1 Samuel 13 (BOLCB)

1 Sawulo yalina emyaka amakumi asatu we yaliira obwakabaka, n’afuga Isirayiri okumala emyaka amakumi ana. 2 Sawulo yalonda abasajja enkumi ssatu okuva mu Isirayiri, enkumi ebbiri ku bo ne babeera naye e Mikumasi ku lusozi olw’e Beseri, n’abalala lukumi ne babeera ne Yonasaani e Gibea ekya Benyamini. Abasajja abalala bonna n’abasindika baddeyo ewaabwe. 3 Yonasaani n’alumba olusiisira lw’Abafirisuuti eyali e Geba, Abafirisuuti ne bakiwulira. Awo Sawulo n’alagira, bafuuwe ekkondeere mu nsi yonna, ng’agamba nti, “Abaebbulaniya bawulire!” 4 Awo Isirayiri yenna bwe baawulira nga Sawulo awambye olusiisira lw’Abafirisuuti, ate nga Isirayiri yali efuuse ekyenyinyalwa eri Abafirisuuti, abantu ne balagirwa okwegatta ku Sawulo e Girugaali. 5 Abafirisuuti ne beekuŋŋaanya okulwana n’Abayisirayiri. Abafirisuuti baalina amagaali emitwalo esatu, n’abeebagala embalaasi kakaaga, n’abaserikale abeebigere ng’omuwendo gwabwe gwenkana ng’omusenyu ogw’oku nnyanja obungi. Ne bayambuka ne basiisira e Mikumasi, ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Besaveni. 6 Abasajja Abayisirayiri bwe baalaba ng’embeera yaabwe mbi nnyo, n’eggye lyabwe nga linnyigirizibwa omulabe, ne beekweka mu mpuku, ne mu bisaka ne mu njazi, ne mu binnya. 7 Ne wabaawo n’abamu ku Baebbulaniya abaasomoka Yoludaani ne bagenda mu nsi ya Gaadi ne Gireyaadi.Sawulo ye n’asigala e Girugaali, n’abaserikale bonna be yali nabo, naye nga bajjudde okutya. 8 N’alinda okumala ennaku musanvu, ebbanga Samwiri lye yali amulaze, naye Samwiri n’atajjirawo e Girugaali, n’abasajja ba Sawulo ne batandika okumuvaako. 9 Sawulo kyeyava ayogera nti, “Mundeetere wano ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’emirembe.” N’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa. 10 Naye bwe yali yakamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Samwiri n’atuuka. Sawulo n’agenda okumwaniriza. 11 Samwiri n’amubuuza nti, “Kiki kino ky’okoze?” Sawulo n’addamu nti, “Bwe nnalabye ng’abasajja batandise okusaasaana, ate nga tozze mu kiseera kye walaga, ate nga n’Abafirisuuti bakuŋŋaanira e Mikumasi, 12 ne ndowooza nti, ‘Kaakano Abafirisuuti bagenda kukkirira okunnumba e Girugaali, nga sinnaba kwegayirira kufuna mukisa gwa MUKAMA, kyenvudde mpalirizibwa okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa.’ ” 13 Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Okoze kya busirusiru, obutakuuma kiragiro kya MUKAMA Katonda wo kye yakulagira. Singa wakikuumye, MUKAMA yandinywezezza obwakabaka bwo okufuga Isirayiri emirembe gyonna. 14 Naye kaakano obwakabaka bwo tebuliba bwa lubeerera. MUKAMA anoonyezzaayo omusajja alina omutima ogumunoonya era amulonze okuba omukulembeze w’abantu be, kubanga tokuumye kiragiro kya MUKAMA.” 15 Awo Samwiri n’ava e Girugaali n’ayambuka e Gibea mu Benyamini, Sawulo n’abala abasajja abaali naye, nga baawera nga lukaaga. 16 Sawulo ne mutabani we Yonasaani, n’abasajja abaali nabo baali basiisidde e Gebea ekya Benyamini, ate ng’Abafirisuuti bo basiisidde Mikumasi. 17 Abalabe ne bava mu nkambi y’Abafirisuuti mu bibinja bisatu, ekimu ne kyolekera Yofula, mu nsi ya Suwaali, 18 n’ekibinja ekirala ne kyolekera Besukolooni, n’ekyokusatu ne kyolekera ensalo etunuulidde ekiwonvu Zeboyimu okwolekera eddungu. 19 Mu nsi yonna eya Isirayiri temwali muweesi n’omu, kubanga Abafirisuuti baali baasalawo nti, “Si kulwa ng’Abaebbulaniya beeweeseza ebitala oba amafumu!” 20 Noolwekyo Abayisirayiri bonna baaserengetanga eri Abafirisuuti, okuwagala enkumbi zaabwe, n’ebiwabyo byabwe, n’embazzi zaabwe, ne najjolo zaabwe. 21 Baalinanga omuwendo gwe baasasulanga olw’okuwagala enkumbi ey’amannyo abiri n’ebiwabyo, nga gwa njawulo ku ogwo gwe baawangayo olw’okuwagala embazzi n’emiwunda. 22 Era ku lunaku olw’olutalo tewaali muserikale n’omu ku baali ne Sawulo ne Yonasaani, eyalina ekitala wadde effumu, okuggyako Sawulo ne mutabani we Yonasaani. 23 Waaliwo ekibinja eky’Abafirisuuti ekyali kigenze mu kifo ekyayitibwanga Mikumasi.

