiah 5 in the TNT

Jeremiah 5 in the TNTIK

Jeremiah 5 in the TNTIL

Jeremiah 5 in the TNTIN

Jeremiah 5 in the TNTIP

Jeremiah 5 in the TNTIZ

Jeremiah 5 in the TOMA

Jeremiah 5 in the TTENT

Jeremiah 5 in the UBG

Jeremiah 5 in the UGV

Jeremiah 5 in the UGV2

Jeremiah 5 in the UGV3

Jeremiah 5 in the VBL

Jeremiah 5 in the VDCC

Jeremiah 5 in the YALU

Jeremiah 5 in the YAPE

Jeremiah 5 in the YBVTP

Jeremiah 5 in the ZBP