Luke 10 (BOLCB)

1 Awo oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’alonda abayigirizwa abalala nsanvu mu babiri, n’abatuma babiri babiri bamukulembere bagende mu buli kibuga ekinene, na buli kifo mwe yali anaatera okutuuka. 2 N’abagamba nti, “Eby’okukungula bingi, naye abakozi abakungula batono. Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye. 3 Kale, mugende. Kyokka mbatuma ng’abaana b’endiga mu misege. 4 Temugenda na nsimbi era temutwala nsawo ya kusabiriza wadde omugogo gw’engatto, ate temubaako gwe mulamusa mu kkubo. 5 “Buli nnyumba gye muyingirangamu musookanga kugamba nti, ‘Emirembe gibeere mu nnyumba eno.’ 6 Ennyumba eyo bw’eneebangamu omuntu ow’emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye, bwe kitaabenga bwe kityo, emirembe gyammwe ginaabaddiranga. 7 Mu nnyumba omwo, mwe musookedde, munaalyanga era ne munywa nabo, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu ne mudda mu ndala. 8 “Buli kibuga kye mutuukangamu ne babaaniriza, mulyenga ebyo bye babawadde okulya. 9 Muwonyenga abalwadde abalimu, era mugambenga abantu abo nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’ 10 Naye bwe muyingiranga mu kibuga kyonna ne batabaaniriza, mulaganga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti, 11 ‘N’enfuufu ekwatidde ku bigere byaffe tugibakunkumulira. Naye mumanye kino nti obwakabaka bwa Katonda busembedde.’ 12 Mbategeeza nti ku lunaku luli, Sodomu kigenda kugumiikirizika okusinga ekibuga ekyo. 13 “Zikusanze, ggwe Kolaziini! Naawe zikusanze, Besusayida! Kubanga ebyamagero ekyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne mu Sidoni, abantu baamu bandibadde beenenya dda, nga bambadde n’ebibukutu nga batudde mu vvu okulaga nti beenenyezza. 14 Naye Ttuulo ne Sidoni birisaasirwa okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango. 15 Ate ggwe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? Nedda, ogenda kuserengesebwa wansi emagombe. 16 “Buli abawuliriza mmwe aba awulirizza Nze, na buli abanyooma aba anyoomye Nze, n’oyo anyooma Nze aba anyoomye eyantuma.” 17 Awo abayigirizwa ensavu mu ababiri bwe baakomawo, nga basanyuka ne bategeeza Yesu nti, “Mukama waffe, ne baddayimooni baatugondera mu linnya lyo.” 18 Yesu n’abagamba nti, “Nalaba Setaani ng’agwa okuva mu ggulu ng’okumyansa kw’eraddu! 19 Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez’obusagwa n’okuwangula amaanyi gonna ag’omulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi. 20 Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.” 21 Mu kiseera ekyo Yesu n’ajjula essanyu ku bwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Nkutendereza Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga wakweka ebintu bino abagezi n’abayivu, naye n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima. 22 “Kitange yankwasa ebintu byonna. Tewali amanyi Mwana wabula Kitange, era tewali amanyi Kitange wabula Omwana awamu n’abo Omwana b’asiima okubamubikkulira.” 