2 Samuel 9 (BOLCB)

1 Dawudi n’abuuza nti, “Wakyaliwo omuntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okulaga ekisa ku lwa Yonasaani?” 2 Awo waaliwo omuddu mu nnyumba ya Sawulo erinnya lye Ziba. Ne bamutumya, n’ajja mu maaso ga Dawudi.Kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Ziba?” N’addamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.” 3 Kabaka n’amubuuza nti, “Tewaliwo muntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okukolera ebirungi olw’ekisa kya Katonda?”Ziba n’addamu kabaka nti, “Wakyaliwo mutabani wa Yonasaani, eyalemala ebigere.” 4 Kabaka n’amubuuza nti, “Ali ludda wa?”Ziba n’amuddamu nti, “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.” 5 Awo Dawudi n’amutumya, ne bamuleeta okuva mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali. 6 Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Sawulo n’ajja eri Dawudi n’avuunama mu maaso ge.Dawudi n’amubuuza nti, “Ggwe Mefibosesi?”N’addamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.” 7 Dawudi n’amugamba nti, “Totya kubanga siireme kukukolera bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo. Nzija kukuddiza ettaka lyonna eryali erya jjajjaawo Sawulo, era onooliranga ku mmeeza yange.” 8 Mefibosesi ne yeeyanza n’ayogera nti, “Omuddu wo kye ki, okufaayo ku mbwa enfu nga nze?” 9 Awo kabaka n’ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n’amugamba nti, “Mpadde muzzukulu wa mukama wo ebintu byonna ebyali ebya Sawulo n’ennyumba ye. 10 Ggwe ne batabani bo n’abaddu bo munaamulimiranga ettaka ne muleeta ebibala ebirivaamu, muzzukulu wa mukama wo abenga n’ekyokulya. Mefibosesi muzzukulu wa mukama wo, ye anaaliiranga ku mmeeza yange nange, ennaku zange zonna.” Ziba yalina abaana aboobulenzi kkumi na bataano n’abaddu amakumi abiri. 11 Awo Ziba n’agamba kabaka nti, “Nga bw’olagidde mukama wange kabaka, bwe kijja okukolebwa omuddu wo.” Mefibosesi n’aliiranga ku mmeeza ya Dawudi ng’omu ku balangira. 12 Mefibosesi yalina mutabani we omuto, eyayitibwanga Mikka, ne bonna abaali ab’ennyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi. 13 Mefibosesi n’abeera mu Yerusaalemi kubanga yaliiranga ku mmeeza ya kabaka. Yali yalemala ebigere.

