Psalms 124 (BOLCB)
undefined Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. 1 Isirayiri agamba nti,singa Katonda teyali ku ludda lwaffe, 2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffeabalabe baffe bwe baatulumba, 3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera,obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako. 4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo,ne mukoka n’atukulukutirako; 5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayiraganditukuluggusizza. 6 MUKAMA atenderezebweatatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe. 7 Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kivaku mutego gw’abatezi;omutego gukutuse,naffe tuwonye! 8 Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya MUKAMA,eyakola eggulu n’ensi.