1 Kings 4 (BOLCB)

1 Kabaka Sulemaani n’aba kabaka wa Isirayiri yonna. 2 Era bano be baali abakungu be: Azaliya muzzukulu wa Zadooki, yali kabona, 3 Erikolefu ne Akiya, batabani ba Sisa, baali bawandiisi,Yekosafaati mutabani wa Akirudi, yali mujjukiza, 4 Benaya mutabani wa Yekoyaada, yali muduumizi w’eggye omukulu,Zadooki ne Abiyasaali baali bakabona, 5 Azaliya mutabani wa Nasani, yali mukulu w’abaami,Zabudi mutabani wa Nasani, yali kabona ate nga ye muwi wa magezi wa kabaka omukulu, 6 Akisaali, yali ssabakaaki wa kabaka;ne Adoniraamu mutabani wa Abuda, yali mukulu w’abaddu. 7 Sulemaani yalina abakungu kkumi na babiri abaakuliranga Isirayiri yonna, era baavunaanyizibwanga ebyokulya bya kabaka n’ab’omu nnyumba ye. Buli omu kyamugwaniranga okusolooza ebyokulya okumala omwezi gumu buli mwaka. 8 Era gano ge mannya gaabwe: Benikuli, mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu; 9 Benidekeri, mu Makazi, mu Saalubimu, mu Besusemesi, ne mu Eroni Besukanani; 10 Benikesedi, mu Alubbosi, Soko n’ensi yonna ey’e Kefera yali yiye; 11 Beniyabinadabu eyali awasizza Tafasi muwala wa Sulemaani, mu kifo kyonna ekigulumivu eky’e Doli; 12 Baana mutabani wa Akirudi, mu Taanaki ne Megiddo, ne mu Besuseyani yonna ekiriraanye Zalesani wansi w’e Yezuleeri, okuva ku Besuseyani okutuuka ku Aberumekola okuyita ku Yokumyamu; 13 Benigeberi, mu Lamosugireyaadi, ebibuga bya Yayiri mutabani wa Manase mu Gireyaadi byali bibye, era n’essaza Alugobu eriri mu Basani n’ebibuga byayo enkaaga ebyalina bbugwe ne wankaaki ow’ekikomo; 14 Akinadaabu mutabani wa Iddo, mu Makanayimu; 15 Akimaazi eyali awasizza Basemesi muwala wa Sulemaani, mu Nafutaali, 16 Baana mutabani wa Kusaayi, mu Aseri ne mu Beyaloosi; 17 Yekosafaati mutabani wa Paluwa, mu Isakaali; 18 Simeeyi mutabani wa Era, mu Benyamini; 19 Geberi mutabani wa Uli, mu Gireyaadi, ensi ya Sikoni kabaka w’Abamoli, n’ensi ya Ogi kabaka w’e Basani. Ye yali omwami yekka akulira essaza. 20 Abantu ba Yuda ne Isirayiri baali bangi nga bali ng’omusenyu ku lubalama lw’ennyanja, era baalyanga, ne banywanga nga basanyuka. 21 Sulemaani n’afuga obwakabaka bwonna okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nsi ey’Abafirisuuti n’okutuuka ku nsalo ey’e Misiri, era baamuleeteranga ebirabo, era ne bamuweerezanga ennaku zonna ez’obulamu bwe. 22 Bye baasoloolezanga Sulemaani ebya buli lunaku byali ebigero by’obutta obulungi kilo mukaaga n’obutundu mukaaga, n’ebigero eby’obutta obutaali buse, kilo kumi na ssatu n’obutundu bubiri; 23 ente eza ssava kkumi, n’ente ezaavanga mu ddundiro amakumi abiri, wamu n’endiga kikumi, n’enjaza, n’empeewo, n’ennangaazi, n’enkoko ze baalondangamu. 24 Yafuganga ensi yonna eri emitala w’Omugga Fulaati, okuva e Tifusa okutuuka e Gaaza, era yalina emirembe enjuuyi zonna okumwetooloola. 25 Mu mirembe gya Sulemaani, Yuda ne Isirayiri yonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba buli muntu yalina emirembe, era ng’alina ennimiro ye ey’emizabbibu n’ey’emitiini. 26 Sulemaani yalina ebisibo by’embalaasi ezisika amagaali enkumi nnya, n’abasajja abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri. 27 Abaami ba masaza, buli mwezi baalabiriranga Kabaka Sulemaani wamu n’abaatuulanga ku mmeeza ye, nga bamuweereza ebyokulya. 28 Era baaleetanga sayiri n’essubi olw’embalaasi ez’embiro n’embalaasi endala, buli muntu ng’omulimu gwe bwe gwali gwe yalagirwa. 29 Katonda n’awa Sulemaani amagezi n’okutegeera kungi nnyo n’obugunjufu bungi, ng’omusenyu oguli ku mabbali g’ennyanja. 30 Amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo okukira ag’abasajja bonna ab’ebuvanjuba, ate n’okusinga ago ag’e Misiri. 31 Yali mugezi okukira abantu bonna, era n’okukira Esani Omwezulaki, ne Kemani, ne Kalukoli ne Daluda batabani ba Makoli, era erinnya lye ne lyatiikirira mu mawanga gonna ageetoolodde. 32 Yagera engero enkumi ssatu, n’ennyimba ze zaali lukumi mu ttaano. 33 Yayogera ku bulamu bwe bimera, okuva ku muvule gwa Lebanooni okutuuka ku ezobu amera ku bbugwe. Ate era yayogera ne ku nsolo n’ennyonyi, n’ebyewalula n’ebyennyanja. 34 Era abantu bangi okuva mu mawanga gonna ne bajjanga okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, nga batumiddwa bakabaka okuva mu nsi yonna, abaali bawulidde ku magezi ge.