In Other Versions

1 Samuel 13 in the ANGEFD

1 Samuel 13 in the ANTPNG2D

1 Samuel 13 in the AS21

1 Samuel 13 in the BAGH

1 Samuel 13 in the BBPNG

1 Samuel 13 in the BBT1E

1 Samuel 13 in the BDS

1 Samuel 13 in the BEV

1 Samuel 13 in the BHAD

1 Samuel 13 in the BIB

1 Samuel 13 in the BLPT

1 Samuel 13 in the BNT

1 Samuel 13 in the BNTABOOT

1 Samuel 13 in the BNTLV

1 Samuel 13 in the BOATCB

1 Samuel 13 in the BOATCB2

1 Samuel 13 in the BOBCV

1 Samuel 13 in the BOCNT

1 Samuel 13 in the BOECS

1 Samuel 13 in the BOGWICC

1 Samuel 13 in the BOHCB

1 Samuel 13 in the BOHCV

1 Samuel 13 in the BOHLNT

1 Samuel 13 in the BOHNTLTAL

1 Samuel 13 in the BOICB

1 Samuel 13 in the BOILNTAP

1 Samuel 13 in the BOITCV

1 Samuel 13 in the BOKCV

1 Samuel 13 in the BOKCV2

1 Samuel 13 in the BOKHWOG

1 Samuel 13 in the BOKSSV

1 Samuel 13 in the BOLCB2

1 Samuel 13 in the BOMCV

1 Samuel 13 in the BONAV

1 Samuel 13 in the BONCB

1 Samuel 13 in the BONLT

1 Samuel 13 in the BONUT2

1 Samuel 13 in the BOPLNT

1 Samuel 13 in the BOSCB

1 Samuel 13 in the BOSNC

1 Samuel 13 in the BOTLNT

1 Samuel 13 in the BOVCB

1 Samuel 13 in the BOYCB

1 Samuel 13 in the BPBB

1 Samuel 13 in the BPH

1 Samuel 13 in the BSB

1 Samuel 13 in the CCB

1 Samuel 13 in the CUV

1 Samuel 13 in the CUVS

1 Samuel 13 in the DBT

1 Samuel 13 in the DGDNT

1 Samuel 13 in the DHNT

1 Samuel 13 in the DNT

1 Samuel 13 in the ELBE

1 Samuel 13 in the EMTV

1 Samuel 13 in the ESV

1 Samuel 13 in the FBV

1 Samuel 13 in the FEB

1 Samuel 13 in the GGMNT

1 Samuel 13 in the GNT

1 Samuel 13 in the HARY

1 Samuel 13 in the HNT

1 Samuel 13 in the IRVA

1 Samuel 13 in the IRVB

1 Samuel 13 in the IRVG

1 Samuel 13 in the IRVH

1 Samuel 13 in the IRVK

1 Samuel 13 in the IRVM

1 Samuel 13 in the IRVM2

1 Samuel 13 in the IRVO

1 Samuel 13 in the IRVP

1 Samuel 13 in the IRVT

1 Samuel 13 in the IRVT2

1 Samuel 13 in the IRVU

1 Samuel 13 in the ISVN

1 Samuel 13 in the JSNT

1 Samuel 13 in the KAPI

1 Samuel 13 in the KBT1ETNIK

1 Samuel 13 in the KBV

1 Samuel 13 in the KJV

