Matthew 7 (BOLCB)

1 “Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. 2 Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu.” 3 “Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba? 4 Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki? 5 Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ekiri ku liiso lyo olyoke olabe bulungi nga bw’oggyako akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.” 6 “Temuddiranga bintu bitukuvu ne mubiwa embwa. N’embizzi temuzisuuliranga mayinja ag’omuwendo omungi, kubanga zigenda kugalinnyirira, n’oluvannyuma zikyuke zibalume.” 7 “Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. 8 Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo.” 9 “Oba muntu ki mu mmwe singa omwana we amusaba omugaati, ayinza okumuwa ejjinja? 10 Oba singa asabye ekyennyanja, kitaawe ayinza okumuwa omusota? 11 Obanga mmwe abantu ababi musobola okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisingawo okubawa ebirungi bye mumusaba? 12 Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi.” 13 “Muyingirire mu mulyango omufunda! Kubanga ekkubo erigenda mu kuzikirira ddene n’omulyango mugazi, n’abalonda ekkubo eryo bangi. 14 Kubanga omulyango mufunda, n’ekkubo eridda eri obulamu ffunda, era n’abaliraba batono.” 15 “Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula. 16 Mulibalabira ku bikolwa byabwe, ng’omuti bwe mugutegeerera ku bibala byagwo. Omuntu tayinza kunoga mizabbibu ku busaana oba okunoga ettiini ku mweramannyo. 17 Noolwekyo buli muti omulungi gubala ebibala ebirungi, naye omuti omuvundu gubala ebibala ebibi. 18 Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n’omuti omuvundu teguyinza kubala bibala birungi. 19 Omuti gwonna ogutabala bibala birungi gutemebwa ne gusuulibwa mu muliro. 20 Noolwekyo mulibategeerera ku bibala byabwe.” 21 “Si bonna abampita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ be baliyingira obwakabaka obw’omu ggulu, wabula abo bokka abakola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala. 22 Ku lunaku Iuli bangi baliŋŋamba nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, twayogeranga eby’obunnabbi mu linnya lyo, era ne tugoba ne baddayimooni mu linnya lyo, ne tukola n’ebyamagero bingi mu linnya lyo.’ 23 Ndibaddamu nti, ‘Sibamanyi, muve mu maaso gange, kubanga ebikolwa byammwe byali bibi.’ ” 24 “Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. 25 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26 Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.” 28 Awo Yesu n’amaliriza ebigambo bye ebyo. Abantu bonna ne beewuunya nnyo olw’okuyigiriza kwe. 29 Kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng’abannyonnyozi b’amateeka baabwe bwe baayigirizanga.

