1 Chronicles 29 (BOLCB)

1 Awo Kabaka Dawudi n’ayogera eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye nti, “Sulemaani mutabani wange, Katonda gw’alonze, mwana muto atalina bumanyirivu, ate nga omulimu munene. Ekizimbe kino si kya ku lwa muntu wabula kya ku lwa MUKAMA Katonda. 2 Ntegese olwa yeekaalu ya Katonda wange, zaabu olw’omulimu gwa zaabu, ne ffeeza olw’omulimu gwa ffeeza, n’ebikomo olw’omulimu ogw’ebikomo, n’ebyuma olw’omulimu ogw’ebyuma, n’embaawo olw’omulimu ogw’embaawo, amayinja aga onuku mangi n’amayinja ag’okutona, amayinja ag’omulimu ogw’enjola n’ag’amabala mangi, n’amayinja ag’omuwendo omungi ag’engeri zonna, n’amayinja amanyirivu mangi nnyo. 3 Okwongera kw’ebyo byonna, n’okwewaayo kwange olwa yeekaalu ya Katonda wange, mpaddeyo amawanika gange aga zaabu ne ffeeza ku lwa yeekaalu ya Katonda wange; 4 ttani kikumi mu kkumi eza zaabu eya Ofiri, ne ttani bibiri mu nkaaga eza ffeeza omulongoosemu okugibissa ku bisenge by’ekizimbe, 5 n’olw’omulimu ogwa zaabu n’ogwa ffeeza, n’omulimu gwonna ogunaakolebwa abafundi. Kale ani aneewaayo okwewonga leero eri MUKAMA?” 6 Awo emitwe gy’ennyumba, n’abataka b’ebika bya Isirayiri, n’abaduumizi ab’olukumi n’ab’ekikumi, n’abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gya kabaka, ne beewaayo awatali kuwalirizibwa. 7 Ne bawaayo zaabu ttani kikumi mu kyenda ne kilo kinaana mu nnya, ne ffeeza ttani bisatu mu nsanvu mu ttaano, n’ebikomo ttani lukaaga mu nsanvu mu ttaano, n’ebyuma ttani enkumi ssatu mu lusanvu mu ataano, olw’omulimu gwa yeekaalu ya Katonda. 8 Abo abaalina amayinja ag’omuwendo, baagawaayo eri eggwanika lya yeekaalu ya MUKAMA, eyakuumibwanga Yekyeri Omugerusoni. 9 Abantu ne basanyukira nnyo okwewaayo abakulembeze baabwe kwe beewaayo, kubanga baawaayo n’omutima ogutuukiridde eri MUKAMA. Ne kabaka Dawudi n’asanyuka nnyo nnyini. 10 Awo Dawudi n’atendereza MUKAMA mu lujjudde lw’abantu bonna, n’ayogera nti,“Weebazibwe, Ayi MUKAMA Katonda,Katonda wa jjajjaffe Isirayiri,emirembe n’emirembe. 11 Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi,n’okugulumizibwa bibyo, Ayi MUKAMA Katonda,kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo.Obwakabaka bubwo, Ayi MUKAMA Katonda,era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna. 12 Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,era ggwe ofuga ebintu byonna;omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinzaera gugulumiza ne guwa amaanyi bonna. 13 Kale nno, Katonda waffe, tukwebazaera tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa. 14 “Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo. 15 Ffe tuli bagenyi era abatambuze mu maaso go, nga bajjajjaffe bonna bwe baali, n’ennaku zaffe ez’oku nsi ziri ng’ekisiikirize, awatali ssuubi. 16 Era Ayi MUKAMA Katonda waffe, ebintu bino byonna bye tuwaddeyo olw’okuzimba eyeekaalu ku lw’erinnya lyo, biva gy’oli, era byonna bibyo. 17 Katonda wange, mmanyi nti okebera emitima, era osanyukira obwesimbu, n’ebintu bino byonna mbiwaddeyo awatali kuwalirizibwa, era n’omutima omwesimbu. Era kaakano ndabye abantu bo nga bakuwa n’essanyu n’omwoyo gumu. 18 Ayi MUKAMA, Katonda wa bajjajjaffe Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, okuume omuliro ogwo mu mitima gy’abantu bo emirembe gyonna, era emitima gyabwe ginywerere ku gwe. 19 Owe Sulemaani mutabani wange omutima ogumaliridde okukumanga ebiragiro byo, empya zo, n’amateeka go, era omuwe amaanyi okuzimba ekizimbe kye ntegese.” 20 Awo Dawudi n’agamba ekibiina kyonna nti, “MUKAMA Katonda wammwe atenderezebwe.” Ekibiina kyonna ne kitendereza MUKAMA, Katonda wa bajjajjaabwe nga bakutamye emitwe gyabwe, nga bwe bagwa ne ku ttaka mu maaso ga MUKAMA ne kabaka. 21 Ku lunaku olwaddirira ne bawaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri MUKAMA, ng’omwo mwe muli seddume lukumi, n’endiga ennume lukumi, n’obwana bw’endiga obulume lukumi, era n’ebiweebwayo eby’okunywa ne ssaddaaka endala ku lwa Isirayiri yenna. 22 Ne baliira era ne banywera mu maaso ga MUKAMA nga bajjudde essanyu lingi ku lunaku olwo.Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n’akakasibwa nga kabaka omulundi ogwokubiri, era n’afukibwako amafuta mu maaso ga MUKAMA okuba omukulembeze ne Zadooki okuba kabona. 23 Awo Sulemaani n’atuula ku ntebe ey’obwakabaka eya MUKAMA nga ye kabaka mu kifo kya Dawudi kitaawe, era n’alaba omukisa ne Isirayiri yenna ne mugondera. 24 Abakungu bonna n’abasajja abazira bonna, ne batabani ba kabaka Dawudi bonna ne bawera eri kabaka Sulemaani. 25 MUKAMA n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isirayiri yenna, era n’aweebwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekyali kitaweebwanga kabaka mulala yenna mu Isirayiri. 26 Dawudi mutabani wa Yese yali kabaka wa Isirayiri yenna. 27 Yafugira Isirayiri okumala emyaka amakumi ana, nga musanvu yagifugira e Kebbulooni, n’emirala amakumi asatu n’agifugira mu Yerusaalemi. 28 N’afa ng’akaddiye nnyo, ng’ajjudde essanyu olw’emyaka gye yamala ku nsi, mu bugagga ne mu kitiibwa, era Sulemaani mutabani we n’amusikira. 29 Era ebyafaayo ebyomumirembe gya kabaka Dawudi okuviira ddala ku ntandikwa okutuukira ddala ku nkomerero, byawandiikibwa mu bitabo ebyomumirembe bya nnabbi Samwiri ne mu bitabo ebyomumirembe ebya Gaadi omulabirizi, 30 era n’eby’okufuga kwe, n’obuyinza bwe, n’ebyo byonna ebyamutuukako, ne ku Isirayiri, ne ku bwakabaka obulala obwali bumwetoolodde, byonna byawandiikibwa omwo.

