Numbers 7 (BOLCB)

1 Awo olwatuuka ku lunaku olwo, Musa bwe yamala okusimba Weema ya MUKAMA, n’agifukako amafuta ag’omuzeeyituuni n’agitukuza ne byonna ebikozesebwa mu yo, era n’afuka amafuta ag’omuzeeyituuni ku kyoto n’akitukuza n’ebintu byakyo byonna. 2 Abakulembeze ba Isirayiri, abakulu b’empya za bakitaabwe era nga be bakulembeze b’ebika abaalina obuvunaanyizibwa eri abaabalibwa, ne baleeta ebiweebwayo byabwe. 3 Baaleeta ebirabo byabwe eby’ebiweebwayo eri MUKAMA Katonda, amagaali agabikkiddwako mukaaga n’ente kkumi na bbiri, nga buli mukulembeze aleeta ente emu, na buli bakulembeze babiri nga baleeta eggaali emu. Ebyo byonna ne babiweerayo mu maaso ga Weema ya MUKAMA. 4 MUKAMA Katonda n’agamba Musa nti, 5 “Bye baleese bibaggyeeko, binaakozesebwanga ku mirimu gy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bikwase Abaleevi, nga buli mulimu gwa buli omu bwe gwetaagisa.” 6 Bw’atyo Musa n’addira amagaali n’ente n’abiwa Abaleevi. 7 Amagaali abiri n’ente nnya yaziwa batabani ba Gerusoni, ng’emirimu gyabwe bwe gyali, 8 n’addira amagaali ana n’ente munaana n’abiwa batabani ba Merali, ng’emirimu gyabwe bwe gyali; bonna nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni, kabona. 9 Naye abaana ba Kokasi, Musa teyabawaako, kubanga ebintu ebitukuvu bye baalinako obuvunaanyizibwa baabitwaliranga ku bibegabega byabwe. 10 Bwe batyo abakulembeze ne bawaayo ebiweebwayo mu maaso g’ekyoto olw’okukitukuza, ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 11 MUKAMA n’agamba Musa nti, “Buli lunaku omukulembeze omu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’okutukuza ekyoto.” 12 Eyaleeta ekiweebwayo kye ku lunaku olusooka yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ow’omu kika kya Yuda. 13 Ekiweebwayo kye yalisowaani emu eya ffeeza, ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza eky’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, byombi, essowaani n’ekibya, nga bipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 14 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 15 ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 16 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 17 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. 18 Ku lunaku olwokubiri Nesaneri mutabani wa Zuwaali, omukulembeze wa Isakaali, n’aleeta ekiweebwayo kye. 19 Ekirabo kye yaleeta yalisowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 20 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 21 ente ya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu oguwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 22 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 23 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Nesaneri mutabani wa Zuwaali. 24 Ku lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni, yaleeta ekiweebwayo kye. 25 Ekiweebwayo kye yalisowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 26 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 27 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 28 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 29 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Eriyaabu mutabani wa Keroni. 30 Ku lunaku olwokuna Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni, n’aleeta ekiweebwayo kye. 31 Ekiweebwayo kye yalisowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 32 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 33 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 34 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 35 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 36 Ku lunaku olwokutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Simyoni, yaleeta ekiweebwayo kye. 37 Ekiweebwayo kye yalisowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 38 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 39 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 40 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 41 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 42 Ku lunaku olw’omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulembeze w’abantu ba Gaadi, n’aleeta ekiweebwayo kye. 43 Ekiweebwayo kye yalisowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 44 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 45 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 46 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 47 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 48 Ku lunaku olw’omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi, omukulembeze w’abantu ba Efulayimu, n’aleeta ekiweebwayo kye. 49 Ekiweebwayo kye yalisowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya kya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 50 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 51 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 52 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 53 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Erisaama mutabani wa Ammikudi. 