Philippians 1 (BOLCB)
1 Nze Pawulo ne Timoseewo abaddu ba Kristo Yesu tuwandiikira abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu Firipi, awamu n’abalabirizi n’abadiikoni; 2 ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe. 3 Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 4 era buli lwe mbasabira mwenna nsaba nga nzijudde essanyu. 5 Kubanga okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kaakano mwetaba wamu nange mu njiri. 6 Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu. 7 Kino kituufu okubalowoozaako bwe ntyo mwenna, kubanga mundowoozaako mu kusibibwa kwange ne mu kulwanirira Enjiri, ne mu kuginyweza, nga mwenna mwetaba wamu nange mu kisa. 8 Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu. 9 Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, 10 mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, 11 nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza. 12 Abooluganda, njagala mmwe mutegeere kaakano nti ebimu ebyambaako byongera bwongezi kubunyisa Njiri, 13 n’okusibibwa kwange kulyoke kulabise Kristo eri olusiisira lwonna olw’abaserikale ba kabaka n’eri abalala bonna. 14 N’abooluganda mu Mukama waffe abasinga obungi beeyongedde okuguma olw’okusibibwa kwange, era nga bamaliridde okwaŋŋanga okubuulira nga tebatya. 15 Weewaawo abamu bategeeza abantu Kristo lwa buggya na kuvuganya, naye abalala bakikola mu mwoyo mulungi. 16 Bano bakikola lwa kwagala, kubanga bamanyi nga nalondebwa lwa kulwanirira Njiri. 17 Naye bali bategeeza Kristo lwa kuvuganya, so si mu mazima, nga balowooza nti banaayongera okunnakuwaza mu busibe bwe ndimu. 18 Naye nze nfaayo ki? Kristo bw’abuulirwa, mu buli ngeri, oba za bukuusa oba za mazima, nze nsanyuka busanyusi.Era nzija kweyongera okusanyuka. 19 Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange. 20 Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa. 21 Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde. 22 Naye obanga bwe mba omulamu mu mubiri ng’ekyo kibala ky’okufuba kwange, simanyi kye nnaalondawo. 23 Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi. 24 Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe 25 Ekyo nkikakasa era nkimanyi nti nzija kuba nga nkyaliwo mbeere nammwe, mulyoke mweyongere okusanyuka n’okukula mu kukkiriza, 26 bwe ndikomawo gye muli mulyoke mweyongere okwenyumiririza mu Kristo ku lwange. 27 Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu. 28 Temutyanga abo ababawakanya kubanga ke kabonero akakakasa nti balizikirizibwa, naye mmwe mulirokolebwa, era ekyo kiva eri Katonda. 29 Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe. 30 Olutalo lwe mwalaba nga nnwana, era lwe muwulira lwe ndiko kaakano, nammwe lwe muliko.
In Other Versions
Philippians 1 in the ANGEFD
Philippians 1 in the ANTPNG2D
Philippians 1 in the AS21
Philippians 1 in the BAGH
Philippians 1 in the BBPNG
Philippians 1 in the BBT1E
Philippians 1 in the BDS
Philippians 1 in the BEV
Philippians 1 in the BHAD
Philippians 1 in the BIB
Philippians 1 in the BLPT
Philippians 1 in the BNT
Philippians 1 in the BNTABOOT
Philippians 1 in the BNTLV
Philippians 1 in the BOATCB
Philippians 1 in the BOATCB2
Philippians 1 in the BOBCV
Philippians 1 in the BOCNT
Philippians 1 in the BOECS
Philippians 1 in the BOGWICC
Philippians 1 in the BOHCB
Philippians 1 in the BOHCV
Philippians 1 in the BOHLNT
Philippians 1 in the BOHNTLTAL
Philippians 1 in the BOICB
Philippians 1 in the BOILNTAP
Philippians 1 in the BOITCV
Philippians 1 in the BOKCV
Philippians 1 in the BOKCV2
