Colossians 2 (BOLCB)
1 Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri. 2 Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. 3 Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya. 4 Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza. 5 Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu. 6 Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, 7 nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga. 8 Mwekuumenga walemenga kubaawo n’omu ku mmwe abuzibwabuzibwa mu bufirosoofo ne mu by’obulimba ebitaliimu, okugobereranga obulombolombo obw’abantu n’ebiyigirizibwa abantu. Munywererenga ku biyigirizibwa ku Kristo. 9 Kubanga mu Kristo okutuukiriza kwonna okw’Obwakabaka mwe kulabikira mu mubiri, 10 era mmwe nga muli mu ye, mwatuukirira mu ye, oyo Kristo omutwe gw’obufuzi bwonna n’obuyinza bwonna. 11 Mu ye mwakomolebwa, bwe mwaggibwako okwegomba kw’omubiri, naye si okukomolebwa okw’engalo z’abantu, wabula mu kukomolebwa okwa Kristo. 12 Bwe mwabatizibwa, mwaziikibwa wamu naye, ate ne muzuukizibwa wamu naye olw’okukkiriza kwammwe mu maanyi ga Katonda eyamuzuukiza mu bafu. 13 Mwali mufudde olw’ebyonoono byammwe ne mu butakomolebwa bwammwe obw’okwegomba kw’omubiri. Katonda n’abafuula balamu wamu ne Kristo, ffenna bwe yatusonyiwa ebyonoono byaffe byonna. 14 Bwe yasazaamu era n’aggyawo ebiragiro ebyawandiikibwa mu mateeka ebyatwolekeranga, n’abikomerera ku musaalaba, 15 n’aggya ebyokulwanyisa ebyo ku bafuzi n’ab’obuyinza ab’omu bbanga, n’abaswaza mu lwatu, n’abawangulira ddala. 16 Noolwekyo waleme kubaawo muntu n’omu abasalira musango ku bye mulya ne bye munywa, oba okubasalira omusango olw’embaga z’Ekiyudaaya oba ez’omwezi ogubonese wadde olwa Ssabbiiti. 17 Kubanga ebyo kisiikirize eky’ebyo ebyali bigenda okujja, naye ekirimu ensa ye Kristo. 18 Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’abanyagako ekirabo kye mwaweebwa, nga yeesigama ku kwewombeeka okw’obulimba n’okuwa bamalayika ekitiibwa ekingi, ng’anywerera mu bintu bye yalaba, nga yeenyumiririza mu butaliimu obw’amagezi ag’omubiri gwe. 19 Ab’engeri eyo baba tebakyali mu Kristo, omutwe gw’omubiri gwonna. Omubiri ogwo gugattibwa mu nnyingo ne mu binywa era ne gugattibwa wamu nga gukula, Katonda nga y’agukuza. 20 Obanga mwafiira wamu ne Kristo ne musumululwa okuva mu magezi ag’ebintu ebyangu eby’ensi, lwaki mufugibwa ebiragiro ng’ab’omu nsi? 21 Bino bye bimu ku biragiro ab’omu nsi bye bawa: Tolya kino, tokwata ku kiri oba nti tokomba ku kino. 22 Ebyo byonna ku nkomerero biriggwaawo kubanga biriba tebikyalina mugaso. 23 Birabika ng’eby’amagezi mu ngeri ey’okusinza, abantu gye beegunjirawo bokka mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri, songa tebiriiko kye bigasa n’akatono mu kufuga okwegomba kw’omubiri.
