Deuteronomy 11 (BOLCB)

1 Yagalanga MUKAMA Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye by’akukuutira, n’ebiragiro bye, n’amateeka ge ennaku zonna. 2 Mutegeere nga ku lunaku lwa leero soogera na baana bammwe abataamanya era abataalaba ku kukangavvula kwa MUKAMA Katonda wammwe, n’ekitiibwa kye n’omukono gwe ogw’amaanyi, era ogw’obukuumi; 3 era abataalaba ku byamagero bye yakola n’ebintu byonna bye yakolera wakati mu Misiri, ku Falaawo, ye kabaka w’e Misiri n’eri ensi ye yonna; 4 ne bye yakola eggye lya Misiri n’embalaasi zaalyo n’amagaali gaalyo; era nga amaggye ago bwe yagazikiririza mu mazzi ag’omu Nnyanja Emyufu bwe gaali nga gabagoberera, n’agamalirawo ddala n’okutuusa leero. 5 Abaana bammwe si be baalaba ebyo byonna MUKAMA bye yabakolera okuva nga muli mu ddungu n’okutuuka wano mu kifo kino, 6 era ne kye yakola Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, mutabani wa Lewubeeni, ettaka bwe lyayasamya akamwa kaalyo, wakati mu baana ba Isirayiri bonna, ne libamira n’ab’omu maka gaabwe bonna, n’eweema ez’ensiisira zaabwe zonna, ne buli kiramu kyabwe kyonna kye baalinako obwannannyini. 7 Naye mmwe bennyini mwe mwabiraba n’amaaso gammwe, ebintu ebyo ebikulu MUKAMA by’azze akola. 8 Noolwekyo mukwatenga amateeka gonna ge mbalagira leero, mulyoke mubeere n’amaanyi okuyingira mu nsi gye mujja okwefunira, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani, 9 bwe mutyo mulyoke muwangaalenga nga muli mu nsi MUKAMA gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa awamu ne bazzukulu baabwe, ng’eyo ye nsi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10 Kubanga ensi gy’ogenda okuyingira, ogyefunire, tefaanaana ng’ensi y’e Misiri, gye mwava, gye wasimbanga ensigo zo n’ozifukiriranga n’ebbomba gye wasambyanga ekigere, ng’afukirira ennimiro y’enva. 11 Naye ensi gye mugenda okwefunira nga musomose omugga Yoludaani, ye nsi ey’ensozi n’ebiwonvu, enywa amazzi g’enkuba agava mu ggulu. 12 Ye nsi MUKAMA Katonda wo gy’alabirira. Amaaso ga MUKAMA Katonda wo gabeera ku nsi eyo bulijjo, okuva ku ntandikwa y’omwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo. 13 Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga MUKAMA Katonda wammwe, n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe yonna, 14 kale, anaatonnyesanga enkuba mu nsi yammwe mu biseera byayo: enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo, olyoke okungulenga emmere yo ey’empeke, weefunire ne wayini omusu n’amafuta. 15 Era anaakuzanga omuddo mu malundiro go ente zo gwe zinaalyanga; naawe onoolyanga emmere n’okkuta. 16 Mwegenderezenga nnyo, mulemenga okukyama ne mubula, ne muweerezanga bakatonda abalala era ne mubavuunamiranga. 17 Kale obusungu bwa MUKAMA ne bubabuubuukirangako, n’aggalangawo eggulu, enkuba ne tetonnyanga, n’ettaka ne litabalangako bibala, ne muzikiriranga ne muggwaawo mangu ku nsi ennungi MUKAMA gy’abawa. 18 Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe. 19 Mubiyigirizenga abaana bammwe, ng’obinyumyako bw’onoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bw’onoobanga otambula mu nguudo; ne bw’onoogalamirangako, era ne bw’onoositukanga. 20 Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi, 21 mmwe n’abaana bammwe mulyoke muwangaalenga nnyo, mumale ennaku nnyingi nga ebbanga eggulu lye lirimala nga liri waggulu w’ensi, nga muli mu nsi MUKAMA gye yasuubiza bajjajjammwe okugibawa. 22 Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga MUKAMA Katonda wammwe, n’okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumunywererangako; 23 kale, MUKAMA anaagobangamu amawanga ago gonna aganaabanga mu maaso gammwe, ne mwefunira ensi z’amawanga ago agabasinga mmwe obunene era n’amaanyi. 24 Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, n’okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba. 25 Tewaabengawo muntu n’omu anaasobolanga okubaziyiza. MUKAMA Katonda wammwe aliteeka entiisa n’ekikangabwa mu bannansi bonna, buli we munaagendanga, nga bwe yabasuubiza. 26 Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’ekikolimo. 27 Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga MUKAMA Katonda wammwe ge mbalagira leero; 28 ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga MUKAMA Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi. 29 MUKAMA Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogyetwalire ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira, omukisa oguteekanga ku lusozi Gerizimu, n’ekikolimo ku lusozi Ebali. 30 Ensozi ezo ziri mitala wa Yoludaani ku ludda olw’ebugwanjuba obw’oluguudo ng’oyolekedde enjuba gy’egwa, okumpi n’emiti eminene egy’e Mole, mu nsi y’Abakanani ababeera mu Alaba ku miriraano gya Girugaali. 31 Muli kumpi okusomoka omugga Yoludaani mwefunire ensi MUKAMA Katonda wammwe gy’abawa. Bwe mulimala okugyetwalira, nga mwe mubeera, 32 mwegenderezenga nnyo mugonderenga amateeka gonna, n’ebiragiro bye nteeka mu maaso gammwe leero.

