Numbers 34 (BOLCB)

1 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 2 “Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo: 3 “ ‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba, 4 n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni, 5 awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene. 6 Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba. 7 Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola; 8 eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada, 9 ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono. 10 Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu. 11 Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya. 12 Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo. “ ‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’ ” 13 Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. MUKAMA alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu, 14 kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe. 15 Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.” 16 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 17 “Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 18 Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi. 19 “Gano ge mannya gaabwe: “Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda. 20 Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni. 21 Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini. 22 Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani. 23 Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu. 24 Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu. 25 Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni. 26 Palutiyeri mutabani wa Azaninga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali, 27 ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri, 28 ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.” 29 Abo be basajja MUKAMA be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri.

In Other Versions

Numbers 34 in the ANGEFD

Numbers 34 in the ANTPNG2D

Numbers 34 in the AS21

Numbers 34 in the BAGH

Numbers 34 in the BBPNG

Numbers 34 in the BBT1E

Numbers 34 in the BDS

Numbers 34 in the BEV

Numbers 34 in the BHAD

Numbers 34 in the BIB

Numbers 34 in the BLPT

Numbers 34 in the BNT

Numbers 34 in the BNTABOOT

Numbers 34 in the BNTLV

Numbers 34 in the BOATCB

Numbers 34 in the BOATCB2

Numbers 34 in the BOBCV

Numbers 34 in the BOCNT

Numbers 34 in the BOECS

Numbers 34 in the BOGWICC

Numbers 34 in the BOHCB

Numbers 34 in the BOHCV

Numbers 34 in the BOHLNT

Numbers 34 in the BOHNTLTAL

Numbers 34 in the BOICB

Numbers 34 in the BOILNTAP

Numbers 34 in the BOITCV

Numbers 34 in the BOKCV

Numbers 34 in the BOKCV2

Numbers 34 in the BOKHWOG

Numbers 34 in the BOKSSV

Numbers 34 in the BOLCB2

Numbers 34 in the BOMCV

Numbers 34 in the BONAV

Numbers 34 in the BONCB

Numbers 34 in the BONLT

Numbers 34 in the BONUT2

Numbers 34 in the BOPLNT

Numbers 34 in the BOSCB

Numbers 34 in the BOSNC

Numbers 34 in the BOTLNT

Numbers 34 in the BOVCB

Numbers 34 in the BOYCB

Numbers 34 in the BPBB

Numbers 34 in the BPH

Numbers 34 in the BSB

Numbers 34 in the CCB

Numbers 34 in the CUV

Numbers 34 in the CUVS

Numbers 34 in the DBT

Numbers 34 in the DGDNT

Numbers 34 in the DHNT

Numbers 34 in the DNT

Numbers 34 in the ELBE

Numbers 34 in the EMTV

Numbers 34 in the ESV

Numbers 34 in the FBV

Numbers 34 in the FEB

Numbers 34 in the GGMNT

Numbers 34 in the GNT

Numbers 34 in the HARY

Numbers 34 in the HNT

Numbers 34 in the IRVA

Numbers 34 in the IRVB

Numbers 34 in the IRVG

Numbers 34 in the IRVH

Numbers 34 in the IRVK

Numbers 34 in the IRVM

Numbers 34 in the IRVM2

Numbers 34 in the IRVO

Numbers 34 in the IRVP

Numbers 34 in the IRVT

Numbers 34 in the IRVT2

Numbers 34 in the IRVU

Numbers 34 in the ISVN

Numbers 34 in the JSNT

Numbers 34 in the KAPI

Numbers 34 in the KBT1ETNIK

Numbers 34 in the KBV

Numbers 34 in the KJV

Numbers 34 in the KNFD

Numbers 34 in the LBA

Numbers 34 in the LBLA

Numbers 34 in the LNT

Numbers 34 in the LSV

Numbers 34 in the MAAL

Numbers 34 in the MBV

Numbers 34 in the MBV2

Numbers 34 in the MHNT

Numbers 34 in the MKNFD

Numbers 34 in the MNG

Numbers 34 in the MNT

Numbers 34 in the MNT2

Numbers 34 in the MRS1T

Numbers 34 in the NAA

Numbers 34 in the NASB

Numbers 34 in the NBLA

Numbers 34 in the NBS

Numbers 34 in the NBVTP

Numbers 34 in the NET2

Numbers 34 in the NIV11

Numbers 34 in the NNT

Numbers 34 in the NNT2

Numbers 34 in the NNT3

Numbers 34 in the PDDPT

Numbers 34 in the PFNT

Numbers 34 in the RMNT

Numbers 34 in the SBIAS

Numbers 34 in the SBIBS

Numbers 34 in the SBIBS2

Numbers 34 in the SBICS

Numbers 34 in the SBIDS

Numbers 34 in the SBIGS

Numbers 34 in the SBIHS

Numbers 34 in the SBIIS

Numbers 34 in the SBIIS2

Numbers 34 in the SBIIS3

Numbers 34 in the SBIKS

Numbers 34 in the SBIKS2

Numbers 34 in the SBIMS

Numbers 34 in the SBIOS

Numbers 34 in the SBIPS

Numbers 34 in the SBISS

Numbers 34 in the SBITS

Numbers 34 in the SBITS2

Numbers 34 in the SBITS3

Numbers 34 in the SBITS4

Numbers 34 in the SBIUS

Numbers 34 in the SBIVS

Numbers 34 in the SBT

Numbers 34 in the SBT1E

Numbers 34 in the SCHL

Numbers 34 in the SNT

Numbers 34 in the SUSU

Numbers 34 in the SUSU2

Numbers 34 in the SYNO

Numbers 34 in the TBIAOTANT

Numbers 34 in the TBT1E

Numbers 34 in the TBT1E2

Numbers 34 in the TFTIP

Numbers 34 in the TFTU

Numbers 34 in the TGNTATF3T

Numbers 34 in the THAI

Numbers 34 in the TNFD

Numbers 34 in the TNT

Numbers 34 in the TNTIK

Numbers 34 in the TNTIL

Numbers 34 in the TNTIN

Numbers 34 in the TNTIP

Numbers 34 in the TNTIZ

Numbers 34 in the TOMA

Numbers 34 in the TTENT

Numbers 34 in the UBG

Numbers 34 in the UGV

Numbers 34 in the UGV2

Numbers 34 in the UGV3

Numbers 34 in the VBL

Numbers 34 in the VDCC

Numbers 34 in the YALU

Numbers 34 in the YAPE

Numbers 34 in the YBVTP

Numbers 34 in the ZBP