Numbers 27 (BOLCB)
1 Abawala ba Zerofekadi mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, baali ba mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. Amannya g’abawala abo nga ge gano: Maala, ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza. 2 Lwali lumu, ne bajja okumpi n’omulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bayimirira mu maaso ga Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’abakulembeze n’ag’ekibiina kyonna, ne bagamba nti, 3 “Kitaffe yafiira mu ddungu. Teyali omu ku bajeemu abagoberezi ba Koola abaajeemera MUKAMA; naye ye yafa bufi lwa bibi bye, naye teyalekawo baana babulenzi. 4 Lwaki erinnya lya kitaffe mu kika linaabulamu olw’obutazaala mwana wabulenzi? Mutuwe omugabo mu baganda ba kitaffe.” 5 Musa n’aleeta ensonga zaabwe awali MUKAMA Katonda. 6 MUKAMA n’agamba Musa nti, 7 “Abawala ba Zerofekadi kye bagamba kituufu; bafunire omugabo ogw’obutaka awamu ne baganda ba kitaabwe, era n’omugabo gwa kitaabwe gubaweebwe. 8 “Era gamba abaana ba Isirayiri nti, ‘Omusajja bw’anaafanga nga taleseewo mwana wabulenzi, kale omugabo gwe ogw’obusika bwe gunaaweebwanga omwana we omuwala. 9 Bw’ataabenga na mwana wabuwala, omugabo gwe onooguwanga baganda be. 10 Bw’anaabanga talina baganda be, omugabo gwe onooguwanga baganda ba kitaawe. 11 Kitaawe bw’aba nga teyalina baganda be, omugabo gwe onooguwanga owooluganda asinga okuba ow’okumpi mu kika kye, oyo y’anaagutwalanga. Eryo linaabanga tteeka erinaakwatibwanga abaana ba Isirayiri, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa.’ ” 12 Awo MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, “Yambuka waggulu ku lusozi luno Abalimu olengere ensi gye mpadde abaana ba Isirayiri. 13 Bw’onoomala okugiraba, naawe ojja kugenda abantu bo bonna gye baalaga, nga bwe kyali ne ku muganda wo Alooni, 14 kubanga mwembi mwajeemera ekigambo kyange, abantu bwe baajagalala mu ddungu lya Zini ne mutampeesa kitiibwa ng’omutukuvu mu maaso gaabwe.” Ago ge gaali amazzi ag’e Meriba mu Kadesi mu ddungu ly’e Zini. 15 Awo Musa n’agamba MUKAMA Katonda nti, 16 “MUKAMA Katonda w’emyoyo gy’abantu bonna, alonde omusajja okulabirira ekibiina kino, 17 afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba MUKAMA baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.” 18 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alimu omwoyo, omusseeko omukono gwo. 19 Muyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g’ekibiina kyonna, omukuutirire mu maaso gaabwe. 20 Mukwase ekitundu ky’obuyinza bwo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri batandike okumugondera. 21 Anajjanga n’ayimirira mu maaso ga Eriyazaali kabona anaamutegeezanga ebinaabanga bisaliddwawo ng’akozesa Ulimu mu maaso ga MUKAMA Katonda. Abaana ba Isirayiri bonna, bw’anaalagiranga banaafulumanga, era bw’anaalagiranga banaayingiranga.” 22 Awo Musa n’akola nga MUKAMA Katonda bwe yamulagira. Yatwala Yoswa n’amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g’ekibiina kyonna. 23 Bw’atyo n’amussaako emikono gye, n’amukuutira, nga MUKAMA Katonda bwe yalagira Musa.
