Luke 3 (BOLCB)

1 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’okufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga y’afuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga y’afuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga y’afuga Abireene, 2 Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda. 3 Yokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi, 4 nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,“Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti,Mulongoose ekkubo lya Mukama,Muluŋŋamye amakubo ge; 5 Buli kiwonvu kirijjuzibwa,na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,na buli ekyakyama kirigololwa,n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe. 6 Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.” 7 Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja? 8 Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu. 9 Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.” 10 Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?” 11 Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.” 12 Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?” 13 Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.” 14 Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”Yokaana n’abagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, n’empeera ebaweebwa ebamalenga.” 15 Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18 Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri. 19 Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze, 20 ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera. 21 Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka, 22 Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.” 23 Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu: ne Yusufu nga mwana wa Eri, 24 Eri nga mwana wa Mattati,ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki,ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu, 25 ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi,ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli,ne Esuli nga mwana wa Naggayi, 26 ne Naggayi nga mwana wa Maasi,ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini,ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda, 27 ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa,ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri,ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri, 28 ne Neeri nga mwana wa Mereki,ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu,ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri, 29 ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza,ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati,ne Mattati nga mwana wa Leevi, 30 ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda,ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu,ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu, 31 ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna,ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani,ne Nasani nga mwana wa Dawudi, 32 ne Dawudi nga mwana wa Yese,ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi,ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni, 33 ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni,ne Aluni nga mwana wa Kezulooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi,ne Pereezi nga mwana wa Yuda, 34 ne Yuda nga mwana wa Yakobo,ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu,ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli, 35 ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu,ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi,ne Eberi nga mwana wa Seera, 36 ne Sera nga mwana wa Kayinaani,ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu,ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka, 37 ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki,ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri,ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani, 38 ne Kayinaani nga mwana wa Enosi,ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu,ne Adamu nga mwana wa Katonda.

In Other Versions

Luke 3 in the ANGEFD

Luke 3 in the ANTPNG2D

Luke 3 in the AS21

Luke 3 in the BAGH

Luke 3 in the BBPNG

Luke 3 in the BBT1E

Luke 3 in the BDS

Luke 3 in the BEV

Luke 3 in the BHAD

Luke 3 in the BIB

Luke 3 in the BLPT

Luke 3 in the BNT

Luke 3 in the BNTABOOT

Luke 3 in the BNTLV

Luke 3 in the BOATCB

Luke 3 in the BOATCB2

Luke 3 in the BOBCV

Luke 3 in the BOCNT

Luke 3 in the BOECS

Luke 3 in the BOGWICC

Luke 3 in the BOHCB

Luke 3 in the BOHCV

Luke 3 in the BOHLNT

Luke 3 in the BOHNTLTAL

Luke 3 in the BOICB

Luke 3 in the BOILNTAP

Luke 3 in the BOITCV

Luke 3 in the BOKCV

Luke 3 in the BOKCV2

Luke 3 in the BOKHWOG

Luke 3 in the BOKSSV

Luke 3 in the BOLCB2

Luke 3 in the BOMCV

Luke 3 in the BONAV

Luke 3 in the BONCB

Luke 3 in the BONLT

Luke 3 in the BONUT2

Luke 3 in the BOPLNT

Luke 3 in the BOSCB

Luke 3 in the BOSNC

Luke 3 in the BOTLNT

Luke 3 in the BOVCB

Luke 3 in the BOYCB

Luke 3 in the BPBB

Luke 3 in the BPH

Luke 3 in the BSB

Luke 3 in the CCB

Luke 3 in the CUV

Luke 3 in the CUVS

Luke 3 in the DBT

Luke 3 in the DGDNT

Luke 3 in the DHNT

Luke 3 in the DNT

Luke 3 in the ELBE

Luke 3 in the EMTV

Luke 3 in the ESV

Luke 3 in the FBV

Luke 3 in the FEB

Luke 3 in the GGMNT

Luke 3 in the GNT

Luke 3 in the HARY

Luke 3 in the HNT

Luke 3 in the IRVA

Luke 3 in the IRVB

Luke 3 in the IRVG

Luke 3 in the IRVH

Luke 3 in the IRVK

Luke 3 in the IRVM

Luke 3 in the IRVM2

Luke 3 in the IRVO

Luke 3 in the IRVP

Luke 3 in the IRVT

Luke 3 in the IRVT2

Luke 3 in the IRVU

Luke 3 in the ISVN

Luke 3 in the JSNT

Luke 3 in the KAPI

Luke 3 in the KBT1ETNIK

Luke 3 in the KBV

Luke 3 in the KJV

Luke 3 in the KNFD

Luke 3 in the LBA

Luke 3 in the LBLA

Luke 3 in the LNT

Luke 3 in the LSV

Luke 3 in the MAAL

Luke 3 in the MBV

Luke 3 in the MBV2

Luke 3 in the MHNT

Luke 3 in the MKNFD

Luke 3 in the MNG

Luke 3 in the MNT

Luke 3 in the MNT2

Luke 3 in the MRS1T

Luke 3 in the NAA

Luke 3 in the NASB

Luke 3 in the NBLA

Luke 3 in the NBS

Luke 3 in the NBVTP

Luke 3 in the NET2

Luke 3 in the NIV11

Luke 3 in the NNT

Luke 3 in the NNT2

Luke 3 in the NNT3

Luke 3 in the PDDPT

Luke 3 in the PFNT

Luke 3 in the RMNT

Luke 3 in the SBIAS

Luke 3 in the SBIBS

Luke 3 in the SBIBS2

Luke 3 in the SBICS

Luke 3 in the SBIDS

Luke 3 in the SBIGS

Luke 3 in the SBIHS

Luke 3 in the SBIIS

Luke 3 in the SBIIS2

Luke 3 in the SBIIS3

Luke 3 in the SBIKS

Luke 3 in the SBIKS2

Luke 3 in the SBIMS

Luke 3 in the SBIOS

Luke 3 in the SBIPS

Luke 3 in the SBISS

Luke 3 in the SBITS

Luke 3 in the SBITS2

Luke 3 in the SBITS3

Luke 3 in the SBITS4

Luke 3 in the SBIUS

Luke 3 in the SBIVS

Luke 3 in the SBT

Luke 3 in the SBT1E

Luke 3 in the SCHL

Luke 3 in the SNT

Luke 3 in the SUSU

Luke 3 in the SUSU2

Luke 3 in the SYNO

Luke 3 in the TBIAOTANT

Luke 3 in the TBT1E

Luke 3 in the TBT1E2

Luke 3 in the TFTIP

Luke 3 in the TFTU

Luke 3 in the TGNTATF3T

Luke 3 in the THAI

Luke 3 in the TNFD

Luke 3 in the TNT

Luke 3 in the TNTIK

Luke 3 in the TNTIL

Luke 3 in the TNTIN

Luke 3 in the TNTIP

Luke 3 in the TNTIZ

Luke 3 in the TOMA

Luke 3 in the TTENT

Luke 3 in the UBG

Luke 3 in the UGV

Luke 3 in the UGV2

Luke 3 in the UGV3

Luke 3 in the VBL

Luke 3 in the VDCC

Luke 3 in the YALU

Luke 3 in the YAPE

Luke 3 in the YBVTP

Luke 3 in the ZBP