Matthew 23 (BOLCB)

1 Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti, 2 “Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. 3 Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. 4 Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe. 5 “Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba. 6 Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro. 7 Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’ 8 “Temweyitanga ‘Labbi,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. 9 Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. 10 Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. 11 Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. 12 Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa. 13 “Zibasanze mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo. Bannanfuusi mmwe! Muziyiza abantu abalala okuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, ate nammwe ne mutayingira. 14 “Bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulowoozesa abantu nti muli batuukirivu nga musaba essaala, so ng’ate mwekyusa ne mugobaganya bannamwandu mu mayumba gaabwe. 15 Zibasanze bannanfuusi mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Kubanga mutambula okwetooloola ennyanja ne ku lukalu musobole okukyusa omuntu, naye bw’akyuka, mumufuula mwana wa ggeyeena okusingawo emirundi ebiri. 16 “Zibasanze mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso abagamba nti, ‘Okulayira Yeekaalu, si nsonga, naye oyo alayira zaabu ali mu Yeekaalu, asaana okukituukiriza!’ 17 Mmwe abatalina magezi abazibe b’amaaso! Ku ebyo byombi kiruwa ekisingako obukulu, zaabu oba Yeekaalu efuula zaabu okuba entukuvu? 18 Ate mugamba nti, ‘Omuntu okulayira ekyoto, kirina amakulu, naye bw’alayira ebirabo ebireeteddwa ku kyoto, asaana okukituukiriza!’ 19 Mmwe abazibe b’amaaso, ku byombi kiruwa ekisinga kinnaakyo obukulu, ekirabo ekiri ku kyoto oba ekyoto kyennyini ekifuula ekirabo ekyo okuba ekitukuvu? 20 Bwe mulayira ekyoto, muba mulayira ekyoto n’ebikiriko byonna, 21 era bwe mulayira Yeekaalu muba mulayira Yeekaalu ne Katonda agibeeramu. 22 Era bwe mulayira eggulu, muba mulayira n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka n’oyo yennyini agituulako. 23 “Zibasanze, mmwe Abawandiisi, nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kintu, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, okutuukira ddala ne ku kalagala akasinga obutono, naye ne mulagajjalira ebintu ebisinga obukulu eby’amateeka, ng’obwenkanya, n’okusaasira n’okukkiriza. Weewaawo musaanidde okuwaayo ekitundu eky’ekkumi, naye ebintu ebirala ebisinga obukulu temusaanidde kubiragajjalira. 24 Mmwe abakulembeze abazibe b’amaaso! Musengejja akabu muleme kukanywera mu mazzi, naye ne munyweramu eŋŋamira! 25 “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Muzigula kungulu kw’ekikopo ne kungulu kw’ebbakuli, naye nga munda mujjudde omululu n’okwefaako mwekka. 26 Mmwe Abafalisaayo abazibe b’amaaso! Musooke mulongoose munda w’ekikopo olwo nno mulongoose ne kungulu. 27 “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Mulabika ng’amalaalo agatemagana kungulu, songa munda gajjudde amagumba g’abafu n’obuvundu obwa buli ngeri. 28 Mulabika ng’abantu abatuukirivu kungulu, songa munda mujjudde obunnanfuusi n’obumenyi bw’amateeka. 29 “Zibasanze mmwe Abawandiisi nammwe Abafalisaayo! Bannanfuusi mmwe! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, ne mutimba ebijjukizo, by’abatuukirivu, 30 ne mulyoka mugamba nti, ‘Naye ddala singa twaliwo mu biseera bya bajjajjaffe tetwandisizza kimu nabo mu kuyiwa omusaayi gw’abannabbi.’ 31 Bwe mwogera mutyo muba mwessaako omusango nga bwe muli abaana b’abo abatta bannabbi. 32 Mugenda nga mutuukiriza ebyo bajjajjammwe bye bataamaliriza. 33 “Mmwe emisota! Abaana b’embalasaasa muliwona mutya omusango ogugenda okubatwaza mu ggeyeena? 34 Kyenva mbaweereza bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abawandiisi, abamu mulibatta nga mubakomerera ku musaalaba, n’abalala mulibakuba embooko mu makuŋŋaaniro gammwe, ne mubagobaganya mu bibuga byammwe. 35 Bwe mutyo omusango gw’okutemula abatuukirivu, okutandikira ku Aberi omutuukirivu okutuuka ku Zaakaliya, mutabani wa Balakiya gwe mwattira wakati wa yeekaalu n’ekyoto, ne gubasingira ddala. 36 Ddala ddala mbagamba nti ebyo byonna birituuka ku mulembe guno. 37 “Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana. 38 Laba kaakano ennyumba yo esigalidde awo, kifulukwa. 39 Kubanga nkugamba nti toliddayo kundaba nate, okutuusa ng’oyogedde nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”

