1 Timothy 5 (BOLCB)

1 Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo, 2 abakazi abakadde bayisenga ng’abazadde bo, abato nga bannyoko, ng’omutima gwo mulongoofu ddala. 3 Bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. 4 Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda. 5 Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, essuubi lye aba alitadde mu Katonda, era anyiikire okwegayirira n’okusaba Katonda emisana n’ekiro. 6 Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba ng’afudde, newaakubadde ng’akyali mulamu. 7 Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa. 8 Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza. 9 Nnamwandu awezezza emyaka enkaaga ye yekka anaawandiikibwanga ku lukalala lwa bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu, 10 nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri. 11 Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa, 12 bwe batyo ne bessaako omusango olw’obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. 13 N’ekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera n’ebitasaana. 14 Kyenva njagala bannamwandu abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako kibi. 15 Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani. 16 Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab’olulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba. 17 Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. 18 Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.” 19 Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. 20 Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. 21 Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza. 22 Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by’abalala; weekuumenga ng’oli mulongoofu. 23 Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olw’okulwalalwala kwo. 24 Ebibi by’abantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye eby’abalala birabika luvannyuma. 25 N’ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.

In Other Versions

1 Timothy 5 in the ANGEFD

1 Timothy 5 in the ANTPNG2D

1 Timothy 5 in the AS21

1 Timothy 5 in the BAGH

1 Timothy 5 in the BBPNG

1 Timothy 5 in the BBT1E

1 Timothy 5 in the BDS

1 Timothy 5 in the BEV

1 Timothy 5 in the BHAD

1 Timothy 5 in the BIB

1 Timothy 5 in the BLPT

1 Timothy 5 in the BNT

1 Timothy 5 in the BNTABOOT

1 Timothy 5 in the BNTLV

1 Timothy 5 in the BOATCB

1 Timothy 5 in the BOATCB2

1 Timothy 5 in the BOBCV

1 Timothy 5 in the BOCNT

1 Timothy 5 in the BOECS

1 Timothy 5 in the BOGWICC

1 Timothy 5 in the BOHCB

1 Timothy 5 in the BOHCV

1 Timothy 5 in the BOHLNT

1 Timothy 5 in the BOHNTLTAL

1 Timothy 5 in the BOICB

1 Timothy 5 in the BOILNTAP

1 Timothy 5 in the BOITCV

1 Timothy 5 in the BOKCV

1 Timothy 5 in the BOKCV2

1 Timothy 5 in the BOKHWOG

1 Timothy 5 in the BOKSSV

1 Timothy 5 in the BOLCB2

1 Timothy 5 in the BOMCV

1 Timothy 5 in the BONAV

1 Timothy 5 in the BONCB

1 Timothy 5 in the BONLT

1 Timothy 5 in the BONUT2

1 Timothy 5 in the BOPLNT

1 Timothy 5 in the BOSCB

1 Timothy 5 in the BOSNC

