Matthew 2 (BOLCB)
1 Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti, 2 “Aliwa eyazaalibwa nga Kabaka w’Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ye nga tuli mu buvanjuba, era tuzze okumusinza.” 3 Awo Kabaka Kerode bwe yabiwulira ne bimweraliikiriza nnyo, era ne bonna abaali mu Yerusaalemi. 4 N’ayita bakabona abakulu bonna n’abawandiisi b’amateeka n’abeebuuzaako ekifo Kristo gye yali agenda okuzaalibwa. 5 Ne bamuddamu nti, “Mu Besirekemu eky’omu Buyudaaya, kyawandiikibwa nnabbi nti, 6 “ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,toli mutono mu balangira ba Yuda,kubanga omufuzi aliva mu ggwe,alifuga abantu bange Isirayiri.’ ” 7 Awo Kerode n’atumya Abagezigezi kyama, n’ababuuza ebiro emmunyeenye bye yalabikiramu. 8 N’abasindika e Besirekemu ng’agamba nti, “Mugende mubuulirize ebikwata ku mwana. Bwe mumulaba, mukomeewo muntegeeze, nange ŋŋende musinze!” 9 Bwe baamala okuwulira Kabaka bye yabagamba ne bagenda. Bwe baafuluma, emmunyeenye eri gye baalaba ebuvanjuba n’eddamu okubalabikira n’okubakulembera, okutuusa lwe yayimirira waggulu Omwana w’ali. 10 Bwe baalaba emmunyeenye ng’eyimiridde, essanyu lyabwe ne libeera lingi nnyo! 11 Bwe baayingira mu nnyumba ne balaba Omwana ne Maliyamu nnyina ne bavuunama ne basinza Omwana. Ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo, zaabu, n’obubaane n’omugavu. 12 Awo bwe baalabulibwa mu kirooto baleme kuddayo wa Kerode, bwe batyo ne baddayo ewaabwe nga bayita mu kkubo eddala. 13 Awo abagezigezi bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto n’amugamba nti, “Golokoka oddusize Omwana ne nnyina e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndibalagira okudda. Kubanga Kerode ajja kunoonya Omwana ng’ayagala okumutta.” 14 Ekiro ekyo n’asituka n’atwala Omwana ne nnyina e Misiri. 15 Ne babeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa. Mukama kye yayogerera mu nnabbi we ne kituukirira, bwe yagamba nti:“Nayita Omwana wange okuva mu Misiri.” 16 Kerode bwe yalaba ng’Abagezigezi banyoomye ekiragiro kye, n’asunguwala nnyo, n’atuma abaserikale e Besirekemu ne mu byalo byakyo batte abaana bonna aboobulenzi ab’emyaka ebiri n’abatannagiweza, ng’asinziira ku bbanga abagezigezi lye baali bamutegeezeza mwe baalabira emmunyeenye. 17 Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira ng’agamba nti, 18 “Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,okukuba emiranga n’okukungubaga okunene,nga Laakeeri akaabira abaana be,nga tewakyali asobola kumuwooyawooya,kubanga bonna baweddewo.” 19 Kerode bwe yamala okufa malayika wa Mukama n’alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20 n’amugamba nti, “Golokoka ozzeeyo Omwana ne nnyina mu Isirayiri, kubanga abaali baagala okutta Omwana bafudde.” 21 Yusufu n’asitukiramu n’azzaayo Omwana ne nnyina mu nsi ya Isirayiri. 22 Naye bwe yatuuka mu kkubo n’atya nnyo bwe yawulira nga Alukerawo mutabani wa Kerode ye yali alidde obwakabaka. Mukama n’amulabulira nate mu kirooto aleme kugenda Buyudaaya, bw’atyo n’alaga e Ggaliraaya 23 n’atuuka mu kibuga ky’e Nazaaleesi, ne babeera omwo. Ebigambo bya bannabbi bye baayogera biryoke bituukirire nga bagamba nti: “Aliyitibwa Munnazaaleesi.”
