Psalms 110 (BOLCB)
undefined Zabbuli ya Dawudi. 1 MUKAMA yagamba Mukama wange nti: “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bone mbassa wansi w’ebigere byo.” 2 MUKAMA aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;olifuga abalabe bo. 3 Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyong’ekiseera ky’olutalo kituuse.Abavubuka bo,nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya. 4 MUKAMA yalayira,era tagenda kukijjulula,yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonnang’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.” 5 Mukama anaakulwaniriranga;bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi. 6 Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna. 7 Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.