Nehemiah 5 (BOLCB)
1 Awo ekibinja ky’abasajja ne bakazi baabwe ne bakaayana nnyo olwa baganda baabwe Abayudaaya. 2 Abamu ku bo ne boogera nti, “Ffe, ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi nnyo, tulina okufuna eŋŋaano ey’okulya okutubeezaawo nga tuli balamu.” 3 Abamu ne boogera nti, “Twasingawo ebibanja byaffe, n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu n’amaka gaffe tuleme okufa enjala mu kyeya.” 4 N’abalala ne boogera nti, “Twewola sente okusobola okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ez’emizabbibu. 5 Newaakubadde nga tuli omusaayi gumu ne baganda baffe, n’abaana baffe baana baabwe, kyatuleetera okuwaliriza batabani baffe ne bawala baffe okubawaayo mu buddu. Abamu ku bawala baffe twali twabawaayo dda mu busibe; kaakano tetusobola kununula bibanja byaffe ebyo kubanga abantu abalala baabitwala awamu n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu.” 6 Bwe nawulira okukaaba kwabwe n’ebigambo ebyo ne nsunguwala nnyo. 7 Ne mbirowoozaako, ne nnenya abakungu n’abafuzi. Ne mbagamba nti, “Muggya omusolo ku baganda bammwe ne mukola amagoba!” Kyennava mpita olukuŋŋaana olunene okugonjoola ensonga ezo, 8 ne mbagamba nti, “Twakola kye tusobola okununula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga, naye mmwe mutunda baganda bammwe, ffe ne tubagula okuva ku be mubaguzizza!” Ne basiriikirira, kubanga tebaalina kyakuddamu. 9 Ne nyongera okubagamba nti, “Kye mukola si kirungi. Tekibagwanidde okutambula nga mutya Katonda waffe, okwewala okuswala mu maaso g’abalabe baffe, bannamawanga? 10 Nze, baganda bange ne basajja bange, tuwola abantu ensimbi n’emmere ey’empeke, naye ekigambo ky’okuggya omusolo ku bantu nga kuliko amagoba kikome. 11 Mubaddize leero ebibanja byabwe, n’ennimiro zaabwe ez’emizabbibu, n’ez’emizeeyituuni, n’ennyumba zaabwe, ne ku misolo gye mu bawooza, mubaddize kimu kya kikumi ku nsimbi, ne ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya ne ku mafuta.” 12 Awo ne baddamu nti, “Tulibibaddiza, so tetuliddayo kubasaba kintu kyonna. Tunaakola nga bw’olagidde.”Kyennava mpita bakabona ne ndayiza abakungu n’abakulembeze okukola ebyo bye baasuubiza. 13 Ne nkunkumula ne nsawo ez’ekyambalo kyange ne njogera nti, “MUKAMA Katonda akole bw’atyo ennyumba y’omuntu oyo, n’eby’obugagga bwe abimuggyeko, ataakole nga bw’asuubizza. Omuntu oyo akunkumulibwe bw’atyo aleme okusigaza ekintu!”Olukuŋŋaana lwonna ne baddamu nti, “Amiina, era MUKAMA yeebazibwe.” Abantu ne bakola nga bwe baasuubiza. 14 Ate era okuva mu kiseera mwe nalondebwa okuba owessaza w’ensi ya Yuda, mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugizi okutuuka ku mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri, gy’emyaka ekkumi n’ebiri, nze newaakubadde baganda bange tetwalya ku mmere eyatugerekebwa, eyali eteekwa okuba ey’owessaza. 15 Naye abessaza abansooka baazitoowerezanga abantu, nga babawooza ekitundu kya kilo eya ffeeza, ne bagattako emmere ne wayini. Naye nze si bwe nakolanga, olw’okutya Katonda. 16 Ne mmalirira okukola omulimu ku bbugwe oyo, nze n’abasajja bange bonna ne twewaayo okukola ne tutadda mu kululunkanira ttaka. 17 Abantu kikumi mu ataano, Abayudaaya abaabulijjo n’abakulu, be baaliranga awamu nange ku mmeeza, okwo nga kw’otadde n’abaava mu mawanga agaatuliraananga. 18 Buli lunaku ente emu, n’endiga ensava mukaaga n’enkoko nga tezibuzeeko bye byantegekerwanga, ne buli nnaku kkumi ne nfunanga wayini owa buli kika. Wakati mu ebyo byonna saasaba mmere eyali eteekwa okuweebwa owessaza, kubanga abantu baandizitoowereddwa nnyo. 19 Nzijukira Ayi Katonda wange, olw’ebyo byonna bye nkoledde abantu bano.