In Other Versions

1 Kings 4 in the ANGEFD

1 Kings 4 in the ANTPNG2D

1 Kings 4 in the AS21

1 Kings 4 in the BAGH

1 Kings 4 in the BBPNG

1 Kings 4 in the BBT1E

1 Kings 4 in the BDS

1 Kings 4 in the BEV

1 Kings 4 in the BHAD

1 Kings 4 in the BIB

1 Kings 4 in the BLPT

1 Kings 4 in the BNT

1 Kings 4 in the BNTABOOT

1 Kings 4 in the BNTLV

1 Kings 4 in the BOATCB

1 Kings 4 in the BOATCB2

1 Kings 4 in the BOBCV

1 Kings 4 in the BOCNT

1 Kings 4 in the BOECS

1 Kings 4 in the BOGWICC

1 Kings 4 in the BOHCB

1 Kings 4 in the BOHCV

1 Kings 4 in the BOHLNT

1 Kings 4 in the BOHNTLTAL

1 Kings 4 in the BOICB

1 Kings 4 in the BOILNTAP

1 Kings 4 in the BOITCV

1 Kings 4 in the BOKCV

1 Kings 4 in the BOKCV2

1 Kings 4 in the BOKHWOG

1 Kings 4 in the BOKSSV

1 Kings 4 in the BOLCB2

1 Kings 4 in the BOMCV

1 Kings 4 in the BONAV

1 Kings 4 in the BONCB

1 Kings 4 in the BONLT

1 Kings 4 in the BONUT2

1 Kings 4 in the BOPLNT

1 Kings 4 in the BOSCB

1 Kings 4 in the BOSNC

1 Kings 4 in the BOTLNT

1 Kings 4 in the BOVCB

1 Kings 4 in the BOYCB

1 Kings 4 in the BPBB

1 Kings 4 in the BPH

1 Kings 4 in the BSB

1 Kings 4 in the CCB

1 Kings 4 in the CUV

1 Kings 4 in the CUVS

1 Kings 4 in the DBT

1 Kings 4 in the DGDNT

1 Kings 4 in the DHNT

1 Kings 4 in the DNT

1 Kings 4 in the ELBE

1 Kings 4 in the EMTV

1 Kings 4 in the ESV

1 Kings 4 in the FBV

1 Kings 4 in the FEB

1 Kings 4 in the GGMNT

1 Kings 4 in the GNT

1 Kings 4 in the HARY

1 Kings 4 in the HNT

1 Kings 4 in the IRVA

1 Kings 4 in the IRVB

1 Kings 4 in the IRVG

1 Kings 4 in the IRVH

1 Kings 4 in the IRVK

1 Kings 4 in the IRVM

1 Kings 4 in the IRVM2

1 Kings 4 in the IRVO

1 Kings 4 in the IRVP

1 Kings 4 in the IRVT

1 Kings 4 in the IRVT2

1 Kings 4 in the IRVU

1 Kings 4 in the ISVN

1 Kings 4 in the JSNT

1 Kings 4 in the KAPI

1 Kings 4 in the KBT1ETNIK

1 Kings 4 in the KBV

1 Kings 4 in the KJV