54 Ku lunaku olw’omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulembeze w’abantu ba Manase, n’aleeta ekiweebwayo kye. 55 Ekiweebwayo kye yaliesowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 56 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu, ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 57 ente eya sseddume emu envubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 58 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 59 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 60 Ku lunaku olw’omwenda Abidaani mutabani wa Gidyoni, omukulembeze w’abantu ba Benyamini, n’aleeta ekiweebwayo kye. 61 Ekiweebwayo kye yalisowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 62 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 63 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 64 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 65 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Abidaani mutabani wa Gidyoni. 66 Ku lunaku olw’ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulembeze w’abantu ba Ddaani, n’aleeta ekiweebwayo kye. 67 Ekiweebwayo kye yaliessowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 68 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 69 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 70 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 71 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 72 Ku lunaku olw’ekkumi n’olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulembeze w’abantu ba Aseri, n’aleeta ekiweebwayo kye. 73 Ekiweebwayo kye yaliessowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 74 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi, nga kijjudde ebyakaloosa; 75 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 76 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 77 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Pagiyeeri mutabani wa Ekulaani. 78 Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulembeze w’abantu ba Nafutaali, yaleeta ekiweebwayo kye. 79 Ekiweebwayo kye yaliessowaani emu eya ffeeza ng’obuzito epima kilo emu n’ekitundu, n’ekibya ekya ffeeza omubeera eby’okumansira ng’obuzito bwakyo bwali obutundu bwa kilo, munaana, nga buli kimu kipimibwa ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri; byombi nga bijjuziddwa obuwunga obulungi obutabulemu amafuta ag’omuzeeyituuni obw’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke; 80 n’ekijiiko ekinene ekya zaabu kimu ng’obuzito kipima gulaamu kikumi mu kkumi nga kijjudde ebyakaloosa; 81 ente eya sseddume emu nga nvubuka, endiga ennume emu, n’omwana gw’endiga omulume gumu nga guwezezza omwaka gumu ogw’obukulu, olw’ekiweebwayo ekyokebwa; 82 embuzi ennume emu nga ya kiweebwayo olw’ekibi; 83 era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu.Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri MUKAMA ekya Akira mutabani wa Enani. 84 Bino bye biweebwayo abakulembeze ba Isirayiri bye baaleeta olw’okutukuza ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni:essowaani eza ffeeza kkumi na bbiri, ebibya omubeera eby’okumansira kkumi na bibiri, n’ebijiiko ebinene ebya zaabu kkumi na bibiri. 85 Buli sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, na buli kibya omubeera eby’okumansira nga kipima obuzito bwa butundu bwa kilo, munaana. Okugatta awamu obuzito bw’essowaani ezo zonna n’obw’ebibya ebyo byonna bwali bupima kilo amakumi abiri mu munaana ng’ebipimo by’awatukuvu bwe byali. 86 Ebijiiko ebya zaabu ebinene ekkumi n’ebibiri ebyali bijjudde ebyakaloosa buli kimu, byali bipima obuzito kilo kikumi mu kkumi na musanvu, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri. Okugatta awamu ebijiiko byonna byapima obuzito bwa kilo emu ne desimoolo nnya. 87 Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olw’ekiweebwayo ekyokebwa gwali bwe guti: ente ento ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu gumu baali kkumi na babiri, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ebigenderako. Embuzi ennume kkumi na bbiri ze zaakozesebwa olw’ekiweebwayo olw’ekibi. 88 Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olwa ssaddaaka y’ekiweebwayo olw’emirembe gwali bwe guti: ente ennume amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga n’abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu ogumu ogumu nabo nkaaga. Ebyo bye byali ebiweebwayo olw’okutukuza ekyoto nga kimaze okufukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni. 89 Awo Musa bwe yayingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okwogera ne MUKAMA, n’awulira eddoboozi nga lyogera gy’ali nga liva wakati wa bakerubbi ababiri abali waggulu w’entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano. Bw’atyo Mukama bwe yayogera naye.

