Psalms 123 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. 1 Nnyimusa amaaso gange gy’oli,Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu. 2 Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we,n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira MUKAMA Katonda waffe,okutuusa lw’alitusaasira. 3 Tusaasire, Ayi MUKAMA, tusaasire,kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala. 4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,n’okunyoomebwa ab’amalala.