In Other Versions
Numbers 27 in the ANGEFD
Numbers 27 in the ANTPNG2D
Numbers 27 in the AS21
Numbers 27 in the BAGH
Numbers 27 in the BBPNG
Numbers 27 in the BBT1E
Numbers 27 in the BDS
Numbers 27 in the BEV
Numbers 27 in the BHAD
Numbers 27 in the BIB
Numbers 27 in the BLPT
Numbers 27 in the BNT
Numbers 27 in the BNTABOOT
Numbers 27 in the BNTLV
Numbers 27 in the BOATCB
Numbers 27 in the BOATCB2
Numbers 27 in the BOBCV
Numbers 27 in the BOCNT
Numbers 27 in the BOECS
Numbers 27 in the BOGWICC
Numbers 27 in the BOHCB
Numbers 27 in the BOHCV
Numbers 27 in the BOHLNT
Numbers 27 in the BOHNTLTAL
Numbers 27 in the BOICB
Numbers 27 in the BOILNTAP
Numbers 27 in the BOITCV
Numbers 27 in the BOKCV
Numbers 27 in the BOKCV2
Numbers 27 in the BOKHWOG
Numbers 27 in the BOKSSV
Numbers 27 in the BOLCB2
Numbers 27 in the BOMCV
Numbers 27 in the BONAV
Numbers 27 in the BONCB
Numbers 27 in the BONLT
Numbers 27 in the BONUT2
Numbers 27 in the BOPLNT
Numbers 27 in the BOSCB
Numbers 27 in the BOSNC
Numbers 27 in the BOTLNT
Numbers 27 in the BOVCB
Numbers 27 in the BOYCB
Numbers 27 in the BPBB
Numbers 27 in the BPH
Numbers 27 in the BSB
Numbers 27 in the CCB
Numbers 27 in the CUV
Numbers 27 in the CUVS
Numbers 27 in the DBT
Numbers 27 in the DGDNT
Numbers 27 in the DHNT
Numbers 27 in the DNT
Numbers 27 in the ELBE
Numbers 27 in the EMTV
Numbers 27 in the ESV
Numbers 27 in the FBV
Numbers 27 in the FEB
Numbers 27 in the GGMNT
Numbers 27 in the GNT
Numbers 27 in the HARY
Numbers 27 in the HNT
Numbers 27 in the IRVA
Numbers 27 in the IRVB
Numbers 27 in the IRVG
Numbers 27 in the IRVH
Numbers 27 in the IRVK
Numbers 27 in the IRVM
Numbers 27 in the IRVM2
Numbers 27 in the IRVO
Numbers 27 in the IRVP
Numbers 27 in the IRVT
Numbers 27 in the IRVT2
Numbers 27 in the IRVU
Numbers 27 in the ISVN
Numbers 27 in the JSNT
Numbers 27 in the KAPI
Numbers 27 in the KBT1ETNIK
Numbers 27 in the KBV
Numbers 27 in the KJV
Numbers 27 in the KNFD
Numbers 27 in the LBA
Numbers 27 in the LBLA
Numbers 27 in the LNT
Numbers 27 in the LSV
Numbers 27 in the MAAL
Numbers 27 in the MBV
Numbers 27 in the MBV2
Numbers 27 in the MHNT
Numbers 27 in the MKNFD
Numbers 27 in the MNG
Numbers 27 in the MNT
Numbers 27 in the MNT2
Numbers 27 in the MRS1T
Numbers 27 in the NAA
Numbers 27 in the NASB
Numbers 27 in the NBLA
Numbers 27 in the NBS
Numbers 27 in the NBVTP
Numbers 27 in the NET2
Numbers 27 in the NIV11
Numbers 27 in the NNT
Numbers 27 in the NNT2
Numbers 27 in the NNT3
Numbers 27 in the PDDPT
Numbers 27 in the PFNT
Numbers 27 in the RMNT
Numbers 27 in the SBIAS
Numbers 27 in the SBIBS
Numbers 27 in the SBIBS2
Numbers 27 in the SBICS
Numbers 27 in the SBIDS
Numbers 27 in the SBIGS
Numbers 27 in the SBIHS
Numbers 27 in the SBIIS
Numbers 27 in the SBIIS2
Numbers 27 in the SBIIS3
Numbers 27 in the SBIKS
Numbers 27 in the SBIKS2
Numbers 27 in the SBIMS
Numbers 27 in the SBIOS
Numbers 27 in the SBIPS
Numbers 27 in the SBISS
Numbers 27 in the SBITS
Numbers 27 in the SBITS2
Numbers 27 in the SBITS3
Numbers 27 in the SBITS4
Numbers 27 in the SBIUS
Numbers 27 in the SBIVS
Numbers 27 in the SBT
Numbers 27 in the SBT1E
Numbers 27 in the SCHL
Numbers 27 in the SNT
Numbers 27 in the SUSU
Numbers 27 in the SUSU2
Numbers 27 in the SYNO
Numbers 27 in the TBIAOTANT
Numbers 27 in the TBT1E
Numbers 27 in the TBT1E2
Numbers 27 in the TFTIP
Numbers 27 in the TFTU
Numbers 27 in the TGNTATF3T
Numbers 27 in the THAI
Numbers 27 in the TNFD
Numbers 27 in the TNT
Numbers 27 in the TNTIK
Numbers 27 in the TNTIL
Numbers 27 in the TNTIN
Numbers 27 in the TNTIP
Numbers 27 in the TNTIZ
Numbers 27 in the TOMA
Numbers 27 in the TTENT
Numbers 27 in the UBG
Numbers 27 in the UGV
Numbers 27 in the UGV2
Numbers 27 in the UGV3
Numbers 27 in the VBL
Numbers 27 in the VDCC
Numbers 27 in the YALU
Numbers 27 in the YAPE
Numbers 27 in the YBVTP
Numbers 27 in the ZBP