In Other Versions

1 Chronicles 29 in the ANGEFD

1 Chronicles 29 in the ANTPNG2D

1 Chronicles 29 in the AS21

1 Chronicles 29 in the BAGH

1 Chronicles 29 in the BBPNG

1 Chronicles 29 in the BBT1E

1 Chronicles 29 in the BDS

1 Chronicles 29 in the BEV

1 Chronicles 29 in the BHAD

1 Chronicles 29 in the BIB

1 Chronicles 29 in the BLPT

1 Chronicles 29 in the BNT

1 Chronicles 29 in the BNTABOOT

1 Chronicles 29 in the BNTLV

1 Chronicles 29 in the BOATCB

1 Chronicles 29 in the BOATCB2

1 Chronicles 29 in the BOBCV

1 Chronicles 29 in the BOCNT

1 Chronicles 29 in the BOECS

1 Chronicles 29 in the BOGWICC

1 Chronicles 29 in the BOHCB

1 Chronicles 29 in the BOHCV

1 Chronicles 29 in the BOHLNT

1 Chronicles 29 in the BOHNTLTAL

1 Chronicles 29 in the BOICB

1 Chronicles 29 in the BOILNTAP

1 Chronicles 29 in the BOITCV

1 Chronicles 29 in the BOKCV

1 Chronicles 29 in the BOKCV2

1 Chronicles 29 in the BOKHWOG

1 Chronicles 29 in the BOKSSV

1 Chronicles 29 in the BOLCB2

1 Chronicles 29 in the BOMCV

1 Chronicles 29 in the BONAV

1 Chronicles 29 in the BONCB

1 Chronicles 29 in the BONLT

1 Chronicles 29 in the BONUT2

1 Chronicles 29 in the BOPLNT

1 Chronicles 29 in the BOSCB

1 Chronicles 29 in the BOSNC

1 Chronicles 29 in the BOTLNT

1 Chronicles 29 in the BOVCB

1 Chronicles 29 in the BOYCB

1 Chronicles 29 in the BPBB

1 Chronicles 29 in the BPH

1 Chronicles 29 in the BSB

1 Chronicles 29 in the CCB

1 Chronicles 29 in the CUV

1 Chronicles 29 in the CUVS

1 Chronicles 29 in the DBT

1 Chronicles 29 in the DGDNT

1 Chronicles 29 in the DHNT

1 Chronicles 29 in the DNT

1 Chronicles 29 in the ELBE

1 Chronicles 29 in the EMTV

1 Chronicles 29 in the ESV

1 Chronicles 29 in the FBV

1 Chronicles 29 in the FEB

1 Chronicles 29 in the GGMNT

1 Chronicles 29 in the GNT

1 Chronicles 29 in the HARY

1 Chronicles 29 in the HNT

1 Chronicles 29 in the IRVA

1 Chronicles 29 in the IRVB

1 Chronicles 29 in the IRVG

1 Chronicles 29 in the IRVH

1 Chronicles 29 in the IRVK

1 Chronicles 29 in the IRVM

1 Chronicles 29 in the IRVM2

1 Chronicles 29 in the IRVO

1 Chronicles 29 in the IRVP

1 Chronicles 29 in the IRVT

1 Chronicles 29 in the IRVT2

1 Chronicles 29 in the IRVU

1 Chronicles 29 in the ISVN

1 Chronicles 29 in the JSNT

1 Chronicles 29 in the KAPI

1 Chronicles 29 in the KBT1ETNIK

1 Chronicles 29 in the KBV

1 Chronicles 29 in the KJV