In Other Versions
Colossians 2 in the ANGEFD
Colossians 2 in the ANTPNG2D
Colossians 2 in the AS21
Colossians 2 in the BAGH
Colossians 2 in the BBPNG
Colossians 2 in the BBT1E
Colossians 2 in the BDS
Colossians 2 in the BEV
Colossians 2 in the BHAD
Colossians 2 in the BIB
Colossians 2 in the BLPT
Colossians 2 in the BNT
Colossians 2 in the BNTABOOT
Colossians 2 in the BNTLV
Colossians 2 in the BOATCB
Colossians 2 in the BOATCB2
Colossians 2 in the BOBCV
Colossians 2 in the BOCNT
Colossians 2 in the BOECS
Colossians 2 in the BOGWICC
Colossians 2 in the BOHCB
Colossians 2 in the BOHCV
Colossians 2 in the BOHLNT
Colossians 2 in the BOHNTLTAL
Colossians 2 in the BOICB
Colossians 2 in the BOILNTAP
Colossians 2 in the BOITCV
Colossians 2 in the BOKCV
Colossians 2 in the BOKCV2
Colossians 2 in the BOKHWOG
Colossians 2 in the BOKSSV
Colossians 2 in the BOLCB2
Colossians 2 in the BOMCV
Colossians 2 in the BONAV
Colossians 2 in the BONCB
Colossians 2 in the BONLT
Colossians 2 in the BONUT2
Colossians 2 in the BOPLNT
Colossians 2 in the BOSCB
Colossians 2 in the BOSNC
Colossians 2 in the BOTLNT
Colossians 2 in the BOVCB
Colossians 2 in the BOYCB
Colossians 2 in the BPBB
Colossians 2 in the BPH
Colossians 2 in the BSB
Colossians 2 in the CCB
Colossians 2 in the CUV
Colossians 2 in the CUVS
Colossians 2 in the DBT
Colossians 2 in the DGDNT
Colossians 2 in the DHNT
Colossians 2 in the DNT
Colossians 2 in the ELBE
Colossians 2 in the EMTV
Colossians 2 in the ESV
Colossians 2 in the FBV
Colossians 2 in the FEB
Colossians 2 in the GGMNT
Colossians 2 in the GNT
Colossians 2 in the HARY
Colossians 2 in the HNT
Colossians 2 in the IRVA
Colossians 2 in the IRVB
Colossians 2 in the IRVG
Colossians 2 in the IRVH
Colossians 2 in the IRVK
Colossians 2 in the IRVM
Colossians 2 in the IRVM2
Colossians 2 in the IRVO
Colossians 2 in the IRVP
Colossians 2 in the IRVT
Colossians 2 in the IRVT2
Colossians 2 in the IRVU
Colossians 2 in the ISVN
Colossians 2 in the JSNT
Colossians 2 in the KAPI
Colossians 2 in the KBT1ETNIK
Colossians 2 in the KBV
Colossians 2 in the KJV
Colossians 2 in the KNFD
Colossians 2 in the LBA
Colossians 2 in the LBLA
Colossians 2 in the LNT
Colossians 2 in the LSV
Colossians 2 in the MAAL
Colossians 2 in the MBV
Colossians 2 in the MBV2
Colossians 2 in the MHNT
Colossians 2 in the MKNFD
Colossians 2 in the MNG
Colossians 2 in the MNT
Colossians 2 in the MNT2
Colossians 2 in the MRS1T
Colossians 2 in the NAA
Colossians 2 in the NASB
Colossians 2 in the NBLA
Colossians 2 in the NBS
Colossians 2 in the NBVTP
Colossians 2 in the NET2
Colossians 2 in the NIV11
Colossians 2 in the NNT
Colossians 2 in the NNT2
Colossians 2 in the NNT3
Colossians 2 in the PDDPT
Colossians 2 in the PFNT
Colossians 2 in the RMNT
Colossians 2 in the SBIAS
Colossians 2 in the SBIBS
Colossians 2 in the SBIBS2
Colossians 2 in the SBICS
Colossians 2 in the SBIDS
Colossians 2 in the SBIGS
Colossians 2 in the SBIHS
Colossians 2 in the SBIIS
Colossians 2 in the SBIIS2
Colossians 2 in the SBIIS3
Colossians 2 in the SBIKS
Colossians 2 in the SBIKS2
Colossians 2 in the SBIMS
Colossians 2 in the SBIOS
Colossians 2 in the SBIPS
Colossians 2 in the SBISS
Colossians 2 in the SBITS
Colossians 2 in the SBITS2
Colossians 2 in the SBITS3
Colossians 2 in the SBITS4
Colossians 2 in the SBIUS
Colossians 2 in the SBIVS
Colossians 2 in the SBT
Colossians 2 in the SBT1E
Colossians 2 in the SCHL
Colossians 2 in the SNT
Colossians 2 in the SUSU
Colossians 2 in the SUSU2
Colossians 2 in the SYNO
Colossians 2 in the TBIAOTANT
Colossians 2 in the TBT1E
Colossians 2 in the TBT1E2
Colossians 2 in the TFTIP
Colossians 2 in the TFTU
Colossians 2 in the TGNTATF3T
Colossians 2 in the THAI
Colossians 2 in the TNFD
Colossians 2 in the TNT
Colossians 2 in the TNTIK
Colossians 2 in the TNTIL
Colossians 2 in the TNTIN
Colossians 2 in the TNTIP
Colossians 2 in the TNTIZ
Colossians 2 in the TOMA
Colossians 2 in the TTENT
Colossians 2 in the UBG
Colossians 2 in the UGV
Colossians 2 in the UGV2
Colossians 2 in the UGV3
Colossians 2 in the VBL
Colossians 2 in the VDCC
Colossians 2 in the YALU
Colossians 2 in the YAPE
Colossians 2 in the YBVTP
Colossians 2 in the ZBP