1 Corinthians 9 (BOLCB)

1 Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by’omulimu gwange mu Mukama waffe? 2 Obanga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe, kubanga mmwe kabonero k’obutume bwange mu Mukama waffe. 3 Ekyo ky’eky’okuwoza kyange eri abo abambulirizaako. 4 Sirina buyinza kulya na kunywa? 5 Singa nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ng’abatume abalala ne Keefa, ne baganda ba Mukama waffe bwe bakola? 6 Oba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera? 7 Muserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro y’emizabbibu naye n’aziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo n’atanywa ku mata gaamu? 8 Ebyo mbyogera ku bwange ng’omuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba? 9 Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano,” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka, 10 oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala. 11 Obanga ffe twabasigamu eby’omwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe eby’omubiri? 12 Kale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo n’okusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa.Naye tugumiikiriza byonna, tuleme okuziyiza Enjiri ya Kristo. 13 Temumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto? 14 Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri. 15 Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa. 16 Kubanga bwe mbuulira Enjiri sisobola kwenyumiriza, kubanga mpalirizibwa okugibuulira. Era ziba zinsanze bwe sigibuulira. 17 Kubanga bwe mbuulira Enjiri olw’okweyagalira, mbeera n’empeera, naye ne bwe mba nga ssaagala, nkikola lwa kubanga nakwasibwa omulimu ogwo. 18 Kale empeera yange y’eruwa? Empeera yange kwe kubuulira Enjiri nga sisasulwa era nga sibasaba nsasulwe olw’omulimu ogwo nga bwe nsaanidde. 19 Kubanga newaakubadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nfuuka omuddu wa bonna olw’okweyagalira, ndyoke ndeete bangi eri Kristo. 20 Eri Abayudaaya nafuuka ng’Omuyudaaya ndyoke nsobole okubaleeta eri Kristo. N’eri abo abafugibwa amateeka nafuuka ng’afugibwa amateeka, newaakubadde nze nga ssifugibwa mateeka, ndyoke mbaleete eri Kristo. 21 Eri abo abatalina mateeka ga Katonda, nafuuka ng’atafugibwa mateeka, newaakubadde nga ssaaleka mateeka ga Katanda, naye nga ndi mu mateeka ga Kristo, n’abo abatalina mateeka ndyoke mbaleete eri Kristo. 22 Mu banafu nafuuka ng’omunafu ndyoke mbaleete eri Kristo. Eri abantu bonna nfuuse byonna, mu ngeri yonna ndyoke mbeeko beentusa ku kulokolebwa. 23 Byonna mbikola olw’enjiri, era nange ndyoke nfunire wamu nabo ebiva mu Njiri eyo. 24 Temumanyi nga mu mpaka ez’okudduka abo bonna abazeetabamu badduka, naye awangula ekirabo abeera omu? Kale nammwe muddukenga bwe mutyo nga mufubirira okuwangula ekirabo. 25 Buli muzanyi eyeetaba mu mpaka ateekwa okufuna okutendekebwa okw’amaanyi nga yeefuga mu bintu byonna. Ekyo bakikola balyoke bawangule engule eyonooneka. Naye ffe tulifuna engule eteyonooneka. 26 Noolwekyo nziruka nga nnina kye ŋŋenderera. Sirwana ng’omukubi w’ebikonde amala gawujja n’akuba ebbanga. 27 Naye mbonereza omubiri gwange ne ngufuula omuddu wange, si kulwa nga mbuulira abalala Enjiri, ate nze nzennyini ne sisiimibwa.