In Other Versions
Matthew 2 in the ANGEFD
Matthew 2 in the ANTPNG2D
Matthew 2 in the AS21
Matthew 2 in the BAGH
Matthew 2 in the BBPNG
Matthew 2 in the BBT1E
Matthew 2 in the BDS
Matthew 2 in the BEV
Matthew 2 in the BHAD
Matthew 2 in the BIB
Matthew 2 in the BLPT
Matthew 2 in the BNT
Matthew 2 in the BNTABOOT
Matthew 2 in the BNTLV
Matthew 2 in the BOATCB
Matthew 2 in the BOATCB2
Matthew 2 in the BOBCV
Matthew 2 in the BOCNT
Matthew 2 in the BOECS
Matthew 2 in the BOGWICC
Matthew 2 in the BOHCB
Matthew 2 in the BOHCV
Matthew 2 in the BOHLNT
Matthew 2 in the BOHNTLTAL
Matthew 2 in the BOICB
Matthew 2 in the BOILNTAP
Matthew 2 in the BOITCV
Matthew 2 in the BOKCV
Matthew 2 in the BOKCV2
Matthew 2 in the BOKHWOG
Matthew 2 in the BOKSSV
Matthew 2 in the BOLCB2
Matthew 2 in the BOMCV
Matthew 2 in the BONAV
Matthew 2 in the BONCB
Matthew 2 in the BONLT
Matthew 2 in the BONUT2
Matthew 2 in the BOPLNT
Matthew 2 in the BOSCB
Matthew 2 in the BOSNC
Matthew 2 in the BOTLNT
Matthew 2 in the BOVCB
Matthew 2 in the BOYCB
Matthew 2 in the BPBB
Matthew 2 in the BPH
Matthew 2 in the BSB
Matthew 2 in the CCB
Matthew 2 in the CUV
Matthew 2 in the CUVS
Matthew 2 in the DBT
Matthew 2 in the DGDNT
Matthew 2 in the DHNT
Matthew 2 in the DNT
Matthew 2 in the ELBE
Matthew 2 in the EMTV
Matthew 2 in the ESV
Matthew 2 in the FBV
Matthew 2 in the FEB
Matthew 2 in the GGMNT
Matthew 2 in the GNT
Matthew 2 in the HARY
Matthew 2 in the HNT
Matthew 2 in the IRVA
Matthew 2 in the IRVB
Matthew 2 in the IRVG
Matthew 2 in the IRVH
Matthew 2 in the IRVK
Matthew 2 in the IRVM
Matthew 2 in the IRVM2
Matthew 2 in the IRVO
Matthew 2 in the IRVP
Matthew 2 in the IRVT
Matthew 2 in the IRVT2
Matthew 2 in the IRVU
Matthew 2 in the ISVN
Matthew 2 in the JSNT
Matthew 2 in the KAPI
Matthew 2 in the KBT1ETNIK
Matthew 2 in the KBV
Matthew 2 in the KJV
Matthew 2 in the KNFD
Matthew 2 in the LBA
Matthew 2 in the LBLA
Matthew 2 in the LNT
Matthew 2 in the LSV
Matthew 2 in the MAAL
Matthew 2 in the MBV
Matthew 2 in the MBV2
Matthew 2 in the MHNT
Matthew 2 in the MKNFD
Matthew 2 in the MNG
Matthew 2 in the MNT
Matthew 2 in the MNT2
Matthew 2 in the MRS1T
Matthew 2 in the NAA
Matthew 2 in the NASB
Matthew 2 in the NBLA
Matthew 2 in the NBS
Matthew 2 in the NBVTP
Matthew 2 in the NET2
Matthew 2 in the NIV11
Matthew 2 in the NNT
Matthew 2 in the NNT2
Matthew 2 in the NNT3
Matthew 2 in the PDDPT
Matthew 2 in the PFNT
Matthew 2 in the RMNT
Matthew 2 in the SBIAS
Matthew 2 in the SBIBS
Matthew 2 in the SBIBS2
Matthew 2 in the SBICS
Matthew 2 in the SBIDS
Matthew 2 in the SBIGS
Matthew 2 in the SBIHS
Matthew 2 in the SBIIS
Matthew 2 in the SBIIS2
Matthew 2 in the SBIIS3
Matthew 2 in the SBIKS
Matthew 2 in the SBIKS2
Matthew 2 in the SBIMS
Matthew 2 in the SBIOS
Matthew 2 in the SBIPS
Matthew 2 in the SBISS
Matthew 2 in the SBITS
Matthew 2 in the SBITS2
Matthew 2 in the SBITS3
Matthew 2 in the SBITS4
Matthew 2 in the SBIUS
Matthew 2 in the SBIVS
Matthew 2 in the SBT
Matthew 2 in the SBT1E
Matthew 2 in the SCHL
Matthew 2 in the SNT
Matthew 2 in the SUSU
Matthew 2 in the SUSU2
Matthew 2 in the SYNO
Matthew 2 in the TBIAOTANT
Matthew 2 in the TBT1E
Matthew 2 in the TBT1E2
Matthew 2 in the TFTIP
Matthew 2 in the TFTU
Matthew 2 in the TGNTATF3T
Matthew 2 in the THAI
Matthew 2 in the TNFD
Matthew 2 in the TNT
Matthew 2 in the TNTIK
Matthew 2 in the TNTIL
Matthew 2 in the TNTIN
Matthew 2 in the TNTIP
Matthew 2 in the TNTIZ
Matthew 2 in the TOMA
Matthew 2 in the TTENT
Matthew 2 in the UBG
Matthew 2 in the UGV
Matthew 2 in the UGV2
Matthew 2 in the UGV3
Matthew 2 in the VBL
Matthew 2 in the VDCC
Matthew 2 in the YALU
Matthew 2 in the YAPE
Matthew 2 in the YBVTP
Matthew 2 in the ZBP