Psalms 89 (BOLCB)

undefined Endagaano ya Katonda ne Dawudi. 1 Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi MUKAMA, emirembe gyonna.Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna. 2 Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu. 3 Nakola endagaano n’omulonde wange;nalayirira omuweereza wange Dawudi nti, 4 “Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.” 5 Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,Ayi MUKAMA, mu kibiina ky’abatukuvu bo. 6 Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne MUKAMA?Ani afaanana nga MUKAMA, mu abo ababeera mu ggulu? 7 Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola. 8 Ayi MUKAMA Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?Oli wa buyinza, Ayi MUKAMA, ojjudde obwesigwa. 9 Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya. 10 Lakabu wamubetentera ddala;abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi. 11 Eggulu liryo, n’ensi yiyo;ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu. 12 Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo. 13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga. 14 Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga. 15 Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza MUKAMA n’amaloboozi ag’essanyu;Ayi MUKAMA, banaatambuliranga mu ssanyu lyo. 16 Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga. 17 Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo. 18 Ddala ddala, MUKAMA ye ngabo yaffe,Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe. 19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza woomwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;ngulumizizza omuvubukaokuva mu bantu abaabulijjo. 20 Nalaba Dawudi, omuweereza wange;ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka. 21 Nnaamukulemberanga,n’omukono gwange gunaamunywezanga. 22 Tewaliba mulabe we alimuwangula,so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga. 23 Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta. 24 Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi. 25 Alifuga okuva ku miggaokutuuka ku nnyanja ennene. 26 Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange. 27 Ndimufuula omwana wange omubereberye,era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi. 28 Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira. 29 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna. 30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,ne batagoberera biragiro byange; 31 bwe banaamenyanga ebiragiro byange,ne batagondera mateeka gange, 32 ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe. 33 Naye ssirirekayo kumwagala,wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali. 34 Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde. 35 Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,nti, “Dawudi sigenda kumulimba.” 36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba. 37 Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa. 38 Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde,omukyaye era omunyiigidde. 39 Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo,n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu. 40 Wamenyaamenya bbugwe we yenna,n’oggyawo n’ebigo bye. 41 Abatambuze baanyaga ebintu bye;n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be. 42 Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo,n’osanyusa abalabe be bonna. 43 Wakyusa ekitala kyen’otomuyamba mu lutalo. 44 Ekitiibwa kye wakikomya;entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi. 45 Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako,n’omuswaza. 46 Ayi MUKAMA, olyekweka ennaku zonna?Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi? 47 Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi.Wateganira bwereere okutonda abantu bonna! 48 Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufan’awangula amaanyi g’emagombe? 49 Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo,kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa? 50 Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa,engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma; 51 abalabe bo banvuma, Ayi MUKAMA;ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga. 52 MUKAMA atenderezebwenga emirembe gyonna!Amiina era Amiina!

