Psalms 9 (BOLCB)

undefined Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi. 1 Nnaakutenderezanga, Ayi MUKAMA n’omutima gwange gwonna;nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna. 2 Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi MUKAMA Ali Waggulu Ennyo. 3 Abalabe bange bazzeeyo emabega,beesittadde ne bazikiririra mu maaso go. 4 Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya. 5 Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe. 6 Abalabe obamaliddewo ddala,n’ebibuga byabwe obizikirizza,era tewali aliddayo kubijjukira. 7 Naye MUKAMA afuga emirembe gyonna;era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango. 8 Aliramula ensi mu butuukirivu,era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya. 9 MUKAMA kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi. 10 Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi MUKAMA, banaakwesiganga;kubanga abakunoonya tobaleka bokka. 11 Muyimbe okutendereza MUKAMA, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;mutegeeze amawanga gonna by’akoze. 12 Ajjukira n’awoolera eggwangaera assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa. 13 Onsaasire, Ayi MUKAMA; otunuulire abalabe bange abangigganya,onzigye ku miryango gy’okufa. 14 Ndyoke nkutenderezenga mu lwatumu miryango gy’omuwala wa Sayuuni:era njagulizenga mu bulokozi bwo. 15 Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa. 16 MUKAMA yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye. 17 Ababi balisuulibwa emagombe;ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda. 18 Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna. 19 Ogolokoke, Ayi MUKAMA, tokkiriza muntu kuwangula;leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go. 20 Bakankanye n’okutya, Ayi MUKAMA;amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

In Other Versions

Psalms 9 in the ANGEFD

Psalms 9 in the ANTPNG2D

Psalms 9 in the AS21

Psalms 9 in the BAGH

Psalms 9 in the BBPNG

Psalms 9 in the BBT1E

Psalms 9 in the BDS

Psalms 9 in the BEV

Psalms 9 in the BHAD

Psalms 9 in the BIB

Psalms 9 in the BLPT

Psalms 9 in the BNT

Psalms 9 in the BNTABOOT

Psalms 9 in the BNTLV

Psalms 9 in the BOATCB

Psalms 9 in the BOATCB2

Psalms 9 in the BOBCV

Psalms 9 in the BOCNT

Psalms 9 in the BOECS

Psalms 9 in the BOGWICC

Psalms 9 in the BOHCB

Psalms 9 in the BOHCV

Psalms 9 in the BOHLNT

Psalms 9 in the BOHNTLTAL

Psalms 9 in the BOICB

Psalms 9 in the BOILNTAP

Psalms 9 in the BOITCV

Psalms 9 in the BOKCV

Psalms 9 in the BOKCV2

Psalms 9 in the BOKHWOG

Psalms 9 in the BOKSSV

Psalms 9 in the BOLCB2

Psalms 9 in the BOMCV

Psalms 9 in the BONAV

Psalms 9 in the BONCB

Psalms 9 in the BONLT

Psalms 9 in the BONUT2

Psalms 9 in the BOPLNT

Psalms 9 in the BOSCB

Psalms 9 in the BOSNC

Psalms 9 in the BOTLNT

Psalms 9 in the BOVCB

Psalms 9 in the BOYCB

Psalms 9 in the BPBB

Psalms 9 in the BPH

Psalms 9 in the BSB

Psalms 9 in the CCB

Psalms 9 in the CUV

Psalms 9 in the CUVS

Psalms 9 in the DBT

Psalms 9 in the DGDNT

Psalms 9 in the DHNT

Psalms 9 in the DNT

Psalms 9 in the ELBE

Psalms 9 in the EMTV

Psalms 9 in the ESV

Psalms 9 in the FBV

Psalms 9 in the FEB

Psalms 9 in the GGMNT

Psalms 9 in the GNT

Psalms 9 in the HARY

Psalms 9 in the HNT

Psalms 9 in the IRVA

Psalms 9 in the IRVB

Psalms 9 in the IRVG

Psalms 9 in the IRVH

Psalms 9 in the IRVK

Psalms 9 in the IRVM

Psalms 9 in the IRVM2

Psalms 9 in the IRVO

Psalms 9 in the IRVP

Psalms 9 in the IRVT

Psalms 9 in the IRVT2

Psalms 9 in the IRVU

Psalms 9 in the ISVN

Psalms 9 in the JSNT

Psalms 9 in the KAPI

Psalms 9 in the KBT1ETNIK

Psalms 9 in the KBV

Psalms 9 in the KJV

Psalms 9 in the KNFD

Psalms 9 in the LBA

Psalms 9 in the LBLA

Psalms 9 in the LNT

Psalms 9 in the LSV

Psalms 9 in the MAAL

Psalms 9 in the MBV

Psalms 9 in the MBV2

Psalms 9 in the MHNT

Psalms 9 in the MKNFD

Psalms 9 in the MNG

Psalms 9 in the MNT

Psalms 9 in the MNT2

Psalms 9 in the MRS1T

Psalms 9 in the NAA

Psalms 9 in the NASB

Psalms 9 in the NBLA

Psalms 9 in the NBS

Psalms 9 in the NBVTP

Psalms 9 in the NET2

Psalms 9 in the NIV11

Psalms 9 in the NNT

Psalms 9 in the NNT2

Psalms 9 in the NNT3

Psalms 9 in the PDDPT

Psalms 9 in the PFNT

Psalms 9 in the RMNT

Psalms 9 in the SBIAS

Psalms 9 in the SBIBS

Psalms 9 in the SBIBS2

Psalms 9 in the SBICS

Psalms 9 in the SBIDS

Psalms 9 in the SBIGS

Psalms 9 in the SBIHS

Psalms 9 in the SBIIS

Psalms 9 in the SBIIS2

Psalms 9 in the SBIIS3

Psalms 9 in the SBIKS

Psalms 9 in the SBIKS2

Psalms 9 in the SBIMS

Psalms 9 in the SBIOS

Psalms 9 in the SBIPS

Psalms 9 in the SBISS

Psalms 9 in the SBITS

Psalms 9 in the SBITS2

Psalms 9 in the SBITS3

Psalms 9 in the SBITS4

Psalms 9 in the SBIUS

Psalms 9 in the SBIVS

Psalms 9 in the SBT

Psalms 9 in the SBT1E

Psalms 9 in the SCHL

Psalms 9 in the SNT

Psalms 9 in the SUSU

Psalms 9 in the SUSU2

Psalms 9 in the SYNO

Psalms 9 in the TBIAOTANT

Psalms 9 in the TBT1E

Psalms 9 in the TBT1E2

Psalms 9 in the TFTIP

Psalms 9 in the TFTU

Psalms 9 in the TGNTATF3T

Psalms 9 in the THAI

Psalms 9 in the TNFD

Psalms 9 in the TNT

Psalms 9 in the TNTIK

Psalms 9 in the TNTIL

Psalms 9 in the TNTIN

Psalms 9 in the TNTIP

Psalms 9 in the TNTIZ

Psalms 9 in the TOMA

Psalms 9 in the TTENT

Psalms 9 in the UBG

Psalms 9 in the UGV

Psalms 9 in the UGV2

Psalms 9 in the UGV3

Psalms 9 in the VBL

Psalms 9 in the VDCC

Psalms 9 in the YALU

Psalms 9 in the YAPE

Psalms 9 in the YBVTP

Psalms 9 in the ZBP