In Other Versions

Numbers 7 in the ANGEFD

Numbers 7 in the ANTPNG2D

Numbers 7 in the AS21

Numbers 7 in the BAGH

Numbers 7 in the BBPNG

Numbers 7 in the BBT1E

Numbers 7 in the BDS

Numbers 7 in the BEV

Numbers 7 in the BHAD

Numbers 7 in the BIB

Numbers 7 in the BLPT

Numbers 7 in the BNT

Numbers 7 in the BNTABOOT

Numbers 7 in the BNTLV

Numbers 7 in the BOATCB

Numbers 7 in the BOATCB2

Numbers 7 in the BOBCV

Numbers 7 in the BOCNT

Numbers 7 in the BOECS

Numbers 7 in the BOGWICC

Numbers 7 in the BOHCB

Numbers 7 in the BOHCV

Numbers 7 in the BOHLNT

Numbers 7 in the BOHNTLTAL

Numbers 7 in the BOICB

Numbers 7 in the BOILNTAP

Numbers 7 in the BOITCV

Numbers 7 in the BOKCV

Numbers 7 in the BOKCV2

Numbers 7 in the BOKHWOG

Numbers 7 in the BOKSSV

Numbers 7 in the BOLCB2

Numbers 7 in the BOMCV

Numbers 7 in the BONAV

Numbers 7 in the BONCB

Numbers 7 in the BONLT

Numbers 7 in the BONUT2

Numbers 7 in the BOPLNT

Numbers 7 in the BOSCB

Numbers 7 in the BOSNC

Numbers 7 in the BOTLNT

Numbers 7 in the BOVCB

Numbers 7 in the BOYCB

Numbers 7 in the BPBB

Numbers 7 in the BPH

Numbers 7 in the BSB

Numbers 7 in the CCB

Numbers 7 in the CUV

Numbers 7 in the CUVS

Numbers 7 in the DBT

Numbers 7 in the DGDNT

Numbers 7 in the DHNT

Numbers 7 in the DNT

Numbers 7 in the ELBE

Numbers 7 in the EMTV

Numbers 7 in the ESV

Numbers 7 in the FBV

Numbers 7 in the FEB

Numbers 7 in the GGMNT

Numbers 7 in the GNT

Numbers 7 in the HARY

Numbers 7 in the HNT

Numbers 7 in the IRVA

Numbers 7 in the IRVB

Numbers 7 in the IRVG

Numbers 7 in the IRVH

Numbers 7 in the IRVK

Numbers 7 in the IRVM

Numbers 7 in the IRVM2

Numbers 7 in the IRVO

Numbers 7 in the IRVP

Numbers 7 in the IRVT

Numbers 7 in the IRVT2

Numbers 7 in the IRVU

Numbers 7 in the ISVN

Numbers 7 in the JSNT

Numbers 7 in the KAPI

Numbers 7 in the KBT1ETNIK

Numbers 7 in the KBV

Numbers 7 in the KJV

Numbers 7 in the KNFD

Numbers 7 in the LBA

Numbers 7 in the LBLA

Numbers 7 in the LNT

Numbers 7 in the LSV

Numbers 7 in the MAAL

Numbers 7 in the MBV

Numbers 7 in the MBV2

Numbers 7 in the MHNT

Numbers 7 in the MKNFD

Numbers 7 in the MNG

Numbers 7 in the MNT

Numbers 7 in the MNT2

Numbers 7 in the MRS1T

Numbers 7 in the NAA

Numbers 7 in the NASB

Numbers 7 in the NBLA

Numbers 7 in the NBS

Numbers 7 in the NBVTP

Numbers 7 in the NET2

Numbers 7 in the NIV11

Numbers 7 in the NNT

Numbers 7 in the NNT2

Numbers 7 in the NNT3

Numbers 7 in the PDDPT

Numbers 7 in the PFNT

Numbers 7 in the RMNT

Numbers 7 in the SBIAS

Numbers 7 in the SBIBS

Numbers 7 in the SBIBS2

Numbers 7 in the SBICS

Numbers 7 in the SBIDS

Numbers 7 in the SBIGS

Numbers 7 in the SBIHS

Numbers 7 in the SBIIS

Numbers 7 in the SBIIS2

Numbers 7 in the SBIIS3

Numbers 7 in the SBIKS

Numbers 7 in the SBIKS2

Numbers 7 in the SBIMS

Numbers 7 in the SBIOS

Numbers 7 in the SBIPS

Numbers 7 in the SBISS

Numbers 7 in the SBITS

Numbers 7 in the SBITS2

Numbers 7 in the SBITS3

Numbers 7 in the SBITS4

Numbers 7 in the SBIUS

Numbers 7 in the SBIVS

Numbers 7 in the SBT

Numbers 7 in the SBT1E

Numbers 7 in the SCHL

Numbers 7 in the SNT

Numbers 7 in the SUSU

Numbers 7 in the SUSU2

Numbers 7 in the SYNO

Numbers 7 in the TBIAOTANT

Numbers 7 in the TBT1E

Numbers 7 in the TBT1E2

Numbers 7 in the TFTIP

Numbers 7 in the TFTU

Numbers 7 in the TGNTATF3T

Numbers 7 in the THAI

Numbers 7 in the TNFD

Numbers 7 in the TNT

Numbers 7 in the TNTIK

Numbers 7 in the TNTIL

Numbers 7 in the TNTIN

Numbers 7 in the TNTIP

Numbers 7 in the TNTIZ

Numbers 7 in the TOMA

Numbers 7 in the TTENT

Numbers 7 in the UBG

Numbers 7 in the UGV

Numbers 7 in the UGV2

Numbers 7 in the UGV3

Numbers 7 in the VBL

Numbers 7 in the VDCC

Numbers 7 in the YALU

Numbers 7 in the YAPE

Numbers 7 in the YBVTP

Numbers 7 in the ZBP