In Other Versions

1 Corinthians 9 in the ANGEFD

1 Corinthians 9 in the ANTPNG2D

1 Corinthians 9 in the AS21

1 Corinthians 9 in the BAGH

1 Corinthians 9 in the BBPNG

1 Corinthians 9 in the BBT1E

1 Corinthians 9 in the BDS

1 Corinthians 9 in the BEV

1 Corinthians 9 in the BHAD

1 Corinthians 9 in the BIB

1 Corinthians 9 in the BLPT

1 Corinthians 9 in the BNT

1 Corinthians 9 in the BNTABOOT

1 Corinthians 9 in the BNTLV

1 Corinthians 9 in the BOATCB

1 Corinthians 9 in the BOATCB2

1 Corinthians 9 in the BOBCV

1 Corinthians 9 in the BOCNT

1 Corinthians 9 in the BOECS

1 Corinthians 9 in the BOGWICC

1 Corinthians 9 in the BOHCB

1 Corinthians 9 in the BOHCV

1 Corinthians 9 in the BOHLNT

1 Corinthians 9 in the BOHNTLTAL

1 Corinthians 9 in the BOICB

1 Corinthians 9 in the BOILNTAP

1 Corinthians 9 in the BOITCV

1 Corinthians 9 in the BOKCV

1 Corinthians 9 in the BOKCV2

1 Corinthians 9 in the BOKHWOG

1 Corinthians 9 in the BOKSSV

1 Corinthians 9 in the BOLCB2

1 Corinthians 9 in the BOMCV

1 Corinthians 9 in the BONAV

1 Corinthians 9 in the BONCB

1 Corinthians 9 in the BONLT

1 Corinthians 9 in the BONUT2

1 Corinthians 9 in the BOPLNT

1 Corinthians 9 in the BOSCB

1 Corinthians 9 in the BOSNC

1 Corinthians 9 in the BOTLNT

1 Corinthians 9 in the BOVCB

1 Corinthians 9 in the BOYCB

1 Corinthians 9 in the BPBB

1 Corinthians 9 in the BPH

1 Corinthians 9 in the BSB

1 Corinthians 9 in the CCB

1 Corinthians 9 in the CUV

1 Corinthians 9 in the CUVS

1 Corinthians 9 in the DBT

1 Corinthians 9 in the DGDNT

1 Corinthians 9 in the DHNT

1 Corinthians 9 in the DNT

1 Corinthians 9 in the ELBE

1 Corinthians 9 in the EMTV

1 Corinthians 9 in the ESV

1 Corinthians 9 in the FBV

1 Corinthians 9 in the FEB

1 Corinthians 9 in the GGMNT

1 Corinthians 9 in the GNT

1 Corinthians 9 in the HARY

1 Corinthians 9 in the HNT

1 Corinthians 9 in the IRVA

1 Corinthians 9 in the IRVB

1 Corinthians 9 in the IRVG

1 Corinthians 9 in the IRVH

1 Corinthians 9 in the IRVK

1 Corinthians 9 in the IRVM

1 Corinthians 9 in the IRVM2

1 Corinthians 9 in the IRVO

1 Corinthians 9 in the IRVP

1 Corinthians 9 in the IRVT

1 Corinthians 9 in the IRVT2

1 Corinthians 9 in the IRVU

1 Corinthians 9 in the ISVN

1 Corinthians 9 in the JSNT

1 Corinthians 9 in the KAPI

1 Corinthians 9 in the KBT1ETNIK

1 Corinthians 9 in the KBV

1 Corinthians 9 in the KJV

1 Corinthians 9 in the KNFD

1 Corinthians 9 in the LBA

1 Corinthians 9 in the LBLA

1 Corinthians 9 in the LNT

1 Corinthians 9 in the LSV

1 Corinthians 9 in the MAAL

1 Corinthians 9 in the MBV

1 Corinthians 9 in the MBV2

1 Corinthians 9 in the MHNT

1 Corinthians 9 in the MKNFD

1 Corinthians 9 in the MNG

1 Corinthians 9 in the MNT

1 Corinthians 9 in the MNT2

1 Corinthians 9 in the MRS1T

1 Corinthians 9 in the NAA

1 Corinthians 9 in the NASB

1 Corinthians 9 in the NBLA

1 Corinthians 9 in the NBS

1 Corinthians 9 in the NBVTP

1 Corinthians 9 in the NET2

1 Corinthians 9 in the NIV11

1 Corinthians 9 in the NNT

1 Corinthians 9 in the NNT2

1 Corinthians 9 in the NNT3

1 Corinthians 9 in the PDDPT

1 Corinthians 9 in the PFNT

1 Corinthians 9 in the RMNT

1 Corinthians 9 in the SBIAS

1 Corinthians 9 in the SBIBS

1 Corinthians 9 in the SBIBS2

1 Corinthians 9 in the SBICS

1 Corinthians 9 in the SBIDS

1 Corinthians 9 in the SBIGS

1 Corinthians 9 in the SBIHS

1 Corinthians 9 in the SBIIS

1 Corinthians 9 in the SBIIS2

1 Corinthians 9 in the SBIIS3

1 Corinthians 9 in the SBIKS

1 Corinthians 9 in the SBIKS2

1 Corinthians 9 in the SBIMS

1 Corinthians 9 in the SBIOS

1 Corinthians 9 in the SBIPS

1 Corinthians 9 in the SBISS

1 Corinthians 9 in the SBITS

1 Corinthians 9 in the SBITS2

1 Corinthians 9 in the SBITS3

1 Corinthians 9 in the SBITS4

1 Corinthians 9 in the SBIUS

1 Corinthians 9 in the SBIVS

1 Corinthians 9 in the SBT

1 Corinthians 9 in the SBT1E

1 Corinthians 9 in the SCHL

1 Corinthians 9 in the SNT

1 Corinthians 9 in the SUSU

1 Corinthians 9 in the SUSU2

1 Corinthians 9 in the SYNO

1 Corinthians 9 in the TBIAOTANT

1 Corinthians 9 in the TBT1E

1 Corinthians 9 in the TBT1E2

1 Corinthians 9 in the TFTIP

1 Corinthians 9 in the TFTU

1 Corinthians 9 in the TGNTATF3T

1 Corinthians 9 in the THAI

1 Corinthians 9 in the TNFD

1 Corinthians 9 in the TNT

1 Corinthians 9 in the TNTIK

1 Corinthians 9 in the TNTIL

1 Corinthians 9 in the TNTIN

1 Corinthians 9 in the TNTIP

1 Corinthians 9 in the TNTIZ

1 Corinthians 9 in the TOMA

1 Corinthians 9 in the TTENT

1 Corinthians 9 in the UBG

1 Corinthians 9 in the UGV

1 Corinthians 9 in the UGV2

1 Corinthians 9 in the UGV3

1 Corinthians 9 in the VBL

1 Corinthians 9 in the VDCC

1 Corinthians 9 in the YALU

1 Corinthians 9 in the YAPE

1 Corinthians 9 in the YBVTP

1 Corinthians 9 in the ZBP