23 Awo n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba mu kyama nti, “Mulina omukisa mmwe okulaba bino bye mulaba. 24 Kubanga mbagamba nti, bannabbi bangi ne bakabaka bangi abaayagala okulaba bye mulaba n’okuwulira bye muwulira naye tekyasoboka.” 25 Kale laba omunnyonnyozi w’amateeka n’asituka, ng’ayagala okugezesa Yesu, n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” 26 Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Gagamba gatya?” 27 Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ” 28 Yesu n’amugamba nti, “Ozzeemu bulungi. Kale kolanga bw’otyo oliba mulamu.” 29 Naye omunnyonnyozi w’amateeka okwagala okulaga nga bw’ali omutuufu n’agamba Yesu nti, “Muliraanwa wange ye ani?” 30 Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko, n’agwa mu banyazi, ne bamukwata ne bamwambulamu engoye ze ne bazimutwalako, ne bamukuba nnyo, ne bamuleka awo ku kkubo ng’abulako katono okufa. 31 Awo kabona eyali tategedde n’ajjira mu kkubo eryo, naye bwe yatuuka ku musajja ng’agudde awo ku kkubo n’amwebalama bwebalami n’amuyitako. 32 Omuleevi naye yamutuukako n’amulaba, n’adda ku ludda olulala olw’oluguudo, n’amuyitako buyisi 33 Naye Omusamaliya bwe yali ng’ali ku lugendo lwe mu kkubo eryo, n’atuuka omusajja we yali; bwe yamulaba n’amukwatirwa ekisa, 34 n’ajja w’ali, n’amunyiga ebiwundu ng’ayiwako amafuta, ne wayini ebiwundu n’abisibako ebiwero. Awo n’ateeka omusajja ku nsolo ye n’amutwala mu nnyumba esulwamu abatambuze, n’amujjanjaba. 35 Enkeera Omusamaliya n’addira ddinaali bbiri n’aziwa nannyini nnyumba. N’amugamba nti, ‘Nkusaba omujjanjabe, era ensimbi ezizo zonna z’olikozesa nga zino ze nkulekedde ziweddewo, ndizikuddizaawo nga nkomyewo.’ ” 36 “Kale olowooza, ku bantu abo abasatu aluwa eyali muliraanwa w’omusajja oli eyagwa mu banyazi?” 37 Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “Oyo eyamukolera ebyekisa.”Yesu n’amugamba nti, “Naawe genda okole bw’otyo.” 38 Awo Yesu n’abayigirizwa be nga bali ku lugendo lwabwe, ne batuuka mu kabuga akamu, omukazi erinnya lye Maliza n’asembeza Yesu mu maka ge. 39 Yalina muganda we erinnya lye Maliyamu. N’atuula awo wansi ku bigere bya Yesu, ng’awuliriza ebigambo Yesu bye yali ayogera. 40 Naye Maliza yali yeetawula mu mirimu ng’ategekera abagenyi, n’ajja awali Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andekedde emirimu nzekka?” 41 Naye Mukama waffe n’amuddamu nti, “Maliza, Maliza, ebintu ebikutawaanya bingi, 42 naye waliwo ekintu kimu kyokka ekyetaagibwa, Maliyamu alonze omugabo omulungi ogutagenda kumuggyibwako.”