Philippians 1 in the BOKHWOG
Philippians 1 in the BOKSSV
Philippians 1 in the BOLCB2
Philippians 1 in the BOMCV
Philippians 1 in the BONAV
Philippians 1 in the BONCB
Philippians 1 in the BONLT
Philippians 1 in the BONUT2
Philippians 1 in the BOPLNT
Philippians 1 in the BOSCB
Philippians 1 in the BOSNC
Philippians 1 in the BOTLNT
Philippians 1 in the BOVCB
Philippians 1 in the BOYCB
Philippians 1 in the BPBB
Philippians 1 in the BPH
Philippians 1 in the BSB
Philippians 1 in the CCB
Philippians 1 in the CUV
Philippians 1 in the CUVS
Philippians 1 in the DBT
Philippians 1 in the DGDNT
Philippians 1 in the DHNT
Philippians 1 in the DNT
Philippians 1 in the ELBE
Philippians 1 in the EMTV
Philippians 1 in the ESV
Philippians 1 in the FBV
Philippians 1 in the FEB
Philippians 1 in the GGMNT
Philippians 1 in the GNT
Philippians 1 in the HARY
Philippians 1 in the HNT
Philippians 1 in the IRVA
Philippians 1 in the IRVB
Philippians 1 in the IRVG
Philippians 1 in the IRVH
Philippians 1 in the IRVK
Philippians 1 in the IRVM
Philippians 1 in the IRVM2
Philippians 1 in the IRVO
Philippians 1 in the IRVP
Philippians 1 in the IRVT
Philippians 1 in the IRVT2
Philippians 1 in the IRVU
Philippians 1 in the ISVN
Philippians 1 in the JSNT
Philippians 1 in the KAPI
Philippians 1 in the KBT1ETNIK
Philippians 1 in the KBV
Philippians 1 in the KJV
Philippians 1 in the KNFD
Philippians 1 in the LBA
Philippians 1 in the LBLA
Philippians 1 in the LNT
Philippians 1 in the LSV
Philippians 1 in the MAAL
Philippians 1 in the MBV
Philippians 1 in the MBV2
Philippians 1 in the MHNT
Philippians 1 in the MKNFD
Philippians 1 in the MNG
Philippians 1 in the MNT
Philippians 1 in the MNT2
Philippians 1 in the MRS1T
Philippians 1 in the NAA
Philippians 1 in the NASB
Philippians 1 in the NBLA
Philippians 1 in the NBS
Philippians 1 in the NBVTP
Philippians 1 in the NET2
Philippians 1 in the NIV11
Philippians 1 in the NNT
Philippians 1 in the NNT2
Philippians 1 in the NNT3
Philippians 1 in the PDDPT
Philippians 1 in the PFNT
Philippians 1 in the RMNT
Philippians 1 in the SBIAS
Philippians 1 in the SBIBS
Philippians 1 in the SBIBS2
Philippians 1 in the SBICS
Philippians 1 in the SBIDS
Philippians 1 in the SBIGS
Philippians 1 in the SBIHS
Philippians 1 in the SBIIS
Philippians 1 in the SBIIS2
Philippians 1 in the SBIIS3
Philippians 1 in the SBIKS
Philippians 1 in the SBIKS2
Philippians 1 in the SBIMS
Philippians 1 in the SBIOS
Philippians 1 in the SBIPS
Philippians 1 in the SBISS
Philippians 1 in the SBITS
Philippians 1 in the SBITS2
Philippians 1 in the SBITS3
Philippians 1 in the SBITS4
Philippians 1 in the SBIUS
Philippians 1 in the SBIVS
Philippians 1 in the SBT
Philippians 1 in the SBT1E
Philippians 1 in the SCHL
Philippians 1 in the SNT
Philippians 1 in the SUSU
Philippians 1 in the SUSU2
Philippians 1 in the SYNO
Philippians 1 in the TBIAOTANT
Philippians 1 in the TBT1E
Philippians 1 in the TBT1E2
Philippians 1 in the TFTIP
Philippians 1 in the TFTU
Philippians 1 in the TGNTATF3T
Philippians 1 in the THAI
Philippians 1 in the TNFD
Philippians 1 in the TNT
Philippians 1 in the TNTIK
Philippians 1 in the TNTIL
Philippians 1 in the TNTIN
Philippians 1 in the TNTIP
Philippians 1 in the TNTIZ
Philippians 1 in the TOMA
Philippians 1 in the TTENT
Philippians 1 in the UBG
Philippians 1 in the UGV
Philippians 1 in the UGV2
Philippians 1 in the UGV3
Philippians 1 in the VBL
Philippians 1 in the VDCC
Philippians 1 in the YALU
Philippians 1 in the YAPE
Philippians 1 in the YBVTP
Philippians 1 in the ZBP