1 Timothy 6 (BOLCB)

1 Abo bonna abali mu kikoligo ky’obuddu, basaana okussaamu bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda, awamu n’okuyigiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa. 2 Abaddu abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, okubanga baganda baabwe, wabula bonna bongere bwongezi okubaweereza, kubanga bakkiriza era baagalwa, era be bayambibwa olw’okuweereza kwabwe okulungi.Bino bibayigirizenga era obibakuutirenga. 3 Omuntu yenna bw’ayigirizanga mu ngeri endala, nga takkiriziganya na bigambo ebya Mukama waffe Yesu Kristo ebireeta obulamu n’okugobereranga enjigiriza ey’okutya Katonda, 4 aba ajjudde okwekuluntaza era aba taliiko ky’ategeera naye aba aguddemu akazoole ak’okubuzaabuza mu buli kintu, n’okuwakana ku buli kigambo n’ekivaamu bwe buggya, n’okuyomba, n’okuvuma, n’okuwaayira, 5 n’okukaayana. Ebyo bikolebwa abantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina mazima, abalowooza ng’okufuna amagoba kwe kutya Katonda. 6 Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina. 7 Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. 8 Naye bwe tuba n’emmere, n’ebyokwambala ebyo bitumalenga. 9 Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. 10 Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe. 11 Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda, n’okukkiriza, n’okwagala, n’okugumiikiriza, n’obuwombeefu. 12 Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi. 13 Nkukuutira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne mu maaso ga Kristo Yesu eyayatula okwatula okulungi mu maaso ga Pontiyo Piraato, 14 okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde eky’okunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo, 15 kw’aliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama, 16 ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali n’omu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, n’obuyinza obutaggwaawo, Amiina. 17 Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga, 18 bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana n’abalala. 19 Bwe batyo beeterekere obugagga obw’engeri eyo nga gwe musingi omulungi ogw’ebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini. 20 Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga ebigambo ebivvoola, era ebitaliimu nsa, n’empaka ez’ebigambo ebiyitibwa eby’amagezi naye nga bya bulimba, 21 abantu abamu ge balowooza okuba nago, ne basubwa ekigendererwa mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe.

