Romans 16 (BOLCB)

1 Kaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza w’ekkanisa ey’omu Kenkereya. 2 Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini. 3 Mundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu, 4 abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olw’obulamu bwange, era si beebaza bokka wabula n’Ekkanisa z’Abamawanga zonna. 5 Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ng’ekkanisa mu maka gaabwe.Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala eky’olubereberye eky’omu Asiya eri Kristo. 6 Mundabire Maliyamu eyabakolera ennyo. 7 Mundabire Anduloniiko ne Yuniya ab’ekika kyange, abaasibibwa awamu nange mu kkomera, era bassibwamu nnyo ekitiibwa abatume era be bansooka okubeera mu Kristo. 8 Mundabire Ampuliyaato omwagalwa wange mu Mukama waffe. 9 Mundabire Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, n’omwagalwa waffe Sutaku. 10 Mundabire Apere, asiimibwa mu Kristo.Mundabire n’ab’omu nnyumba ya Alisutobulo. 11 Mundabire Kerodiyoni muganda wange.Mundabire ab’omu nnyumba ya Nalukiso. 12 Mundabire Terufayina ne Terufoosa, abaakola ennyo omulimu gwa Mukama waffe.Mundabire Perusi omwagalwa eyakola ennyo omulimu mu Mukama waffe. 13 Mundabire Luufo Mukama gwe yalonda, era ne nnyina ali nga mmange. 14 Mundabire Asunkulito ne Felegoni, ne Kerume, ne Patuloba, ne Keruma era n’abooluganda abali nabo. 15 Mundabire Firologo ne Yuliya, ne Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa n’abatukuvu bonna abali awamu nabo. 16 Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu.Ekkanisa zonna eza Kristo, zibalamusizza. 17 Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’eby’esittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. 18 Kubanga abantu ng’abo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi eby’okuwaanawaana nga balimbalimba emitima gy’abanafu. 19 Kubanga amawulire ag’okuwulira kwammwe gaabuna mu bantu bonna, kyenvudde mbasanyukira. Naye njagala mubenga bagezi mu kukola obulungi, era abalongoofu abeewala ekibi. 20 Kaakano Katonda ow’emirembe ajja kubetentera Setaani wansi w’ebigere byammwe, mangu. Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe. 21 Timoseewo mukozi munnange, ne Lukiyo ne Yasooni wamu ne Sosipateri, baganda bange, babatumidde. 22 Nange Terutiyo awandiika ebbaluwa eno, mbatumidde mu Mukama waffe. 23 Gaayo ansuza, n’ekkanisa yonna babalamusizza. Mundabire Erasuto omuwanika w’ekibuga, ne Kwaluto muganda we. 24 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Amiina. 25 Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, 26 kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa, 27 Katonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina.