In Other Versions

Matthew 23 in the ANGEFD

Matthew 23 in the ANTPNG2D

Matthew 23 in the AS21

Matthew 23 in the BAGH

Matthew 23 in the BBPNG

Matthew 23 in the BBT1E

Matthew 23 in the BDS

Matthew 23 in the BEV

Matthew 23 in the BHAD

Matthew 23 in the BIB

Matthew 23 in the BLPT

Matthew 23 in the BNT

Matthew 23 in the BNTABOOT

Matthew 23 in the BNTLV

Matthew 23 in the BOATCB

Matthew 23 in the BOATCB2

Matthew 23 in the BOBCV

Matthew 23 in the BOCNT

Matthew 23 in the BOECS

Matthew 23 in the BOGWICC

Matthew 23 in the BOHCB

Matthew 23 in the BOHCV

Matthew 23 in the BOHLNT

Matthew 23 in the BOHNTLTAL

Matthew 23 in the BOICB

Matthew 23 in the BOILNTAP

Matthew 23 in the BOITCV

Matthew 23 in the BOKCV

Matthew 23 in the BOKCV2

Matthew 23 in the BOKHWOG

Matthew 23 in the BOKSSV

Matthew 23 in the BOLCB2

Matthew 23 in the BOMCV

Matthew 23 in the BONAV

Matthew 23 in the BONCB

Matthew 23 in the BONLT

Matthew 23 in the BONUT2

Matthew 23 in the BOPLNT

Matthew 23 in the BOSCB

Matthew 23 in the BOSNC

Matthew 23 in the BOTLNT

Matthew 23 in the BOVCB

Matthew 23 in the BOYCB

Matthew 23 in the BPBB

Matthew 23 in the BPH

Matthew 23 in the BSB

Matthew 23 in the CCB

Matthew 23 in the CUV

Matthew 23 in the CUVS

Matthew 23 in the DBT

Matthew 23 in the DGDNT

Matthew 23 in the DHNT

Matthew 23 in the DNT

Matthew 23 in the ELBE

Matthew 23 in the EMTV

Matthew 23 in the ESV

Matthew 23 in the FBV

Matthew 23 in the FEB

Matthew 23 in the GGMNT

Matthew 23 in the GNT

Matthew 23 in the HARY

Matthew 23 in the HNT

Matthew 23 in the IRVA

Matthew 23 in the IRVB

Matthew 23 in the IRVG

Matthew 23 in the IRVH

Matthew 23 in the IRVK

Matthew 23 in the IRVM

Matthew 23 in the IRVM2

Matthew 23 in the IRVO

Matthew 23 in the IRVP

Matthew 23 in the IRVT

Matthew 23 in the IRVT2

Matthew 23 in the IRVU

Matthew 23 in the ISVN

Matthew 23 in the JSNT

Matthew 23 in the KAPI

Matthew 23 in the KBT1ETNIK

Matthew 23 in the KBV

Matthew 23 in the KJV

Matthew 23 in the KNFD

Matthew 23 in the LBA

Matthew 23 in the LBLA

Matthew 23 in the LNT

Matthew 23 in the LSV

Matthew 23 in the MAAL

Matthew 23 in the MBV

Matthew 23 in the MBV2

Matthew 23 in the MHNT

Matthew 23 in the MKNFD

Matthew 23 in the MNG

Matthew 23 in the MNT

Matthew 23 in the MNT2

Matthew 23 in the MRS1T

Matthew 23 in the NAA

Matthew 23 in the NASB

Matthew 23 in the NBLA

Matthew 23 in the NBS

Matthew 23 in the NBVTP

Matthew 23 in the NET2

Matthew 23 in the NIV11

Matthew 23 in the NNT

Matthew 23 in the NNT2

Matthew 23 in the NNT3

Matthew 23 in the PDDPT

Matthew 23 in the PFNT

Matthew 23 in the RMNT

Matthew 23 in the SBIAS

Matthew 23 in the SBIBS

Matthew 23 in the SBIBS2

Matthew 23 in the SBICS

Matthew 23 in the SBIDS

Matthew 23 in the SBIGS

Matthew 23 in the SBIHS

Matthew 23 in the SBIIS

Matthew 23 in the SBIIS2

Matthew 23 in the SBIIS3

Matthew 23 in the SBIKS

Matthew 23 in the SBIKS2

Matthew 23 in the SBIMS

Matthew 23 in the SBIOS

Matthew 23 in the SBIPS

Matthew 23 in the SBISS

Matthew 23 in the SBITS

Matthew 23 in the SBITS2

Matthew 23 in the SBITS3

Matthew 23 in the SBITS4

Matthew 23 in the SBIUS

Matthew 23 in the SBIVS

Matthew 23 in the SBT

Matthew 23 in the SBT1E

Matthew 23 in the SCHL

Matthew 23 in the SNT

Matthew 23 in the SUSU

Matthew 23 in the SUSU2

Matthew 23 in the SYNO

Matthew 23 in the TBIAOTANT

Matthew 23 in the TBT1E

Matthew 23 in the TBT1E2

Matthew 23 in the TFTIP

Matthew 23 in the TFTU

Matthew 23 in the TGNTATF3T

Matthew 23 in the THAI

Matthew 23 in the TNFD

Matthew 23 in the TNT

Matthew 23 in the TNTIK

Matthew 23 in the TNTIL

Matthew 23 in the TNTIN

Matthew 23 in the TNTIP

Matthew 23 in the TNTIZ

Matthew 23 in the TOMA

Matthew 23 in the TTENT

Matthew 23 in the UBG

Matthew 23 in the UGV

Matthew 23 in the UGV2

Matthew 23 in the UGV3

Matthew 23 in the VBL

Matthew 23 in the VDCC

Matthew 23 in the YALU

Matthew 23 in the YAPE

Matthew 23 in the YBVTP

Matthew 23 in the ZBP