In Other Versions

Luke 10 in the ANGEFD

Luke 10 in the ANTPNG2D

Luke 10 in the AS21

Luke 10 in the BAGH

Luke 10 in the BBPNG

Luke 10 in the BBT1E

Luke 10 in the BDS

Luke 10 in the BEV

Luke 10 in the BHAD

Luke 10 in the BIB

Luke 10 in the BLPT

Luke 10 in the BNT

Luke 10 in the BNTABOOT

Luke 10 in the BNTLV

Luke 10 in the BOATCB

Luke 10 in the BOATCB2

Luke 10 in the BOBCV

Luke 10 in the BOCNT

Luke 10 in the BOECS

Luke 10 in the BOGWICC

Luke 10 in the BOHCB

Luke 10 in the BOHCV

Luke 10 in the BOHLNT

Luke 10 in the BOHNTLTAL

Luke 10 in the BOICB

Luke 10 in the BOILNTAP

Luke 10 in the BOITCV

Luke 10 in the BOKCV

Luke 10 in the BOKCV2

Luke 10 in the BOKHWOG

Luke 10 in the BOKSSV

Luke 10 in the BOLCB2

Luke 10 in the BOMCV

Luke 10 in the BONAV

Luke 10 in the BONCB

Luke 10 in the BONLT

Luke 10 in the BONUT2

Luke 10 in the BOPLNT

Luke 10 in the BOSCB

Luke 10 in the BOSNC

Luke 10 in the BOTLNT

Luke 10 in the BOVCB

Luke 10 in the BOYCB

Luke 10 in the BPBB

Luke 10 in the BPH

Luke 10 in the BSB

Luke 10 in the CCB

Luke 10 in the CUV

Luke 10 in the CUVS

Luke 10 in the DBT

Luke 10 in the DGDNT

Luke 10 in the DHNT

Luke 10 in the DNT

Luke 10 in the ELBE

Luke 10 in the EMTV

Luke 10 in the ESV

Luke 10 in the FBV

Luke 10 in the FEB

Luke 10 in the GGMNT

Luke 10 in the GNT

Luke 10 in the HARY

Luke 10 in the HNT

Luke 10 in the IRVA

Luke 10 in the IRVB

Luke 10 in the IRVG

Luke 10 in the IRVH

Luke 10 in the IRVK

Luke 10 in the IRVM

Luke 10 in the IRVM2

Luke 10 in the IRVO

Luke 10 in the IRVP

Luke 10 in the IRVT

Luke 10 in the IRVT2

Luke 10 in the IRVU

Luke 10 in the ISVN

Luke 10 in the JSNT

Luke 10 in the KAPI

Luke 10 in the KBT1ETNIK

Luke 10 in the KBV

Luke 10 in the KJV

Luke 10 in the KNFD

Luke 10 in the LBA

Luke 10 in the LBLA

Luke 10 in the LNT

Luke 10 in the LSV

Luke 10 in the MAAL

Luke 10 in the MBV

Luke 10 in the MBV2

Luke 10 in the MHNT

Luke 10 in the MKNFD

Luke 10 in the MNG

Luke 10 in the MNT

Luke 10 in the MNT2

Luke 10 in the MRS1T

Luke 10 in the NAA

Luke 10 in the NASB

Luke 10 in the NBLA

Luke 10 in the NBS

Luke 10 in the NBVTP

Luke 10 in the NET2

Luke 10 in the NIV11

Luke 10 in the NNT

Luke 10 in the NNT2

Luke 10 in the NNT3

Luke 10 in the PDDPT

Luke 10 in the PFNT

Luke 10 in the RMNT

Luke 10 in the SBIAS

Luke 10 in the SBIBS

Luke 10 in the SBIBS2

Luke 10 in the SBICS

Luke 10 in the SBIDS

Luke 10 in the SBIGS

Luke 10 in the SBIHS

Luke 10 in the SBIIS

Luke 10 in the SBIIS2

Luke 10 in the SBIIS3

Luke 10 in the SBIKS

Luke 10 in the SBIKS2

Luke 10 in the SBIMS

Luke 10 in the SBIOS

Luke 10 in the SBIPS

Luke 10 in the SBISS

Luke 10 in the SBITS

Luke 10 in the SBITS2

Luke 10 in the SBITS3

Luke 10 in the SBITS4

Luke 10 in the SBIUS

Luke 10 in the SBIVS

Luke 10 in the SBT

Luke 10 in the SBT1E

Luke 10 in the SCHL

Luke 10 in the SNT

Luke 10 in the SUSU

Luke 10 in the SUSU2

Luke 10 in the SYNO

Luke 10 in the TBIAOTANT

Luke 10 in the TBT1E

Luke 10 in the TBT1E2

Luke 10 in the TFTIP

Luke 10 in the TFTU

Luke 10 in the TGNTATF3T

Luke 10 in the THAI

Luke 10 in the TNFD

Luke 10 in the TNT

Luke 10 in the TNTIK

Luke 10 in the TNTIL

Luke 10 in the TNTIN

Luke 10 in the TNTIP

Luke 10 in the TNTIZ

Luke 10 in the TOMA

Luke 10 in the TTENT

Luke 10 in the UBG

Luke 10 in the UGV

Luke 10 in the UGV2

Luke 10 in the UGV3

Luke 10 in the VBL

Luke 10 in the VDCC

Luke 10 in the YALU

Luke 10 in the YAPE

Luke 10 in the YBVTP

Luke 10 in the ZBP