In Other Versions

Romans 16 in the ANGEFD

Romans 16 in the ANTPNG2D

Romans 16 in the AS21

Romans 16 in the BAGH

Romans 16 in the BBPNG

Romans 16 in the BBT1E

Romans 16 in the BDS

Romans 16 in the BEV

Romans 16 in the BHAD

Romans 16 in the BIB

Romans 16 in the BLPT

Romans 16 in the BNT

Romans 16 in the BNTABOOT

Romans 16 in the BNTLV

Romans 16 in the BOATCB

Romans 16 in the BOATCB2

Romans 16 in the BOBCV

Romans 16 in the BOCNT

Romans 16 in the BOECS

Romans 16 in the BOGWICC

Romans 16 in the BOHCB

Romans 16 in the BOHCV

Romans 16 in the BOHLNT

Romans 16 in the BOHNTLTAL

Romans 16 in the BOICB

Romans 16 in the BOILNTAP

Romans 16 in the BOITCV

Romans 16 in the BOKCV

Romans 16 in the BOKCV2

Romans 16 in the BOKHWOG

Romans 16 in the BOKSSV

Romans 16 in the BOLCB2

Romans 16 in the BOMCV

Romans 16 in the BONAV

Romans 16 in the BONCB

Romans 16 in the BONLT

Romans 16 in the BONUT2

Romans 16 in the BOPLNT

Romans 16 in the BOSCB

Romans 16 in the BOSNC

Romans 16 in the BOTLNT

Romans 16 in the BOVCB

Romans 16 in the BOYCB

Romans 16 in the BPBB

Romans 16 in the BPH

Romans 16 in the BSB

Romans 16 in the CCB

Romans 16 in the CUV

Romans 16 in the CUVS

Romans 16 in the DBT

Romans 16 in the DGDNT

Romans 16 in the DHNT

Romans 16 in the DNT

Romans 16 in the ELBE

Romans 16 in the EMTV

Romans 16 in the ESV

Romans 16 in the FBV

Romans 16 in the FEB

Romans 16 in the GGMNT

Romans 16 in the GNT

Romans 16 in the HARY

Romans 16 in the HNT

Romans 16 in the IRVA

Romans 16 in the IRVB

Romans 16 in the IRVG

Romans 16 in the IRVH

Romans 16 in the IRVK

Romans 16 in the IRVM

Romans 16 in the IRVM2

Romans 16 in the IRVO

Romans 16 in the IRVP

Romans 16 in the IRVT

Romans 16 in the IRVT2

Romans 16 in the IRVU

Romans 16 in the ISVN

Romans 16 in the JSNT

Romans 16 in the KAPI

Romans 16 in the KBT1ETNIK

Romans 16 in the KBV

Romans 16 in the KJV

Romans 16 in the KNFD

Romans 16 in the LBA

Romans 16 in the LBLA

Romans 16 in the LNT

Romans 16 in the LSV

Romans 16 in the MAAL

Romans 16 in the MBV

Romans 16 in the MBV2

Romans 16 in the MHNT

Romans 16 in the MKNFD

Romans 16 in the MNG

Romans 16 in the MNT

Romans 16 in the MNT2

Romans 16 in the MRS1T

Romans 16 in the NAA

Romans 16 in the NASB

Romans 16 in the NBLA

Romans 16 in the NBS

Romans 16 in the NBVTP

Romans 16 in the NET2

Romans 16 in the NIV11

Romans 16 in the NNT

Romans 16 in the NNT2

Romans 16 in the NNT3

Romans 16 in the PDDPT

Romans 16 in the PFNT

Romans 16 in the RMNT

Romans 16 in the SBIAS

Romans 16 in the SBIBS

Romans 16 in the SBIBS2

Romans 16 in the SBICS

Romans 16 in the SBIDS

Romans 16 in the SBIGS

Romans 16 in the SBIHS

Romans 16 in the SBIIS

Romans 16 in the SBIIS2

Romans 16 in the SBIIS3

Romans 16 in the SBIKS

Romans 16 in the SBIKS2

Romans 16 in the SBIMS

Romans 16 in the SBIOS

Romans 16 in the SBIPS

Romans 16 in the SBISS

Romans 16 in the SBITS

Romans 16 in the SBITS2

Romans 16 in the SBITS3

Romans 16 in the SBITS4

Romans 16 in the SBIUS

Romans 16 in the SBIVS

Romans 16 in the SBT

Romans 16 in the SBT1E

Romans 16 in the SCHL

Romans 16 in the SNT

Romans 16 in the SUSU

Romans 16 in the SUSU2

Romans 16 in the SYNO

Romans 16 in the TBIAOTANT

Romans 16 in the TBT1E

Romans 16 in the TBT1E2

Romans 16 in the TFTIP

Romans 16 in the TFTU

Romans 16 in the TGNTATF3T

Romans 16 in the THAI

Romans 16 in the TNFD

Romans 16 in the TNT

Romans 16 in the TNTIK

Romans 16 in the TNTIL

Romans 16 in the TNTIN

Romans 16 in the TNTIP

Romans 16 in the TNTIZ

Romans 16 in the TOMA

Romans 16 in the TTENT

Romans 16 in the UBG

Romans 16 in the UGV

Romans 16 in the UGV2

Romans 16 in the UGV3

Romans 16 in the VBL

Romans 16 in the VDCC

Romans 16 in the YALU

Romans 16 in the YAPE

Romans 16 in the YBVTP

Romans 16 in the ZBP