In Other Versions

2 Samuel 9 in the ANGEFD

2 Samuel 9 in the ANTPNG2D

2 Samuel 9 in the AS21

2 Samuel 9 in the BAGH

2 Samuel 9 in the BBPNG

2 Samuel 9 in the BBT1E

2 Samuel 9 in the BDS

2 Samuel 9 in the BEV

2 Samuel 9 in the BHAD

2 Samuel 9 in the BIB

2 Samuel 9 in the BLPT

2 Samuel 9 in the BNT

2 Samuel 9 in the BNTABOOT

2 Samuel 9 in the BNTLV

2 Samuel 9 in the BOATCB

2 Samuel 9 in the BOATCB2

2 Samuel 9 in the BOBCV

2 Samuel 9 in the BOCNT

2 Samuel 9 in the BOECS

2 Samuel 9 in the BOGWICC

2 Samuel 9 in the BOHCB

2 Samuel 9 in the BOHCV

2 Samuel 9 in the BOHLNT

2 Samuel 9 in the BOHNTLTAL

2 Samuel 9 in the BOICB

2 Samuel 9 in the BOILNTAP

2 Samuel 9 in the BOITCV

2 Samuel 9 in the BOKCV

2 Samuel 9 in the BOKCV2

2 Samuel 9 in the BOKHWOG

2 Samuel 9 in the BOKSSV

2 Samuel 9 in the BOLCB2

2 Samuel 9 in the BOMCV

2 Samuel 9 in the BONAV

2 Samuel 9 in the BONCB

2 Samuel 9 in the BONLT

2 Samuel 9 in the BONUT2

2 Samuel 9 in the BOPLNT

2 Samuel 9 in the BOSCB

2 Samuel 9 in the BOSNC

2 Samuel 9 in the BOTLNT

2 Samuel 9 in the BOVCB

2 Samuel 9 in the BOYCB

2 Samuel 9 in the BPBB

2 Samuel 9 in the BPH

2 Samuel 9 in the BSB

2 Samuel 9 in the CCB

2 Samuel 9 in the CUV

2 Samuel 9 in the CUVS

2 Samuel 9 in the DBT

2 Samuel 9 in the DGDNT

2 Samuel 9 in the DHNT

2 Samuel 9 in the DNT

2 Samuel 9 in the ELBE

2 Samuel 9 in the EMTV

2 Samuel 9 in the ESV

2 Samuel 9 in the FBV

2 Samuel 9 in the FEB

2 Samuel 9 in the GGMNT

2 Samuel 9 in the GNT

2 Samuel 9 in the HARY

2 Samuel 9 in the HNT

2 Samuel 9 in the IRVA

2 Samuel 9 in the IRVB

2 Samuel 9 in the IRVG

2 Samuel 9 in the IRVH

2 Samuel 9 in the IRVK

2 Samuel 9 in the IRVM

2 Samuel 9 in the IRVM2

2 Samuel 9 in the IRVO

2 Samuel 9 in the IRVP

2 Samuel 9 in the IRVT

2 Samuel 9 in the IRVT2

2 Samuel 9 in the IRVU

2 Samuel 9 in the ISVN

2 Samuel 9 in the JSNT

2 Samuel 9 in the KAPI

2 Samuel 9 in the KBT1ETNIK

2 Samuel 9 in the KBV

2 Samuel 9 in the KJV

2 Samuel 9 in the KNFD

2 Samuel 9 in the LBA

2 Samuel 9 in the LBLA

2 Samuel 9 in the LNT

2 Samuel 9 in the LSV

2 Samuel 9 in the MAAL

2 Samuel 9 in the MBV

2 Samuel 9 in the MBV2

2 Samuel 9 in the MHNT

2 Samuel 9 in the MKNFD

2 Samuel 9 in the MNG

2 Samuel 9 in the MNT

2 Samuel 9 in the MNT2

2 Samuel 9 in the MRS1T

2 Samuel 9 in the NAA

2 Samuel 9 in the NASB

2 Samuel 9 in the NBLA

2 Samuel 9 in the NBS

2 Samuel 9 in the NBVTP

2 Samuel 9 in the NET2

2 Samuel 9 in the NIV11

2 Samuel 9 in the NNT

2 Samuel 9 in the NNT2

2 Samuel 9 in the NNT3

2 Samuel 9 in the PDDPT

2 Samuel 9 in the PFNT

2 Samuel 9 in the RMNT

2 Samuel 9 in the SBIAS

2 Samuel 9 in the SBIBS

2 Samuel 9 in the SBIBS2

2 Samuel 9 in the SBICS

2 Samuel 9 in the SBIDS

2 Samuel 9 in the SBIGS

2 Samuel 9 in the SBIHS

2 Samuel 9 in the SBIIS

2 Samuel 9 in the SBIIS2

2 Samuel 9 in the SBIIS3

2 Samuel 9 in the SBIKS

2 Samuel 9 in the SBIKS2

2 Samuel 9 in the SBIMS

2 Samuel 9 in the SBIOS

2 Samuel 9 in the SBIPS

2 Samuel 9 in the SBISS

2 Samuel 9 in the SBITS

2 Samuel 9 in the SBITS2

2 Samuel 9 in the SBITS3

2 Samuel 9 in the SBITS4

2 Samuel 9 in the SBIUS

2 Samuel 9 in the SBIVS

2 Samuel 9 in the SBT

2 Samuel 9 in the SBT1E

2 Samuel 9 in the SCHL

2 Samuel 9 in the SNT

2 Samuel 9 in the SUSU

2 Samuel 9 in the SUSU2

2 Samuel 9 in the SYNO

2 Samuel 9 in the TBIAOTANT

2 Samuel 9 in the TBT1E

2 Samuel 9 in the TBT1E2

2 Samuel 9 in the TFTIP

2 Samuel 9 in the TFTU

2 Samuel 9 in the TGNTATF3T

2 Samuel 9 in the THAI

2 Samuel 9 in the TNFD

2 Samuel 9 in the TNT

2 Samuel 9 in the TNTIK

2 Samuel 9 in the TNTIL

2 Samuel 9 in the TNTIN

2 Samuel 9 in the TNTIP

2 Samuel 9 in the TNTIZ

2 Samuel 9 in the TOMA

2 Samuel 9 in the TTENT

2 Samuel 9 in the UBG

2 Samuel 9 in the UGV

2 Samuel 9 in the UGV2

2 Samuel 9 in the UGV3

2 Samuel 9 in the VBL

2 Samuel 9 in the VDCC

2 Samuel 9 in the YALU

2 Samuel 9 in the YAPE

2 Samuel 9 in the YBVTP

2 Samuel 9 in the ZBP