Psalms 1 (BOLCB)
1 Alina omukisa omuntuatatambulira mu kuteesa kw’ababi,era atayimirira mu kibiina ky’ababi,newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda. 2 Naye asanyukira okugondera amateeka ga MUKAMA,era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro. 3 Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,n’ebikoola byagwo tebiwotoka.Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere. 4 Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa. 5 Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu. 6 Kubanga MUKAMA alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.