1 Chronicles 29 in the KNFD

1 Chronicles 29 in the LBA

1 Chronicles 29 in the LBLA

1 Chronicles 29 in the LNT

1 Chronicles 29 in the LSV

1 Chronicles 29 in the MAAL

1 Chronicles 29 in the MBV

1 Chronicles 29 in the MBV2

1 Chronicles 29 in the MHNT

1 Chronicles 29 in the MKNFD

1 Chronicles 29 in the MNG

1 Chronicles 29 in the MNT

1 Chronicles 29 in the MNT2

1 Chronicles 29 in the MRS1T

1 Chronicles 29 in the NAA

1 Chronicles 29 in the NASB

1 Chronicles 29 in the NBLA

1 Chronicles 29 in the NBS

1 Chronicles 29 in the NBVTP

1 Chronicles 29 in the NET2

1 Chronicles 29 in the NIV11

1 Chronicles 29 in the NNT

1 Chronicles 29 in the NNT2

1 Chronicles 29 in the NNT3

1 Chronicles 29 in the PDDPT

1 Chronicles 29 in the PFNT

1 Chronicles 29 in the RMNT

1 Chronicles 29 in the SBIAS

1 Chronicles 29 in the SBIBS

1 Chronicles 29 in the SBIBS2

1 Chronicles 29 in the SBICS

1 Chronicles 29 in the SBIDS

1 Chronicles 29 in the SBIGS

1 Chronicles 29 in the SBIHS

1 Chronicles 29 in the SBIIS

1 Chronicles 29 in the SBIIS2

1 Chronicles 29 in the SBIIS3

1 Chronicles 29 in the SBIKS

1 Chronicles 29 in the SBIKS2

1 Chronicles 29 in the SBIMS

1 Chronicles 29 in the SBIOS

1 Chronicles 29 in the SBIPS

1 Chronicles 29 in the SBISS

1 Chronicles 29 in the SBITS

1 Chronicles 29 in the SBITS2

1 Chronicles 29 in the SBITS3

1 Chronicles 29 in the SBITS4

1 Chronicles 29 in the SBIUS

1 Chronicles 29 in the SBIVS

1 Chronicles 29 in the SBT

1 Chronicles 29 in the SBT1E

1 Chronicles 29 in the SCHL

1 Chronicles 29 in the SNT

1 Chronicles 29 in the SUSU

1 Chronicles 29 in the SUSU2

1 Chronicles 29 in the SYNO

1 Chronicles 29 in the TBIAOTANT

1 Chronicles 29 in the TBT1E

1 Chronicles 29 in the TBT1E2

1 Chronicles 29 in the TFTIP

1 Chronicles 29 in the TFTU

1 Chronicles 29 in the TGNTATF3T

1 Chronicles 29 in the THAI

1 Chronicles 29 in the TNFD

1 Chronicles 29 in the TNT

1 Chronicles 29 in the TNTIK

1 Chronicles 29 in the TNTIL

1 Chronicles 29 in the TNTIN

1 Chronicles 29 in the TNTIP

1 Chronicles 29 in the TNTIZ

1 Chronicles 29 in the TOMA

1 Chronicles 29 in the TTENT

1 Chronicles 29 in the UBG

1 Chronicles 29 in the UGV

1 Chronicles 29 in the UGV2

1 Chronicles 29 in the UGV3

1 Chronicles 29 in the VBL

1 Chronicles 29 in the VDCC

1 Chronicles 29 in the YALU

1 Chronicles 29 in the YAPE

1 Chronicles 29 in the YBVTP

1 Chronicles 29 in the ZBP