Psalms 93 (BOLCB)
1 MUKAMA afuga; ayambadde ekitiibwa. MUKAMA ayambadde ekitiibwaera yeesibye amaanyi.Ensi yanywezebwa;teyinza kunyeenyezebwa. 2 Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe. 3 Amayengo gatumbidde, Ayi MUKAMA;ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,n’amazzi g’ennyanja gayira. 4 MUKAMA, Ali Waggulu Ennyo,oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja. 5 Ayi MUKAMA ebiragiro byo binywevu,n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,ennaku zonna.