Joel 2 (BOLCB)

1 Bakabona mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni.N’akagombe ak’okulabula kavugire ku lusozi lwange olutukuvu. Buli muntu yenna mu ggwanga akankane olw’entiisa,kubanga olunaku lwa MUKAMA lusembedde,era lunaatera okutuuka. 2 Luliba olunaku olutaliiko ssanyu, olw’ekizikiza;olunaku olw’ebire ebingi n’ekizikiza ekikutte.Eggye ery’enzige ery’amaanyi ennyo,ng’ery’abantu abalwanyi ab’ekitalo, libuutikidde ensozi.Tewabangawo ggye lirifaanana mu biro byonna eby’edda,era teribaayo liryenkana mu mirembe gyonna egiriddawo. 3 Enzige ezikulembedde zirya ng’omuliro ogwokya buli wantu,n’ezizivaako emabega nazo zibizikiririze ddala ng’ennimi z’omuliro.Mu maaso gye ziraga ensi erabika bulungi ng’ennimiro ya Adeni,naye gye ziva buli kimu zikiridde;ensi yonna zigirese nga ddungu jjereere. 4 Zifaanana ng’embalaasi,era zidduka ng’embalaasi ez’entalo. 5 Zigenda zibuuka ku nsozinga zikekera ng’amagaali agasikibwa embalaasi bwe gakekera;ne ziwuuma nga bwe zitulikatulika ng’omuliro ogwokya ebisubi ebikalu; era ngaziri ng’eggye eddene mu lutalo eryetegekedde okulumba omulabe. 6 Abantu abazirabyeko nga zisembera bali mu bulumi bungi,era bonna beeraliikirivu. 7 Zirumba n’amaanyi ng’eggye ery’abalwanyi,ne ziwalampa ebisenge ng’abajaasi.Zikumbira mu nnyiriri zaazo nga zitereera bulungiawatali kuwaba n’akamu. 8 Tezirinnyaganako,buli emu ekumbira mu kkubo lyayo.Ziwaguza mu buli kyakulwanyisa kyonna,ne watabaawo kisobola kuziziyiza. 9 Zifubutuka ne zigwira ekibuga.Zikiwalampa ne zibuna bbugwe waakyo.Zirinnya amayumbane ziyingirira mu madirisa ng’ababbi bwe bakola. 10 Zikankanya ensiera n’eggulu ne lijugumira.Zibuutikira enjuba n’omwezi,era n’emmunyeenye tezikyayaka. 11 MUKAMA akulembera eggye lyen’eddoboozi eribwatuuka.Eggye lya MUKAMA ddene nnyo era lya maanyi.Abalirimu abatuukiriza ebiragiro bye ba maanyi.Kubanga olunaku lwa MUKAMA lukuluera lwa ntiisa nnyo.Ani ayinza okulugumira? 12 MUKAMA kyava agamba nti,“Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.” 13 Muyuze emitima gyammweso si byambalo byammwe.Mudde eri MUKAMA Katonda wammwe,kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa. 14 Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,n’abawa omukisa gwene musobola n’okuwaayo eri MUKAMA Katonda wammweekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa? 15 Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni,mulangirire okusiiba okutukuvu.Muyite olukuŋŋaana olussaamu Katonda ekitiibwa. 