Malachi 3 (BOLCB)

1 “Laba, ntuma omubaka wange, alinkulembera era alirongoosa ekkubo nga sinnajja: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba ajja,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 2 “Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza. 3 Era alituula n’atunula ng’oyo alongoosa ffeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, bakabona ba Katonda, era alibasengejja ng’ezaabu n’effeeza bwe bisengejjebwa; balyoke baweeyo ssaddaaka mu butuukirivu. 4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kiryoke kisanyuse MUKAMA, nga mu nnaku ez’edda era nga mu myaka egyayita. 5 “Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya MUKAMA,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 6 “Kubanga nze MUKAMA sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza. 7 Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye.“Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’ 8 “Omuntu alinyaga Katonda?“Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’ “Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi. 9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze. 10 Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya. 11 Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so n’omuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 12 “Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino ky’ekisuubizo,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye. 13 “Weewaawo ebigambo byammwe gye ndi bibadde bya bukambwe,” bw’ayogera MUKAMA.“Ate nga mugamba nti, ‘Twakwogerako tutya obubi?’  14 “Mwayogera nti, ‘Eby’okuweereza Katonda tebigasa, era kigasa ki okukwata ebiragiro bye era n’okutambulira mu maaso ga MUKAMA ow’Eggye ng’abakungubaga? 15 Okuva kaakano abeegulumiza tubayita ba mukisa; abakozi b’ebibi bakulaakulana era n’abo abasoomoza Katonda nabo bawona.’ ” 16 Abo abatya MUKAMA bayogeragana bokka ne bokka, MUKAMA n’abawulira. Ekitabo eky’okujjukira abatya MUKAMA ne balowooza ku linnya lye, ne kiwandiikibwa ng’alaba. 17 “Kale baliba bange,” bw’ayogera MUKAMA ow’Eggye, “ku lunaku lwe ndibakyusizaako okuba ekintu kyange eky’omuwendo; era ndibasonyiwa ng’omuzadde bw’asonyiwa mutabani we amuweereza. 18 Omulundi omulala mulyawula omutuukirivu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.”

