Zechariah 14 (BOLCB)
1 Olunaku lwa MUKAMA lujja, lwe muligabana bye mwanyaga. 2 Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe n’abakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri eky’ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga. 3 Awo MUKAMA alivaayo n’alwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo. 4 Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu eky’olusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo. 5 Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu eky’olusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo MUKAMA Katonda wange alijja n’abatukuvu be bonna. 6 Ku lunaku olwo teriba kitangaala, newaakubadde obunnyogovu wadde obutiti. 7 Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa MUKAMA. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala. 8 Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo. 9 MUKAMA alibeera kabaka ow’ensi zonna: ku lunaku olwo MUKAMA alibeera omu yekka n’erinnya lye liribeera erinnya lyokka. 10 Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. 11 Abantu balikibeeramu, tekigenda kuddayo kuzikirizibwa. Yerusaalemi kiriba kinywevu. 12 Ono ye kawumpuli MUKAMA gw’alikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, n’ennimi zibavundire mu kamwa. 13 Ku lunaku olwo MUKAMA alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana. 14 Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bw’ensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu n’effeeza n’ebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa. 15 Era kawumpuli ng’oli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, n’endogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo. 16 Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza MUKAMA kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira. 17 Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza MUKAMA Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba. 18 Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. MUKAMA anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga ey’ensiisira. 19 Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri n’amawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira. 20 Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri MUKAMA Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya MUKAMA zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto. 21 Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga MUKAMA ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya MUKAMA ow’Eggye.
In Other Versions
Zechariah 14 in the ANGEFD
Zechariah 14 in the ANTPNG2D
Zechariah 14 in the AS21
Zechariah 14 in the BAGH
Zechariah 14 in the BBPNG
Zechariah 14 in the BBT1E
Zechariah 14 in the BDS
Zechariah 14 in the BEV
Zechariah 14 in the BHAD
Zechariah 14 in the BIB
Zechariah 14 in the BLPT
Zechariah 14 in the BNT
Zechariah 14 in the BNTABOOT
Zechariah 14 in the BNTLV
Zechariah 14 in the BOATCB
Zechariah 14 in the BOATCB2
Zechariah 14 in the BOBCV
Zechariah 14 in the BOCNT
Zechariah 14 in the BOECS
Zechariah 14 in the BOGWICC
Zechariah 14 in the BOHCB
Zechariah 14 in the BOHCV
Zechariah 14 in the BOHLNT
Zechariah 14 in the BOHNTLTAL
Zechariah 14 in the BOICB
Zechariah 14 in the BOILNTAP
Zechariah 14 in the BOITCV
Zechariah 14 in the BOKCV
Zechariah 14 in the BOKCV2
Zechariah 14 in the BOKHWOG