In Other Versions

1 Timothy 6 in the ANGEFD

1 Timothy 6 in the ANTPNG2D

1 Timothy 6 in the AS21

1 Timothy 6 in the BAGH

1 Timothy 6 in the BBPNG

1 Timothy 6 in the BBT1E

1 Timothy 6 in the BDS

1 Timothy 6 in the BEV

1 Timothy 6 in the BHAD

1 Timothy 6 in the BIB

1 Timothy 6 in the BLPT

1 Timothy 6 in the BNT

1 Timothy 6 in the BNTABOOT

1 Timothy 6 in the BNTLV

1 Timothy 6 in the BOATCB

1 Timothy 6 in the BOATCB2

1 Timothy 6 in the BOBCV

1 Timothy 6 in the BOCNT

1 Timothy 6 in the BOECS

1 Timothy 6 in the BOGWICC

1 Timothy 6 in the BOHCB

1 Timothy 6 in the BOHCV

1 Timothy 6 in the BOHLNT

1 Timothy 6 in the BOHNTLTAL

1 Timothy 6 in the BOICB

1 Timothy 6 in the BOILNTAP

1 Timothy 6 in the BOITCV

1 Timothy 6 in the BOKCV

1 Timothy 6 in the BOKCV2

1 Timothy 6 in the BOKHWOG

1 Timothy 6 in the BOKSSV

1 Timothy 6 in the BOLCB2

1 Timothy 6 in the BOMCV

1 Timothy 6 in the BONAV

1 Timothy 6 in the BONCB

1 Timothy 6 in the BONLT

1 Timothy 6 in the BONUT2

1 Timothy 6 in the BOPLNT

1 Timothy 6 in the BOSCB

1 Timothy 6 in the BOSNC

1 Timothy 6 in the BOTLNT

1 Timothy 6 in the BOVCB

1 Timothy 6 in the BOYCB

1 Timothy 6 in the BPBB

1 Timothy 6 in the BPH

1 Timothy 6 in the BSB

1 Timothy 6 in the CCB

1 Timothy 6 in the CUV

1 Timothy 6 in the CUVS

1 Timothy 6 in the DBT

1 Timothy 6 in the DGDNT

1 Timothy 6 in the DHNT

1 Timothy 6 in the DNT

1 Timothy 6 in the ELBE

1 Timothy 6 in the EMTV

1 Timothy 6 in the ESV

1 Timothy 6 in the FBV

1 Timothy 6 in the FEB

1 Timothy 6 in the GGMNT

1 Timothy 6 in the GNT

1 Timothy 6 in the HARY

1 Timothy 6 in the HNT

1 Timothy 6 in the IRVA

1 Timothy 6 in the IRVB

1 Timothy 6 in the IRVG

1 Timothy 6 in the IRVH

1 Timothy 6 in the IRVK

1 Timothy 6 in the IRVM

1 Timothy 6 in the IRVM2

1 Timothy 6 in the IRVO

1 Timothy 6 in the IRVP

1 Timothy 6 in the IRVT

1 Timothy 6 in the IRVT2

1 Timothy 6 in the IRVU

1 Timothy 6 in the ISVN

1 Timothy 6 in the JSNT

1 Timothy 6 in the KAPI

1 Timothy 6 in the KBT1ETNIK

1 Timothy 6 in the KBV

1 Timothy 6 in the KJV

1 Timothy 6 in the KNFD

1 Timothy 6 in the LBA

1 Timothy 6 in the LBLA

1 Timothy 6 in the LNT

1 Timothy 6 in the LSV

1 Timothy 6 in the MAAL

1 Timothy 6 in the MBV

1 Timothy 6 in the MBV2

1 Timothy 6 in the MHNT

1 Timothy 6 in the MKNFD

1 Timothy 6 in the MNG

1 Timothy 6 in the MNT

1 Timothy 6 in the MNT2

1 Timothy 6 in the MRS1T

1 Timothy 6 in the NAA

1 Timothy 6 in the NASB

1 Timothy 6 in the NBLA

1 Timothy 6 in the NBS

1 Timothy 6 in the NBVTP

1 Timothy 6 in the NET2

1 Timothy 6 in the NIV11

1 Timothy 6 in the NNT

1 Timothy 6 in the NNT2

1 Timothy 6 in the NNT3

1 Timothy 6 in the PDDPT

1 Timothy 6 in the PFNT

1 Timothy 6 in the RMNT

1 Timothy 6 in the SBIAS

1 Timothy 6 in the SBIBS

1 Timothy 6 in the SBIBS2

1 Timothy 6 in the SBICS

1 Timothy 6 in the SBIDS

1 Timothy 6 in the SBIGS

1 Timothy 6 in the SBIHS

1 Timothy 6 in the SBIIS

1 Timothy 6 in the SBIIS2

1 Timothy 6 in the SBIIS3

1 Timothy 6 in the SBIKS

1 Timothy 6 in the SBIKS2

1 Timothy 6 in the SBIMS

1 Timothy 6 in the SBIOS

1 Timothy 6 in the SBIPS

1 Timothy 6 in the SBISS

1 Timothy 6 in the SBITS

1 Timothy 6 in the SBITS2

1 Timothy 6 in the SBITS3

1 Timothy 6 in the SBITS4

1 Timothy 6 in the SBIUS

1 Timothy 6 in the SBIVS

1 Timothy 6 in the SBT

1 Timothy 6 in the SBT1E

1 Timothy 6 in the SCHL

1 Timothy 6 in the SNT

1 Timothy 6 in the SUSU

1 Timothy 6 in the SUSU2

1 Timothy 6 in the SYNO

1 Timothy 6 in the TBIAOTANT

1 Timothy 6 in the TBT1E

1 Timothy 6 in the TBT1E2

1 Timothy 6 in the TFTIP

1 Timothy 6 in the TFTU

1 Timothy 6 in the TGNTATF3T

1 Timothy 6 in the THAI

1 Timothy 6 in the TNFD

1 Timothy 6 in the TNT

1 Timothy 6 in the TNTIK

1 Timothy 6 in the TNTIL

1 Timothy 6 in the TNTIN

1 Timothy 6 in the TNTIP

1 Timothy 6 in the TNTIZ

1 Timothy 6 in the TOMA

1 Timothy 6 in the TTENT

1 Timothy 6 in the UBG

1 Timothy 6 in the UGV

1 Timothy 6 in the UGV2

1 Timothy 6 in the UGV3

1 Timothy 6 in the VBL

1 Timothy 6 in the VDCC

1 Timothy 6 in the YALU

1 Timothy 6 in the YAPE

1 Timothy 6 in the YBVTP

1 Timothy 6 in the ZBP