Psalms 78 (BOLCB)

undefined Oluyimba lwa Asafu. 1 Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,musseeyo omwoyo ku bye njogera. 2 Ndyogerera mu ngero,njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda, 3 ebintu bye twawulira ne tumanya;ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza. 4 Tetuubikisenga baana baabwe,naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawoebikolwa bya MUKAMA eby’ekitalo,n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola. 5 Yawa Yakobo ebiragiro,n’ateeka amateeka mu Isirayiri;n’alagira bajjajjaffebabiyigirizenga abaana baabwe, 6 ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,n’abaana abalizaalibwa,nabo babiyigirize abaana baabwe, 7 balyoke beesigenga Katonda,era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;naye bagonderenga ebiragiro bye. 8 Baleme okuba nga bajjajjaabwe,omulembe ogw’abakakanyavuera abajeemu abatali bawulize,ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda. 9 Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,naye ne badduka mu lutalo, 10 tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;ne bagaana okugondera amateeka ga MUKAMA. 11 Beerabira ebyo bye yakola,n’ebyamagero bye yabalaga. 12 Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga balimu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani. 13 Ennyanja yajaawulamu,amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge. 14 Emisana yabakulemberanga n’ekire,n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro. 15 Yayasa enjazi mu ddungu,n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja. 16 Yaggya ensulo mu lwazi,n’akulukusa amazzi ng’emigga. 17 Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu. 18 Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,nga bamusaba emmere gye baalulunkanira. 19 Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,“Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu? 20 Weewaawo yakuba olwazi,amazzi ne gakulukuta ng’emigga;naye anaatuwa emmere?Anaawa abantu be ennyama?” 21 Awo MUKAMA bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri. 22 Kubanga tebakkiriza Katonda,era tebeesiga maanyi ge agalokola. 23 Naye era n’alagira eggulu;n’aggulawo enzigi z’omu ggulu. 24 N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.Yabawa emmere eyava mu ggulu. 25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika; MUKAMA n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala. 26 N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge. 27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja. 28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;okwetooloola eweema zaabwe. 29 Awo ne balya ne bakkuta nnyo;kubanga yabawa kye baali bayaayaanira. 30 Naye bwe baali nga bakyalulunkana,nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe, 31 obusungu bwa MUKAMA ne bubabuubuukirako,n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa. 32 Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza. 33 MUKAMA kyeyava asala ku myaka gyabwe,n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa. 34 Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,ne beenenya ne badda gy’ali. 35 Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe. 36 Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe, 37 so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,era nga tebatuukiriza ndagaano ye. 38 Naye ye n’abakwatirwanga ekisan’abasonyiwanga,n’atabazikiriza;emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala. 39 Yajjukira nga baali mubiri bubiri;ng’empewo egenda n’etedda! 40 Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;ne banakuwaza nnyo omutima gwe. 41 Ne baddamu ne bakema Katonda,ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri. 42 Tebajjukira buyinza bwe;wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe; 43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani, 44 yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,ne batanywa mazzi gaagyo. 45 Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza. 46 Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzigene bulusejjera. 47 Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe. 48 Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu. 49 Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza. 50 Yabalaga obusungu bwe,n’atabasonyiwa kufa,n’abasindikira kawumpuli. 51 Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu. 52 N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo. 53 N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe. 54 N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo. 55 Yagobamu amawanga nga balaba,n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo. 56 Naye era ne bakema Katonda;ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,ne bagaana okugondera ebiragiro bye. 57 Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu. 58 Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala. 59 Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri. 60 N’ava mu weema ey’omu Siiro,eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be. 61 N’awaayo amaanyi ge mu busibe,n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe. 62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,n’asunguwalira omugabo gwe. 63 Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa. 64 Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira. 65 Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde. 66 N’akuba abalabe be ne badduka;n’abaswaza emirembe gyonna. 67 MUKAMA yaleka ennyumba ya Yusufu,n’ekika kya Efulayimu n’atakironda; 68 naye n’alonda ekika kya Yuda,lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala. 69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna. 70 Yalonda Dawudi omuweereza we;n’amuggya mu kulunda endiga. 71 Ave mu kuliisa endiga,naye alundenga Yakobo, be bantu be,era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera. 72 N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.