In Other Versions

Matthew 7 in the ANGEFD

Matthew 7 in the ANTPNG2D

Matthew 7 in the AS21

Matthew 7 in the BAGH

Matthew 7 in the BBPNG

Matthew 7 in the BBT1E

Matthew 7 in the BDS

Matthew 7 in the BEV

Matthew 7 in the BHAD

Matthew 7 in the BIB

Matthew 7 in the BLPT

Matthew 7 in the BNT

Matthew 7 in the BNTABOOT

Matthew 7 in the BNTLV

Matthew 7 in the BOATCB

Matthew 7 in the BOATCB2

Matthew 7 in the BOBCV

Matthew 7 in the BOCNT

Matthew 7 in the BOECS

Matthew 7 in the BOGWICC

Matthew 7 in the BOHCB

Matthew 7 in the BOHCV

Matthew 7 in the BOHLNT

Matthew 7 in the BOHNTLTAL

Matthew 7 in the BOICB

Matthew 7 in the BOILNTAP

Matthew 7 in the BOITCV

Matthew 7 in the BOKCV

Matthew 7 in the BOKCV2

Matthew 7 in the BOKHWOG

Matthew 7 in the BOKSSV

Matthew 7 in the BOLCB2

Matthew 7 in the BOMCV

Matthew 7 in the BONAV

Matthew 7 in the BONCB

Matthew 7 in the BONLT

Matthew 7 in the BONUT2

Matthew 7 in the BOPLNT

Matthew 7 in the BOSCB

Matthew 7 in the BOSNC

Matthew 7 in the BOTLNT

Matthew 7 in the BOVCB

Matthew 7 in the BOYCB

Matthew 7 in the BPBB

Matthew 7 in the BPH

Matthew 7 in the BSB

Matthew 7 in the CCB

Matthew 7 in the CUV

Matthew 7 in the CUVS

Matthew 7 in the DBT

Matthew 7 in the DGDNT

Matthew 7 in the DHNT

Matthew 7 in the DNT

Matthew 7 in the ELBE

Matthew 7 in the EMTV

Matthew 7 in the ESV

Matthew 7 in the FBV

Matthew 7 in the FEB

Matthew 7 in the GGMNT

Matthew 7 in the GNT

Matthew 7 in the HARY

Matthew 7 in the HNT

Matthew 7 in the IRVA

Matthew 7 in the IRVB

Matthew 7 in the IRVG

Matthew 7 in the IRVH

Matthew 7 in the IRVK

Matthew 7 in the IRVM

Matthew 7 in the IRVM2

Matthew 7 in the IRVO

Matthew 7 in the IRVP

Matthew 7 in the IRVT

Matthew 7 in the IRVT2

Matthew 7 in the IRVU

Matthew 7 in the ISVN

Matthew 7 in the JSNT

Matthew 7 in the KAPI

Matthew 7 in the KBT1ETNIK

Matthew 7 in the KBV

Matthew 7 in the KJV

Matthew 7 in the KNFD

Matthew 7 in the LBA

Matthew 7 in the LBLA

Matthew 7 in the LNT

Matthew 7 in the LSV

Matthew 7 in the MAAL

Matthew 7 in the MBV

Matthew 7 in the MBV2

Matthew 7 in the MHNT

Matthew 7 in the MKNFD

Matthew 7 in the MNG

Matthew 7 in the MNT

Matthew 7 in the MNT2

Matthew 7 in the MRS1T

Matthew 7 in the NAA

Matthew 7 in the NASB

Matthew 7 in the NBLA

Matthew 7 in the NBS

Matthew 7 in the NBVTP

Matthew 7 in the NET2

Matthew 7 in the NIV11

Matthew 7 in the NNT

Matthew 7 in the NNT2

Matthew 7 in the NNT3

Matthew 7 in the PDDPT

Matthew 7 in the PFNT

Matthew 7 in the RMNT

Matthew 7 in the SBIAS

Matthew 7 in the SBIBS

Matthew 7 in the SBIBS2

Matthew 7 in the SBICS

Matthew 7 in the SBIDS

Matthew 7 in the SBIGS

Matthew 7 in the SBIHS

Matthew 7 in the SBIIS

Matthew 7 in the SBIIS2

Matthew 7 in the SBIIS3

Matthew 7 in the SBIKS

Matthew 7 in the SBIKS2

Matthew 7 in the SBIMS

Matthew 7 in the SBIOS

Matthew 7 in the SBIPS

Matthew 7 in the SBISS

Matthew 7 in the SBITS

Matthew 7 in the SBITS2

Matthew 7 in the SBITS3

Matthew 7 in the SBITS4

Matthew 7 in the SBIUS

Matthew 7 in the SBIVS

Matthew 7 in the SBT

Matthew 7 in the SBT1E

Matthew 7 in the SCHL

Matthew 7 in the SNT

Matthew 7 in the SUSU

Matthew 7 in the SUSU2

Matthew 7 in the SYNO

Matthew 7 in the TBIAOTANT

Matthew 7 in the TBT1E

Matthew 7 in the TBT1E2

Matthew 7 in the TFTIP

Matthew 7 in the TFTU

Matthew 7 in the TGNTATF3T

Matthew 7 in the THAI

Matthew 7 in the TNFD

Matthew 7 in the TNT

Matthew 7 in the TNTIK

Matthew 7 in the TNTIL

Matthew 7 in the TNTIN

Matthew 7 in the TNTIP

Matthew 7 in the TNTIZ

Matthew 7 in the TOMA

Matthew 7 in the TTENT

Matthew 7 in the UBG

Matthew 7 in the UGV

Matthew 7 in the UGV2

Matthew 7 in the UGV3

Matthew 7 in the VBL

Matthew 7 in the VDCC

Matthew 7 in the YALU

Matthew 7 in the YAPE

Matthew 7 in the YBVTP

Matthew 7 in the ZBP