16 Mukuŋŋaanye abantu bonna.Mutukuze ekibiina ekyo ekikuŋŋaanye.Muyite abakulu abakulembeze.Muleete abaana abaton’abo abakyali ku mabeere.N’oyo eyakawasa aveeyo mu kisenge kye,n’eyakafumbirwa naye aveeyo gy’ali. 17 Bakabona abaweereza ba MUKAMAbayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,bakaabirire MUKAMA nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi MUKAMA;abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafugaera n’okubasekerera.Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ” 18 Awo MUKAMA n’akwatirwa ensi ye ekisa,n’asaasira abantu be. 19 N’ayanukula abantu be nti,“Muwulirize, nzija kubaweereza emmere enkalu, n’envinnyo, n’amafuta,ebimala okubakkusiza ddala,era siriddayo kubaleka, ne mufuuka ekivume,bannaggwanga amalala ne babasekerera. 20 “Ndibagobako eggye ery’omu bukiikakkonone ndigobera mu ddungu ery’ewala ennyo.Ekibinja ekikulembeddemu ndikigobera mu nnyanja ey’Ebuvanjuba,n’ekibinja eky’emabega ndikigobera mu nnyanja ey’Ebugwanjuba.Ekivundu n’okuwunya birituuka walaokusinga ebyo byonna bye libakoze.” 21 Mwe abali mu nsi, temutya.Musanyuke era mujaguze;kubanga MUKAMA abakoledde ebikulu. 22 Nammwe ensolo ez’omu nsiko temutya;kubanga omuddo gwonna mu nsiko gusibukidde.Emiti gibaze ebibala byagyo,era emitiini n’emizabbibu nagyo gibaze ebibala bingi. 23 Musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni;mujagulize MUKAMA Katonda wammwe.Kubanga abawaddeenkuba esooka mu butuukirivu.Era abawadde enkuba nnyingi esooka n’esembayomu mwaka ng’obw’edda. 24 Amawuuliro gammwe galijjula eŋŋaano,n’amasogolero gammwe galijjula envinnyo n’amafuta n’okubooga ne gabooga. 25 “Ndibaddizaawo byonna enzige bye zaalya mu myaka egyo.Lyali ggye lyange ery’amaanyi lye nabasindikira nga lirimu lusejjera,n’enzige ezisala obusazi,awamu n’ezo ezizikiririza ddala. 26 Kale, munaabanga n’ebyokulya bingi nga bwe muneetaaganga.Munaatenderezanga erinnya lya MUKAMA Katonda wammweabakoledde ebintu ebirungi bwe bityo.Era abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa. 27 Mulimanya nga ndi wakati mu Isirayiri,era nga Nze, MUKAMA, Nze Katonda wammwe,so tewali mulala;n’abantu bange tebakyaddayo kuswazibwa. 28 “Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;abakadde baliroota ebirooto,n’abavubuka bammwe balyolesebwa. 29 Mu biro ebyondifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi. 30 Era ndyolesa ebyamagero mu ggulune ku nsi:omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka. 31 Enjuba erifuuka ekizikiza,n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,olunaku lwa MUKAMA olukulu era olw’entiisa nga terunnatuuka. 32 Awo olulituuka buli alikoowoolaerinnya lya MUKAMA okusaasirwa alirokoka.Kubanga mu lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemiwalibaawo abaliwonanga MUKAMA bw’ayogedde,ne mu abo abalifikkawomulibaamu abo MUKAMA b’aliyita.”