In Other Versions

Deuteronomy 11 in the ANGEFD

Deuteronomy 11 in the ANTPNG2D

Deuteronomy 11 in the AS21

Deuteronomy 11 in the BAGH

Deuteronomy 11 in the BBPNG

Deuteronomy 11 in the BBT1E

Deuteronomy 11 in the BDS

Deuteronomy 11 in the BEV

Deuteronomy 11 in the BHAD

Deuteronomy 11 in the BIB

Deuteronomy 11 in the BLPT

Deuteronomy 11 in the BNT

Deuteronomy 11 in the BNTABOOT

Deuteronomy 11 in the BNTLV

Deuteronomy 11 in the BOATCB

Deuteronomy 11 in the BOATCB2

Deuteronomy 11 in the BOBCV

Deuteronomy 11 in the BOCNT

Deuteronomy 11 in the BOECS

Deuteronomy 11 in the BOGWICC

Deuteronomy 11 in the BOHCB

Deuteronomy 11 in the BOHCV

Deuteronomy 11 in the BOHLNT

Deuteronomy 11 in the BOHNTLTAL

Deuteronomy 11 in the BOICB

Deuteronomy 11 in the BOILNTAP

Deuteronomy 11 in the BOITCV

Deuteronomy 11 in the BOKCV

Deuteronomy 11 in the BOKCV2

Deuteronomy 11 in the BOKHWOG

Deuteronomy 11 in the BOKSSV

Deuteronomy 11 in the BOLCB2

Deuteronomy 11 in the BOMCV

Deuteronomy 11 in the BONAV

Deuteronomy 11 in the BONCB

Deuteronomy 11 in the BONLT

Deuteronomy 11 in the BONUT2

Deuteronomy 11 in the BOPLNT

Deuteronomy 11 in the BOSCB

Deuteronomy 11 in the BOSNC

Deuteronomy 11 in the BOTLNT

Deuteronomy 11 in the BOVCB

Deuteronomy 11 in the BOYCB

Deuteronomy 11 in the BPBB

Deuteronomy 11 in the BPH

Deuteronomy 11 in the BSB

Deuteronomy 11 in the CCB

Deuteronomy 11 in the CUV

Deuteronomy 11 in the CUVS

Deuteronomy 11 in the DBT

Deuteronomy 11 in the DGDNT

Deuteronomy 11 in the DHNT

Deuteronomy 11 in the DNT

Deuteronomy 11 in the ELBE

Deuteronomy 11 in the EMTV

Deuteronomy 11 in the ESV

Deuteronomy 11 in the FBV

Deuteronomy 11 in the FEB

Deuteronomy 11 in the GGMNT

Deuteronomy 11 in the GNT

Deuteronomy 11 in the HARY

Deuteronomy 11 in the HNT

Deuteronomy 11 in the IRVA

Deuteronomy 11 in the IRVB

Deuteronomy 11 in the IRVG

Deuteronomy 11 in the IRVH

Deuteronomy 11 in the IRVK

Deuteronomy 11 in the IRVM

Deuteronomy 11 in the IRVM2

Deuteronomy 11 in the IRVO

Deuteronomy 11 in the IRVP

Deuteronomy 11 in the IRVT

Deuteronomy 11 in the IRVT2

Deuteronomy 11 in the IRVU

Deuteronomy 11 in the ISVN

Deuteronomy 11 in the JSNT

Deuteronomy 11 in the KAPI

Deuteronomy 11 in the KBT1ETNIK

Deuteronomy 11 in the KBV

Deuteronomy 11 in the KJV