1 Timothy 5 in the BOTLNT

1 Timothy 5 in the BOVCB

1 Timothy 5 in the BOYCB

1 Timothy 5 in the BPBB

1 Timothy 5 in the BPH

1 Timothy 5 in the BSB

1 Timothy 5 in the CCB

1 Timothy 5 in the CUV

1 Timothy 5 in the CUVS

1 Timothy 5 in the DBT

1 Timothy 5 in the DGDNT

1 Timothy 5 in the DHNT

1 Timothy 5 in the DNT

1 Timothy 5 in the ELBE

1 Timothy 5 in the EMTV

1 Timothy 5 in the ESV

1 Timothy 5 in the FBV

1 Timothy 5 in the FEB

1 Timothy 5 in the GGMNT

1 Timothy 5 in the GNT

1 Timothy 5 in the HARY

1 Timothy 5 in the HNT

1 Timothy 5 in the IRVA

1 Timothy 5 in the IRVB

1 Timothy 5 in the IRVG

1 Timothy 5 in the IRVH

1 Timothy 5 in the IRVK

1 Timothy 5 in the IRVM

1 Timothy 5 in the IRVM2

1 Timothy 5 in the IRVO

1 Timothy 5 in the IRVP

1 Timothy 5 in the IRVT

1 Timothy 5 in the IRVT2

1 Timothy 5 in the IRVU

1 Timothy 5 in the ISVN

1 Timothy 5 in the JSNT

1 Timothy 5 in the KAPI

1 Timothy 5 in the KBT1ETNIK

1 Timothy 5 in the KBV

1 Timothy 5 in the KJV

1 Timothy 5 in the KNFD

1 Timothy 5 in the LBA

1 Timothy 5 in the LBLA

1 Timothy 5 in the LNT

1 Timothy 5 in the LSV

1 Timothy 5 in the MAAL

1 Timothy 5 in the MBV

1 Timothy 5 in the MBV2

1 Timothy 5 in the MHNT

1 Timothy 5 in the MKNFD

1 Timothy 5 in the MNG

1 Timothy 5 in the MNT

1 Timothy 5 in the MNT2

1 Timothy 5 in the MRS1T

1 Timothy 5 in the NAA

1 Timothy 5 in the NASB

1 Timothy 5 in the NBLA

1 Timothy 5 in the NBS

1 Timothy 5 in the NBVTP

1 Timothy 5 in the NET2

1 Timothy 5 in the NIV11

1 Timothy 5 in the NNT

1 Timothy 5 in the NNT2

1 Timothy 5 in the NNT3

1 Timothy 5 in the PDDPT

1 Timothy 5 in the PFNT

1 Timothy 5 in the RMNT

1 Timothy 5 in the SBIAS

1 Timothy 5 in the SBIBS

1 Timothy 5 in the SBIBS2

1 Timothy 5 in the SBICS

1 Timothy 5 in the SBIDS

1 Timothy 5 in the SBIGS

1 Timothy 5 in the SBIHS

1 Timothy 5 in the SBIIS

1 Timothy 5 in the SBIIS2

1 Timothy 5 in the SBIIS3

1 Timothy 5 in the SBIKS

1 Timothy 5 in the SBIKS2

1 Timothy 5 in the SBIMS

1 Timothy 5 in the SBIOS

1 Timothy 5 in the SBIPS

1 Timothy 5 in the SBISS

1 Timothy 5 in the SBITS

1 Timothy 5 in the SBITS2

1 Timothy 5 in the SBITS3

1 Timothy 5 in the SBITS4

1 Timothy 5 in the SBIUS

1 Timothy 5 in the SBIVS

1 Timothy 5 in the SBT

1 Timothy 5 in the SBT1E

1 Timothy 5 in the SCHL

1 Timothy 5 in the SNT

1 Timothy 5 in the SUSU

1 Timothy 5 in the SUSU2

1 Timothy 5 in the SYNO

1 Timothy 5 in the TBIAOTANT

1 Timothy 5 in the TBT1E

1 Timothy 5 in the TBT1E2

1 Timothy 5 in the TFTIP

1 Timothy 5 in the TFTU

1 Timothy 5 in the TGNTATF3T

1 Timothy 5 in the THAI

1 Timothy 5 in the TNFD

1 Timothy 5 in the TNT

1 Timothy 5 in the TNTIK

1 Timothy 5 in the TNTIL

1 Timothy 5 in the TNTIN

1 Timothy 5 in the TNTIP

1 Timothy 5 in the TNTIZ

1 Timothy 5 in the TOMA

1 Timothy 5 in the TTENT

1 Timothy 5 in the UBG

1 Timothy 5 in the UGV

1 Timothy 5 in the UGV2

1 Timothy 5 in the UGV3

1 Timothy 5 in the VBL

1 Timothy 5 in the VDCC

1 Timothy 5 in the YALU

1 Timothy 5 in the YAPE

1 Timothy 5 in the YBVTP

1 Timothy 5 in the ZBP