In Other Versions

Joel 2 in the ANGEFD

Joel 2 in the ANTPNG2D

Joel 2 in the AS21

Joel 2 in the BAGH

Joel 2 in the BBPNG

Joel 2 in the BBT1E

Joel 2 in the BDS

Joel 2 in the BEV

Joel 2 in the BHAD

Joel 2 in the BIB

Joel 2 in the BLPT

Joel 2 in the BNT

Joel 2 in the BNTABOOT

Joel 2 in the BNTLV

Joel 2 in the BOATCB

Joel 2 in the BOATCB2

Joel 2 in the BOBCV

Joel 2 in the BOCNT

Joel 2 in the BOECS

Joel 2 in the BOGWICC

Joel 2 in the BOHCB

Joel 2 in the BOHCV

Joel 2 in the BOHLNT

Joel 2 in the BOHNTLTAL

Joel 2 in the BOICB

Joel 2 in the BOILNTAP

Joel 2 in the BOITCV

Joel 2 in the BOKCV

Joel 2 in the BOKCV2

Joel 2 in the BOKHWOG

Joel 2 in the BOKSSV

Joel 2 in the BOLCB2

Joel 2 in the BOMCV

Joel 2 in the BONAV

Joel 2 in the BONCB

Joel 2 in the BONLT

Joel 2 in the BONUT2

Joel 2 in the BOPLNT

Joel 2 in the BOSCB

Joel 2 in the BOSNC

Joel 2 in the BOTLNT

Joel 2 in the BOVCB

Joel 2 in the BOYCB

Joel 2 in the BPBB

Joel 2 in the BPH

Joel 2 in the BSB

Joel 2 in the CCB

Joel 2 in the CUV

Joel 2 in the CUVS

Joel 2 in the DBT

Joel 2 in the DGDNT

Joel 2 in the DHNT

Joel 2 in the DNT

Joel 2 in the ELBE

Joel 2 in the EMTV

Joel 2 in the ESV

Joel 2 in the FBV

Joel 2 in the FEB

Joel 2 in the GGMNT

Joel 2 in the GNT

Joel 2 in the HARY

Joel 2 in the HNT

Joel 2 in the IRVA

Joel 2 in the IRVB

Joel 2 in the IRVG

Joel 2 in the IRVH

Joel 2 in the IRVK

Joel 2 in the IRVM

Joel 2 in the IRVM2

Joel 2 in the IRVO

Joel 2 in the IRVP

Joel 2 in the IRVT

Joel 2 in the IRVT2

Joel 2 in the IRVU

Joel 2 in the ISVN

Joel 2 in the JSNT

Joel 2 in the KAPI

Joel 2 in the KBT1ETNIK

Joel 2 in the KBV

Joel 2 in the KJV

Joel 2 in the KNFD

Joel 2 in the LBA

Joel 2 in the LBLA

Joel 2 in the LNT

Joel 2 in the LSV

Joel 2 in the MAAL

Joel 2 in the MBV

Joel 2 in the MBV2

Joel 2 in the MHNT

Joel 2 in the MKNFD

Joel 2 in the MNG

Joel 2 in the MNT

Joel 2 in the MNT2

Joel 2 in the MRS1T

Joel 2 in the NAA

Joel 2 in the NASB

Joel 2 in the NBLA

Joel 2 in the NBS

Joel 2 in the NBVTP

Joel 2 in the NET2

Joel 2 in the NIV11

Joel 2 in the NNT

Joel 2 in the NNT2

Joel 2 in the NNT3

Joel 2 in the PDDPT

Joel 2 in the PFNT

Joel 2 in the RMNT

Joel 2 in the SBIAS

Joel 2 in the SBIBS

Joel 2 in the SBIBS2

Joel 2 in the SBICS

Joel 2 in the SBIDS

Joel 2 in the SBIGS

Joel 2 in the SBIHS

Joel 2 in the SBIIS

Joel 2 in the SBIIS2

Joel 2 in the SBIIS3

Joel 2 in the SBIKS

Joel 2 in the SBIKS2

Joel 2 in the SBIMS

Joel 2 in the SBIOS

Joel 2 in the SBIPS

Joel 2 in the SBISS

Joel 2 in the SBITS

Joel 2 in the SBITS2

Joel 2 in the SBITS3

Joel 2 in the SBITS4

Joel 2 in the SBIUS

Joel 2 in the SBIVS

Joel 2 in the SBT

Joel 2 in the SBT1E

Joel 2 in the SCHL

Joel 2 in the SNT

Joel 2 in the SUSU

Joel 2 in the SUSU2

Joel 2 in the SYNO

Joel 2 in the TBIAOTANT

Joel 2 in the TBT1E

Joel 2 in the TBT1E2

Joel 2 in the TFTIP

Joel 2 in the TFTU

Joel 2 in the TGNTATF3T

Joel 2 in the THAI

Joel 2 in the TNFD

Joel 2 in the TNT

Joel 2 in the TNTIK

Joel 2 in the TNTIL

Joel 2 in the TNTIN

Joel 2 in the TNTIP

Joel 2 in the TNTIZ

Joel 2 in the TOMA

Joel 2 in the TTENT

Joel 2 in the UBG

Joel 2 in the UGV

Joel 2 in the UGV2

Joel 2 in the UGV3

Joel 2 in the VBL

Joel 2 in the VDCC

Joel 2 in the YALU

Joel 2 in the YAPE

Joel 2 in the YBVTP

Joel 2 in the ZBP