In Other Versions

Psalms 89 in the ANGEFD

Psalms 89 in the ANTPNG2D

Psalms 89 in the AS21

Psalms 89 in the BAGH

Psalms 89 in the BBPNG

Psalms 89 in the BBT1E

Psalms 89 in the BDS

Psalms 89 in the BEV

Psalms 89 in the BHAD

Psalms 89 in the BIB

Psalms 89 in the BLPT

Psalms 89 in the BNT

Psalms 89 in the BNTABOOT

Psalms 89 in the BNTLV

Psalms 89 in the BOATCB

Psalms 89 in the BOATCB2

Psalms 89 in the BOBCV

Psalms 89 in the BOCNT

Psalms 89 in the BOECS

Psalms 89 in the BOGWICC

Psalms 89 in the BOHCB

Psalms 89 in the BOHCV

Psalms 89 in the BOHLNT

Psalms 89 in the BOHNTLTAL

Psalms 89 in the BOICB

Psalms 89 in the BOILNTAP

Psalms 89 in the BOITCV

Psalms 89 in the BOKCV

Psalms 89 in the BOKCV2

Psalms 89 in the BOKHWOG

Psalms 89 in the BOKSSV

Psalms 89 in the BOLCB2

Psalms 89 in the BOMCV

Psalms 89 in the BONAV

Psalms 89 in the BONCB

Psalms 89 in the BONLT

Psalms 89 in the BONUT2

Psalms 89 in the BOPLNT

Psalms 89 in the BOSCB

Psalms 89 in the BOSNC

Psalms 89 in the BOTLNT

Psalms 89 in the BOVCB

Psalms 89 in the BOYCB

Psalms 89 in the BPBB

Psalms 89 in the BPH

Psalms 89 in the BSB

Psalms 89 in the CCB

Psalms 89 in the CUV

Psalms 89 in the CUVS

Psalms 89 in the DBT

Psalms 89 in the DGDNT

Psalms 89 in the DHNT

Psalms 89 in the DNT

Psalms 89 in the ELBE

Psalms 89 in the EMTV

Psalms 89 in the ESV

Psalms 89 in the FBV

Psalms 89 in the FEB

Psalms 89 in the GGMNT

Psalms 89 in the GNT

Psalms 89 in the HARY

Psalms 89 in the HNT

Psalms 89 in the IRVA

Psalms 89 in the IRVB

Psalms 89 in the IRVG

Psalms 89 in the IRVH

Psalms 89 in the IRVK

Psalms 89 in the IRVM

Psalms 89 in the IRVM2

Psalms 89 in the IRVO

Psalms 89 in the IRVP

Psalms 89 in the IRVT

Psalms 89 in the IRVT2

Psalms 89 in the IRVU

Psalms 89 in the ISVN

Psalms 89 in the JSNT

Psalms 89 in the KAPI

Psalms 89 in the KBT1ETNIK

Psalms 89 in the KBV

Psalms 89 in the KJV

Psalms 89 in the KNFD

Psalms 89 in the LBA

Psalms 89 in the LBLA

Psalms 89 in the LNT

Psalms 89 in the LSV

Psalms 89 in the MAAL

Psalms 89 in the MBV

Psalms 89 in the MBV2

Psalms 89 in the MHNT

Psalms 89 in the MKNFD

Psalms 89 in the MNG

Psalms 89 in the MNT

Psalms 89 in the MNT2

Psalms 89 in the MRS1T

Psalms 89 in the NAA

Psalms 89 in the NASB

Psalms 89 in the NBLA

Psalms 89 in the NBS

Psalms 89 in the NBVTP

Psalms 89 in the NET2

Psalms 89 in the NIV11

Psalms 89 in the NNT

Psalms 89 in the NNT2

Psalms 89 in the NNT3

Psalms 89 in the PDDPT

Psalms 89 in the PFNT

Psalms 89 in the RMNT

Psalms 89 in the SBIAS

Psalms 89 in the SBIBS

Psalms 89 in the SBIBS2

Psalms 89 in the SBICS

Psalms 89 in the SBIDS

Psalms 89 in the SBIGS

Psalms 89 in the SBIHS

Psalms 89 in the SBIIS

Psalms 89 in the SBIIS2

Psalms 89 in the SBIIS3

Psalms 89 in the SBIKS

Psalms 89 in the SBIKS2

Psalms 89 in the SBIMS

Psalms 89 in the SBIOS

Psalms 89 in the SBIPS

Psalms 89 in the SBISS

Psalms 89 in the SBITS

Psalms 89 in the SBITS2

Psalms 89 in the SBITS3

Psalms 89 in the SBITS4

Psalms 89 in the SBIUS

Psalms 89 in the SBIVS

Psalms 89 in the SBT

Psalms 89 in the SBT1E

Psalms 89 in the SCHL

Psalms 89 in the SNT

Psalms 89 in the SUSU

Psalms 89 in the SUSU2

Psalms 89 in the SYNO

Psalms 89 in the TBIAOTANT

Psalms 89 in the TBT1E

Psalms 89 in the TBT1E2

Psalms 89 in the TFTIP

Psalms 89 in the TFTU

Psalms 89 in the TGNTATF3T

Psalms 89 in the THAI

Psalms 89 in the TNFD

Psalms 89 in the TNT

Psalms 89 in the TNTIK

Psalms 89 in the TNTIL

Psalms 89 in the TNTIN

Psalms 89 in the TNTIP

Psalms 89 in the TNTIZ

Psalms 89 in the TOMA

Psalms 89 in the TTENT

Psalms 89 in the UBG

Psalms 89 in the UGV

Psalms 89 in the UGV2

Psalms 89 in the UGV3

Psalms 89 in the VBL

Psalms 89 in the VDCC

Psalms 89 in the YALU

Psalms 89 in the YAPE

Psalms 89 in the YBVTP

Psalms 89 in the ZBP