1 Kings 4 in the KNFD

1 Kings 4 in the LBA

1 Kings 4 in the LBLA

1 Kings 4 in the LNT

1 Kings 4 in the LSV

1 Kings 4 in the MAAL

1 Kings 4 in the MBV

1 Kings 4 in the MBV2

1 Kings 4 in the MHNT

1 Kings 4 in the MKNFD

1 Kings 4 in the MNG

1 Kings 4 in the MNT

1 Kings 4 in the MNT2

1 Kings 4 in the MRS1T

1 Kings 4 in the NAA

1 Kings 4 in the NASB

1 Kings 4 in the NBLA

1 Kings 4 in the NBS

1 Kings 4 in the NBVTP

1 Kings 4 in the NET2

1 Kings 4 in the NIV11

1 Kings 4 in the NNT

1 Kings 4 in the NNT2

1 Kings 4 in the NNT3

1 Kings 4 in the PDDPT

1 Kings 4 in the PFNT

1 Kings 4 in the RMNT

1 Kings 4 in the SBIAS

1 Kings 4 in the SBIBS

1 Kings 4 in the SBIBS2

1 Kings 4 in the SBICS

1 Kings 4 in the SBIDS

1 Kings 4 in the SBIGS

1 Kings 4 in the SBIHS

1 Kings 4 in the SBIIS

1 Kings 4 in the SBIIS2

1 Kings 4 in the SBIIS3

1 Kings 4 in the SBIKS

1 Kings 4 in the SBIKS2

1 Kings 4 in the SBIMS

1 Kings 4 in the SBIOS

1 Kings 4 in the SBIPS

1 Kings 4 in the SBISS

1 Kings 4 in the SBITS

1 Kings 4 in the SBITS2

1 Kings 4 in the SBITS3

1 Kings 4 in the SBITS4

1 Kings 4 in the SBIUS

1 Kings 4 in the SBIVS

1 Kings 4 in the SBT

1 Kings 4 in the SBT1E

1 Kings 4 in the SCHL

1 Kings 4 in the SNT

1 Kings 4 in the SUSU

1 Kings 4 in the SUSU2

1 Kings 4 in the SYNO

1 Kings 4 in the TBIAOTANT

1 Kings 4 in the TBT1E

1 Kings 4 in the TBT1E2

1 Kings 4 in the TFTIP

1 Kings 4 in the TFTU

1 Kings 4 in the TGNTATF3T

1 Kings 4 in the THAI

1 Kings 4 in the TNFD

1 Kings 4 in the TNT

1 Kings 4 in the TNTIK

1 Kings 4 in the TNTIL

1 Kings 4 in the TNTIN

1 Kings 4 in the TNTIP

1 Kings 4 in the TNTIZ

1 Kings 4 in the TOMA

1 Kings 4 in the TTENT

1 Kings 4 in the UBG

1 Kings 4 in the UGV

1 Kings 4 in the UGV2

1 Kings 4 in the UGV3

1 Kings 4 in the VBL

1 Kings 4 in the VDCC

1 Kings 4 in the YALU

1 Kings 4 in the YAPE

1 Kings 4 in the YBVTP

1 Kings 4 in the ZBP