Joshua 5 (BOLCB)

1 Awo bakabaka ba ab’Amoli abaali emitala ebugwanjuba bw’omugga Yoludaani, ne bakabaka b’Abakanani abaliraanye ennyanja bwe baawulira nga MUKAMA yakaliza amazzi g’omugga Yoludaani Abayisirayiri basobole okusomoka, ne batekemuka omwoyo olw’Abayisirayiri. 2 Mu kiseera ekyo MUKAMA n’agamba Yoswa nti, “Weekolere obwambe obw’amayinja amoogi, okomole abasajja bonna Abayisirayiri abatakomolwanga.” 3 Bw’atyo Yoswa n’akola obwambe mu mayinja amoogi n’akomolera abasajja Abayisirayiri ku lusozi oluyitibwa Gibeyakalaloosi. 4 Ensonga Yoswa kyeyava abakomola y’eno: abasajja Abayisirayiri abaava e Misiri nga mwe muli n’abalwanyi bonna, baafiira mu ddungu. 5 Abaava e Misiri bonna baali bamaze okukomolebwa, kyokka abaana baabwe abaazaalirwa mu ddungu tebaali bakomole. 6 Abayisirayiri baamala emyaka amakumi ana nga batambula mu ddungu okutuusa bonna, nga mwe muli n’abalwanyi, lwe baafa ne baggwaawo, kubanga baagaana okugondera eddoboozi lya MUKAMA. MUKAMA kyeyava abalayirira nti talibaganya kutuuka mu nsi eyo gye yasuubiza bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. 7 Kale mu bifo byabwe MUKAMA yazzaawo baana baabwe era abo Yoswa be yakomola kubanga tebaakomolerwa mu kkubo. 8 Bonna nga bamaze okukomolwa tebaava mu weema zaabwe mu lusiisira, okutuusa nga bamaze okuwona. 9 MUKAMA n’agamba Yoswa nti, “Okuva olwa leero mbaggyeeko ekivume ky’e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Girugaali n’okutuusa kaakano. 10 Awo Abayisirayiri bwe baali bakyasiisidde e Girugaali embaga ey’Okuyitako n’etuuka era ne bagirya akawungeezi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, mu lusenyi lw’e Yeriko. 11 Enkeera ne balya emmere ey’omu nsi y’e Kanani: emigaati egitali mizimbulukuse n’empeke ensiike. 12 Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere y’omu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo. 13 Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso n’alaba omusajja akutte ekitala ekisowole ng’amwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera n’amubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye n’amuddamu nti, 14 “Siriiko ludda. Nze mukulu w’eggye lya MUKAMA era ntuuse.” Yoswa n’agwa wansi, n’avuunama n’amusinza era n’amubuuza nti, “MUKAMA wange, oŋŋamba ki omuddu wo?” 15 Naye omukulu w’eggye lya MUKAMA n’amuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mw’oli kitukuvu.” Ne Yoswa naye n’akola nga bwe yalagirwa.