In Other Versions

Malachi 3 in the ANGEFD

Malachi 3 in the ANTPNG2D

Malachi 3 in the AS21

Malachi 3 in the BAGH

Malachi 3 in the BBPNG

Malachi 3 in the BBT1E

Malachi 3 in the BDS

Malachi 3 in the BEV

Malachi 3 in the BHAD

Malachi 3 in the BIB

Malachi 3 in the BLPT

Malachi 3 in the BNT

Malachi 3 in the BNTABOOT

Malachi 3 in the BNTLV

Malachi 3 in the BOATCB

Malachi 3 in the BOATCB2

Malachi 3 in the BOBCV

Malachi 3 in the BOCNT

Malachi 3 in the BOECS

Malachi 3 in the BOGWICC

Malachi 3 in the BOHCB

Malachi 3 in the BOHCV

Malachi 3 in the BOHLNT

Malachi 3 in the BOHNTLTAL

Malachi 3 in the BOICB

Malachi 3 in the BOILNTAP

Malachi 3 in the BOITCV

Malachi 3 in the BOKCV

Malachi 3 in the BOKCV2

Malachi 3 in the BOKHWOG

Malachi 3 in the BOKSSV

Malachi 3 in the BOLCB2

Malachi 3 in the BOMCV

Malachi 3 in the BONAV

Malachi 3 in the BONCB

Malachi 3 in the BONLT

Malachi 3 in the BONUT2

Malachi 3 in the BOPLNT

Malachi 3 in the BOSCB

Malachi 3 in the BOSNC

Malachi 3 in the BOTLNT

Malachi 3 in the BOVCB

Malachi 3 in the BOYCB

Malachi 3 in the BPBB

Malachi 3 in the BPH

Malachi 3 in the BSB

Malachi 3 in the CCB

Malachi 3 in the CUV

Malachi 3 in the CUVS

Malachi 3 in the DBT

Malachi 3 in the DGDNT

Malachi 3 in the DHNT

Malachi 3 in the DNT

Malachi 3 in the ELBE

Malachi 3 in the EMTV

Malachi 3 in the ESV

Malachi 3 in the FBV

Malachi 3 in the FEB

Malachi 3 in the GGMNT

Malachi 3 in the GNT

Malachi 3 in the HARY

Malachi 3 in the HNT

Malachi 3 in the IRVA

Malachi 3 in the IRVB

Malachi 3 in the IRVG

Malachi 3 in the IRVH

Malachi 3 in the IRVK

Malachi 3 in the IRVM

Malachi 3 in the IRVM2

Malachi 3 in the IRVO

Malachi 3 in the IRVP

Malachi 3 in the IRVT

Malachi 3 in the IRVT2

Malachi 3 in the IRVU

Malachi 3 in the ISVN

Malachi 3 in the JSNT

Malachi 3 in the KAPI

Malachi 3 in the KBT1ETNIK

Malachi 3 in the KBV

Malachi 3 in the KJV

Malachi 3 in the KNFD

Malachi 3 in the LBA

Malachi 3 in the LBLA

Malachi 3 in the LNT

Malachi 3 in the LSV

Malachi 3 in the MAAL

Malachi 3 in the MBV

Malachi 3 in the MBV2

Malachi 3 in the MHNT

Malachi 3 in the MKNFD

Malachi 3 in the MNG

Malachi 3 in the MNT

Malachi 3 in the MNT2

Malachi 3 in the MRS1T

Malachi 3 in the NAA

Malachi 3 in the NASB

Malachi 3 in the NBLA

Malachi 3 in the NBS

Malachi 3 in the NBVTP

Malachi 3 in the NET2

Malachi 3 in the NIV11

Malachi 3 in the NNT

Malachi 3 in the NNT2

Malachi 3 in the NNT3

Malachi 3 in the PDDPT

Malachi 3 in the PFNT

Malachi 3 in the RMNT

Malachi 3 in the SBIAS

Malachi 3 in the SBIBS

Malachi 3 in the SBIBS2

Malachi 3 in the SBICS

Malachi 3 in the SBIDS

Malachi 3 in the SBIGS

Malachi 3 in the SBIHS

Malachi 3 in the SBIIS

Malachi 3 in the SBIIS2

Malachi 3 in the SBIIS3

Malachi 3 in the SBIKS

Malachi 3 in the SBIKS2

Malachi 3 in the SBIMS

Malachi 3 in the SBIOS

Malachi 3 in the SBIPS

Malachi 3 in the SBISS

Malachi 3 in the SBITS

Malachi 3 in the SBITS2

Malachi 3 in the SBITS3

Malachi 3 in the SBITS4

Malachi 3 in the SBIUS

Malachi 3 in the SBIVS

Malachi 3 in the SBT

Malachi 3 in the SBT1E

Malachi 3 in the SCHL

Malachi 3 in the SNT

Malachi 3 in the SUSU

Malachi 3 in the SUSU2

Malachi 3 in the SYNO

Malachi 3 in the TBIAOTANT

Malachi 3 in the TBT1E

Malachi 3 in the TBT1E2

Malachi 3 in the TFTIP

Malachi 3 in the TFTU

Malachi 3 in the TGNTATF3T

Malachi 3 in the THAI

Malachi 3 in the TNFD

Malachi 3 in the TNT

Malachi 3 in the TNTIK

Malachi 3 in the TNTIL

Malachi 3 in the TNTIN

Malachi 3 in the TNTIP

Malachi 3 in the TNTIZ

Malachi 3 in the TOMA

Malachi 3 in the TTENT

Malachi 3 in the UBG

Malachi 3 in the UGV

Malachi 3 in the UGV2

Malachi 3 in the UGV3

Malachi 3 in the VBL

Malachi 3 in the VDCC

Malachi 3 in the YALU

Malachi 3 in the YAPE

Malachi 3 in the YBVTP

Malachi 3 in the ZBP