Deuteronomy 11 in the KNFD

Deuteronomy 11 in the LBA

Deuteronomy 11 in the LBLA

Deuteronomy 11 in the LNT

Deuteronomy 11 in the LSV

Deuteronomy 11 in the MAAL

Deuteronomy 11 in the MBV

Deuteronomy 11 in the MBV2

Deuteronomy 11 in the MHNT

Deuteronomy 11 in the MKNFD

Deuteronomy 11 in the MNG

Deuteronomy 11 in the MNT

Deuteronomy 11 in the MNT2

Deuteronomy 11 in the MRS1T

Deuteronomy 11 in the NAA

Deuteronomy 11 in the NASB

Deuteronomy 11 in the NBLA

Deuteronomy 11 in the NBS

Deuteronomy 11 in the NBVTP

Deuteronomy 11 in the NET2

Deuteronomy 11 in the NIV11

Deuteronomy 11 in the NNT

Deuteronomy 11 in the NNT2

Deuteronomy 11 in the NNT3

Deuteronomy 11 in the PDDPT

Deuteronomy 11 in the PFNT

Deuteronomy 11 in the RMNT

Deuteronomy 11 in the SBIAS

Deuteronomy 11 in the SBIBS

Deuteronomy 11 in the SBIBS2

Deuteronomy 11 in the SBICS

Deuteronomy 11 in the SBIDS

Deuteronomy 11 in the SBIGS

Deuteronomy 11 in the SBIHS

Deuteronomy 11 in the SBIIS

Deuteronomy 11 in the SBIIS2

Deuteronomy 11 in the SBIIS3

Deuteronomy 11 in the SBIKS

Deuteronomy 11 in the SBIKS2

Deuteronomy 11 in the SBIMS

Deuteronomy 11 in the SBIOS

Deuteronomy 11 in the SBIPS

Deuteronomy 11 in the SBISS

Deuteronomy 11 in the SBITS

Deuteronomy 11 in the SBITS2

Deuteronomy 11 in the SBITS3

Deuteronomy 11 in the SBITS4

Deuteronomy 11 in the SBIUS

Deuteronomy 11 in the SBIVS

Deuteronomy 11 in the SBT

Deuteronomy 11 in the SBT1E

Deuteronomy 11 in the SCHL

Deuteronomy 11 in the SNT

Deuteronomy 11 in the SUSU

Deuteronomy 11 in the SUSU2

Deuteronomy 11 in the SYNO

Deuteronomy 11 in the TBIAOTANT

Deuteronomy 11 in the TBT1E

Deuteronomy 11 in the TBT1E2

Deuteronomy 11 in the TFTIP

Deuteronomy 11 in the TFTU

Deuteronomy 11 in the TGNTATF3T

Deuteronomy 11 in the THAI

Deuteronomy 11 in the TNFD

Deuteronomy 11 in the TNT

Deuteronomy 11 in the TNTIK

Deuteronomy 11 in the TNTIL

Deuteronomy 11 in the TNTIN

Deuteronomy 11 in the TNTIP

Deuteronomy 11 in the TNTIZ

Deuteronomy 11 in the TOMA

Deuteronomy 11 in the TTENT

Deuteronomy 11 in the UBG

Deuteronomy 11 in the UGV

Deuteronomy 11 in the UGV2

Deuteronomy 11 in the UGV3

Deuteronomy 11 in the VBL

Deuteronomy 11 in the VDCC

Deuteronomy 11 in the YALU

Deuteronomy 11 in the YAPE

Deuteronomy 11 in the YBVTP

Deuteronomy 11 in the ZBP