In Other Versions

Joshua 5 in the ANGEFD

Joshua 5 in the ANTPNG2D

Joshua 5 in the AS21

Joshua 5 in the BAGH

Joshua 5 in the BBPNG

Joshua 5 in the BBT1E

Joshua 5 in the BDS

Joshua 5 in the BEV

Joshua 5 in the BHAD

Joshua 5 in the BIB

Joshua 5 in the BLPT

Joshua 5 in the BNT

Joshua 5 in the BNTABOOT

Joshua 5 in the BNTLV

Joshua 5 in the BOATCB

Joshua 5 in the BOATCB2

Joshua 5 in the BOBCV

Joshua 5 in the BOCNT

Joshua 5 in the BOECS

Joshua 5 in the BOGWICC

Joshua 5 in the BOHCB

Joshua 5 in the BOHCV

Joshua 5 in the BOHLNT

Joshua 5 in the BOHNTLTAL

Joshua 5 in the BOICB

Joshua 5 in the BOILNTAP

Joshua 5 in the BOITCV

Joshua 5 in the BOKCV

Joshua 5 in the BOKCV2

Joshua 5 in the BOKHWOG

Joshua 5 in the BOKSSV

Joshua 5 in the BOLCB2

Joshua 5 in the BOMCV

Joshua 5 in the BONAV

Joshua 5 in the BONCB

Joshua 5 in the BONLT

Joshua 5 in the BONUT2

Joshua 5 in the BOPLNT

Joshua 5 in the BOSCB

Joshua 5 in the BOSNC

Joshua 5 in the BOTLNT

Joshua 5 in the BOVCB

Joshua 5 in the BOYCB

Joshua 5 in the BPBB

Joshua 5 in the BPH

Joshua 5 in the BSB

Joshua 5 in the CCB

Joshua 5 in the CUV

Joshua 5 in the CUVS

Joshua 5 in the DBT

Joshua 5 in the DGDNT

Joshua 5 in the DHNT

Joshua 5 in the DNT

Joshua 5 in the ELBE

Joshua 5 in the EMTV

Joshua 5 in the ESV

Joshua 5 in the FBV

Joshua 5 in the FEB

Joshua 5 in the GGMNT

Joshua 5 in the GNT

Joshua 5 in the HARY

Joshua 5 in the HNT

Joshua 5 in the IRVA

Joshua 5 in the IRVB

Joshua 5 in the IRVG

Joshua 5 in the IRVH

Joshua 5 in the IRVK

Joshua 5 in the IRVM

Joshua 5 in the IRVM2

Joshua 5 in the IRVO

Joshua 5 in the IRVP

Joshua 5 in the IRVT

Joshua 5 in the IRVT2

Joshua 5 in the IRVU

Joshua 5 in the ISVN

Joshua 5 in the JSNT

Joshua 5 in the KAPI

Joshua 5 in the KBT1ETNIK

Joshua 5 in the KBV

Joshua 5 in the KJV

Joshua 5 in the KNFD

Joshua 5 in the LBA

Joshua 5 in the LBLA

Joshua 5 in the LNT

Joshua 5 in the LSV

Joshua 5 in the MAAL

Joshua 5 in the MBV

Joshua 5 in the MBV2

Joshua 5 in the MHNT

Joshua 5 in the MKNFD

Joshua 5 in the MNG

Joshua 5 in the MNT

Joshua 5 in the MNT2

Joshua 5 in the MRS1T

Joshua 5 in the NAA

Joshua 5 in the NASB

Joshua 5 in the NBLA

Joshua 5 in the NBS

Joshua 5 in the NBVTP

Joshua 5 in the NET2

Joshua 5 in the NIV11

Joshua 5 in the NNT

Joshua 5 in the NNT2

Joshua 5 in the NNT3

Joshua 5 in the PDDPT

Joshua 5 in the PFNT

Joshua 5 in the RMNT

Joshua 5 in the SBIAS

Joshua 5 in the SBIBS

Joshua 5 in the SBIBS2

Joshua 5 in the SBICS

Joshua 5 in the SBIDS

Joshua 5 in the SBIGS

Joshua 5 in the SBIHS

Joshua 5 in the SBIIS

Joshua 5 in the SBIIS2

Joshua 5 in the SBIIS3

Joshua 5 in the SBIKS

Joshua 5 in the SBIKS2

Joshua 5 in the SBIMS

Joshua 5 in the SBIOS

Joshua 5 in the SBIPS

Joshua 5 in the SBISS

Joshua 5 in the SBITS

Joshua 5 in the SBITS2

Joshua 5 in the SBITS3

Joshua 5 in the SBITS4

Joshua 5 in the SBIUS

Joshua 5 in the SBIVS

Joshua 5 in the SBT

Joshua 5 in the SBT1E

Joshua 5 in the SCHL

Joshua 5 in the SNT

Joshua 5 in the SUSU

Joshua 5 in the SUSU2

Joshua 5 in the SYNO

Joshua 5 in the TBIAOTANT

Joshua 5 in the TBT1E

Joshua 5 in the TBT1E2

Joshua 5 in the TFTIP

Joshua 5 in the TFTU

Joshua 5 in the TGNTATF3T

Joshua 5 in the THAI

Joshua 5 in the TNFD

Joshua 5 in the TNT

Joshua 5 in the TNTIK

Joshua 5 in the TNTIL

Joshua 5 in the TNTIN

Joshua 5 in the TNTIP

Joshua 5 in the TNTIZ

Joshua 5 in the TOMA

Joshua 5 in the TTENT

Joshua 5 in the UBG

Joshua 5 in the UGV

Joshua 5 in the UGV2

Joshua 5 in the UGV3

Joshua 5 in the VBL

Joshua 5 in the VDCC

Joshua 5 in the YALU

Joshua 5 in the YAPE

Joshua 5 in the YBVTP

Joshua 5 in the ZBP