In Other Versions
Nehemiah 5 in the ANGEFD
Nehemiah 5 in the ANTPNG2D
Nehemiah 5 in the AS21
Nehemiah 5 in the BAGH
Nehemiah 5 in the BBPNG
Nehemiah 5 in the BBT1E
Nehemiah 5 in the BDS
Nehemiah 5 in the BEV
Nehemiah 5 in the BHAD
Nehemiah 5 in the BIB
Nehemiah 5 in the BLPT
Nehemiah 5 in the BNT
Nehemiah 5 in the BNTABOOT
Nehemiah 5 in the BNTLV
Nehemiah 5 in the BOATCB
Nehemiah 5 in the BOATCB2
Nehemiah 5 in the BOBCV
Nehemiah 5 in the BOCNT
Nehemiah 5 in the BOECS
Nehemiah 5 in the BOGWICC
Nehemiah 5 in the BOHCB
Nehemiah 5 in the BOHCV
Nehemiah 5 in the BOHLNT
Nehemiah 5 in the BOHNTLTAL
Nehemiah 5 in the BOICB
Nehemiah 5 in the BOILNTAP
Nehemiah 5 in the BOITCV
Nehemiah 5 in the BOKCV
Nehemiah 5 in the BOKCV2
Nehemiah 5 in the BOKHWOG
Nehemiah 5 in the BOKSSV
Nehemiah 5 in the BOLCB2
Nehemiah 5 in the BOMCV
Nehemiah 5 in the BONAV
Nehemiah 5 in the BONCB
Nehemiah 5 in the BONLT
Nehemiah 5 in the BONUT2
Nehemiah 5 in the BOPLNT
Nehemiah 5 in the BOSCB
Nehemiah 5 in the BOSNC
Nehemiah 5 in the BOTLNT
Nehemiah 5 in the BOVCB
Nehemiah 5 in the BOYCB
Nehemiah 5 in the BPBB
Nehemiah 5 in the BPH
Nehemiah 5 in the BSB
Nehemiah 5 in the CCB
Nehemiah 5 in the CUV
Nehemiah 5 in the CUVS
Nehemiah 5 in the DBT
Nehemiah 5 in the DGDNT
Nehemiah 5 in the DHNT
Nehemiah 5 in the DNT
Nehemiah 5 in the ELBE
Nehemiah 5 in the EMTV
Nehemiah 5 in the ESV
Nehemiah 5 in the FBV
Nehemiah 5 in the FEB
Nehemiah 5 in the GGMNT
Nehemiah 5 in the GNT
Nehemiah 5 in the HARY
Nehemiah 5 in the HNT
Nehemiah 5 in the IRVA
Nehemiah 5 in the IRVB
Nehemiah 5 in the IRVG
Nehemiah 5 in the IRVH
Nehemiah 5 in the IRVK
Nehemiah 5 in the IRVM
Nehemiah 5 in the IRVM2
Nehemiah 5 in the IRVO
Nehemiah 5 in the IRVP
Nehemiah 5 in the IRVT
Nehemiah 5 in the IRVT2
Nehemiah 5 in the IRVU
Nehemiah 5 in the ISVN
Nehemiah 5 in the JSNT
Nehemiah 5 in the KAPI
Nehemiah 5 in the KBT1ETNIK
Nehemiah 5 in the KBV
Nehemiah 5 in the KJV
Nehemiah 5 in the KNFD
Nehemiah 5 in the LBA
Nehemiah 5 in the LBLA
Nehemiah 5 in the LNT
Nehemiah 5 in the LSV
Nehemiah 5 in the MAAL
Nehemiah 5 in the MBV
Nehemiah 5 in the MBV2
Nehemiah 5 in the MHNT
Nehemiah 5 in the MKNFD
Nehemiah 5 in the MNG
Nehemiah 5 in the MNT
Nehemiah 5 in the MNT2
Nehemiah 5 in the MRS1T
Nehemiah 5 in the NAA
Nehemiah 5 in the NASB
Nehemiah 5 in the NBLA
Nehemiah 5 in the NBS
Nehemiah 5 in the NBVTP
Nehemiah 5 in the NET2
Nehemiah 5 in the NIV11
Nehemiah 5 in the NNT
Nehemiah 5 in the NNT2
Nehemiah 5 in the NNT3
Nehemiah 5 in the PDDPT
Nehemiah 5 in the PFNT
Nehemiah 5 in the RMNT
Nehemiah 5 in the SBIAS
Nehemiah 5 in the SBIBS
Nehemiah 5 in the SBIBS2
Nehemiah 5 in the SBICS
Nehemiah 5 in the SBIDS
Nehemiah 5 in the SBIGS
Nehemiah 5 in the SBIHS
Nehemiah 5 in the SBIIS
Nehemiah 5 in the SBIIS2
Nehemiah 5 in the SBIIS3
Nehemiah 5 in the SBIKS
Nehemiah 5 in the SBIKS2
Nehemiah 5 in the SBIMS
Nehemiah 5 in the SBIOS
Nehemiah 5 in the SBIPS
Nehemiah 5 in the SBISS
Nehemiah 5 in the SBITS
Nehemiah 5 in the SBITS2
Nehemiah 5 in the SBITS3
Nehemiah 5 in the SBITS4
Nehemiah 5 in the SBIUS
Nehemiah 5 in the SBIVS
Nehemiah 5 in the SBT
Nehemiah 5 in the SBT1E
Nehemiah 5 in the SCHL
Nehemiah 5 in the SNT
Nehemiah 5 in the SUSU
Nehemiah 5 in the SUSU2
Nehemiah 5 in the SYNO
Nehemiah 5 in the TBIAOTANT
Nehemiah 5 in the TBT1E
Nehemiah 5 in the TBT1E2
Nehemiah 5 in the TFTIP
Nehemiah 5 in the TFTU
Nehemiah 5 in the TGNTATF3T
Nehemiah 5 in the THAI
Nehemiah 5 in the TNFD
Nehemiah 5 in the TNT
Nehemiah 5 in the TNTIK
Nehemiah 5 in the TNTIL
Nehemiah 5 in the TNTIN
Nehemiah 5 in the TNTIP
Nehemiah 5 in the TNTIZ
Nehemiah 5 in the TOMA
Nehemiah 5 in the TTENT
Nehemiah 5 in the UBG
Nehemiah 5 in the UGV
Nehemiah 5 in the UGV2
Nehemiah 5 in the UGV3
Nehemiah 5 in the VBL
Nehemiah 5 in the VDCC
Nehemiah 5 in the YALU
Nehemiah 5 in the YAPE
Nehemiah 5 in the YBVTP
Nehemiah 5 in the ZBP