1 Samuel 13 in the KNFD

1 Samuel 13 in the LBA

1 Samuel 13 in the LBLA

1 Samuel 13 in the LNT

1 Samuel 13 in the LSV

1 Samuel 13 in the MAAL

1 Samuel 13 in the MBV

1 Samuel 13 in the MBV2

1 Samuel 13 in the MHNT

1 Samuel 13 in the MKNFD

1 Samuel 13 in the MNG

1 Samuel 13 in the MNT

1 Samuel 13 in the MNT2

1 Samuel 13 in the MRS1T

1 Samuel 13 in the NAA

1 Samuel 13 in the NASB

1 Samuel 13 in the NBLA

1 Samuel 13 in the NBS

1 Samuel 13 in the NBVTP

1 Samuel 13 in the NET2

1 Samuel 13 in the NIV11

1 Samuel 13 in the NNT

1 Samuel 13 in the NNT2

1 Samuel 13 in the NNT3

1 Samuel 13 in the PDDPT

1 Samuel 13 in the PFNT

1 Samuel 13 in the RMNT

1 Samuel 13 in the SBIAS

1 Samuel 13 in the SBIBS

1 Samuel 13 in the SBIBS2

1 Samuel 13 in the SBICS

1 Samuel 13 in the SBIDS

1 Samuel 13 in the SBIGS

1 Samuel 13 in the SBIHS

1 Samuel 13 in the SBIIS

1 Samuel 13 in the SBIIS2

1 Samuel 13 in the SBIIS3

1 Samuel 13 in the SBIKS

1 Samuel 13 in the SBIKS2

1 Samuel 13 in the SBIMS

1 Samuel 13 in the SBIOS

1 Samuel 13 in the SBIPS

1 Samuel 13 in the SBISS

1 Samuel 13 in the SBITS

1 Samuel 13 in the SBITS2

1 Samuel 13 in the SBITS3

1 Samuel 13 in the SBITS4

1 Samuel 13 in the SBIUS

1 Samuel 13 in the SBIVS

1 Samuel 13 in the SBT

1 Samuel 13 in the SBT1E

1 Samuel 13 in the SCHL

1 Samuel 13 in the SNT

1 Samuel 13 in the SUSU

1 Samuel 13 in the SUSU2

1 Samuel 13 in the SYNO

1 Samuel 13 in the TBIAOTANT

1 Samuel 13 in the TBT1E

1 Samuel 13 in the TBT1E2

1 Samuel 13 in the TFTIP

1 Samuel 13 in the TFTU

1 Samuel 13 in the TGNTATF3T

1 Samuel 13 in the THAI

1 Samuel 13 in the TNFD

1 Samuel 13 in the TNT

1 Samuel 13 in the TNTIK

1 Samuel 13 in the TNTIL

1 Samuel 13 in the TNTIN

1 Samuel 13 in the TNTIP

1 Samuel 13 in the TNTIZ

1 Samuel 13 in the TOMA

1 Samuel 13 in the TTENT

1 Samuel 13 in the UBG

1 Samuel 13 in the UGV

1 Samuel 13 in the UGV2

1 Samuel 13 in the UGV3

1 Samuel 13 in the VBL

1 Samuel 13 in the VDCC

1 Samuel 13 in the YALU

1 Samuel 13 in the YAPE

1 Samuel 13 in the YBVTP

1 Samuel 13 in the ZBP