Zechariah 14 in the BOKSSV
Zechariah 14 in the BOLCB2
Zechariah 14 in the BOMCV
Zechariah 14 in the BONAV
Zechariah 14 in the BONCB
Zechariah 14 in the BONLT
Zechariah 14 in the BONUT2
Zechariah 14 in the BOPLNT
Zechariah 14 in the BOSCB
Zechariah 14 in the BOSNC
Zechariah 14 in the BOTLNT
Zechariah 14 in the BOVCB
Zechariah 14 in the BOYCB
Zechariah 14 in the BPBB
Zechariah 14 in the BPH
Zechariah 14 in the BSB
Zechariah 14 in the CCB
Zechariah 14 in the CUV
Zechariah 14 in the CUVS
Zechariah 14 in the DBT
Zechariah 14 in the DGDNT
Zechariah 14 in the DHNT
Zechariah 14 in the DNT
Zechariah 14 in the ELBE
Zechariah 14 in the EMTV
Zechariah 14 in the ESV
Zechariah 14 in the FBV
Zechariah 14 in the FEB
Zechariah 14 in the GGMNT
Zechariah 14 in the GNT
Zechariah 14 in the HARY
Zechariah 14 in the HNT
Zechariah 14 in the IRVA
Zechariah 14 in the IRVB
Zechariah 14 in the IRVG
Zechariah 14 in the IRVH
Zechariah 14 in the IRVK
Zechariah 14 in the IRVM
Zechariah 14 in the IRVM2
Zechariah 14 in the IRVO
Zechariah 14 in the IRVP
Zechariah 14 in the IRVT
Zechariah 14 in the IRVT2
Zechariah 14 in the IRVU
Zechariah 14 in the ISVN
Zechariah 14 in the JSNT
Zechariah 14 in the KAPI
Zechariah 14 in the KBT1ETNIK
Zechariah 14 in the KBV
Zechariah 14 in the KJV
Zechariah 14 in the KNFD
Zechariah 14 in the LBA
Zechariah 14 in the LBLA
Zechariah 14 in the LNT
Zechariah 14 in the LSV
Zechariah 14 in the MAAL
Zechariah 14 in the MBV
Zechariah 14 in the MBV2
Zechariah 14 in the MHNT
Zechariah 14 in the MKNFD
Zechariah 14 in the MNG
Zechariah 14 in the MNT
Zechariah 14 in the MNT2
Zechariah 14 in the MRS1T
Zechariah 14 in the NAA
Zechariah 14 in the NASB
Zechariah 14 in the NBLA
Zechariah 14 in the NBS
Zechariah 14 in the NBVTP
Zechariah 14 in the NET2
Zechariah 14 in the NIV11
Zechariah 14 in the NNT
Zechariah 14 in the NNT2
Zechariah 14 in the NNT3
Zechariah 14 in the PDDPT
Zechariah 14 in the PFNT
Zechariah 14 in the RMNT
Zechariah 14 in the SBIAS
Zechariah 14 in the SBIBS
Zechariah 14 in the SBIBS2
Zechariah 14 in the SBICS
Zechariah 14 in the SBIDS
Zechariah 14 in the SBIGS
Zechariah 14 in the SBIHS
Zechariah 14 in the SBIIS
Zechariah 14 in the SBIIS2
Zechariah 14 in the SBIIS3
Zechariah 14 in the SBIKS
Zechariah 14 in the SBIKS2
Zechariah 14 in the SBIMS
Zechariah 14 in the SBIOS
Zechariah 14 in the SBIPS
Zechariah 14 in the SBISS
Zechariah 14 in the SBITS
Zechariah 14 in the SBITS2
Zechariah 14 in the SBITS3
Zechariah 14 in the SBITS4
Zechariah 14 in the SBIUS
Zechariah 14 in the SBIVS
Zechariah 14 in the SBT
Zechariah 14 in the SBT1E
Zechariah 14 in the SCHL
Zechariah 14 in the SNT
Zechariah 14 in the SUSU
Zechariah 14 in the SUSU2
Zechariah 14 in the SYNO
Zechariah 14 in the TBIAOTANT
Zechariah 14 in the TBT1E
Zechariah 14 in the TBT1E2
Zechariah 14 in the TFTIP
Zechariah 14 in the TFTU
Zechariah 14 in the TGNTATF3T
Zechariah 14 in the THAI
Zechariah 14 in the TNFD
Zechariah 14 in the TNT
Zechariah 14 in the TNTIK
Zechariah 14 in the TNTIL
Zechariah 14 in the TNTIN
Zechariah 14 in the TNTIP
Zechariah 14 in the TNTIZ
Zechariah 14 in the TOMA
Zechariah 14 in the TTENT
Zechariah 14 in the UBG
Zechariah 14 in the UGV
Zechariah 14 in the UGV2
Zechariah 14 in the UGV3
Zechariah 14 in the VBL
Zechariah 14 in the VDCC
Zechariah 14 in the YALU
Zechariah 14 in the YAPE
Zechariah 14 in the YBVTP
Zechariah 14 in the ZBP