In Other Versions

Psalms 78 in the ANGEFD

Psalms 78 in the ANTPNG2D

Psalms 78 in the AS21

Psalms 78 in the BAGH

Psalms 78 in the BBPNG

Psalms 78 in the BBT1E

Psalms 78 in the BDS

Psalms 78 in the BEV

Psalms 78 in the BHAD

Psalms 78 in the BIB

Psalms 78 in the BLPT

Psalms 78 in the BNT

Psalms 78 in the BNTABOOT

Psalms 78 in the BNTLV

Psalms 78 in the BOATCB

Psalms 78 in the BOATCB2

Psalms 78 in the BOBCV

Psalms 78 in the BOCNT

Psalms 78 in the BOECS

Psalms 78 in the BOGWICC

Psalms 78 in the BOHCB

Psalms 78 in the BOHCV

Psalms 78 in the BOHLNT

Psalms 78 in the BOHNTLTAL

Psalms 78 in the BOICB

Psalms 78 in the BOILNTAP

Psalms 78 in the BOITCV

Psalms 78 in the BOKCV

Psalms 78 in the BOKCV2

Psalms 78 in the BOKHWOG

Psalms 78 in the BOKSSV

Psalms 78 in the BOLCB2

Psalms 78 in the BOMCV

Psalms 78 in the BONAV

Psalms 78 in the BONCB

Psalms 78 in the BONLT

Psalms 78 in the BONUT2

Psalms 78 in the BOPLNT

Psalms 78 in the BOSCB

Psalms 78 in the BOSNC

Psalms 78 in the BOTLNT

Psalms 78 in the BOVCB

Psalms 78 in the BOYCB

Psalms 78 in the BPBB

Psalms 78 in the BPH

Psalms 78 in the BSB

Psalms 78 in the CCB

Psalms 78 in the CUV

Psalms 78 in the CUVS

Psalms 78 in the DBT

Psalms 78 in the DGDNT

Psalms 78 in the DHNT

Psalms 78 in the DNT

Psalms 78 in the ELBE

Psalms 78 in the EMTV

Psalms 78 in the ESV

Psalms 78 in the FBV

Psalms 78 in the FEB

Psalms 78 in the GGMNT

Psalms 78 in the GNT

Psalms 78 in the HARY

Psalms 78 in the HNT

Psalms 78 in the IRVA

Psalms 78 in the IRVB

Psalms 78 in the IRVG

Psalms 78 in the IRVH

Psalms 78 in the IRVK

Psalms 78 in the IRVM

Psalms 78 in the IRVM2

Psalms 78 in the IRVO

Psalms 78 in the IRVP

Psalms 78 in the IRVT

Psalms 78 in the IRVT2

Psalms 78 in the IRVU

Psalms 78 in the ISVN

Psalms 78 in the JSNT

Psalms 78 in the KAPI

Psalms 78 in the KBT1ETNIK

Psalms 78 in the KBV

Psalms 78 in the KJV

Psalms 78 in the KNFD

Psalms 78 in the LBA

Psalms 78 in the LBLA

Psalms 78 in the LNT

Psalms 78 in the LSV

Psalms 78 in the MAAL

Psalms 78 in the MBV

Psalms 78 in the MBV2

Psalms 78 in the MHNT

Psalms 78 in the MKNFD

Psalms 78 in the MNG

Psalms 78 in the MNT

Psalms 78 in the MNT2

Psalms 78 in the MRS1T

Psalms 78 in the NAA

Psalms 78 in the NASB

Psalms 78 in the NBLA

Psalms 78 in the NBS

Psalms 78 in the NBVTP

Psalms 78 in the NET2

Psalms 78 in the NIV11

Psalms 78 in the NNT

Psalms 78 in the NNT2

Psalms 78 in the NNT3

Psalms 78 in the PDDPT

Psalms 78 in the PFNT

Psalms 78 in the RMNT

Psalms 78 in the SBIAS

Psalms 78 in the SBIBS

Psalms 78 in the SBIBS2

Psalms 78 in the SBICS

Psalms 78 in the SBIDS

Psalms 78 in the SBIGS

Psalms 78 in the SBIHS

Psalms 78 in the SBIIS

Psalms 78 in the SBIIS2

Psalms 78 in the SBIIS3

Psalms 78 in the SBIKS

Psalms 78 in the SBIKS2

Psalms 78 in the SBIMS

Psalms 78 in the SBIOS

Psalms 78 in the SBIPS

Psalms 78 in the SBISS

Psalms 78 in the SBITS

Psalms 78 in the SBITS2

Psalms 78 in the SBITS3

Psalms 78 in the SBITS4

Psalms 78 in the SBIUS

Psalms 78 in the SBIVS

Psalms 78 in the SBT

Psalms 78 in the SBT1E

Psalms 78 in the SCHL

Psalms 78 in the SNT

Psalms 78 in the SUSU

Psalms 78 in the SUSU2

Psalms 78 in the SYNO

Psalms 78 in the TBIAOTANT

Psalms 78 in the TBT1E

Psalms 78 in the TBT1E2

Psalms 78 in the TFTIP

Psalms 78 in the TFTU

Psalms 78 in the TGNTATF3T

Psalms 78 in the THAI

Psalms 78 in the TNFD

Psalms 78 in the TNT

Psalms 78 in the TNTIK

Psalms 78 in the TNTIL

Psalms 78 in the TNTIN

Psalms 78 in the TNTIP

Psalms 78 in the TNTIZ

Psalms 78 in the TOMA

Psalms 78 in the TTENT

Psalms 78 in the UBG

Psalms 78 in the UGV

Psalms 78 in the UGV2

Psalms 78 in the UGV3

Psalms 78 in the VBL

Psalms 78 in the VDCC

Psalms 78 in the YALU

Psalms 78 in the YAPE

Psalms 78 in the YBVTP

Psalms 78 in the ZBP